PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole bya Gavumenti baleme kukoma ku kutunuulira mpapula za buyigirize zokkka wabula bafe nnyo ne ku bwesimbu n’obuntubulamu.
Museveni ng’alaga obukodyo bwa dduyiro.
Museveni bino yabyogeredde ku kisaawe e Kololo ewakomekkerezeddwa okutambula kw’okulwanyisa enguzi kwe yakulembeddemu ng’omutambzi omukulu okuva ku kibangirizi kya City Square nga kwetabiddwamu abantu bangi naddala abakozi mu bitogole bya gavumenti.
Mu kwogerako eri abatambuze, Museveni yagambye nti obuzibu bw’enguzi buvudde ku kuwandiisa abakozi nga batunuulira mpapula za buyigire ne baleka abantu abalina obusobozi ate abeesimbu wadde nga tebalina mpapula.
Yagambye nti ebitongole naddala ekya Kaliisoliiso wa gavumenti (IGG), akakiiko ka Nakalema aka Anti Corruption Unit n’essiga eddamuzi basaanye okwekenneenya obuntu bulamu mu bantu be bawa emirimu.
Yagambye nti abalya enguzi bamanyiddwa era n’amateeka weegali agasobola okubakolako kyokka obuzibu tewali bujulizi olw’okubanga abakola okunoonyereza baakibogwe.
Yawadde ekyokulabirako ku kitongole kya poliisi nti bamala gawandiisa bantu ne balemwa n’okukola okunoonyereza okutuufu ng’emisango gibalema okukolako n’anokolayo eky’omusomesa agambibwa okusobya ku mwana kyokka ku fayiro omusango ne gukyusibwa.
Mu kutambula kuno okwetabiddwaamu abanene mu gavumenti, bannaddiini, ababaka b’amawanga egenjawulo ssaako abakozi mu bitongole by’obwannakyewa ebirafuubana okumalawo enguzi n’abalala, Museveni yategeezezza nti ye talyanga ku nguzi bukyanga abaawo.
Museveni yagambye nti enguzi efudde abantu enkwa nga banyuunyunta bunyuunyunsi ggwanga n’agamba nti enkwa bw’ebeera ku nte eginywamu omusaayi kyokka terina wadde akatono k’egyongerako ssaako okuzing’amya omwoyo gw’omuntu.
Yayongeddeko nti abantu abalya enguzi n’ebintu bye bafuna naddala obugagga tebuwangaala n’agamba nti abantu abamu kye bava bafuna ebintu kyokka ne bisaanawo mangu.
Wano yawadde ekyokulabirako ky’ente z’alina nti zaali zadda okuva mu famire yaabwe emabega era naye kati lwe lulyo lw’alina, ng’ekibayambye okuzikuuma baazifuna mu mazima si kubba.
“Obugagga obubbe bubeera bwa bisiraani era tebuyinza kuwangaala ,mu myaka 60 egiyise sirabangako muli wanguzi akulaakulana” Musevni bwe yagambye ne yeewuunya abantu abalya enguzi nga balowooza tewali abalaba kyokka nga Katonda ye abalaba.
Yagambye nti mu mwoyo gwo kino obeera ofunye ekisiraani n’asaba bannaddiini okwongera okusabira abantu baveemu omuzimu gw’okulya enguzi bakulaakulanye eggwanga.
Ku lwa palamenti, amyuka sipiika Jacob Oulanya era nga ye yakiikiridde Sipiika, Rebecca Kadaga, eyayogedde nga Pulezdienti tannayogera, yagambye nti buli muntu yali alidde ku nguzi era tewali mutukuvu ku nsonga eyo.
(Wabula Pulezidenti bwe yatuuse okwogera yagambye nti ye talyanga ku nguzi bukya abaawo) Oulanya era yagambye nti enguzi okuggwaawo abantu be balina okukyuka mu bikolwa buli muntu waali, olwo enguzi ejja kuggwaawo.
Minisita w’ebyempisa n’obuntubulamu, Faaza Simon Lokodo, ku lw’ebibiina ssaako ebitongole ebirafuubana okumalawo enguzi yagambye nti waakusomera paalamenti lipoota eraga ebyo bye batuseeko mu lutalo lw’okulwanyisa enguzi n’atageeza nti beetegefu era balina essuubi nti enguzi ejja kuggwawo.
Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu ggwanga,
Okuva ku kkono; Dr. Paul Kawanguzi
Amangu ddala nga yakadda okuva mu ggwanga lya Vietnam gye yasisinkanidde abavujjirizi b’ensimbi mu by’obulamu,
Omuyimbi Bebe Cool (Moses Ssaali) akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kawefube ow’okumanyisa n’okulwanyisa obulwadde bw’akafuba (TB) emu ku ndwadde zi nnamutta mu ggwanga,
Mu lukung’aana lwa bannamawulire lwatuzizza enkya ya leero, Bebe Cool ategezezza nga ekibiina kye ekya Amber Heart Foundation bwe kyafunye ddoola 398,344 mu za Uganda 1,470,938,598 okuva mu ba TB Reach mu ggwanga lya Vietnam nga zino zigenda kweyambisibwa mu kusomesa n’okumanyisa abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo akabi akali mu bulwadde buno, engeri y’okubujanjaba n’okubwewala, obubonero kw’olabira omuntu alina akafuba n’ebirala
Anyonyodde nti oluvannyuma lw’okumatiza abagabirizi b’obuyambi nti asobola okubayamba mu kulwanyisa akafuba,
Bamuwadde ssente zino mu mbeera ey’okumugezezza okumala ebbanga lya mwaka gumu era bwanakola obulungi obuvunanyizibwa buno baddemu bamuwe ssente enddala.
Bebe Cool nga bamukwasa ceeke e Vietnam.
Dr. Paul Kawanguzi Isiko okuva mu Uganda Stop TB Partnership (USTP) asinzidde mu lukung’aana lwe lumu nategezza nga obulwadde buno bwe buli bulabe nnyo eri obulamu bwa Bannayuganda nga abantu 20- 30 be bafa buli lunaku mu ggwanga olw’akafuba.
Akubirizza abantu okugenda okwekebeeza abazuuliddwa nga babulina bafune obubafune n’obujjanjabi kubanga bwa bwerere mu malwaliro naddala ago aga gavumenti.
Dr. Isiko agambye nti wadde obulwadde buno buwona, obuzibu buli ku bantu abatafuddeyo kwekebeeza n’abbo abagaana okumira eddagala mu butuufu bwa lyo.
Alipoota y’ebyobulamu eraga nti Uganda ekyali mu mawanga 30 agakyasinga okukosebwa olw’obulwadde buno mu nsi.
Obulwadde bwakafuba bukyali bwa bulabe nnyo eri obulamu bwa Bannayuganda abantu 80,000 be balwala n’okufa obulwadde buno buli mwaka omuwendo oguli waggulu ku 60,000 abafa n’okukwatibwa akawuka ka siriimu.
Emyaka ebiri egiyise Bebe Cool yalondeddwa ab’ekitongole kya ‘Uganda Stop TB Partnership’ (USTP) nga bali wamu ne ‘Geneva Partners United Nations Office for Project Services’ (UNOPS) okubeera ‘Ambasada’ wabwe mu Uganda mu kawefube gwe baliko okufufugazza obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta.
Ole Gunnar Solskjaer, atendeka ManU alaajanidde abazannyi be bataase omulimu gwe nga bakuba Spurs enkya ne Man City ku Lwomukaaga.
Ole Gunnar Solskjaer
Mu kutendekebwa kw’oku Mmande, Solskjaer agambibwa nti yabbidde ku bazannyi be nga bw’agenda okugobwa singa Spurs ne Man City zimukuba kuba emipiira gyombi giriko obukuku.
Spurs kati etendekebwa Jose Mourinho, gwe yaddira mu bigere sso nga Man City eri kabwa na ngo ne ManU olw’okuva mu kibuga ekimu (Manchester).
ManU ekyaza Spurs enkya ku Old Trafford ate ku Lwomukaaga ekyalire Man City ku Etihad stadium.
Ku Ssande, ManU yalemaganye ne Aston Villa (2-2) ku Old Trafford ekyagirese mu kifo ekyomwenda mu Premier ku bubonero 18 mu mipiira 14. Sizoni eno, ManU tennawangula mipiira 2 giddiring’ana mu Premier.
Okutya kwa Solskjaer kweyongedde oluvannyuma lwa Mauricio Pochettino eyagobeddwa mu Spurs okutegeeza nti mwetegefu okutendeka ttiimu yonna emutuukirira kati.
Lionel Messi, ssita wa Barcelona ataddewo likodi bw’awangudde engule y’obuzannyi bw’ensi yonna (Ballon d’Or) omulundi ogwomukaaaga n’aleka Cristiano Ronaldo (Juventus) ku etaano.
Yalangiriddwa ku Mmande ekiro e Paris ekya Bufalansa nga yaddiriddwa omuzibizi wa Liverpool, Virgil van Dijk ate Cristiano Ronaldo, eyazize omukolo guno n’akwata ekyokusatu.
Van Dijk ye yeewuunyisizza abantu ku mukolo guno bw’ayozaayozezza Messi n’ategeeza nti, “Engule emugwanidde. Tulina okukkirizza nti mu nsi mubaamu abantu abasukkulumye era ndi wa mukisa nnyo okukwata ekyokubiri.”
Van Dijk, eyawangula Champions League n’okutuusa Liverpool mu kyokubiri mu Premier wamu ne Budaaki ku fayinolo ya UEFA Nations League, yagasseeko nti, “Okuwangula engule emirundi 6 si kintu kya muzannyo.
Nze ndi mumativu n’ekifo kye nkutte kuba kituufu waliwo eyansooloobyeko. Kansabe omwaka ogujja gunnamire n’okusinga guno.”
Messi yayamba Barcelona okuwangula liigi y’e Spain, n’agituusa ku fayinolo ya Copa del Rey, yatuusa Argentina ku semi ya Copa America ate nga ye yasinga okuteeba ggoolo mu liigi ez’amaanyi mu Bulaaya.
Ttiimu ez’enjawulo zittunse mu Vipers Fans Cup, emu ne yeevuma ekikwa
Mulindwa (mu ssuuti)ng’akwasa aba B13 ekikopo
Aidenal FC 1-2 B 13
Mighty Venoms 1-0 Sumba
ABAWAGIZI ba Aidenal FC, baavudde ku kisaawe nga beewuunya ekikwa ekiri ku ttiimu yaabwe oluvannyuma lw’okukubirwanga ku fayinolo
Zaabadde fayinolo za mpaka za Vipers Fans Cup ezazannyiddwa ku Ssande ku kisaawe kya St Mary’s e Kitende, kiraabu ya B13 n’esitukira mu kikopo oluvannyuma lw’okuwangula ggoolo 2-1.
Eno ysizoni yaakusatu bukya mpaka zino zitandika mu 2017, nga Aidenal FC ekikopo kigiyita mu ngalo. Mu sizoni eyasooka yakubwa sumb FC ku fayinolo, ate mu 2018 ne baviiramu ku ‘quarter.
Eric Kisuze, omutendesi wa Aidenal yakkirizza nti baabasinzizza amaanyi, n’asuubiza nti sizoni ejja bagenda kukomawo n’amaanyi.
Dr.Lawrence Mulindwa, pulezidenti wa Vipers, era omuvujjirizi w’empaka zino, yategeezezza nti zaateekebwawo n’ekigendererwa ky’okwongera okunoonyeza ttiimu ya Vipers abawagizi, n’okwongera okunyweza abaliwo.
Omuggunzi w’eng’uumi Shafiq Kiwanuka alidde eky’obuzannyi bwa November
Ddiifiri Simon Katongole ng’awanika Kiwanuka ku lw’obuwanguzi. Ku ddyo ye Dube
OMUGGUNZI w’enguumi Shafiq Kiwanuka alinze kavvu wa mitwalo 50 oluvannyuma lw’okuwangula engule y’omuzannyi asinze abalala mu November.
Obuwanguzi Kiwanuka bwe yatuseeko ku Lwokutaano, bwe yamezze Thamsanq Dube owa Zimbabwe ku musipi gwa Africa ogw’ekibiina kya World Boxing Federation (WBF), bwe bwamulonzezza.
Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo abeegattira mu kibiina kya Uganda Sports Press Association (USPA) baamulangiriridde mu lutuula lwabwe olwa buli mwezi, ‘Nile Special – USPA monthly meeting’ ku wooteeri ya Imperial Royale ku Mmande.
Yamezze kiraabu ya Betway Kobs eya Rugby, eyawangudde Uganda.
Waakusiimibwa mu January n’omuddusi Joshua Cheptegei eyawangudde mu October wamu n’anaawangula mu December.
Abalala abaasiimiddwa mu November ye Isaac Mubikirwa ow’emifumbi, eyawangudde ekya Mr. Uganda, ttiimu za volleyball ne handball eza yunivasite y’e Nkumba ezaawangudde liigi y’eggwanga, ttiimu y’eggwanga ey’okuwuga eyakutte ekyokubiri mu za ‘Africa Zone 4’ e Kenya ne Prisons ey’abasajja eyawangudde handball.
YE Deus Ndugwa yazaalibwa nga 14, July, 1997 e Lyantode. Yasomera ku Kitebi Primary School ne Makindye Secondary School gye yasomera okuva mu S1 okutuuka mu S4.
Alina omwana mulenzi Daniel Jayden gwe yazaala mu Dorah Namuyomba wadde ng’emabegako baali baayawukana ne baddiηηana.
Oluyimba lwe olusooka yalufulumya mu 2014 nga yaluyita ‘Walaayi’ lwe yayimba ne Kevin Killer olwo n’azzaako ‘Wagwan’.
Kuno yazzaako “Nkuloga” olwasinga okumutunda. Alina endala nga’ Replace me lwe yayimba ne Sheebah ne John Blaq, Amen, Mpulira Bibyo, Nsasagge, Olimba. Zonna za mwaka guno
OKWEKALAKAASA okutatadde kuletedde Katikkiro wa Iraq Adel Abdul Mahdi okusalawo okulekulira!.
Abantu 354 be bakattibwa abebyokwerinda nga bagezaako okukkakkanya obujagalalo buno kyokka obukambwe bwebakozesa bwongedde bantu busungu n’okwekyawa.
Katikkiro Mahdi yalangiridde ku Lwokutaano nti agenda kuta entebe.
Kino yakikoze yakayita olunaku lumu lwokka ng’abeebyokwerinda mu kibuga Nasiriya bakubye amasasi mu bantu abeekalakaasa nga bawakanya gavumenti ya Iraq ne batta abantu 24 n’okulumya 210.
Abeekalakaasi abalala bana battiddwa mu kibiga kya Iraq ekikulu Baghdad , n’abalala 10 ne ne battibwa Najaf.
Ab’oludda oluvuganya ne batandika okwekalakaasa kuno nga bawakanya enguzi ,n’ebbula ly’emirimu kyokka kati kwegatibwako abantu bonna nga baagala gavumenti ya Iraq eve mu buyinza.
Omukulembeze w’eddiini Ali al-Sistani, yavumiridde gavumenti olw’obukambwe bw’ekozesa ku bantu n’asaba palamenti y’eggwanga eryo eggyewo obuwagizi bwayo bw’erina eri Katikkiro Mahdi.
Mahdi yagambye nti yawulizza okwogera kwa munaddiini ono era n’asalawo okulekulira awonye okuyiwa omusaayi gw’abantu ba Iraq.
Okulekulira kwasanyudde abeekalakaasi abaabade bagumbye mu kibangirizi kya Tahrir Square mu kibuga Baghdad
Nnaalongo wa AK47, Maggie Kaweesi ng’ono gye buvuddeko yeekubya ebifaananyi n’omuyimbi ono nga bali mu mbeera eraga omukwano y’omu ku bassereebu abawanda Grenade olulusu ng’agamba nti kino kivudde ku nneeyisa ya Grenade gy’agamba nti emusobedde.
Nnaalongo ng’abeera mu kibuga London ekya Bungereza yeekutte eddoboozi ne lisaasaana mu mikutu gya ‘social media’ egy’enjawulo ng’akolokota Grenade olw’okweyisa obubi.
Kigambibwa nti entabwe yasinze kuva ku bintu omwabadde enseenene ne kabalagala, Grenade bye baamutisse ng’agenda e London ku Lwokubiri, wabula mu kifo ky’okubitwalira bannanyini byo, yabitutte wa maama bbebi we, Dorah Namuyomba (ali Bungereza.
Bino Nnaalongo olwabitegedde kwe kukubira Grenade essimu nga tagikwata. Oluvannyuma yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa ‘snapchat’ nti’ Maggie sirina kintu kyonna kye nkwagaza wabula weesonyiwe essimu yange.
Kuno yagasseeko obulala obulaga nti talina mwagalwa. Kino kyatabudde Nnaalongo n’alangira Grenade obunnanfuusi.
Nnaalongo yagasseeko nti Grenade yamusaba pawundi 3,000 ku nsonga z’ataalambuludde bulungi n’azimuweereza n’azirya. Maggie era yagambye nti yayamba nnyo Grenade omugagga omu bwe yali amunoonya okumutuusaako obulabe olw’enkolagana ye ne mukazi we.
N’agattako nti; “Grenade nkukoledde buli kimu mbadde nkwambaza, nkuliisa, nkubeereddewo mu bintu bingi, nkusabidde omukisa otambuleko era obadde otandise naye nkizudde tolina magezi.” Nnaalongo yatuuse n’okumukolimira ng’ensi bw’egenda omukulema kubanga by’akola eby’okuganza ono n’oli nga tataliza na bakaabasajja tebirina ky’ebigenda kumuyamba.
GRENADE ATABUKA NE SHEILAH GASHUMBA
Gye buvuddeko, mukwano gwa Sheila Gashumba yategeeza nga Grenade ne Sheila bwe baddamu okulabangana. Wabula bino Grenade yabyegaana n’agamba nti ye Sheilah amulaba ng’eyaliko muganzi we, kubanga baayawukana dda.
okuva lwe baayawukana. Mu kiseera bino we byabeererawo, Grenade yakakasa nga mugazi we ye Nnaalongo Maggie.
OMUSAJJA agumbye ku kisaawe ky’omupiira ekya Uganda Clays e Kajjansi abaana we batendekebwa okuzannya omupiira n’awamba muzzukulu w’omugagga n’amubuzaawo.
Eyawambiddwa ye Arthur Atwine omuyizi ku Midroad Nursery e Kajjansi ng’omwaka ogujja abadde agenda mu kibiina kya Top. Atwine muzzukulu wa Bulasio Nsambu omu ku bagagga abasinga ettaka mu Kajjansi.
Nsambu olutegedde okuwambibwa kwa muzzukulu we, n’alaajanira omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Okoth Ochola okuyingira mu kunoonyereza, omuntu eyawambye muzzukulu we.
ENGERI OMWANA GYE YAWAMBIDDWA
Racheal Nalwoga nnyina w’omwana yategeezezza nti ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nga November 28, 2019, Atwine yagenda ne munne ow’emyaka 10 okuyiga kusamba omupiira ku kisaawe kya Uganda Clays e Kajjansi, kyokka Atwine teyakomawo.
Baagenda okukitegeera nti omwana yali awambiddwa, ng’omusajja amaze okweyongerayo
GWE YABADDE NAYE ATTOTTOLA Omwana ow’emyaka 10 (Amannya gasirikiddwa) eyakulembedde abaana bano yategeezezza nti baava awaka mu Kajjansi Cell A nga bali basatu wabula bwe baatuuka ku kisaawe, omusajja eyali ayambadde enkoofi ira enzirugavu, omujoozi omuddugavu, empale ya jjiini n’engatto za niigiina, n’ayita munnaabwe Atwine.
Naye yasalawo agendereko kubanga ye yali omukulu era olwatuuka ku musajja, yabatuma obutunda ku dduuka obwa 500/-. Olwabuleeta, omusajja yasituka n’abagamba bagende bamukwatireko emipiira ewuwe n’awa Atwine n’omwana omulala ow’emyaka 4 bbagiya.
Baatambula okuva ku kisaawe okutuuka e Kajjansi okuliraana ne Fly Zone, nga wano waliwo mmita nga 400 okutuuka ku kisaawe, omusajja n’abayingiza mu kirabo ky’emmere n’asaba cipusi n’emmere endala.
Olwamala okubisaba, ye (anyumya) n’amutuma adde ku kisaawe abuuze omutendesi w’abaana eyakazibwako erya (coach capero) naye ng’amannya ge amatuufu ye Robert Kafeero oba anaalya ekyennyanja.
“Nagenze okudda nga mu kirabo ky’emmere mulimu omwana omu nga Atwine n’omusajja tebalabikako,” omulenzi bwe yayogedde. Nalwoga nnyina w’omwana agamba nti olwawulidde ebyo, yasitukiddemu n’agenda mu kirabo ky’emmere abuuze eyabadde agitunda n’amutegeeza nti kituufu omusajja yabaddewo n’abaana abo naye yagenze okumaliriza okusiika cipusi ze ng’omusajja adduse n’omwana nga wasigaddewo omwana omu.
Omukyala w’ekirabo ky’emmere yayongedde n’ategeeza nti omwana, nga baakatuuka, yabadde alowooza nti omusajja
Kyokka n’omwana gwe yabadde naye eyasigaddewo, olwatuuse awaka, yeebakiddewo era kyatutte ekiseera ng’akyebase kye bateebereza nti bbagiya mwandiba nga mwabadde muteereddwaamu kalifoomu. Nalwoga yagenze ku poliisi y’e Kajjansi n’aggulawo omusango gw’okubula kw’omwana we ku fayiro namba SD Ref. 70/28/11/2019 poliisi n’etandikirawo omuyiggo wabula tebannabaako kye bafuna.
Ensonda ezeesigika zitegeezezza Bukedde nti poliisi y’e Kajjansi olwategedde amawulire gano, yatandikiddewo okutunuulira obutambi okuva ku kkamera za poliisi kyokka ne watabaawo kye balaba nga kiteeberezebwa nti eyawambye omwana, yabadde amanyi wa kkamera we zitamulabira era kigambibwa nti we yayisizza omwana.
KKOOCI BAMUGGYEEKO SITETIMENTI
POLIISI y’e Kajjansi yagenze ku kisaawe n’enonayo Kafeero (mu katono) eyabadde ayogerwako nti omusajja eyawambye omwana yamumutumako. Ono yategeezezza poliisi nti kituufu omwana yajja n’amubuuza oba anaalya, naye n’akkiriza kubanga ye engeri gy’atendeka abaana, olumu abantu baatamanyi bamugulira emmere naye omusajja oyo tamumanyi era ku kisaawe awo tebalinaawo kkooci Jimmy.
Poliisi yamuggyeko sitetimenti n’emuleka naddayo okutendeka abaana ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso
MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka, Persis Namuganza akunze abazadde okutwala abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas Festival ekigenda okubeerawo ku Ssande eno mu kisaawe e Namboole.
Namuganza
Ekivvulu kino kitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala n’olupapula lwa Bukedde. Namuganza yagambye nti abaana bamala ekiseera kiwanvu ku ssomero ate oluwummula olusembayo ne luba nga nalwo lunene kale baba beetaaga okuwummuza ku bwongo. Wano we yasabidde abazadde okubatwala mu Toto bawummuze ku bwongo. Yagambye nti abaana buli lwe batambulako bazuula ebipya ate ne bakola n’emikwano emirala ate n’obwongo bwabwe bubaako ebipya bye bulowooza era nga singa abazadde babatwala mu kivvulu kya Toto bajja kubaako bingi bye bayiga ate nabyo babiteeke mu nkola. “Nange ng’enda kutwala abaana mu Toto bacakaleko ate bongere okumanya bannaabwe bye balowooza kibayambe okuva wansi ng’obwongo bucamufu ate nga busobola okuyiiya ebibazimba.” Namuganza bwe yayongeddeko. Bino Namuganza yabyogedde ku Imperial Royale gya yakiikiridde Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda ku mukolo kwe baasiimidde abaweereza mu Kkanisa ya Uganda. Ekivvulu kyakubaamu abayimbi abato okuli Esther ne Ezekiel Mutesaasira, Fresh Kid, Wilson Bugembe ng’okuyingira 10,000/-. Mu kivvulu kino, ekitongole kya NIRA kigenda kuwandiisa abaana okufuna ebbaluwa zaabwe ez’obuzaale ku 7,500/- zokka kale tosaanye kusubwa mukisa guno.
Nnaalongo wa AK47, Maggie Kaweesi ng’ono gye buvuddeko yeekubya ebifaananyi n’omuyimbi ono nga bali mu mbeera eraga omukwano y’omu ku bassereebu abawanda Grenade olulusu ng’agamba nti kino kivudde ku nneeyisa ya Grenade gy’agamba nti emusobedde.
Nnaalongo ng’abeera mu kibuga London ekya Bungereza yeekutte eddoboozi ne lisaasaana mu mikutu gya ‘social media’ egy’enjawulo ng’akolokota Grenade olw’okweyisa obubi.
Kigambibwa nti entabwe yasinze kuva ku bintu omwabadde enseenene ne kabalagala, Grenade bye baamutisse ng’agenda e London ku Lwokubiri, wabula mu kifo ky’okubitwalira bannanyini byo, yabitutte wa maama bbebi we, Dorah Namuyomba (ali Bungereza.
Bino Nnaalongo olwabitegedde kwe kukubira Grenade essimu nga tagikwata.
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II azzeemu okulagira abantu be mu Buganda okwekebeza siriimu n’endwadde endala ng’omu ku kaweefube anaayamba Uganda okumalawo endwadde ezo omwaka 2030 we gunaatuukira.
Kabaka Mutebi II bwe yabadde e Kitovu gye buvuddeko.
Bino biri mu bubaka bwe obwafulumiziddwa ku lunaku ensi yonna kwe yeefumiitiririza ku bulwadde bwa siriimu buli mwaka olukuzibwa nga December 1.
Ndi musanyufu okukitegeera nti bangi ku mmwe mutandise okuvaayo nga mwanukula omulanga gwange era omuwendo gw’abasajja abeekebeza gweyongedde okulinnya mu bitundu eyo obujjanjabi gye buli ate n’abo abafuna eddagala, beyongedde.
Eky’abasajja obutajjumbira kaweefube ono, Kabaka agamba nti kyetaaga okumenyebwawo okusobola okukendeeza ku muwendo gw’abaana abazaalibwa ne mukenenya n’abafa obulwadde buno, abavubuka abawala, abasajja n’abakyala.
Omulamwa okukuliziddwa olunaku luno gugamba nti “Ebitundu y’entabiro y’okulwanyisa mukenenya’.
Kabaka yamalirizza obubaka bwe ng’agamba nti; “Muli mmunyeenye za famire zammwe era n’obulamu obulungi mu bitundu byammwe butandika nammwe, mbasaba okusigala nga mukutte omumuli gw’obulamu obulungi n’okumalawo mukenenya omwaka 2030 we gunaatuukira, ku lunaku luno olw’okwefumiitiriza ku bulwadde buno 2019.”
Pulovinsi ya Buganda etandise bubi mu mpaka za FUFA Drum, kyokka baweze okufiira ku Acholi okutangaaza emikisa egyeyongerayo ku semi
Isaac Otto owa Acholi (ku kkono) ng’akulukuta n’omupiira. Ku ddyo ye Enock Walusimbi owa Buganda.
Egyazanyiddwa
Bukedea 2-1 Tooro
Acholi 1-0 Buganda
Acholi-Tooro 8:00
Bukedea-Buganda 10:00
BANNANTAMEGGWA bw’omwaka oguwedde aba Buganda, tebyabagendedde bulungi mu mupiira gwabwe ogwasoose ku ‘quarter’ y’empaka za pulovinsi eza FUFA Drum.
Buganda yakubiddwa Acholi ggoolo 1-0 mu mupiira ogwaguddewo oluzannya luno mu kibinja B mwe bali ne Bukedea ssaako Tooro.
Kino kyasannyalazza emikisa gya Buganda okweyongerayo ku semi, ng’okuddamu essuubi, balina okuwangula Bukedea, ate ne basaba Tooro akube Acholi akulembedde, oba bakole amaliri.
Singa Buganda eremererwa okukuba Bukedea, ne Tooro n’eremererwa okukuba Acholi, kitegeeza nti Bukedea ne Acholi Bagenze ku bubonero 6 nga Uganda n’ebwegoba ogusembayo tekigitaasa kuba yo ne Tooro tebalina wadde akabonero.
Kyokka ne Bukedea eyakubye Tooro 2-1, okwongera okwenyereza mu kuvuganya ku kyokubiri, ewera kufiira ku Buganda.
“Tugenda kukola ekisoboka okulaba nga tudda engulu oluvannyuma lwa Martin Mpuga ne Said Kyeyune okutwegattako okwongera okuggumiza ttiimu, “ Alex Isabirye, atendeka Buganda bwe yagumizza.
Mu ngeri y’emu, abasogozi b’omwenge gwa Eagle Poa okuva mu Nile Breweries baakakasizza okuvujjirira empaka zino okumala emyaka esatu, nga buli mwaka baakuwaayo obukadde 250/-, mu kutimba ebisaawe, okugula emijoozi, ekikopo, emidaali n’ebirabo ebirala.
Tito Okello (Acholi) ne Fredson Gwoto (Bukedea) baaweereddwa emitwalo 10 olw’okusukkuluma ku bannaabwe mu mipiira gyombi ku Pece War Memorial Stadium.
Isaac Mubikirwa, asitukidde mu mpaka za Mr. Uganda ez’okusiba emifumbi
Isaac Mubikirwa ng’avuganya ku fayinolo ya Mr.Uganda
Omuziimbi w’emifumbi, Isaac Mubikirwa alaze bw’akyali nnantameggwa mu muzannyo guno bwe yawangudde obwa Mr. Uganda omulundi ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa.
Mubikirwa, nga nnaansi omusajja, akolera ku ggiimu ya University of Pain, yasooka kuwangula mu 2017 n’omwaka oguwedde, era yategeezezza nti atunuulidde kuvuganya mu mpaka za Bulaaya omwaka ogujja.
Yavuganyirizza mu bizito bwa Lt. Heavyweight, kkiro 80-85, n’asooka abamegga okuyingira fayinolo mwe yavuganyirizza n’abaawangudde mu bizito obulala. Kuliko; Ronald Kalule eyakutte ekyokubiri eyawangudde mu bizito bwa middleweight, Godfrey Lubega (kyakusatu)okuva mu buzito bwa Walterweight (nga ye Mr. Kampala omwaka guno), Daniel Mwesigwa (Heavyweight), Abdul Lubega (Light Weight) ne Haksman Kisekka (Bantam weight).
“Omubiri gubadde mulungi nga kivudde mu kukola nnyo . Kati ntuluulidde za Bulaaya,” Mubikirwa bwe yagambye.
Abazannyi 60 be bavuganyizza mu mpaka za Mr. Uganda.
Arsenal eri ku kigezo ssemagezo ku by’okukansa omutendesi Brendan Rodgers, Leicester gy’atendeka bw’ekabatemye nti aliko akakwakkulizo ka kubaliyirira pawundi obukadde 14 singa abaabulira ng’endagaano ye tennaggwaako.
Brendan Rodgers
Brendan Rodgers, eyeegatta ku Leicester sizoni ewedde ng’ava mu Celtic, atadde ttiimu eno ku mutindo nga kati yaakubiri mu Premier ku bubonero 32 mu mipiira 14.
Arsenal emwagala okudda mu bigere bya Unai Emery eyakwatiddwa ku nkoona wiiki ewedde.
Freddie Ljungberg y’akola ng’omutendesi ow’ekiseera era nga teyamatizza bwe baabadde balemagana ne Norwich (2-2) mu Premier ku Ssande.
Puleesa yeeyongedde ku mutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer bwe bagudde amaliri ne Aston Villa (2-2) ku Old Trafford ne bongera okumukubamu ebituli nti ayongedde kubbika ttiimu bukya asikira Jose Mourinho.
Ole Gunnar Solskjaer
Lwakusatu mu Premier;
ManU vs Spurs
Ku Lwokusatu, ManU ekyaza Spurs, eyakansizza Mourinho era ng’abatunuulizi baalaze dd anti ManU eyongedde kusereba okuva Mourinho we yagireka.
Mu mipiira 14 egya Premier, ManU erina obubonero 18 sso nga ku Mourinho sizoni ewedde, yalina obubonero 22.
Abakugu bagamba nti ManU bw’eremwa okukuba Spurs, Solskjaer yandikwatibwa ku nkoona nga boodi (eya ManU) teyinza kugumira kuswala ng’omutendesi gwe baagoba abakajjaliddeko ku Old Trafford.
Okuva Mourinho lwe yakutte enkasi, Spurs ewangudde emipiira gyayo gyonna esatu sso nga ManU tennawangulayo mipiira ebiri giddiring’ana sizoni eno.
ManU yaamwanda mu Premier sso nga Spurs yaakutaano ku bubonero 20 mu mipiira 14.
Omutendesi Marco Silva atuula matiitiiri olw’ekigambibwa nti ebbaluwa emugoba bakama be baamaze dda okugiwandiika.
Marco Silva
Everton yakubiddwa Leicester City (2-1) mu Premier ku Ssande ne kyongera okussa omulimu gwa Silva mu lusuubo.
Omunigeria Iheanacho ye yateebye ggoolo ey’obuwanguzi mu ddakiika esembayo eyalese Everton mu kifo eky’e 17 ku ttiimu 20. Erina obubonero 14 mu mipiira 14 ate nga ku Lwokusatu ekyalira Liverpool.
Ensonda mu Everton zigamba nti Marco Silva aweereddwa omupiira gumu gwokka ogwa Liverpool nga singa alemwa okuguwangula waakukwatibwa ku nkoona.
Eby’embi eri Silva, ebyafaayo bya Everton si birungi ng’ekyalidde Liverpool.
Emaze emyaka 20 nga tewangulira ku Anfield. Yasemba okuggyayo obuwanguzi nga September 27, 1999 bwe yakuba Liverpool (1-0) mu Premier.
Liverpool tennakubwamu mu Premier sizoni eno ng’erina obubonero 40 mu mipiira 14.
Ejjoogo lya Lionel Messi ku Atletico Madrid lyongedde okukula bw’ateebedde Barcelona ggoolo eyabawadde obuwanguzi n’okubazza ku ntikko ya liigi y’e Spain (La Liga) ku Ssande.
Barcelona yawangudde (1-0) ku bugenyi, Messi n’aweza ggoolo 30 ze yaakakuba Atletico.
Yagiteebye ebula eddakiika 4 omupiira guggwe mu mupiira ogwasoose eri Antoine Griezmann okusisinkana abaali bakama be.
Mu ngeri y’emu, ekikwa ky’omutendesi Diego Simeone ku Barcelona kyeyongedde ng’akyalemeddwa okugikuba mu liigi bukya aweebwa mulimu mu 2011.
Barcelona eri ku ntikko n’obubonero 31 ate Atletico yaamukaaga ku bubonero 25 mu mipiira 14.
Real Madrid, eyakubye Deportivo Alaves (2-1) ku Lwomukaaga, nayo erina obubonero 31 kyokka nga Barcelona egisinza ggoolo emu.
Omubaka wa Lubaga North Moses Kasibante agambye nti kikyamu Gavumenti okusolooza emisolo ku massomero g’obwanannyini nawabula nti kino kisazibweemu mbagirawo okuyamba okutumbula ebyenjigiriza.
Omubaka Kasibante n’abayizi ba Bagimu Pre and Primary School e Wakiso
Omubaka wa Lubaga North Moses Kasibante agambye nti kikyamu Gavumenti okusolooza emisolo ku masomero g’obwannannyini n’awabula nti kino kisazibwemu mbagirawo okuyamba okutumbula ebyenjigiriza.
“Enkola ey’okusolooza emisolo ku masomero g’obwannannyini etataaganya ebyenjigiriza,” Kasibante bw’aggumizza.
Asinzidde ku ssomero lya Bagimu Pre & Primary School e Nakabugo-Bbira mu Wakiso disitulikiti ng’abayizi booleesa ebitone mu kuyimba n’amazina n’agamba nti emisolo nga income tax okukugiggya ku massomero naddala mu kiseera kino nga amasomero agalabirirwa gavumenti gakoobedde emabega si kituufu.
“Amasomero nga Bagimu Pre & Primary School gagatta kinene ku byenjigiriza era gongerwe okuwagirwa gavumenti mu kifo ky’okugaggyako emisolo,” Kasibante bw’ategeezezza ku Ssande.
Abayizi nga basanyusa bazadde baabwe n’amazina
Agambye nti buvunaanyizibwa bwa gavumenti okuyamba ku masomero mu kifo ky’okugatunulira ng’ensulo z’ensimbi.
Ate ku mukolo gwe gumu, akulira ebyenjigiriza mu Wakiso, Freddrick Kiyingi agambye nti gavumenti nneetegefu okugenda mu maaso okuyamba abmasomero g’obwannannyini kubanga gakola kinene okutumbula ebyenjigiriza.
“Amasomero nga Bagimu wadde gakyali mato, tugawagira nnyo era okujja kwange wano kubongere obugumu nti essomero litambula bulungi. Tulina okukwatiza awamu okugunjula abaana baffe,” Kiyingi bw’agambye.
Moses Kasibante omubaka wa Lubaga North mu Palamenti ng’asala keeki n’abayizi ku ssomero lya Bagimu Pre and Primary School erisangibwa e Nakauga mu Wakiso
Ate akulira essomero lino Julie Kabengwa yategezezza nti okutendeka abayizi essomero lya Bagimu terikikomya mu bibiina wabula mu nnyimba gattako ebyemizanyo.
Ate abantu abaganza abalala be balinako oluganda baakusibwanga mayisa singa etteeka eppya linaayisibwa Palamenti.
Ba bboosi abakanda akaboozi, omusawo asaba omulwadde omukwano, abasomesa ku bayizi omukwano n’abalala abagwa mu ttuluba eryo baakutanga obukadde buna.
Omuntu awemula oba atigatiga munne mu ngeri eyesitazza oba okumukwatako ku kabina n’amabeere bw’asingibwa omusango asibwa mwaka oba okutanga emitwalo 48.
Etteeka lino erya Sexual offences Bill 2019 lyayanjuddwa omubaka w’abakazi Monica Amoding mu palamenti sipiika n’alisindika mu kakiiko akavunaanyizibwa ku kusunsula amateeka katandike okulyekeenya n’okufuna endowooza y’abantu.
Kijja kutwalibwa ng’ekikolwa ky’okukaka omukwano singa omuntu atamiiza munne n’amutwala mu kikolwa nga teyeyagalidde. Era n’akase omulala omukwano ng’amaze kumuwunza mu ngeri ndala yonna era etteeka terimutalizza.
Omuntu agezaako okuwunza munne n’ekigendererwa ky’omukaka omukwano bw’asingibwa omusango asibwa myaka musanvu. Omuntu yenna akwata ku bisambi, ku kabina, ku mabeere,alaga omulala obwereere bwe, n’oyo ayogera ebigambo ebikwata ku by’omwegatta mu ngeri eyesitazza naye asibwa omwaka gumu oba okutanga emitwalo 48.
Omuntu asindikira munne ebifananyi by’obuseegu nga tabimusabye ne bimwesitazza ajja kutanga emitwalo 40. Kijja kuba kikolwa ku kubasanya mu by’omukwano singa omuntu ayogera ebyesitaza awali omulala,awandikira omulala akabaluwa akasaba omukwano nga gwe bawandikidde tabyetaaze.
Abalamuzi ba kkooti ey’oku Ntiko, basatu ku bataano okwabadde Eldard Mwangusha, Dr. Lillian Tibatemwa ne Paul Mugamba bakkiriziganyizza n’ensala y’omulamuzi John Bosco Katusi nti Jamwa yatunza Crane Bank emigabo gya gavumenti nga teginnakula n’agifiiriza ssente ezo.
Meeya Lumbuye, Tina Walugembe ne Miria Matembe (ku ddyo).
Bino yabyogeredde mu musomo gw’abakulembeze abakyala mu Munisipaali ya Makindye Ssaabagabo ogwabadde ku kitebe kya Munisipaali ku Lwokuna nga ye yabadde omugenyi omukulu.
Abakyala abasoba mu 200 be baakuηηaanye mu musomo guno.
Bano baalaze ebizibu omuli okukola ku nsonga ennyingi ezeetaagisa ssente kyokka nga tebasasulwa, bassentebe okubayisaamu amaaso, poliisi obutakola ku misango gye bagiroopera n’ebirala ne basaba Gavumenti nabo ebalowoozeeko ku by’ensimbi nga bwe yakola ku bassentebe.
Matembe yasoose kwebaza Pulezidenti Museveni okuggyawo ekifaananyi ekibi ku mukyala nti yalina kukola gy’awaka era talina kwenyigira mu kintu kyonna kitwala ggwanga mu maaso, n’agamba nti kino kyazibula bangi amaaso ku busobozi bwabwe nga kati ne ku bukulembeze bavuganya.
Wabula yategeezezza nti omuntu y’omu yagenda ava ku mulamwa bwe yatandika okutyoboola ebyali byateesebwa bwatyo n’amwesalako nga n’okutuusa kati ebikolwa ebikyamu mu ggwanga byeyongedde omuli enguzi, okutulugunya abakyala mu maka, okukwata abaana n’ebirala kyokka tewali kikolebwa.
Yategeezezza nti abakyala abali mu byobufuzi balina ekituuti okutuusa ebirowoozo bya bannaabwe mu be kikwatako era balwane okulaba nti bikolwako.
POLIISI y’e Lukaya mu Kalungu eri ku muyiggo gw’omusawo agambibwa okusobya ku kawala ak’emyaka 13 bwe kaabadde kagenze okukajjanjaba.
Namale ne muwala we agambibwa okusobezebwako. Omusawo Mbanawe gwe balumiriza
Okusinziira ku Vianney Birungi akulira poliisi y’e Lukaya, ayiggibwa ye Ivan Mbanawe abadde omujjanjabi mu kalwaliro k’obwannannyini aka Zulayika Medical Centre and Drug Shop mu Agip Cell e Lukaya.
Birungi yategeezezza nti bino okubaawo kyaddiridde maama okusindika muwala we okujjanjabwa omusujja gw’embiro n’okusesema.
Maama agamba nti omwana yasoose kutya okumugamba ebyamutuusiddwaako okutuusa nga wayise olunaku n’amugamba addeyo ew’omusawo amaleyo eddagala.
Zulayika Namugenyi abadde akozesa omusawo Mbanawe eyadduse, ategeezezza nti eno y’entikko y’olutalo lw’omulimu olumaze ebbanga wakati wa Mbanawe n’omukyala Jane Nabbanja.
Yagambye nti Nabbanja ye yasooka okuddukanya akalwaliro kano okumala ebbanga nti kyokka yayisibwa bubi bwe baaleeta Mbanawe okwongera okutambuza emirimu mu ngeri y’ekikugu.
Agamba nti embiranye ey’amaanyi yatandika okutuusa Namugenyi lwe yagobeddwa nti kyokka waabadde waakayita ebbanga ttono ne wabaawo eby’okukwata omwana by’alumiriza nti abirinamu omukono.
KKWIINI wa Bungereza akkirizza okwawuza ku buyinza bwe abuwe mutabani we Omulangira Charles.
Kkwiini ng’ali ne mutabani we Charles agenda okumuddira mu bigere (ku kkono) ne muzzukulu we William (ku ddyo). Ate owookubiri ku ddyo ye George mutabani wa William.
Kino kitegeeza nti Kkwiini agenda kusigaza obuvunaanyizibwa butono obutajja kumukuluusanya ku myaka gy’asigazza ku nsi.
mawulire mu Bungereza gategeezezza nti mu myezi 18, Omulangira Charles (Prince of Wales) agenda kufuulibwa Prince Regent ekitegeeza omulangira Kwini gw’ayawulizzaako ku buvunaanyizibwa. Wabula Charles okulangirirwa nga Kabaka alina kulinda Kkwiini kufa.
Asuubirwa okutandika okukola emirimu gya Kkwiini mu myezi 18 okuva kati. Mu May, 2021, Kkwiini lw’aliweza emyaka 95. Ku myaka egyo 95, bba wa Kkwiini, Omulangira Phillip kwe yalangirira okulekulira emirimu gye mu butongole. Kati alina 98.
Bino biddiridde abantu e Bungereza okwelaliikirira nti Kkwiini ayongedde okunafuwa ate ng’alina obuvunaanyizibwa bw’amaanyi ng’omukulembeze wa Bungereza atakubwako kalulu era nga y’akulira n’olukiiko lwa CommonWealth olugatta amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza.
Kkwiini Elizabeth ll yazaalibwa 1926. Charles agenda okukola emirimu gye, alina emyaka 71, yazaalibwa November 14, 1948.
Wadde Kkwiini tannalangirira mu butongole, azze ayogera nga bw’ajja okuweereza Obwakabaka bwa Bungereza mu bbanga ly’anaamala ng’alina amaanyi.
Kkwiini ne bba, Philip nga bawuubira ku bantu.
N’agamba nti yeebaza Katonda okusobozesa bba Philip okuweereza okutuusa ku myaka 95. Era ye bw’aligiweza olwo aliba aweerezza Obwakabaka bwa Bungereza ekimala olwo asigale kusabirira kuwangaala kutuuka ku myaka gya nnyina. Maama wa Kkwiini yafiira ku myaka 100.
Ekya Kabaka oba Kwini okwawuza ku buyinza kyasemba kubaawo my myaka gya 1800, Kabaka George III bwe yakoowa ennyo mu mubiri ne mu bwongo n’alonda omulangira, George IV gwe yayawulizaako obuvunaanyizibwa.
Okwawulizaako obuyinza kyafuulibwa etteeka mu 1937 eryatuumibwa Regency Act 1937. Etteeka era liragira nti Kkwiini bw’anaamala okukirangirira, abantu basatu okuli Sipiika w’olukiiko lwa House of Commons (Palamenti ya Bungereza), Lord Chancellor ne Ssaabalamuzi bajja kumukakasa basse ne mu buwandiike okutuusa Omulangira alisikira eng’oma lw’alituula ku nnamulondo.
Mu nteekateeka y’Obwakabaka bwa Bungereza, Kkwiini bw’alivaako alisikirwa Omulangira Charles ate Charles bw’alivaako alisikirwa mutabani we William gwe yazaala mu Mumbejja Diana.
Olw’abaana ba William balyoke basikire eng’oma nga bwe baddiring’ana mu myaka. Abo bwe balivaako abazzukulu baabwe mwe muliv
FRESH Kid ayise bato banne n’awera nga bw’agenda okubakuba emiziki mu kivvulu kya Toto Chrismas Festival nabo bakitegeere nti ali omu yekka era asobola.
Fresh Kid ng’alanga ekivvulu kya TOTO.
FRESH Kid ayise bato banne n’awera nga bw’agenda okubakuba emiziki mu kivvulu kya Toto Chrismas Festival nabo bakitegeere nti ali omu yekka era asobola. Agambye nti omuto yenna atajje ajja kuba asubiddwa bingi era n’omuzadde ataaleete mwana we yeenenyanga yekka obutatwala mwana we mu kivvulu ky’abaana ekisinga obunene mu Uganda buli mwaka. Ekivvulu kino kisuubirwa okubaamu abayimbi bamusaayi muto bangi abagenda okukubira bannaabwe emiziki okuva ku makya okutuuka okuzibya obudde ng’ate bwe batabikamu n’obubadi obusesa. Mu kivvulu kino mulimu n’okulwanira obukadde bw’ensimbi bubiri ng’essomero erinaasinga lyakuvaawo nabwo. Abayimbi abalala kuliko; Easter ne Ezekiel Muteesaasira, Pr. Wilson Bugembe, byonna nga byakubeera Namboole nga December 8, 2019 ng’okuyingira 10,000/- gwokka. Abamu ku batadde ensimbi mu kivvulu kino kuliko ekitongole kya Nira ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu ggwanga. Abazadde baweereddwa omukisa ogufunira abaana baabwe amabaluwa g’obuzaale ku 7,500/- zokka. Abalala abataddemu ssente kuliko; Food Humb, DStv ne GOtv, Mirinda, Indomi instant noodles, Splash Tooto ne Vision Group.
OMUWENDO gw’abantu abalumiriza kkampuni ya Global Cryptocurrency Ltd okubafera gweyongedde ku poliisi n’ekitongole ekiketta mu ggwanga ekya ISO fayiro n’esindikibwa ku kitebe ky’abanoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli. \
Omujaasi ng’ateeka Kaggwa ku mpingu.
We bwazibidde ku Lwokuna, ng’abantu abaakakola sitatimenti ku poliisi wokka nga bakunukkiriza 300 nga n’abava mu bitundu by’eggwanga okuli: Gulu, Mubende, Masaka, Kyotera, Mbale n’awalala nabo bangi ekyawalirizza poliisi okuggya fayiro ku Old Kampala ne bagiweereza e Kibuli.
Bo abaabadde baakagenda mu ISO eyakutte Andrew Kaggwa abadde akulira kkampuni eno nabo baabadde basoba mu 100.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, ensonga za Global Cryptocurrency zaasusse obuyinza bwa poliisi mu Kampala n’emiriraano olw’abantu abava mu bitundu by’eggwanga ebiri wabweru wa Kampala kwe kusalawo fayiro bagiwereze e Kibuli.
Ate ye Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, ba dayirekita ba Global Crypto currency balina ebiruubirirwa byabwe ng’abantu era banoonyereza okusukka ku kwagala okwegagaggawaza.
Nga November 11, 2019 abantu lwe baatandika okwekalakaasa nga babanja ssente zaabwe.
Kaggwa yayita olukiiko lwa bakasitoma bonna abaali batadde ssente mu Global Crypto currency ku Pope Paul Memorial mu Ndeeba okwogerezeganya nabo ku nsonga za ssente zaabwe.
Austin Ndife alumiriza nti yabbiddwa obukadde 19 yagambye nti, batuula ku Pope Paul olunaku lwonna kyokka Kaggwa teyalabikako okutuusa ku ssaawa ssatu ez’ekiro nga bakyamulinze.
Wabula Kaggwa mu sitatimenti gye yakoze yagambye nti, yali agenda mu lukiiko looya we n’amugaana n’amugamba nti ye k’agende akiikirire kkampuni wabula Ndife agamba nti, ne looya teyalabikako.
Kaka yagambye nti, ekibalo kya Kaggwa ne banne, kyali kya kukungaanya bantu ku Pope Paul babalinde nga tebabalaba batandike okwekalakaasa nga banenya Gavumenti wabula ne babeera balabufu tebaakikola.
Abeebyokwerinda era balina olukalala lwa bannabyabufuzi 12 okuli ne baminisita be bagamba nti babanoonyerezaako oluvannyuma lw’okusangibwa mu biwandiiko bya Global Cryptocurrency nga be bamu ku babadde balinamu emigabo kyokka olukalala luno kyabadde tekinnakakasibwa oba nga ddala lutuufu.
KAGGWA YASOOKA KUKWATIBWA KU BY’OKUFERA ABAZADDE E MASAKA
Omulundi ogwasooka baamukwata ku bigambibwa nti yali afeze abazadde okuwa abaana baabwe bbasale okusoma mu bitundu by’e Masaka n’emiriraano.
Yagambye nti, waliwo Abazungu abajja mu Uganda mu 2012 ne bamutegeeza nti baagala abaana ab’okuweerera ne bamuwa omulimu gw’okubafunira abaana era n’agenda mu bazadde ng’abasaba abaana kyokka oluvannyuma poliisi n’emukwata nga bamuteebereza okubeera omufere era ne bamusiba mu kkomera.
OMUGGUNZI w’eng’uumi Shafic Kiwanuka yayingidde ebyafaayo nga Munnayuganda asoose okusitukira mu musipi gwa Africa mu buzito bwa ‘heavy’.
Kiwanuka ng’awumiza Dube . Ebifaananyi byonna bya Fred Kisekka
OMUGGUNZI w’eng’uumi Shafic Kiwanuka ayingidde ebyafaayo nga Munnayuganda asoose okusitukira mu musipi gwa Africa mu buzito bwa ‘heavy’.
Kiwanuka 25, yaggunze Omuzimbabwe Thamsanq Dube mu lulwana olwabadde ku International University of East Africa e Kansanga n’awangula omusipi gwa WBF Africa Heavy Weight Title.
Kiwanuka ng’alumye ku musipi gwe yawangudde.
Kiwanuka ye Munnayuganda asoose okuwangula omusipi ogusukka eddaala lya Uganda mu buzito bwa Heavy.
Bannayuganda abazze bawangula emisipi gya Afrika oba ogy’ensi yonna babadde bawangula mu buzito bwa wansi.
Mu abalala abaabaddewo ye mutendesi wa Cranes, Johnathan McKinstry, AIGP Andrew Sorowen akulira emizannyo mu poliisi, omuvuzi wa mmotoka Hassan Alwi, Godfrey Nyakana, omuyimbi Ragga Dee n’abalala.
Minisita Frank Tumwebaze ng’ayogerako eri abeetabye ku nguuni eno
Kiwanuka yategeezezza kino kikyali kituuza waakwongera okuwangula emisipi kutuusa lwa lw’anaasitukira mu gw’ensi yonna.
Ebizigo ebikoleddwa mu cukamba ku Prof Bioresearch
CUKAMBA kirime ekiriibwa wano era kitundibwa mu butale wonna, wabula okusinga ayamba okuzimba omubiri olw’ekirungo kya Vitamiini D, C n’eminnyo emirala.
Wabula abasinga bamanyi kuzirya naye ne batamanya nti, osobola okuzikolamu ebintu ebirala okuli ebizigo ebiyamba ku lususu. Kino waliwo abakimanyi nti, ziyamba ku lususu, wabula bazikozesa mbisi ne bazeetimba mu ffeesi. Awo kati ate tuvuddewo ne tukolamu ebizigo by’ogenda okwesiiga.
Jjukira nti, ebizigo abantu bye batera okwesiiga birimu amafuta ga peetulooli ekitali ku bizigo by’okoze mu cukamba.
Wabula era kikulu okumanya nti, omuntu buli ky’oteeka ku lususu lwo wandibadde osobola okukirya kubanga olususu gwe mumwa omunene gw’olina ku mubiri gwo ate ebizigo bino temuli butwa ky’ova olaba nti, bw’onaaba amazzi amabi gasobola okukulwaza naye ate nga toganywedde. ebirungi by’ofuna
1 Ebizigo bino biyamba abantu abalina amaaso agazimba olumu nga gava ku mwenge, puleesa n’ebirala ne bikuyamba okugakkakkanya. 2 Vitamiini C alimu ayamba okulongoosa olususu nga kigoba embalabe, okufuukuuka kw’olususu, asiiyibwa omubiri osobola okukozesa ebizigo bino.
5 Biyamba ku bantu abaatika emimwa ate tebiriimu butwa ssinga omuntu abirya.
6 Bigoba encaaca kubanga bikuuma amazzi mu lususu ne luba nga terusobola kwatikayatika. 7 Bikola ku nviiri okuzikuuma nga nnamu n’okukula obulungi okwo gattako okuzikola amayengo ate nga bigoba situka.
8 Omuntu afuna ebisukko nga bamumwedde ekirevu oba okumusala enviiri bibaziyiza okubutuka.
9 Alina enkanyanya byesiige kubanga bigonza olususu n’otoba na misittale mu ffeesi, mu mbeera eno bikola ne ku bagole okubafumbirira. Weeteekako ekikuta ky’eryenvu ne kisooka kinuuna obutwa mu mubiri kuba kirimu n’ekirungo kya Bromelain olwo ne weesiiga ekizigo kya cukamba n’oyaka. N’atali mugole kikukolera.
10 Gwe baagaana okukozesa Sulphur, weesiige ebizigo bino kubanga tebiriimu Sulphur era bikola bulungi.
11 Abakozesa sabbuuni w’obuwunga ne bookebwa engalo n’okuvunda enjala, weesiige ebizigo bino kikuyamba. N’akaluba engalo byesiige kubanga bizigonza. Jjukira nti ebizigo bino tubikola mu kikuta kya cukamba ate ekimere kyazo kyo kivaamu omubisi so ng’ensigo zivaamu butto.
Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.
LEERO ku Lwokutaano abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga lwe balangirirwa ku mukolo ogunaabeera ku kitebe kya Vision Group etwala ne Bukedde.
Abawanguzi 13 be bagenda okulangirirwa nga ku bano abawangizi 10 be bawanguzi b’ebitundu ekkumi ebyasalibwa mu Uganda okusinziira ku mpaka zino ate abalala basatu baalondeddwa ku mutendera ogw’enjawulo ogussibwawo buli mwaka nga ku luno gwabadde gwa balimira mu bibuga.
Guno mwaka gwa mukaaga ng’empaka zino zitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde ne zissibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y’ennyonyi eya KLM n’ekola emmere y’ensolo n’ebinyonyi eya Koudjis ekiikirirwa KAFIIKA mu Uganda
David Mukholi akwanaganya empaka zino mu Vision Group agamba nti, abawanguzi nga bulijjo anaasinga waakuweebwa obukadde 50, owookubiri 30, owookusatu 20, abalala omusanvu bagabane obukadde 50 ate bonna 13 batwalibwe ku lugendo olusasuliddwa e Budaaki okulambula n’okuyigira ku balimi n’abalunzi baayo.
Mukholi akubiriza abalimi n’abalunzi abatanneetaba mu mpaka zino okwetegeka okwetaba mu mpaka z’omwaka ogujja kuba zigenda kubeerawo ate ng’eby’okufunamu ntoko.
Aba Crypto Currencies banyaze ku bantu bbiriyooni 10
Andrew Kaggwa ku mpingu.
Kkampuni enyaze ssente bbiriyooni 10 ku bantu abasoba mu 1,000 mu Kampala ababadde batwalayo ssente nga bazisuubiramu amagoba mu nkola ya ‘crypto currencies’. Crypto currencies nkola ya busuubuzi bwa tekinologiya.
Abakola bizinensi eno bateekawo ensimbi zaabwe nga Bitcoin, Litecoin. Ogenda eri kkampuni ezitunda n’oteekayo ssente z’olina n’akuwa ekinusu ng’okibaliriddemu ssente ezikigyamu. Kkampuni eyanyaze abantu eyitibwa Global Crypto currencies Ltd, ku Lions Shopping Center ku Namirembe Road.
Agikulira Andrew Kaggwa Kulumba yakwatiddwa ekitongole kya ISO. Ate abakozi be mukaaga, baakwatiddwa poliisi ya Old Kampala, dayirekita omulala mu kkampuni eno Hudson Ntende yadduse.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti baakafuna abantu 100 abaakoze siteetimenti ku poliisi ya Old Kampala nga balaga bwe banyagiddwa ssente zaabwe. Abakozi abaakwatiddwa ye Brian Nkata, Juliet Katatsi, Dorah Lakaraber, Rovinsa Nanyonga, Juscent Na- sakku ne Mercy Kembabazi kyokka baayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.
Kkampuni eno, Kaggwa yagitandika ne mukwano gwe Hudson Ntende n’ayingiza ne mulamu we Shira Nassali. Ntende yadduse ate Nassali eggulo yavuddeyo n’ategeeza nti naye yanyagiddwa obukadde 29 n’endala obukadde 100 ez’abantu be.
Abalala abaanyagiddwa ssente ye Derrick Aryeija eyafiiriddwa obukadde 15 ate nnyina Mary Nakibuuka obukadde 40, mwannyina Samuel Ssengooba – obukadde 10, Noah Tamale – obukadde 35 n’omulala eyategeerekeseeko erya Susan obukadde 15.
Florence Bukirwa naye akolera mu kkampuni eno yagambye nti ezize obukadde 25 zaalugendeddemu. Yagambye nti ali mu matigga olw’abantu be yayingiza okuva mu kyalo ewaabwe e Zigoti ku lw’e Mityana ne mikwano gye be yasoma nabo abassa ssente mu Crypto currencies abamuyita omubbi eyabadde mu kkoba ane oku tw ala ssente zaabwe.
Waliwo ofiisa wa UPDF akolera mu nkambi e Kakiri (amannya gasirikiddwa) eyafiiriddwa obukadde 181. Sumaya Nakaddu akola ku byensasula mu kkampuni eyo yagambye nti kkampuni yatandika mu 2018.
Akamu ku bukwakkulizo kwe baabaweera emirimu kwe kulaga omuwendo gw’abantu buli mukozi b’agenda okusikiriza okussa ssente mu kkampuni. Bwe yabadde ayogera yatulise n’akaaba n’agamba nti talina mirembe, asiiba mu nnyumba alinga musibe n’amasimu ge bamukubira nga bamubanja gamumazeeko emirembe.
“Nnina abantu bangi be nnasendasenda okuyingira kkampuni eno abo bonna obuvunaanyizibwa babutadde ku nze bagamba nze nanyaze ssente zaabwe,” bwe yategeezezza.
Nakaddu yagambye nti bizinensi ebadde ekuze nga balina bakasitoma abasukka mu 1,000 okwetoloola eggwanga lyonna nga bagguddewo n’amatabi amalala 13 okuli e Mukono, Kayunga, Mbale, Mubende, Gulu, Soroti, Masaka ne Kyotera.
Yagasseeko nti babadde basasula buli lunaku era bwe baali batandika baasasulanga obukadde 10 ne balinnya ne batuuka ku bukadde 200 mu myezi ebiri baali batuuse mu bukadde 600 bizinensi n’ekula okutuuka ku bukadde 900 ze babadde basasula buli lunaku. Agattako nti, ebintu byatandise okwonooneka wiiki bbiri eziyise abantu be baabadde balina okusasula obukadde 700 bwe bataafunye ssente zaabwe ne balumba ofiisi ku Namirembe Road nga babanja.
Buli ssente kasitooma z’awaayo abadde asuubizibwa amagoba ga bitundu 40 ku 100.
ENGERI GYE BABBYE ABANTU Annette Irankunda omusawo w’amagye e Bombo y’omu ku babbiddwa. Yagambye nti yataddeyo obukadde 10 ze yeewoze mu Wazalendo SACCO ey’amagye, kuyingira munne gwe bakola naye Sylvia Nagiriinya ye yamusomeramu engeri Global Crypto currencies bw’efuna.
Agamba nti yasooka kutya kubiyingira okutuusa mukwano gwe Nagiriinya bwe yabifunamu ssente n’agula emmotoka, n’agula ne poloti. Yagasseeko nti okuyingira omuntu abadde alina okusasula okuva ku 100,000/- olunaku kyokka osobola okussaayo ezisingawo okusinziira ku busobozi bwo.
Ataddeyo ssente bamusuubiza okumuwa amagoba ga bitundu 40 100 mu nnaku 30. Austin Adife, eyanyagiddwa obukadde 19 yagambye nti, mukazi we akola mu bbanka emu mu Kampala, mu September yamutegeeza nti, akawunti ya kkampuni eyo mu bbanka mw’akolera eriko obuwumbi buna ate kkampuni erina akawunti mu bbanka endala eriko obuwumbi mukaaga.
Kino kyamukakasa nti ebintu bifuna era kkampuni erina omusingi omugumu n’alyoka ateekayo ssente ze. Kyokka ensonda zaategeezezza nti abakulira kkampuni bannyonnyodde poliisi nti okulemererwa okusasula bakasitoma kyavudde ku kitongole kya Gavumenti ekirondoola ensimbi ekya Financial Intelligence Authority (FIA) ekyasibye akawunti zaabwe nga ziriko obuwumbi 10.
Kyokka ensonda mu bbanka zaategeezezza nti obwo bulimba kubanga akawunti za kkampuni okuli mu Centenary bank nnamba 3100058539 n’endala mu Stanbic nnamba 9030015481195, bannannyini kkampuni be baggyeeyo ensimbi.
Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti banoonyereza ne ku bigambibwa nti Kaggwa ne banne baabadde n’ekigendererwa eky’okutabangula ebyenfuna by’eggwanga. Poliisi ya Old Kampala yagguddewo fayiro nnamba GEF 079/2019 kwe bakuhhaanyiza okwemulugunya kw’abaafiiriddwa ensimbi.
Enkola ya crypto currencies erina obuzibu bw’obutafugibwa Bbanka Enkulu. Okugeza mu Uganda, Bank of Uganda ne Gavumenti tebiriimu ekitegeeza nti bwe bakunyaga tolina gye weekubira nduulu wadde Gavumenti okukuliyirira.
MWANA muwala Vinka yeekoze ebintu n’aleka abasajja nga bakuba mimiro n’abalala okwebuuza by’akozesa ennaku zino anti ng’atukula bulala.
Vinka yabadde ku bbaala ya Legends e Lugogo gye yakubidde abaayo emiziki.
Yabadde ku kabaga akaategekeddwa Uganda Breweries kwe yamwanjulidde ng’omubaka waayo ng’etongoza kkampeyini yaayo gye yatuumye, Red Card Campaign.
Waliwo omukozi mu Bell eyalabise nga Vinka amukubye era yasoose kumukwata mu kiwato n’oluvannyuma ne batandika okuzina naye ng’engeri gy’amutunuuliramu, ng’alinga eyeewuunya engeri Mukama gye yamuwundamu ate nga n’eddoboozi lyelyo.
Vinka yayanjuddwa n’abalala okuli kanzannyirizi wa komedi Salvado ne Calvin the Entertainer nga kino baakukitambuza okumala omwaka mulamba.
Era tetwategedde oba ababiri bano baabadde bamanyiganye oba mulimu gwe gubagatta.
JOHN Blaq akikubye ku Freedom City n’aleka ng’abawagizi be beenuguuna n’okusaba anko.
Ono nga tannalinnya ku siteegi, yasoose kubuuza ku bawagizi be. Yajjidde mu mmotoka eyamuyisizza mu bawagizi oluvannyuma n’agibuukamu okulinnya ku siteegi kyokka abawagizi be ne bamusika nga baagala kumukwata bw’atyo n’agenda ng’ababongako kyokka ba kanyama baalabye abantu bongera kumuyiikira ne bamuggyawo n’alinnya ku siteegi olwo enguliko n’etandika.
Yasoose kubakuba ‘Do dodododo dat njagala butter ng’aliko n’omugaati’ olwo enduulu n’evuga n’abaabadde bakyesisiggirizza mu butebe ne basituka ne batandika okuzina ng’eno bwe baleekaana n’okusuuta omuntu waabwe.
Blaq yayimbye ennyimba ze zonna okuli Obubaddi, Sweet Love era ne yeenyiga ne Vinka n’amusitula n’okumusitula olwo n’azzaako Kamotoka luno yaluyimbye ne Iryn Namubiru, Maama Bulamu, Tukonekitinge wamu n’endala nnyingi.
Bakira ayimba bwe yeebaza abantu okumuwagira.
Yawerekeddwako abayimbi okuli Opa Fambo, Suspekt Leizor, Karole Kasita, Recho Rey, Nu York Da Styla, Erik Disk, Pallaso, VIP Jemo, Fresh Kid, Jowy Landa wamu n’abalala bangi.
Twagezaako okwerwanako naye agasajja ne gatusinza amaanyi nga n’enduulu twakubanga tewali atuwulira. Bwe baamaliriza ekigendererwa kyabwe ne bafuluma emmotoka era munnaffe ddereeva agenda okudda teyabasangawo.
Nakiganda
WALIWO enjogera egamba nti, ‘Kwana emikwano mingi naye weesige mitono ddala’. Ku nsi kuno, abantu batono abalumirirwa abalala nga tebalina kigendererwa.
Gw’oyita munno ddala ate y’akulyamu olukwe. Kino kye kyatuuka ku Nakiganda (29) ow’e Luzira annyonnyola olugendo lwe mwe yafunira akawuka ka siriimu.
Annyonnyola bw’ati bwe byajja:
Bwe nnali mu mwaka ogusembayo ku yunivasite mu 2013, omu ku mikwano gyange eyali omufumbo yategeka akabaga k’okubatiza omwana we.
Twasalawo nze ne bannange abalala bana (4) ng’omu y’eyali ddereeva okugenda tujagulize wamu naye. Twasimbula okuva ku yunivasite ku ssaawa ssatu ez’oku makya ne twolekera ku kabaga era ne tutuuka bulungi.
Obudde nga buwungedde, natandika okuperereza bannange okusiibula tudde ku yunivasite kyokka nga ddereeva (muwala munnaffe) ‘atunula kyamuli’.
Oluvannyuma lw’okumwesibako ennyo, yasituka ku mukolo n’ajja tugende. Olwo nno zaali mu ssaawa nga bbiri ez’ekiro, ngenda okulaba nga waliwo abasajja bana abajja ne bayingira emmotoka gye twalimu dereeva n’ayugamba nti nabo baali bagenda gye tudda.
Olw’okuba nti mu mmotoka mwalimu ebifo ebimala, ffenna twasirika nga tetumanyi nti munnaffe yali ku mupango gwe mulala.
Kyokka mu kufuluma, yatuleka mu mmotoka n’agasajja gano ng’atugambye nti k’akomewo.
Mu ddakiika nga ssatu zokka nga yaakafuluma, agasajja gano gaatwefuulira ne gatukaka akaboozi fenna nga bwe twali tusigadde mu motoka.
Twagezaako okwerwanako naye ne gatusinza amaanyi nga n’enduulu twakubanga tewali atuwulira. Bwe baamaliriza ekigendererwa kyabwe ne bafuluma emmotoka era munnaffe ddereeva agenda okudda teyabasangawo.
Ekyewuunyisa ennyo era kwe nsinziira ngambe nti yali mu lukwe, bwe yadda yasooka kuggulawo luggi lw’emabega n’amala n’aluggala olwo n’asimbulirawo nga tatubuuzizza nako nti oba abasajja be nalese mu mmotoka balaze wa!
Twamutegeeza ebyali bitutuuseeko n’atuddamu nga yenna bwabalaata nti ‘ Nga mukiguddeko, lwaki temwerwanyeeko?’’ Nze kennyini nnamubuuza lwaki yatulese era wa gye yali ava n’anziramu nti ye muntu mukulu, waliwo ebibuuzo by’atayanukula.
NZUULA NTI NNINA AKAWUKA
Oluvannyuma lw’ekiseera nga tukomyewo ku yunivasite, nafuna omusujja ogw’amaanyi ate engeri gye nnali nsoma obusawo ku yunivasite, omusujja guno gwanneeraliikiriza ne gumpaliriza okugenda okwekebeza akawuka ka siriimu.
Omusawo olwali okunkebera nga ‘Kamyufu’, ekitegeeza nti ng’omusaayi gulaga nti nnafunye akawuka.
Natya nnyo nga nneebuuza engeri abazadde abansindika okusoma ate gye mbabikira nti banzuddemu akawuka. Nasalawo nfe kisiiri mpozzi ne mbuulirako mikwano gyange bwe twali kuba nabo baali mu katyabaga ke kamu.
Omu ku bannange yangumya nti ekiriwo sikyayinza kukikyusa kyokka, ate ye n’atya okwekebeza.
Wadde nga mu biseera ebyo baali tebagabirawo ARVS, nze nneesabira omusawo azintandikizeewo nga ssaagala kufuna buzibu obwanditataaganyizza emisomo gyange kuba nnali mu mwaka gwange ogusembayo.
Kkoosi yange eya dipuloma mu ‘nursing’ nnagiyita bulungi mu ddaala erisooka era nnali omu ku bayizi abasatu abaasinga ku yunivasite omwaka ogwo.
BAZADDE BANGE MBANNYOGOZA
Mu February wa 2014 oluvannyuma lw’okutikkirwa, nnadda eka ne nsooka nfuna omulimu gw’obusawo.
Bwe waayita omwezi nga ndi ku mulimu, bazadde bange nnabannyogoza n’amawulire gano ag’ennaku nga ndaba sirina bwe nnaamiranga ddagala lyange bulungi nga neekwekereza. Nabuulirako maama n’abitegeeza taata kyokka wadde nga kyabanakuwaza, bombi tebannyega kigambo.
Nasooka ne nfuna omulimu gw’obusawo e Wakiso naye ng’obudde bw’okumira eddagala oluusi bumpitako olw’okukola nga siwummula.
N’olw’okutya abantu abalala okundaba nga nsuubira nti bajja kutandika okumboola.
Kino kyampaliriza okunoonya eddwaaliro eddala erijjanjaba siriimu nsobole okukola ng’obujulizi eri bannange ababeera beetaaga okubudaabudibwa era kati nkola ku Kiswa Health Centre III.
Obubaka eri Bannayuganda bonna
Nkubiriza abantu naddala abavubuka okwegendereza emikwano gye bakola kubanga tomanya kigendererwa kyabwe ate si buli akusekera nti aba akwagala.
Nneebaza omwami wange olw’okumbeererawo kuba ye talina kawuka naye tandekererangako. Nnamunnyonnyola bwe nnyimiridde n’asalawo okugenda mu ddwaaliro ne bamusomesa engeri y’okwekuumamu ng’alina omuntu nga nze.
Mu kiseera kino tulina omwana wa myaka ebiri n’okukyala mu bazadde yakumala dda nga tutegeka kwanjula omwaka ogujja.
Kuno ngattako mukwano gwange Sharifa olw’okunnyamba okuva ku lunaku lwe nnakitegeera nti nnina akawuka okutuusa kati akyanzizaamu essuubi.
Okumu ku kusoomoozebwa kwe nnasanga kwali kuva ku ddagala ery’amaanyi lye nnatandikirako. Bw’oba waakalitandika, ekiro likuleetera ebirooto eby’entiisa, kamunguluze, so ng’era tolina kulimira ng’olidde ennyama.
KKOOTI enkulu ekola ku nsonga z’amaka egobye omusango omulala Jordan Sebuliba 40, gwe yaggulawo ku kitaawe omugagga Mohan Kiwanuka Musisi (69) ng’ayagala amuwe ebimu ku byobugagga.
Kiwanuka. Mu katono ye Ssebuliba.
KKOOTI enkulu ekola ku nsonga z’amaka egobye omusango omulala Jordan Sebuliba 40, gwe yaggulawo ku kitaawe omugagga Mohan Kiwanuka Musisi (69) ng’ayagala amuwe ebimu ku byobugagga.
Kkooti era eragidde Sebuliba okusasula kkampuni ya Visa Investments obuwumbi 6 z’abadde afuna mu byobugagga bya kitaawe by’abadde addukkanya okumala emyaka 10.
Kkooti yalagidde Sebuliba okukola obulungi embalirira y’ebyobugagga bya kitaawe omuli ekifo kya Golf Course poloti nnamba 21-29, okuli Seven Trees e Kololo Sebuliba w’abadde apangisa ne poloti 1758 Busiro Bwerenga Block 413 abyamuke mu bwangu.
Poloti 22 Kanakulya Kaggwa Close FRV KCCA volume 371 ebadde mu musango guno okuli amaka Beatrice Luyiga maama wa Sebuliba, omulamuzi yagambye nti baakola kikyamu okumuyingiza mu musango guno nga gugenda mu maaso, wabula ky’alina okukola kwe kuloopa omusango omulala ogugwe ogwetengeredde okulaba ng’ennyumba bagiggya mu linnya lya kkampuni ya Summit.
Looya Francis Buwule owa Mayiga and Buwule Co. advocates abawandiisi ba Visa Investment yagambye nti Sebuliba abadde yeewaako obujulizi mu biwandiiko by’abadde atwala mu kkooti nti afuna obukadde 600 mu Golf Course kw’amaze emyaka kkumi ng’addukkanyizaako emirimu gye.
Geofrey Namunda, omulamuzi we Kkooti enkulu ewozesa ensonga z’amaka e Makindye yagobye omusango guno ng’agamba nti kimenya mateeka Kiwanuka okukwata ebyobugagga ebiri mu mannya ga kkampuni n’abigabira abaana be. Sebulina ng’ayita mu looya we, Patrick Alunga owa BKA Co. Advocates yaggulawo omusango ku kitaawe Kiwanuka ne kkampuni ya Visa Investment ng’ayagala asigale ng’addukanya ebyobugagga bino n’okumuliyirira ng’agamba y’abadde alabirira nnyina Beatrice Luyiga okuva mu 2017, Kiwanuka gwe yasuulawo mu 1989.
Guno omusango gwakusatu nga Kiwanuka awangula mutabani we. Sebuliba yasaba kitaawe akeberebwe omutwe ng’agamba nti guliko ekikyamu kyokka omulamuzi Musa Ssekaana n’agugoba ng’agamba nti yamwekebejja nga talina buzibu .
Looya wa Kiwanuka Faizal Mukasa owa Fides Co. Advocates, ye yasooka okusaba kkooti egobe omusango guno kubanga tegwali mu mateeka. Omulamuzi Namunda yagambye nti tayinza kuddamu kuwozesa misango egyaggwa edda okuwozesebwa mu kkooti endala.
OMUYIGGO gwa dayirekita w’essomero lya Wamala Mixed S.S agambibwa okusobya ku bayizi be, abeebyokwerinda bagutaddemu amaanyi bwe bakutte mukyala we n’abalala babiri abakola mu ssabo lye.
Amaka ga Wamala mu katono we baggye mukyala we.
OMUYIGGO gwa dayirekita w’essomero lya Wamala Mixed S.S agambibwa okusobya ku bayizi be, abeebyokwerinda bagutaddemu amaanyi bwe bakutte mukyala we n’abalala babiri abakola mu ssabo lye.
Ku Lwokubiri akawungeezi baasazeeko amaka ga Wamala e Buwaali – Nsangi mu Wakiso ne bakwata mukyala we, Harriet Babirye n’omuntu omulala ne batwalibwa mu kifo ekitamanyiddwa.
Baayazizza ennyumba ya Wamala ne babaako bye baggyayo.
Abatuuze b’e Buwaali bwe baategedde nti mukyala wa Wamala akwatiddwa ne bafuna essuubi nti osanga ne Wamala bayinza okumuzuula olw’engeri gye bamwetoolooddemu.
Wiiki ewedde Pulezidenti Museveni bwe yali asisinkanye abakulu mu poliisi, yalagira omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola okukwata Wamala
oluvannyuma lw’okusoma amawulire nga gamuwandiseeko nti yasobya ku bayizi mu ssomero lye.
Kigambibwa nti yasobya ku bayizi abasukka mu 10 wabula abamu ne batya okwogera ng’abayizi babiri bokka be baavaayo ne boogera engeri gye baasobezebwamu nga Wamala abayita okuva mu bisulo byabwe.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti waliwo abeebyokwerinda abaagenze mu maka ga Wamala ku Lwokubiri ne babaako obujulizi bwe bakungaanya ku bimwogerwako.
Onyango yagambye nti baliko bye baakungaanyizza nga bino tebaagala kubitegeeza baamawulire kubanga kiyinza okutaataaganya okunoonyereza kwe baliko.
Yagambye nti mukyala wa Wamala ne gwe baamukutte naye tebalina musango wabula bagenda kuyamba ku beebyokwerinda okuzuula Wamala gye yeekukumye.
“Essaawa yonna Wamala tugenda kumukwata avunaanibwe okusobya ku baana b’asomesa.
OMUSAJJA eyayimbulwa ku kakalu ka kkooti ku misango gy’obutemu, okusobya ku bakazi n’obubbi poliisi ekozesezza kkamera zaayo n’emukwata ng’awambye abakazi abalala basatu ku mudumu gw’emmun
Walusimbi
OMUSAJJA eyayimbulwa ku kakalu ka kkooti ku misango gy’obutemu, okusobya ku bakazi n’obubbi poliisi ekozesezza kkamera zaayo n’emukwata ng’awambye abakazi abalala basatu ku mudumu gw’emmundu. Baker Walusimbi, yayimbulwa mu October omwaka oguwedde oluvannyuma lw’abayambi b’Omulamuzi Yasin Nyanzi okwali Janet Namuddu ne John BoscoHigenyi abaali mu musango guno okubulawo ng’emisango gibulako katono okusalwa. Bano be baalina okuwa engeri gye baali balabyemu omusango okusinziira ku ntegeera yaabwe ey’obuntu n’oluvannyuma Omulamuzi Yasin Nyanzi amusalire ekibonerezo. Baabulawo n’okutuusa kati tebamanyiddwako mayitire era okuwulira emisango kwakuddibwamu. Walusimbi yali yakwatibwa mu 2005 oluvannyuma lw’okuttibwa kw’abawala ba yunivasite abawerako wakati wa 2002 ne 2005 mu kitundu ky’e Ntebe nga baasookakubasobyako. Abawala abaafa kwaliko; Moreno Nalubule eyali asoma S6 ku Makerere College School, Jackline Najjombwe ne Maria Katasi abaali abatuuze b’e Najjanankumbi ku luguudo lw’e Ntebe. Mu mwezi guno, Walusimbi kigambibwa nti yazzeemu emize gye bwe yaggye abawala basatu ku siteegi eriraanye ekitebe ky’eggaali y’omukka mu Kampala abaabaddebalinze emmotoka ezibatwalako e Ntebe n’abanyaga ku mudumu gw’emmundu.Kigambibwa nti, Walusimbi yabadde mu mmotoka ey’ekika kya Toyota Wish UBF 640Vakawungeezi nga yeefudde naye agenda e Ntebe. Omumyuka w’omwogezi wa polisi mu Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti, bwe yatuuse e Sseguku n’akyama mu kafo akeesuddeko akabanga n’abasongamu emmundu n’abagamba bamuwe byonna bye baabadde nabyo n’abatiisatiisa okubatta singa bagamba poliisi. Wabula abawala bano baagumye ne bategeeza poliisi ne bagenda ku kkamera ne balaba abawala basatu nga balinnya emmotoka ya Walusimbi. Owoyesigyire yagambye nti, baalondodde ne ku kkamera endala mmotoka ne bagiraba ng’edda ku lw’e Ntebe bwe baanoonyerezza okuzuula nnannyini mmotoka, yabagambye nti Walusimbi ye yagibaddemu ku lunaku olwo. Yayongeddeko nti, poliisi emaze ebbanga ng’emunoonya kyokka ku Lwomukaaga kyasalidde mu ntamu bwe baamuguddeko ng’adalimba okumpi ne polisi yaCPS mu Kampala ne bamukwata. Owoyesigyire yagambye nti, abawala babiri baakoze siteetimenti.
Laba engeri gy’oyinza okweggyako okwekubagiza ng’olina akawuka ka siriimu
Okuva ku kkono, Winifred Nagawa avunaanyizibwa ku nsonga z’abalina akawuka ka siriimu mu ddwaaliro e Kisubi, Wilson Sekadde ne Florence Nabukeera omusawo ku ddwaaliro lye limu.
Wilson Sekadde kati aweza emyaka 23 yazaalibwa n’akawuka ka siriimu. Agamba nti, eby’okwekubagiza yabivaako n’asigalira kubuulirira Bannayuganda abalina akawuka okumira eddagala lyabwe ng’abasawo bwe babalagira. Kino akkiriza nti, ly’ekkubo lyokka erijja okutuusa bannassaayansi okuzuula eddagala erikawonya libasange nga bakyali balamu.
Annyonnyola bw’akikola: “Eky’okubeera n’akawuka ka siriimu tekinnemesa kubuulirira bantu naddala abavubuka n’okukola emirimu eginnyamba ne bannange tusobole okuwangaala nga tweyagala.
Okulima enva endiirwa kimu ku bye tukolera ku ddwaaliro e Kisubi kuba zino nnungi eri obulamu bwaffe ng’ate bwe tuzeerimira tubeera tukendeezezza ku nsaasaanya ya ssente olwo ezandikozeseddwa ne zissibwa ku birala ng’amata.
Bwe nakizuula ng’abavubuka bangi abalina akawuka ka siriimu bakaaba obwavu ne balemererwa okugenda mu ddwaaliro olw’obutaba na ssente za ntambula, natandika okubayigiriza okukola obulimiro bw’enva endiirwa ne mbayigiriza okuzirabirira ne bazitunda okufunamu ssente ezibayamba okujja mu ddwaaliro.
Nze nsembayo mu baana munaana nnyaffe omugenzi eyabeeranga e Kisabwa mu disitulikiti y’e Bukomansimbi be yazaala. Taata yanyinyonnyola nti, nabalwalirira mu buto ne balowooza nti kivudde ku butayonka oba amata ge bampanga kuba maama olwanzaala n’atabuka omutwe.
Bantwala mu TASO e Masaka mu 1999 ne bakizuula bwe nalina akawuka ka siriimu kyokka taata ne yeesigaliza ekyama kino okutuuka lwe yambuulira mu 2004 nga nsoma ekibiina ekyokusatu. Wadde nali sinnabitegeera bulungi bye yambuulira byantiisa.
TAATA AMBEEREDDEWO
Nneenyumiriza mu kitange kuba ambeereddewo okuva mu buto. Twatandika okugendanga mu TASO buli kiseera era nga nneesungayo caayi ow’amata n’obuugi obwa kyenvu bye baatuwangayo. Wabula okuguma, taata yambuulira nti embeera gye twalimu teyali yaffe ffekka kubanga ne mikwano gyange be twasanganga mu TASO nabo baalinga ffe.
Yankalaatira nti, ekiyinza okunkuuma nga ndi mulamu bulungi kwe kumira eddagala mu biseera ebituufu buli lunaku era yangulira n’essaawa kwe nalabiranga obudde. Nfuna akafuba Mu 2009 nava mu ssomero okumala emyaka ebiri era kata nfe.
Nali mbeera ne jjajja mu luwummula nga tutwala ente ku ttale okuzirunda wabula nga ntya okugenda n’eddagala bannange okundaba nga ndimira ne bansekerera naye kino katono kinzite.
Nze ne taata twali twasalawo okumira eddagala ku ssaawa bbiri ez’oku makya naye ente twazitwalanga ku makya ddala ng’ate tusiibayo bwentyo ne mmira nga nkomyewo. Kye saamanya nti, kino kyali kikosa bulamu bwange era olumbe olwava mu butamira ddagala mu budde kwali kufuna kafuba. Naweebwa obujjanjabi bw’akafuba obwa buli lunaku okumala emyezi munaana ng’ate ne ARV’s kwe zigendera. Abasawo banzigya ku nnyama n’amata.
E Kisubi bann yamba okwekkiririzaamu Nga mmalirizza S4, natendekebwa mu kubudaabuda abantu mu kitongole kya Health Nest Uganda e Ntebe ng’eno nasuzibwa omuzirakisa, Edward Kafeero okutuusa okutendekebwa lwe kwaggwa era n’ansabira ku ddwaaliro e Kisubi okugezesebwa.
Olw’enkola yange ennungi mu kubudaabuda abavubuka ab’eddwaaliro lya Kisubi bansigaza ne bampa n’omulimu. Kisubi yakyusa obulamu bwange kuba nakwasibwa bavubuka ne nyanguyirwa okweyabya era ne tusobola okwebuuliriranga mu buli omu ky’ayitamu.
Abambudaabudanga emabega baali baakisa naye enjawulo y’emyaka teyahhanyanga kubabuulira buli kimu ekyantawaanyanga nga bwe nasanga ebibiina by’abavubuka e Kisubi. Enjawulo ebeera nnene ng’osanze abantu ab’emyaka gyo kubanga mubeera temwetya nga bwe kibeera ku muntu akusinga.
Emirimu gy’akola Ndi omu ku b’ebibiina ebitalaaga ebitundu bya Kasanje, Nakawuka, Bwerenga n’emyalo egiriraanyeewo nga tusomesa abavubuka ebifa ku siriimu.
Eno gye natandikira okukola obulimiro bw’enva endiirwa ne mbulaga abavubuka n’engeri y’okubulabirira basobole okulyako n’okuggyamu ssente. Nkubiriza abavubuka okussa essira mu kumira eddagala lyabwe mu biseera ebituufu tuziyize akawuka okusaasaana. Abatannakwatibwa kawuka mbasaba kwongera kwekuuma kubanga obulamu bw’okumira eddagala si bwangu.
Nteekateeka okuddayo nsomerere dipuloma mu kubudaabuda naye ssente tezinnalabika. Nnina essuubi ery’okuwasa nzaale n’abaana abalamu nga mmalirizza okusoma.
Nafuna omwagalwa gwe nannyonnyola ebinkwatako wadde nga ye omuwala talina kawuka. Abasawo baamunnyonnyola kye kitegeeza n’engeri gy’obeera ne munno ng’alina akawuka n’otokafuna era n’amalirira okubeera nange.
Okulwann yisa akaw uka e Kisubi Winfred Nagawa, akulira okubudaabuda abantu mu ddwaaliro e Kisubi agamba nti ekiyinza okumalawo okutambuza akawuka ka siriimu ye muntu ssekinnoomu okwekebeza n’amanya bw’ayimiridde.
Okuva mu April 2018, eddwaaliro lyatandika entegeka ey’okukyalira abantu mu maka gaabwe nga babasaba okubakebera. “Kino twakikola tumaze okutegeera nti, ne bw’olanga ku mizindaalo abatya okubakebera era tebajja y’ensonga lwaki ffe tubasanga wuwe ne twogera naye nga tali mu lwatu,” Nagawa bw’agamba.
Annyonnyola nti, oluvannyuma lw’okukolera awamu ne ba VHT’s abali mu byalo bino, abantu bangi beeyunidde okwekebeza ne batandika n’eddagala. Enkola y’okukebera abeembuto abagendayo okunywa eddagala nayo eyambye kinene kubanga abakyala abasangibwa n’akawuka abasawo balondoola babbaabwe ne babakebera era ne batandika eddagala kyokka nga bakozesa obukodyo bungi omuli n’okubasanga ku malwa ne baboogereza.
Medical Clinical Officer wa Kisubi Hospital, Florence Nabukeera mwennyamivu olw’abakyala ab’embuto abamala okukeberebwa ate ne bagayaala okumira eddagala ekivaako okusiiga abaana baabwe akawuka. “Tufuna obulumi bungi ssinga omu ku baana baffe afuna akawuka omulembe guno ng’ate buli kimu tumaze okukinnyonyola maama,” Nabukeera bw’agamba.
Twa yongeza ku budde bw ’okulabira ko abant u Dr. Robert Asaba, akulira eddwaaliro lya Kisubi: Kyandibadde kirungi buli muntu waali amanye bw’ayimiridde ku kawuka ka siriimu kimuyambe okutandika amangu ku ddagala erikaweweeza ssinga asangibwa ng’akalina, ate atalina n’ayongera okwekuuma.
Y’ensonga lwaki twayongerayo ku ssaawa ze tukolerako ku bantu mu kitongole ekikola ku ba siriimu okutuusa ku ssaawa bbiri ez’ekiro ate nga ne ku Lwomukaaga ne Ssande tubeerawo.
Benedict Male, omusawo ate abudaabuda mu ddwaaliro e Kisubi: Sekadde atuyambye okuggyayo bangi ku bavubuka abaazaalibwa n’akawuka ka siriimu ababadde beetya nga balowooza nti, ensi yakoma.
BANNASSAAYANSI bongedde obuyiiya mu bujjanjabi, okutangira n’okuwonya akawuka ka siriimu. Mu nsi yonna, abantu 37,000,000 be balina akawuka ka siriimu naye ekyennyamiza, abantu 27,000,000 kw’abo bali mu Afrika.
Moses Nsubuga, omu ku bavunaanyizibwa okuvvuunula bannassaayansi bye bavumbudde mu kunoonyereza ku ddagala lya siriimu agamba nti, “Twagala okulaba nga tufuna eddagala eriwonyeza ddala siriimu olw’ebizibu bye tuyitamu nga tuli ku ddagala eriweweeza akawuka.
Kuba tetusobola kwegulira ddagala ate lituyisa bubi. Ndimiridde emyaka 25, ebbanga eryo ddene naye buli lwe ndimira, olubuto lunneegugunga nsibira ku kaabuyonjo era ndimira ngiriraanye. Mu kiseera kino, twagala eddagala eriwonya siriimu kuba okunoonyereza kubadde kugenda mu maaso mu nsi yonna.
Wabula kituwa essuubi okulaba nga mu kiseera kino, Afrika naffe tutandise okwetaba mu kunoonyereza ku ddagala eriwonyeza ddala akawuka ka siriimu. Mu Uganga, tulina ebifo mukaaga ebyetabye mu kunoonyereza ku ddagala eriwonya siriimu omuli Baylor Uganda e Mulago, The Makerere University – Johns Hopkins University Research e Mulago (MUHJU), Joint Clinical Research Centre (JCRC), Rwakai ne Makerere University Walter Reed Project.
Mu Uganda okunoonyereza kwe basookeddeko, kwe kulaba oba nga tusobola okuwonya abaana naddala abazaalibwa n’akawuka ka siriimu kuba kyazuulibwa ng’abaana abazaalibwa n’akawuka ne bateekebwa mangu ku ddagala basobola okuwonyezebwa. Okunoonyereza kuno kugenda mu maaso ku ddwaaliro lya Baylor Uganda ne MUHJU.
Joint Clinical Research Centre, Makerere University Walter Reed Project nabo bakola ku ky’okulaba ng’abantu bateekebwa ku ddagala eriweweeza amangu ddala nga kaakabakwata nga tebannasussa emyezi ebiri oba esatu nga kino kiyinza okuyambako mu kubawonya akawuka ka siriimu kuba kabeera tekannasensera mu butoffaali kuleeta buzibu.
Wabula, abantu balina okusomesebwa nti n’eddagala eriwonya bwe linaazuulibwa, balina okusigala nga bakozesa kondomu. ENKOLA Y’OKUSIMBULIZA OBUSOMYO Francis Kiweewa, munnassaayansi okuva mu kitongole ekinoonyereza ku kawuka ka siriimu ekya Makerere University Walter Reed Project annyonnyola nti, eddagala eriwonya siriimu terinnazuulibwa.
Wabula mu nsi yonna, omuntu omu yekka ye yaakawonyezebwa akawuka ka siriimu nga w’e Bugirimaani. Yalina siriimu ne kookolo era baamuwonya bakozesa enkola y’okusimbuliza obusomyo okusobola okuvumula kookolo n’awona ne siriimu mu kiseera kye kimu.
Omwaka oguwedde, waliwo lipooti endala eyafulumizibwa ng’eraga nti, waliwo abantu babiri abalala abaafuna siriimu ne kookolo ne babajjanjaba mu ngeri y’emu era ebyavaamu biraga nti, omu ku bo ow’e Bungereza, yaakamala emyezi 22 ng’akawuka tekakyalabika mu musaayi ate nga tali ku ddagala.
Ate owookubiri yaakamala emyezi munaana ng’akawuka tekalabika mu musaayi. Ababiri bano batuwa essuubi nti, oboolyawo bandiwona siriimu naye tetusobola kugamba nti bawonye mu kiseera kino.
Dr. Muwonge ng’alaga kondomu ey’akapale.
EDDAGALA ERIGEMA SIRIIMU
Waliwo okunoonyereza okugenda mu maaso ku ddagala erigema siriimu mu Afrika era ng’ebika bisatu bituuse ku mutendera ogw’okusatu. Waliwo essuubi nti, oba olyawo tujja kufuna eddagala lye tuyinza okukozesa okuyambako mu kugema omuntu n’atakwatibwa kawuka ka siriimu.
Okunoonyereza kuno naffe twakwetabamu naye ku mutendera ogwokusatu tetwalimu. Kati tulindiridde binaavaamu era mu bbanga eritali lya wala, tujja kufuna eddagala erigema siriimu. Okunoonyereza ku ddagala erigema akawuka ka siriimu mu Uganda mu biseera bino si kungi wadde ng’emabega tubadde tukwenyigiramu.
Olwaleero abantu abafuna akawuka ka siriimu, bakend- edde ekitegeeza nti okunoonyereza ku ddagala erigema siriimu kujja kuba kutwala ebbanga ddene ne ssente nnyingi okulaba ng’eddagala eryo likola oba nedda ate nga tetulina busobozi bumala.
Y’ensonga lwaki okunoonyereza okusinga kati kukolebwa South Afrika. Empiso erimu eddagala eriweweeza ku siriimu Dr. Kiweewa agamba nti, eddagala eriweweeza ku kawuka mu kiseera kino lye tulina lya mpeke (ARV’s).
Kyokka mu kunoonyereza okugenda mu maaso, waliwo eddagala erigatta ebika bibiri nga lya mpiso nga lyakolebwa n’ekigendererwa ky’okuyambako abantu abalina akawuka abatasobola kumira mpeke nga buli mwezi, ofunayo ddoozi emu. Wabula lino likyanoonyerezebwako nga liri ku mutendera ogwokusatu.
Era ku bimu ku byalangiriddwa ebyavudde mu kunoonyereza, biraga nti abaweebwa eddagala lino ery’empiso basobola bulungi okusigala ng’akawuka kaabwe tekalabika mu musaayi okumala wiiki 96 nga balitandise.
Eddagala lye limu lye ligezesebwa ne mu nkola ya Prep okulaba nti mu kifo ky’okumira empeke buli lunaku, osobola okufuna empiso emu buli luvannyuma lwa myezi ebiri.
Empiso ya Post Exposure Prophylaxis (Prep) Prep’ tulikozesa okuziyiza omuntu okufuna akawuka ka siriimu naddala abo abali mu katyabaga k’okukafuna omuli: abakazi abeetunda, baddereeva n’abantu abatambula ehhendo empanvu, abali mu bufumbo ng’omu alina akawuka omulala talina oba be bakase akaboozi k’ekikulu.
Akozesebwa okuziyiza omuntu atalina kawuka ka siriimu obutafuna kawuka era ng’eddagala lino alimira buli lunaku. Okufuna ‘Prep’, basooka kukukebera musaayi okulaba oba tolina kawuka ka siriimu, kuba bw’oba okalina obeera weetaaga kukozesa ddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu (ARV).
Bw’oba tokalina, bakukebera n’ebirala okuli; ekibumba n’ensigo okulaba nga bikola bulungi. Eddagala eppya erikozese bwa mu kujjanjaba siriimu Dr. Kiweewa annyonyola nti, eddagala lya TAF muganda wa TDF naye nga lyo lirongooseemu kyazuulibwa nga bwe balikozesa, likosa ensigo n’amagumba kubanga likendeeza ebirungo ebigumya amagumba ekigasebbuula ekyavaako okulirongoosaamu ne baleeta erya ‘Taff’. Wabula wakyaliwo okunoonyereza ng’ebitongole byongera okugerageranya ebikolo ng’enkola y’akaweta eweebwa ebbaluwa okusobola okuteekebwa mu bantu.
l Kondomu y’abakyala ey’akapale: Dr. Moses Muwonge, okuva mu Samasha Medical Foundation agamba nti, bali mu nteeseganya okulaba nga kondomu zino abantu batandika okuzikozesa okusobozesa abakyala okwerinda endwadde z’ekikaba n’embuto ze bateeyagalidde.
Annyonnyola nti, mu kiseera ekitali wala, bagenda kuwandiika abakyala abaneetaba mu kugezesa kondomu enoolwo balyoke batandike okuzigabira abantu.
l OraQuick HIV Self-Test kit:
Gye buvuddeko, gavumenti yatongozza akuuma akakebera siriimu nga kakozesa malusu ng’emu ku nkola ennyangu esobola okusikiriza abantu okwekebera akawuka ka siriimu nga bali waka waabwe era bwe bakizuula ng’okeetaaga, bakakuwa ku bwereere. bivudde ku p13 by’eddagala bino byombi ‘Taff’ ne ‘TDF’ mu ggwanga okulaba ekinaakola.
Eddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu Mu Uganda, abantu abalina siriimu abasinga obungi bali ku ddagala era ng’akawuka bwe babakebera mu musaayi tekakyalabika naye tekitegeeza nti, akawuka kaweddemu. Emu ku nkola ezikozesebwa kuliko:
l Akaweta akassibwa mu bukyala:
Okunoonyereza ku kaweta kano kulaga nti, kasobola okutangira abakyala okufuna akawuka. Mu kiseera kino, ekitongole kya European Medicine Agency kikyekebeggya ebyava mu kunoonyereza n’engeri gye byakolebwamu okulaba
NAMAYANJAAba St. Benedict beesunga kivvulu kya Toto
Nampiima (ku kkono) bwe yabadde akyadde ku ssomero lya St. Benedict e Nansana eggulo.
AB’ESSOMERO lya St Benedict Junior School Nansana abaawangula obukadde obubiri mu kivvulu kya Toto Christmas omwaka oguwedde bakomyewo ate nga beesunga kwongera kuliisa balala kakanja.
Grace Nampiima omukuhhaanya w’akatbo ka Toto era avunaanyizibwa ku kivvulu kya Toto ekitegekebwa buli mwaka e Namboole ekinaabaawo nga December 8, yakyaddeko ku ssomero lino eggulo okutwalira abayizi obutabo bwa Toto. Baamukakasizza nti ku luno bakomyewo na bukodyo bupya era abaneetaba mu kulwanira obukadde obubiri babeerinde.
Nampiima yawerekeddwaako ttiimu okuva mu Vision Group era nga baagabidde abayizi bonna obutabo bwa Toto omuli obuboozi obuwadiikiddwa mu ngeri esikiriza abato okubusoma.
Bano okumanya ekivvulu kino kibali ku mutwe n’okulaga nti kya byafaayo gye bali, baawandiika ebigambo nti, “Bukedde Tv Toto Festival 2018” ekimu ku biraga nti ekivvulu kino bakyesunga era beetegefu okukyetabamu buli mwaka.
Benedict Nganda omutandisi w’essomero lino yagambye nti olw’essanyu lye baafuna nga bawangudde empaka ezaasooka, baasalawo ebigambo okubiwandiika buli muntu w’asobola okubiraba n’okulaga obuwagizi bwabwe eri Vision Group. Wano we yakungidde abazaddde bonna okutwala abaana baabwe mu bungi.
Yayongeddeko nti ensimbi ze baawangula omwaka oguwedde baazikozesa okugula obutoffaali bw’omulujja okugoba ebisooto n’okulinyisa omutindo gw’obuyonjo mu bayizi era eno y’ensonga eyabawaliriza okuwandiikako ebigambo bya ‘Bukedde Tv Toto Festival’. Nampiima yeebazizza Nganda n’essomero lyonna olw’okukozesa obulungi ensimbi ze baawangula ng’ekirabo era n’amusaba okwongera okukuuma omutima ogwo n’enkolagana eyassibwawo.
Yasabye n’amasomero amalala okuvaayo geenyigire mu kwolesa ebitone basobole okwewangulira omudidi. Ekivvulu ky’omwaka guno kissiddwaamu ensimbi aba DStv ne GOtv, Mirinda, The Food Hub, Indomie Instant Noodles, Splash Nira ,Toto ne Vision Group.
Patrick Alunyu (ku ddyo) ng’annyonnyola omulamuzi Stella Amabirisi (ataddeko gaalubindi) bwe baabadde ku poliisi ya CPS.
OMULAMUZI wa kkooti ya Buganda Road awaliriziddwa okulambula akaduukulu ka poliisi ku CPS okukakasa embeera abasibe gye balimu. Yabadde awulira omusango gwa munna FDC Ingrid Tulinawe avunaanibwa okukuba abaserikale. Omulamuzi Stella Amabirisi yasoose kutuuza kkooti ku Buganda Road, omuserikale Patrick Alunyu n’alumirizza Ingrid nti yamuyiira amazzi mu ffeesi ne mu kifuba bwe yali yeekalakaasa olw’okumugaana okulaba abasibe abaali bakwatiddwa olw’okukuba omulamuzi akacupa k’amazzi ku mutwe. Alunyu yannyonnyodde omulamuzi nti nga August, 4, 2019 bwe yali mu ofiisi ye yawulira akavuvuhhano mu kifo abantu we bayingirira era okufuluma ebweru n’alaba Ingrid nga akutte akacupa k’amazzi aleekaanira waggulu. Olwamubuuza ogubadde yamuyiira mazzi mu ffeesi ekyayongera okusannyalaza emirimu ku poliisi kubanga abantu baali tebakyasobola kuyingira kulaba basibe baabwe yadde okuloopa emisango. Kino kyawaliriza omulamuzi Amabirisi okusitula kkooti n’agitwala ku poliisi okumulaga ebyaliwo era bwe baabadde bamunnyonnyola Ingrid kwe kuwogana nga bwe baamusibira mu kaduukulu omuli n’abasajja. Omulamuzi yalagidde baggulewo obuduukulu alabe gye basibira abasajja n’abakazi aba poliisi kye baakoze ne kikakasibwa nti tebasibirwa mu kaduukulu kamu. Ingrid yabadde awolerezebwa looya Erias Lukwago era nga yagezezzaako okukuba ebituli mu bujulizi bw’oludda oluwaabi. Kigambibwa nti Ingrid yakuba abaserikale n’abatuusaako obulabe era ne yeeyisa mu ngeri ensiiwuufu bwe yali ku poliisi ya CPS
Yagambye nti ekika kintu kikulu kubanga kigatta abantu ba Kabaka kyokka ne yeennyamira olw’abeegaana ebika byabwe.
Yagambye nti okwegaana ebika kijja kwongera okwonoona empisa nga buli omu ky’ayagala ky’akola awatali kukwatibwa nsonyi.
Yasabye Abaganda okufuba okutumbula ennono nga bayita mu bika byabwe kubanga ekitiibwa kya Buganda kyongera okututumuka ng’obuwangwa n’ennono bikuumiddwa. Yabadde mu maka ga Muhammad Kanoonya ng’ono ye mubaka we mu Ssaza ly’e Kyaggwe e Kiyiribwa mu ggombolola y’e Kimmenyedde e Mukono.
Ekivvulu kya Toto Festival kyongeddwaamu ebinnonoggo
Abooluganda Esther ne Ezekiel abagenda okusanyusa abaana.
EKIVVULU ky’abaana ekya TOTO Christmas Festival e Namboole ku luno kinyuvu nnyo. Esther Mutesasira ne Ezekiel Mutesasira abaawangudde empaka za “East Africa has Talent” be bagenda okuyimbira abaana nga bali n’abazadde. Ekivvulu kijja kubaawo ku Ssande nga December 8, 2019 e Namboole.
Kino kye kivvulu ky’abaana ekisinga obunene mu Uganda yonna era kitegekebwa kkampuni ya Vision Group efulumya New Vision. Kiyitibwa Toto olw’akatabo k’abaana aka Toto akafulumira mu New Vision buli Lwakusatu ne ku Ssande.
Abayimbi baategeezezza nga bwe beetegese okusanyusa bato bannaabwe nga babayimbira ennyimba za Ssekukkulu (Christmas carols). Grace Nampiima omukuhhaanya wa Toto Magazine yategeezezza nti abayimbi abalala kuliko Paasita Wilson Bugembe ne Fresh Kid.
Okuyingira osasula 10,000/- nga kwe kuli abaana okwetaba mu mizannyo nga “bouncing castles”, swimming pool n’okutonaatona abaana (face painting). Ekivvulu kirimu n’okuzuula ebitone ebyenjawulo mu baana era bajja kuwangula ssente obukadde bubiri.
Emiryango gyakuggulwawo ku ssaawa 1:00 ku makya ate ekivvulu kikomekkerezebwe ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo okusobozesa abaana okuddayo eka nga bukyali……
Ntaganda yakwatiddwa mu kiro ekyakeesezza ku Mmande ku ssaawa 7:00 ng’azzeeyo ku bbaala okulaba ku muganzi we Grace Mugisha.
Ntaganda eyakwatiddwa
MANEJA w’ebbaala agambibwa okubba 4,800,000/- n’ebintu ebikalu n’adduka bamukutte azzeeyo kulaba ku muganzi we mu matumbibudde.
Brighton Ntaganda abadde maneja ku bbaala ya Just Life Bar esangibwa e Mulago ku luguudo lwa Mawanda gwe balumirizza okubba ssente zino n’ebintu okwali ttivvi oluvannyuma n’adduka.
Nnannyini bbaala Moses Ntambi yaloopa omusango ku poliisi y’oku Kaleerwe oguli ku fayiro nnamba SD REF:28/12/11/2019.
Ntaganda yakwatiddwa mu kiro ekyakeesezza ku Mmande ku ssaawa 7:00 ng’azzeeyo ku bbaala okulaba ku muganzi we Grace Mugisha.
Ntaganda mu kwewozaako yagambye nti ebimwogerwako si bituufu wabula yakola loosi ya mitwalo 70 we yasinziira okudduka olw’okutya mukama we ng’era mu kugenda talina kintu kikalu kye yatwala.
Ntambi yagambye nti Ntaganda amaze omwaka mulamba ng’amukolera wabula nga ssente zirudde nga zibula nga tebamanyi azitwala kuba Ntaganda abadde amwesiga nga tamusuubira kumubba.
Yagasseeko nti Ntaganda bwe yamala okubba yadduka bwe baamukutte baazudde nti waliwo ne ssente endala z’azze abba ku bakasitoma abasasula okukolera emikolo mu kifo kino.
Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera poliisi Edward Ochom ye yasabye abantu ku mukolo gw’okutongoza ennaku16 ezikwata ku kulwanyisa ebikolobero ebituusibwa ku bakazi n’abaana abawala.
Ochom ng’alamusa omubaka wa Sweden Per Lindgarde ku mukolo gw’okulwanyisa okutulugunya abakazi n’anaana abawala.
POLIISI esabye abantu ababa batuusiddwako ebikolobero ng’okutulugunyizibwa balondoole emisango gyabwe. Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera poliisi Edward Ochom ye yasabye abantu ku mukolo gw’okutongoza ennaku16 ezikwata ku kulwanyisa ebikolobero ebituusibwa ku bakazi n’abaana abawala. Yagambye nti ekisinze okulemesa emisango egyekuusa ku kutulugunya n’okulinnyirira eddembe ly’abakazi okugenda mu maaso be babeera batuusiddwaako ebikolobero bino okulemererwa okugirondoola ne bazuula okunoonyereza we kutuuse. Yagambye nti wadde poliisi erina okusoomoozebwa yasobola okutwala emisango 1,396 mu kkooti abaagyenyigiramu ne bavunaanibwa.
Abasuubuzi bayiye emmaali ku kkubo mu Kampala n’ebibuga ebirala okulembeka ku ssente wabula ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo kirabudde ku biyiseeko ennaku ne kw’obirabira
Ebimu ku bintu ebiyiibwa ku kkubo ennaku zino omuli n’ebyokulya
Bya Herbert MusokeLayisi agula buwanana! Kino kitegeeza nti, oyinza okulowooza nti okekkereza ng’ogula ebya layisi wabula n’omaliriza ng’okisasulidde buwanana nga wejjanjabisa oba mu nsaasaanya.
Ekikuubo kijjudde buli kintu kye weetaaga mu bulamu
Mu kaseera k’ennaku enkulu naddala Ssekukkulu, buli muntu abeera mu keetalo okwegulira ku by’essava n’ebyokwambala si kulwa ng’abeera omusiiwuufu ku mazaalibwa ga Yesu n’okwekulisa okumalako omwaka. Wano abasuubuzi nabo babeera mu keetalo okwetikkulako ebyamaguzi byabwe ebibadibiridde naddala nga babiyiwa ku nguuso mu Kampala n’ebibuga ebirala mu Uganda. Wabula waliwo amaloboozi ag’enjawulo agava mu nsonda ez’enjawulo nga galaga ng’ebyamaguzi bino ebiyiibwa ku nguudo ne bitundibwa layisi bwe bibeera eby’omutindo ogwa wansi so nga n’ebirala bibeera biyiseeko ennaku.Abaguzi tulina okussaayo omutima. Muhammed Mulwanyi, akulira ekitongole ekirwanirira eddembe lya bakasitoma abagula ebyamaguzi mu Uganda, ekya Uganda Consumers Protection Association, agamba nti, wadde nga gavumenti n’ebitongole ebikwasisa amateeka bye birina obuvunaanyizibwa bw’okukuuma omutindo, obuvunaanyizibwa obusinga buli ku ffe ababigula.1Genderera w’ogula: Ssinga ogula ekintu awantu awakyamu, emikisa mingi okubeera ng’oguze ekintu ekikyamu. Noolwekyo olina okwegendereza w’ogula nga ssinga ofuna obuzibu osobola okuddayo ne bakukyusiza ne bakuwaamu ekirala.2.Funa lisiiti: Lisiiti ekuweebwa ng’oliko ekyamaguzi ky’oguze y’endagaano wakati wo aguze n’akuguzizza nti, ssinga kibeerako ekizibu kyonna, obeera osobola okuddayo ew’omuntu oyo n’ofuna okuyambibwa era bwe bukakafu nti omuntu oyo ky’akuguza naye akyekakasa.
Bano batunda ngoye za basajja
Obuvunaanyizibwa businga ku muguzi Godwin Bonge Muhwezi, omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyamaguzi mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS), agamba nti abaguzi balina okumanya nti obuvunaanyizibwa obusinga mu kukuuma omutindo gw’ebyamaguzi bye baagala okugula buli mu mikono gyabwe nga bagula ekyo kye bamaze okukakasa nti ddala kye kisinga. “Ng’ekitongole tufuba okulaba nga tulondoola n’okukwata bonna abeenyigira mu kutunda ebyamaguzi ebitatuukanye na mutindo wabula tetusobola kubeera buli wamu era tusaba abantu abagula n’okukozesa ebyamaguzi bino okutubagulizaako tusobole okukola ku bantu abo”, Bonge bw’agamba. Alabula abaguzi bulijjo obutatunuulira kusalirwa ku miwendo kyokka, wabula balowooze ku mutindo n’obulungi bw’ekyamaguzi kye bagula kuba wadde ekitongole weekiri naye ggwe okozesa ekyamaguzi ekyo era obulabe bwonna obukivaamu bukosa ggwe butereevu. Ebyamaguzi ebisinga okuyiibwa ku nguudoBonge agamba nti, mu kiseera kino buli kyamaguzi kiyiibwa ku luguudo kuba abantu babeera balina ssente nga baagala kugula wadde nga waliwo ebisinga okubeera eby’obulabe buli muntu by’alina okwegendereza.1. Ebyokulya: Bino bya bulabe kuba bikosa butereevu obulamu bw’omuntu abiridde nga bisobola n’okuvaako okufa. Nookwekyo nga tonnabigula kubigabira bantu bo, beera mwegendereza okakase nti bya mutindo mutuufu.Muno mubeeramu bisikwiiti, emigaati, sooda, amakolooni, butto, obunzaali n’ebirala nga bino emirundi egisinga bisalibwa bbeeyi era abamu babissa ku mmotoka ne batambula ngababiyimba.2.Ebyamasannyalaze: Ebyamasannyalaze nabyo bimu ku bintu mu Uganda ebisinga obutayita ku mutindo ogussibwawo ekitongole okukakasa nti, abantu bagula ekisinga. Nookwekyo wandibadde ogula ebyamasannyalaze mu dduuka erimanyiddwa kuba ssinga ogula by’oteekakasa bisibola okuvaako ennyumba yo okukwata omuliro n’esaanawo oba n’abantu okusirikkiramu. Weewale okugula ku batembeeyi n’abatundira ku mbalaza kuba bano tolina ngeri gy’ogenda kuddamu kubafuna ssinga ofuna ekizibu n’ekyamaguzi kyonna ky’oguzeewo.
Omukungu wa UNBS nga yeekebeggya ebyamaguzi mu dduuka okulaba nga biri ku mutindo
Abasuubuzi babeera baagala kweggyako sitooka enkaddeSamuel Muyomba, omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuuubuzi mu Kikuubo awagambibwa okuva ebyamaguzi ebisinga obungi agamba nti, ekituufu abasuubuzi babeera ne sitooko oluusi ebeera egenda okuggwaako ng’ebuzaako emyezi mitono ne basalawo okukyeggyako mu kiseera kino. Mu ngeri y’emu eri abatunda ebyokwambala, batunda misono ate nga gino gitera okutambulira ku myaka ng’omwaka ssinga guggwaako ng’okyalina emisono emikadde, kitegeeza tewali agenda kugula nga kye bava basalawo okuyiwa engatto, empale, amasaati, emisipi n’ebirala ate ne babisala bbeeyi bisobole okugenda waakiri aggyemu ze yassaamu. Ono agamba nti, ebyamaguzi ebiyiibwa ku nguudo tebiva mu Kikuubo wokka kuba waliwo n’abasuubuzi ababeera babitutte naddala mu supamaketi ne bitatambula ne babizza basobole okuggyamu ze bassaamu nga babisuubula. Bonge owa UNBS agamba nti, ebyamaguzi bino biva mu bifo eby’enjawulo omuli amaterekero amanene (warehouses) agasangibwa mu bifo ebitali bimu nga Ntinda, Industrial area n’awalala. Eno abasuubuzi batwalayo ebyamaguzi byabwe ne bituuka okuyitako nga tebutwaliddwa.Ebyamaguzi biyisibwa unbsJohn Kalanzi, omusuubuzi ku Mukwano Arcade mu Kampala agamba nti, tewali kyamaguzi kituuka mu maduuka ga basuubuzi nga UNBS tesoose kukikkiriza kuyingira ggwanga kuba babeerawo ku nsalo we biyita okusooka okubyetegereza. “Lwakuba abantu baakikwata nti, buli kiyiibwa ku luguudo kibeera kikyamu! Naye ebyamaguzi bino bibeera bituufu ng’abasuubuzi baagala kwetaasa mu kaseera ako ate abaguzi abamu batya ebizimbe n’amaduuka ng’okusanga ekyamaguzi ku kkubo kimwanguyira okukigula okusinga mu dduuka”, Kalanzi bw’agamba.
Abasuubuzi mu katale mu Kampala
Obukoddyo bw’okubitunda1. Okukyuusa ennaku: Okusinziira ku Bonge, abasuubizi abamu bakyusa ennaku ezirambika ebyamaguzi bino nti biweddeko. “Tuzze tukola ebikwekweto era tugenda kwongera okukwata abantu bonna abeenyigira mu muze guno kuba tufuna okutemezebwako bambega baffe”, bw’agamba.2. Okubifuula ebikadde: Kino kisinga kukolebwa ku ngatto kuba abaguzi abasinga baakoowa engatto empya nga bagamba nti, tezibeera za mutindo nga bettanira nkadde. Wano abasuubuzi bakwata engatto empya ne baziyiwamu obuwunga n’okuzikuuta soole zirabike ng’enkadde.3. Okukyusa ensiba: Waliwo abamu abagula ebissibwamu ebyamaguzi bino ebipya olwo ne baddamu okubisiba bupya ne birabika ng’ebipya so nga bikadde era bivundu. 4. Okubisala ebbeeyi ekisusse: Osanga ebintu ebibadde biseerebwa nga bitundibwa ku bbeeyi etekkirizika esika abaguzi naawe n’ogula, ogenda okukikozesa mu nnaku ntono nga kyonoonese. Bonge akubiriza abantu bonna okubeera obulindaala n’okutemya ku kitongole kya UNBS nga baliko kye beekengedde oba omusuubuzi gwe balaba ng’abaguza ebyamaguzi ebitali ku mitindo ku nnamba eteri ya kusasulira 0800133133.
Emisolo Gavumenti gye yassa mu bajeti gigiremye okufuna
Keith Muhakanizi
OMUSOLO ogwassibwa ku ‘Mobile Money’ mu bajeti y’omwaka guno gwe gumu ku misolo egitadde Gavumenti mu kattu olw’okulemwa okukuhhaanyamu ssente ze baali basuubira.
Emisolo emirala egireese eddibu mu bajeti nga gikyaganyi okuvaamu ssente Gavumenti ze yali esuubira kuliko; ogwali ogw’okusoloozebwa ku bizimbe ebipangisibwa, emisolo ku by’okunywa nga waragi ne bbiya, ku bakuba amasimu n’emirala.
Kyategeezeddwa nti omusolo Gavumenti gwe yassa ku waragi teguleese ssente nga Gavumenti bwe yali esuubira olw’okuba yawera waragi w’obuveera abamunywa ne bamuvaako ng’afuuse wa buwanana. Kino kirese Gavumenti mu kattu ekiyinza okukosa obuweereza bwayo eri abantu.
Omuwanika w’eggwanga Keith Muhakanizi yagambye nti okuva bajeti lwe yatandika okukola mu July 2019, okutuuka mu October 2019, Gavumenti yali esuubira okukuhhaanya omusolo oguweza obuwumbi 6,071 kyokka ekuh− haanyizza 5,467 zokka nga waliwo eddibu lya buwumbi 603.
Omugatte gw’ensimbi ezassibwa mu bajeti nga zisuubirwa okukozesebwa omwaka gwonna ogw’ebyensimbi zisoba mu buwumbi emitwalo ena. Bajeti yakatambulako emyezi ena. Muhakanizi yabadde ku kitebe kya minisitule y’ebyensimbi ng’ali n’abakungu ba minisitule eno mu Kampala.
Wano we yasinzidde n’ategeeza nti Gavumenti yaweereza disitulikiti n’ebitongole bya gavumenti ebirala ensimbi z’okuddukanya emirimu gy’azo ez’emyezi esatu egitandika mu October 2019.
Omusolo gw’enju ezipangisibwa guleeseewo eddibu lya buwumbi 32 ng’entabwe evudde ku kulwawo kuwa kkampuni ya Ripple Nami Inc kontulakiti y’okusolooza ssente zino.
Olukalala lulaga nti abantu abalina okuwa omusolo gw’ebizimbe ebipangisibwa bali 22,189. Kyokka kisuubirwa nti mu December ensimbi zijja kuba zitandise okukuh− haanyizibwa.
Omusolo gwa VAT n’ogwa ‘Exercise duty’ ogwali gusuubirwa okukuhhaanyizibwa gwali gwa buwumbi 2,559 kyokka ne bafuna 1,297 nga guno gwaleeseewo eddibu lya buwumbi 261 Omusolo ku bitamiiza gwakendedde obuwumbi 22, ng’ekimu ku kyagukosezza kwe kuwerebwa kwa waragi w’obuveera n’okugaana okutunda buwaragi mu bipimo ebitono.
Kino Muhakanizi agamba nti kireetedde waragi okuba ow’ebbeeyi n’abamunywa ne bakendeerako. Bbiya asogolwa mu ggwanga yakendeerako liita obukadde mukaaga g’ekitundu. Ate atundibwa n’akendeerako liita obukadde buna.
Ensimbi ezisabibwa abakuba essimu nazo zaakendeerako okuva 5/- buli sikonda ne zidda 3/-. Na kino kyakosezza omusolo ku ssimu ezikubwa. Eddibu eddala lyaleeteddwa musolo gwa ‘Mobile Money’ nga gwaleeseewo eddibu lya buwumbi 20.
Omusolo oguwoozebwa ku bintu ebiyingizibwa mu ggwanga gwawezezza obuwumbi 2,318 kyokka nga gwabadde gusuubirwamu obuwumbi 2,497
Ku Lwomukaaga, omuyimbi Eddy Kenzo yagenze mu maka ge ag’e Sseguku omulundi gwe ogwasoose bukya Rema Namakula agavaamu n’agenda afumbirwa Dr. Hamza Sebunya gwe yayanjudde gye buvuddeko e Nabbingo.
Ennyumba ya Kenzo e Sseguku
Ku Lwomukaaga, omuyimbi Eddy Kenzo yagenze mu maka ge ag’e Sseguku omulundi gwe ogwasoose bukya Rema Namakula agavaamu n’agenda afumbirwa Dr. Hamza Sebunya gwe yayanjudde gye buvuddeko e Nabbingo.
Eno yatuukidde mu birowoozo n’okulaajana ng’awoza nti ennyumba eno emujjukiza bingi omuli ne Rema era yalabiddwaako ng’akutte ku ttama yeetegereza ebifaananyi eby’enjawulo.
Yabadde n’omugagga Twaha Kashaka gwe yalambuzza kisenge ku kisenge ne wabweru waayo. Kino kyalowoozesezza abantu nti kirabika Kenzo ennyumba agitunda.
Wabula Joel Kiyingi omu ku mikwano gya Kenzo atugambye nti Kenzo tasobola kutunda nnyumba ye kyokka ateekateeka kugiddaabiriza etuukane n’omutindo agiteekemu abapangisa kubanga Rema yagireka eri mu mbeera mbi. Ku kkono nga Kenzo ali n’omugagga Kashaka. Ku ddyo y’ennyumba ye.
Jamie Carragher, eyayatiikiririra mu Liverpool agambye nti yeewuunya ManU okubeera nga tennalowooza ku kukansa mutendesi Mauricio Pochettino.
Yagambye nti Pochettino mutendesi mulungi nnyo agya mu ManU nti kyokka kirabika ekyayagala okutambulira mu kugezesa ‘omwana waayo’ Ole Gunnar Solskjaer.
Pochettino yagobeddwa Spurs wiiki ewedde n’asikirwa Jose Mourinho.
Carragher yagambye nti Solskjaer ajja kutuuka aleme okuzza ttiimu engulu ng’ate Pochettino yava dda ku mudaala n’awa ManU amagezi nti, “Mwandiyanguye okumwesooka.”
ManU yalemaganye ne Sheffield United (3-3) mu Premier ku Ssande nga kati yaamunaana ku ttiimu 20. Erina obubonero 17 mu mipiira 13.
Eyali ssita wa ManU nga kati ayogera ku mupiira ku ttivvi, Gary Neville agambye nti omutendesi Jose Mourinho tayagalangako Spurs wabula yayagadde kubbulula linnya lye erigudde ennyo olw’okugobwa mu Chelsea ne ManU.
agasseeko nti, “Mourinho gwe mmanyi obulungi ng’ayokya tayinza kukkiriza ttiimu nga Spurs naye yeesanze mu mbeera ng’agudde nnyo era kati anoonya kudda ngulu.”
Wiiki ewedde, Spurs yakansizza Mourinho okusikira Mauricio Pochettino eyalemeddwa okusitula ttiimu eno nga yabuliddwa obuwanguzi mu Premier ku bugenyi okuva mu January.
Mourinho yatandise bulungi egya Spurs bwe baawangudde West Ham ggoolo 3-2 ku bugenyi ku Lwomukaaga.
Abazannyi abasuubirwa okwetaba mu mpaka za CECAFA, bayitiddwa okutandika okwetegeka
Abazannyi ba Cranes nga bajaganyiza ggoolo gye buvuddeko.
OMUTENDESI wa Cranes, Johnathan Mckinstry, ayise abazannyi 30, okutandika okwetegekera empaka za ‘CECAFA Senior Challenge Cup’, ezitandika mu wiiki bbiri. Okutendekebwa kutandika ku Lwakusatu, e Lugogo.
Mckinstry ayagala okukozesa empaka zino okwongera okwetegereza abazannyi ba ttiimu ya CHAN eyayitamu okuzannya ez’akamalirizo ezigenda okubeera e Cameroon mu April w’omwaka ogujja, ng’eri mu mitambo gy’omumyukawe, Abdallah Mubiru.
Mu bazannyi abaayitiddwa temulimu pulofeesono, ekyongera okukakasa nti agenda kukozesa ttiimu ya CHAN okugezaako okunyweza kikodi ya Uganda ey’ebikopo ebingi ebya CECAFA, ng’agiwangulira ekikopo eky’e 15.
Uganda eri mu kibinja A ne Burundi, Ethiopia ne Eritrea. Mu kibinja B mulimu Sudan, South Sudan, Somalia ne DR Congo, abazze nga ttiimu eng’enyi. Kenya, Tanzania, Zanzibar ne Djibouti ziri mu kibinja C.
Abazannyi abaayitiddwa;
Abakwasi ba ggoolo; Charles Lukwago, James Alitho, Joel Mutakubwa, Saidi Keni ne Jack Komakech.
Abalala kuliko; Paul Willa, Ashraf Mandela, Mustapha Kizza, Disan Galiwango, John Revita, Samuel Kato, Halid Lwaliwa, Mustafa Mujuzi, Paul Mbowa, Nicholas Kasozi, Shafik Kagimu, Hassan Senyonjo, Muzamir Mutyaba, Karim Watambala, Krizestom Ntambi, Allan Okello, Bright Anukani, Ben Ocen, Joachim Ojera, Vianney Sekajjugo, Fahad Bayo, Joel Madondo, Allan Kayiwa, Edrisa Lubega ne Stephen Mukwala.
Uganda, eyasemba okutegeka empaka zino mu 2012, y’etegese ez’omulundi guno ez’okubaawo wakati wa December 7-19.
This is the first post on my new blog. I’m just getting this new blog going, so stay tuned for more. Subscribe below to get notified when I post new updates.
This is an example post, originally published as part of Blogging University. Enroll in one of our ten programs, and start your blog right.
You’re going to publish a post today. Don’t worry about how your blog looks. Don’t worry if you haven’t given it a name yet, or you’re feeling overwhelmed. Just click the “New Post” button, and tell us why you’re here.
Why do this?
Because it gives new readers context. What are you about? Why should they read your blog?
Because it will help you focus you own ideas about your blog and what you’d like to do with it.
The post can be short or long, a personal intro to your life or a bloggy mission statement, a manifesto for the future or a simple outline of your the types of things you hope to publish.
To help you get started, here are a few questions:
Why are you blogging publicly, rather than keeping a personal journal?
What topics do you think you’ll write about?
Who would you love to connect with via your blog?
If you blog successfully throughout the next year, what would you hope to have accomplished?
You’re not locked into any of this; one of the wonderful things about blogs is how they constantly evolve as we learn, grow, and interact with one another — but it’s good to know where and why you started, and articulating your goals may just give you a few other post ideas.
Can’t think how to get started? Just write the first thing that pops into your head. Anne Lamott, author of a book on writing we love, says that you need to give yourself permission to write a “crappy first draft”. Anne makes a great point — just start writing, and worry about editing it later.
When you’re ready to publish, give your post three to five tags that describe your blog’s focus — writing, photography, fiction, parenting, food, cars, movies, sports, whatever. These tags will help others who care about your topics find you in the Reader. Make sure one of the tags is “zerotohero,” so other new bloggers can find you, too.