‘Abaganda mwagale ebika byammwe’

Yagambye nti okwegaana ebika kijja kwongera okwonoona empisa nga buli omu ky’ayagala ky’akola awatali kukwatibwa nsonyi.

Nankereweb 703x422
Omutaka Moses Kanoomya ( akutte akazindaalo) ng’ayogera eri bazukkulu be.

Bya Madinah Ssebyala

OMUKULU w’ekika ky’e Mmamba Kakoboza, Omutaka Moses Kanoonya Ntuntuma Kanyalira asabye Abaganda okwagala ebika byabwe n’eggwanga lyabwe kibayambe okukuuma ennono.

Yagambye nti ekika kintu kikulu kubanga kigatta abantu ba Kabaka kyokka ne yeennyamira olw’abeegaana ebika byabwe.

Yagambye nti okwegaana ebika kijja kwongera okwonoona empisa nga buli omu ky’ayagala ky’akola awatali kukwatibwa nsonyi.

Yasabye Abaganda okufuba okutumbula ennono nga bayita mu bika byabwe kubanga  ekitiibwa kya Buganda kyongera okututumuka ng’obuwangwa n’ennono bikuumiddwa. Yabadde mu maka ga Muhammad Kanoonya ng’ono ye mubaka we mu Ssaza ly’e Kyaggwe e Kiyiribwa mu ggombolola y’e Kimmenyedde e Mukono.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started