Omutendesi Marco Silva atuula matiitiiri olw’ekigambibwa nti ebbaluwa emugoba bakama be baamaze dda okugiwandiika.

Everton yakubiddwa Leicester City (2-1) mu Premier ku Ssande ne kyongera okussa omulimu gwa Silva mu lusuubo.
Omunigeria Iheanacho ye yateebye ggoolo ey’obuwanguzi mu ddakiika esembayo eyalese Everton mu kifo eky’e 17 ku ttiimu 20. Erina obubonero 14 mu mipiira 14 ate nga ku Lwokusatu ekyalira Liverpool.
Ensonda mu Everton zigamba nti Marco Silva aweereddwa omupiira gumu gwokka ogwa Liverpool nga singa alemwa okuguwangula waakukwatibwa ku nkoona.
Eby’embi eri Silva, ebyafaayo bya Everton si birungi ng’ekyalidde Liverpool.
Emaze emyaka 20 nga tewangulira ku Anfield. Yasemba okuggyayo obuwanguzi nga September 27, 1999 bwe yakuba Liverpool (1-0) mu Premier.
Liverpool tennakubwamu mu Premier sizoni eno ng’erina obubonero 40 mu mipiira 14.