Akulira abakozi e Kayunga aggaddewo ofiisi z'ekitebe lwa Coronavirus

Ab’e Kayunga basattira olw’ekirwadde kya COVID-19 ekikakasiddwa mu disitulikiti. Akulira abakozi e Kayunga Hamphrey Benson Otim ayise olukiiko lw’abakozi enkya ya leero n’agamba nti bagenda kuggalawo ekitebe kya disitulikiti basigazeewo abakozi abo bokka abatono abeetaagisa. Otim agamba nti abalwadde tebanabajjayo e Bbaale gyebazuuliddwa kubanga bakyalinda bakulu okuva mu minisitule y’ebyobulamu. Bano batuuze b’e Kayunga wabulaContinue reading “Akulira abakozi e Kayunga aggaddewo ofiisi z'ekitebe lwa Coronavirus”

Nnoonya omwami amanyi omukwano

Nnetaaga omwami ali ku ddagala lya ARVS, alabika obulungi, alina empisa, amanyi omukwano nga yazimba, ali wakati w’emyaka 30- 45 Ggwe ani? Suzan Shamute Obeera wa? Masajja Okola mulimu ki? Ntunda dduuka Olina emyaka emeka? Ndi wa myaka 23. Obuzibu obusanze wa? Bwa butabeera na mwami kuba mpulira ekiwuubaalo. Oyagala alina bisaanyizo ki? Nnetaaga omwamiContinue reading “Nnoonya omwami amanyi omukwano”

Okuggyawo sikwiizi w’omu kitanda lwe kukendeeza essanyu ly’omu kisenge

Ensangi zino abafumbo bangi baawudde ebitanda ekiggyewo sikwiizi w’omu kitanda n’okukendeeza oba okumalirawo ddala essanyu ly’abafumbo oba abaagalana mu kisenge. ABAALI banyumiddwa amazina ga sikwiizi nkakasa mukuba obufaananyi nga mukwataganye ne munno muli ng’owulira akabugumu akamuva mu mubiri n’engeri entunnunsi gye zibeera zikuba! Okwenyiga okubeerawo bwe kutwala akaseera kulina obubaka bwe kuweereza ku bwongo bwaContinue reading “Okuggyawo sikwiizi w’omu kitanda lwe kukendeeza essanyu ly’omu kisenge”

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n’ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby’obulimi

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n’ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby’obulimi MINISITA omubeezi ow’ebyobulimi Henry Bajiire alangiridde nga gavumenti bw’egenda okwongera okukolera awamu n’ekitongole kya SASAKAWA GROBAL 2000 mukawefube owokwongera okutumbula eby’obulimi mu Uganda. Bajiire okwogera bino abadde mu lukung’aana lwa SASAKAWA olutegekebwa buli mwaka nga lubadde wali ku Fairway Hotel n’ategeeza nti gavumenti yakwongeramu amaanyi okutumbula omutindoContinue reading “Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n’ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby’obulimi”

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves TIIMU ya Doves eri mu kibinja kya wansi ekya Big League yayanjudde Robert Ssekweyama ku butendesi bwa ttiimu eno n’adda mu bigere bya Fred Musiime abaddewo ng’omutendesi ow’ekiseera. Ssekweyama (47) yaliko omutendesi wa Maroons FC ne Kamwokya United wabula ng’ebiseera ebisinga abimaze amyuka batendesi omuli Shafic BisasoContinue reading “Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves”

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba akawuka mu bitooke

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne biggwaawo ate ebisizzaako emmere nga nvundu! Ssaalongo Washington Mugerwa omukugu mu kulima ebitooke e Bwerenga -Entebbe agenda kusomesa abalimi b’ebitooke mu musomo gwa Harvest Money ogutegekeddwa kkampuni ya Vision group etwala ne Bukedde agenda kubangula abalimi ku ngeri y’okulwanyisaContinue reading “Mujje mu Harvest Money muyige okugoba akawuka mu bitooke”

Omubaka wa Amerika atadde akaka ng’asiibula

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti, abakulembeze abasinga mu nsi yonna bwe balwa mu buyinza, obuyinza butera okukyuka mu bubi. Kino wabula Ambasada, Deborah R. Malac agamba nti si ky’ayagaliza Uganda wabula ayogera ky’amanyi naddala nti aludde ng’agoberera Uganda ate tagirabangako ng’ekyusizza obukulembeze obw’entebe y’ObwapulezidentiContinue reading “Omubaka wa Amerika atadde akaka ng’asiibula”

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi Mu kawefube wokulwanyisa omuze gw’okukozesa ebiragalalagala mu bavubuka ba boda boda abakungu okuva mu kitongole ekirwanyisa ebiragalalagala ekya Fight Drug  basomesezza ababodaboda ku siteegi y’e Namugongo Jjanda ku bulabe obuli mu kukozesa ebiragalalagala n’engeri gye bayinza okubyewala. Okusobola okunoganya ensonga eno, babagabidde n’obukooti obuliko obubaka emabega obusomesaContinue reading “Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi”

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo. ABATUUZE   b’oku Kaleerwe balaajanidde  gavumenti  ku biku n’ebiyenje ebibasuza nga batunula. Bategeezezza nti kyenkana buli nju  mu muluka gwa Makerere III e kawempe erimu ebiyenje n’ebiku bye bagamba nti bakoze buli kimu okubifuyiira naye eddagala lye bakozesa  kirabika terisobola kubitta ne basaba gavumenti okubadduukirira nga bwe yakola ku butimba bw’ensiri .Continue reading “Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo”

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga omuwala anzibye

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala. Nnalina kasitoma wange nga mukyala naye ng’ajja n’angulako obugoye obunyirira naddala obuli ku mulembe kubanga yali mwambazi mulungi. Okunyirira kwe kwampaliriza okumusonseka obugambo ate naye n’akkiriza. Lumu nnali ku mulimu nga ntunda ngoye ku nguudo za Kampala, abaserikale abaali batatukkiriza kukolerawo neContinue reading “Nagenda okuva mu kkomera nnasanga omuwala anzibye”

Minisita Kasolo awabudde abavubuka ku mivuyo

Minisita omubeezi owa Micro Finance mu ggwanga, Haruna Kyeyune Kasolo, era omubaka wa Palamenti owa Kyotera, akuutidde abavubuka okwewala emivuyo bwe baba baagala okugenda mu maaso n’okweyagalira mu nsi yaabwe. Bino yabogeredde Gayaza ku musanvu ku mukolo gwa SACCO y’abookya embuzi eya Kiteetikka Mbuzi Market Cooperative SACCO, kwe baabadde bagabira bannaabwe ettaka ne ppikippiki okwekulaakulanyaContinue reading “Minisita Kasolo awabudde abavubuka ku mivuyo”

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu n’agamba nti, kino kyavudde ku kugaana kuganza mukama we. ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu n’agamba nti, kino kyavudde ku kugaana kuganza mukama we. Omukazi eyategeerekeseeko erya Saluma lyokkaContinue reading “‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe”

Aba City Oilers 2 batambulira ku miggo

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo oluvannyuma lw’okulongoosebwa amaviivi . Wiiki ewedde omunigeria Francis Azolibe yalongooseddwa evviivi ly’okugulu kwa ddyo ne Steven Omony evviivi ly’okugulu kwa kkono, ababiri bano babadde mpagi luwaga mu kuyamba City Oilers okuwangula ekikopo kya sizoni wabula baafuna obuvune mu kiseera ngaContinue reading “Aba City Oilers 2 batambulira ku miggo”

Omutendesi Kabonge awanduse mu Uganda Cup ne yeekwasa

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa ddirifi okugabira Proline FC Penati bwe baabadde battunka mu Stanbic Uganda Cup. Enkya(Lwakuna) mu Uganda Cup oboko Rising Stars – Bright Stars,Koboko Super Eagles – SC Villa,Gulu Young Elephants – Maroons,Nwoya Six O’clock – Kitara,Kizinda Kampala University –Continue reading “Omutendesi Kabonge awanduse mu Uganda Cup ne yeekwasa”

Abadiventi beebugira lukung’aana lwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw’aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival nga luno lwakumala ennaku nga luyindira mu kisaawe e Nambole. ulezidenti w’aba Advent, Dr Daniel Matte ategeezezza nga olukunngana luno bwe lugenda okutandika nga January 29, 2020 okutuusa nga Feb 1, 2020 era lwakwetabwamu abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawuloContinue reading “Abadiventi beebugira lukung’aana lwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival”

Eyali yagongobala ateredde n’asuubiza okuddayo okusoma

Eyali yagongobala ateredde n’asuubiza okuddayo okusoma OLUNAKU lw’eggulo banna Rotary ettabi lye Kololo nga bakulemberwa pulezidenti waabwe Bonny Nsambu baakungaanye ku woteeri ya Africana okwelabira ku Kuhumuza bbo gwe baayisa eky’amagero. Nsambu yategeezezza nti Rotary eriwo okuyamba era basanyufu okulaba obuyambi bwabwe bwakola enjawulo bw’atyo n’akubiriza n’abalala okuyamba abalala n’akatono kebalina,bano baamusondedde ensimbi kwanatandikira okusomaContinue reading “Eyali yagongobala ateredde n’asuubiza okuddayo okusoma”

Ab’ekitongole ekigaba paasipooti bannyonnyodde

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde nti enkola empya mu kugaba pasipooti egenda kuyambako nnyo mu okumalawo ababadde baggya ku bantu ssente kubanga kati omuntu yeeyejjuliza empapula ku kompyuta n’azitwalayo nga ziwedde. Agamba nti paasipooti empya gavumenti gy’ereese ekozesa tekinologiya ow’omulembe era okusinziira ku nteekateeka eriwo, January 2021 wegunatuukiraContinue reading “Ab’ekitongole ekigaba paasipooti bannyonnyodde”

Eyagaba abalongo bange yantamya laavu

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu mu kibanda kya firimu era nga nfuna ku ssente eziwera ezimbeezaawo. Okuliraana we nnali nkolera, waaliwo ekirabo ky’emmere omwali mwana muwala eyankuba ne mmwagala era ne mugamba ensonga yange. Teyantambuza bbanga ddene ng’abamu bwe bakola era yanzikiriza neContinue reading “Eyagaba abalongo bange yantamya laavu”

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu mu bulimi

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye ne weewala okufiirwa n’okufootolwa abaguzi mu kaseera k’amakungula. OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye ne weewala okufiirwa n’okufootolwa abaguzi mu kaseera k’amakungula. Francis Ssekate 24, omulimi wa wootameroni e Namayamba mu ggombolola y’eContinue reading “Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu mu bulimi”

Bugingo ayanukudde abamulumba ku nyiriri za Bayibuli ku bufumbo

PAASITA Bugingo ow’ekkanisa ya House of Prayer Ministries ayambalidde bannadiini abavuddeyo okuvumiriira ensomesa ye ku nyiriri ezitali mu Bayibuli n’agamba nti bano bananfuusi kuba amazima bagamanyi. Bugingo eyabadde abuulira ku Ssande yategeezezza abagobereezi be nga bwe waliwo bannaddini abavuddeyo ne bamuyita omulalu olw’okuvaayo “nabuusa” abantu ku bintu eby’enjawulo ebitali mu Bayibuli kyokka nga bannadiini babibuusaContinue reading “Bugingo ayanukudde abamulumba ku nyiriri za Bayibuli ku bufumbo”

Kazimba asiibudde ab’e Mityana

EKKANISA lutikko e Namukozi yawuumye eggulo nga basiibula abadde Omulabirizi wa Mityana, Dr Samuel Kazimba eyalondeddwa ku kya Ssaabalabirizi wa Uganda. Gwabadde mukolo gwa kitiibwa okwayogereddwa ebigambo eby’amaanyi okwebaza Kazimba omulimu omunene gwakoze e Mityana okuli okukulembera okuzimba lutikko e Namukozi. Kazimba ye yakulembedde okusaba wakati mu nnyimba enjiiye n’ez’amaloboozi amatabule ezitendereza Omutonzi. Mukwano gwa Kazimba, SsaalongoContinue reading “Kazimba asiibudde ab’e Mityana”

Kkwiini akkirizza Harry ne Meghan okukwekutula ku lulyo olulangira

ABANGEREZA bongedde okusiikuuka emmeeme, Kwiini Elizabeth bw’akkirizza muzzukkulu we, Omulangira Harry Charles Albert David 35, ne mukyalawe Meghan Markle 38, okwekutula ku lulyo olulangira batandike obulamu obupya ng’abantu baabulijjo. Kwiini yasazzeewo eggoye ku nsonga ya Harry ne Meghan emaze kati omwezi mulamba ng’ebobbya Abangereza omutwe era ng’olukongoolo balutadde ku mwana muwala Meghan alinamu omusaayi omuddugavuContinue reading “Kkwiini akkirizza Harry ne Meghan okukwekutula ku lulyo olulangira”

Trump atandika nkya okwewozaako ku by’omukuggya mu ntebe y’Obwapulezidenti

ENTEEKATEEKA ziwedde Palamenti ya Amerika okutandika enkya ku Lwokubiri okuwozesa Pulezidenti Donald Trump, ababaka basalewo okumuggya mu ntebe eya Pulezidenti asinga amaanyi mu nsi yonna oba okumwejjeereza. Trump bagenda kumuwozesesa mu Palamenti enkulu eyitibwa Senate omutuula ababaka 100 ng’eno gy’alina omukisa ogusembayo oluvannyuma lw’okumeggebwa akalulu akaamukubiddwaako nga December 18, 2019 mu Palamenti ento eya HouseContinue reading “Trump atandika nkya okwewozaako ku by’omukuggya mu ntebe y’Obwapulezidenti”

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya. OKULONDA  Ssentebe wa NRM e Mityana kutandise na bbugumu nga buli agenze okwewandiisa awera kugatta bantu n’okwagazisa abalonzi ekibiina kya NRM. Kino kiddiridde eyali sentebe Omugenzi Enock Kato okufa nga Nov.29 2016 ekifo ne kisigalamu omumyuka Hajji Haruna Nziiza Kibirige. Gavumenti yasazeewo okussaawo okulonda Sentebe ekifo kijjuzibweContinue reading “Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya”

Obunkenke e Namirembe nga Reverand Kalende akuba embaga

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev. Mayanja bwe yatandise omukolo gw’okugatta abagole enduulu n’esaanikira lutikko y’Omutukuvu Paul e Namirembe ku Lutikko. “Waliwo alina ensonga erobera ababiri bano okugattibwa mu bufumbo obutukuvu? Bwaba taliiwo asirikiranga ddala emirembe n’emirembe” bwe yabuuzizza. Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikkoContinue reading “Obunkenke e Namirembe nga Reverand Kalende akuba embaga”

Tekinologiya wa Iran asannyalazza Amerika

Tekinologiya wa Iran asannyalazza Amerika TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala ng’amagye ga Amerika gamutegeezezza nti ennyonyi musanvu ezeevuga zokka zicankalanyiziddwa nga ziri mu bwengula nga tezikyasobola kudda ku nkambi y’Abamerika. TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala ng’amagye gaContinue reading “Tekinologiya wa Iran asannyalazza Amerika”

Enkola empya eya UNEB eyongedde obwesimbu mu kugolola ebibuuzo

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo ekya UNEB, enkyukakyuka ze kyakola mu bibuuzo bya PLE omwaka oguwedde zikyusizza ebyavudde mu bigezo. EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo ekya UNEB, enkyukakyuka ze kyakola mu bibuuzo bya PLE omwaka oguwedde zikyusizza ebyavudde mu bigezo. Mu bibuuzo bya PLE eby’omwaka oguwedde (ebifuluma leero), UNEB yaleeta enkolaempya emanyiddwa nga ‘Coding system’, ng’abayizi bonna abaatuulaContinue reading “Enkola empya eya UNEB eyongedde obwesimbu mu kugolola ebibuuzo”

Ssekikubo bamukkirizza okweyimirirwa n’ayimbulwa

OMUBAKA we Lwemiyaga Theodre Ssekikubo azzeemu okuyimbulwa Kkooti e Masaka ku misango gy’okukuma mu bantu omuliro gy’agambibwa okuzza nga January 02, 2020 nga gino gyamukwasizza olunaku lw’eggulo mu bbanga lya ssaawa busaawa nga ky’aggye ayimbulwe kkooti y’emu ku misaango gy’okubeera n’emmundu mu ngeri emenya amateeka n’okucankalanya okulonda kwa NRM okwaliwo mu 2010 e Lwemiyaga –Continue reading “Ssekikubo bamukkirizza okweyimirirwa n’ayimbulwa”

Iran egezesezza pulaani y’okukuba Amerika

IRAN efulumizza akatambi akalaga engeri gye bagenda okuttamu pulezidenti wa Amerika Donald Trump ne balabula nti egeri gye bagenda okuwooleramu eggwanga ejja kubeera ya kuyiwa musaayi. IRAN efulumizza akatambi akalaga engeri gye bagenda okuttamu pulezidenti wa Amerika Donald Trump ne balabula nti egeri gye bagenda okuwooleramu eggwanga ejja kubeera ya kuyiwa musaayi. Akatambi kano baakakoze ngaContinue reading “Iran egezesezza pulaani y’okukuba Amerika”

Aba Middle East babaggyeeko layisensi y’okutwala abantu ku kyeyo

MINISTULE y’ekikula ky’abantu n’emirimu eyimirizza kampuni ya Middle East Consults okutwala abantu ebweru okukola. Byogeddwa kamisona Matia Wandera  akulira  ebyemirimu mu ministule eno bw’abadde  asisinkanye abavubuka 38 ng beebamu kw’abo abalumiriza kampuni eno okubajjako ssente ng’ebasuubizza okubatwala ebweru okukola kyokka nebatatwalibwa. Wandera yabadde ku ofiisi z’akakiiko akalwanyisa enguzi aka Anti-Corruption Unit akakulirwa  Lt Col Edith Nakalema n’ategeeza nti oyoContinue reading “Aba Middle East babaggyeeko layisensi y’okutwala abantu ku kyeyo”

Abawala lwe bakandaalirirza abasajja nga bakyabeetegereza

ABAWALA babeera mu mukwano naye nga bakyetegereza baganzi baabwe. Bano batera okukola ebintu ebiremesa baganzi baabwe okwegatta mu mukwano nga kye banoonya kwe kuzuula oba omuntu gw’ali naye amwagalira ddala oba ayagala kumukozesa bukozesa oluvannyuma amusuulewo. Mu mbeera  eno abawala balina obukodyo bwe batera okukozesa okulemesa baganzi baabwe  okwegatta naye n’ekigendererwa ky’okuzuula omukwabuzi n’oyo amwagaliraContinue reading “Abawala lwe bakandaalirirza abasajja nga bakyabeetegereza”

Trump bimukyukidde

Eby’ennyonnyi ya Ukraine eyakubiddwa Iran mu butanwa nga yeesasuza olwa Amerika okutta Gen. Soleimani bikyukidde Pulezidenti Trump. Canada ekimutaddeko bwe yavuddeko okuttibwa kw’abantu 176 abaagibaddemu. Eby’ennyonnyi ya Ukraine eyakubiddwa Iran mu butanwa nga yeesasuza olwa Amerika okutta Gen. Soleimani bikyukidde Pulezidenti Trump. Canada ekimutaddeko bwe yavuddeko okuttibwa kw’abantu 176 abaagibaddemu. Katikkiro wa Canada, Justin TrudeauContinue reading “Trump bimukyukidde”

Abanene mu kibiina kyaffe mukomye okujeemera ssemateeka- DP

BANNAKIBIINA kya DP, balabudde abanene mu kibiina kino abasusse okwegulumiza n’okwetwala nga abekitalo mu kibiina olw’ebifo by’obukulembeze bye balimu ne batuuka n’okuyisa amaaso mu ssemateeka w’ekibiina nti boolekedde okufiirwa kaadi y’ekibiina mu kalulu ka 2021. BANNAKIBIINA kya DP, balabudde  abanene mu kibiina kino abasusse okwegulumiza n’okwetwala nga abekitalo mu kibiina olw’ebifo by’obukulembeze bye balimu neContinue reading “Abanene mu kibiina kyaffe mukomye okujeemera ssemateeka- DP”

UNEB ennyonnyodde ku bigezo ebisazibwamu

Home Amawulire UNEB ennyonnyodde ku bigezo ebisazibwamu Harry ne Meghan baddukidde kkooti okwetangira…Previous Story UNEB ennyonnyodde ku bigezo ebisazibwamu By Musasi wa Bukedde Added 15th January 2020 EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kirabudde abakulu b’amasomero ku bafere naddala mu kiseera kino ng’ebyava mu bigezo bya PLE eby’omwaka oguwedde bisulirira okufuluma enkya kuContinue reading “UNEB ennyonnyodde ku bigezo ebisazibwamu”

Obucaafu bujja kugoba omusajja awaka

Omwami agamba nti ekisenge wakifuula kasasiro. Anti byonna by’okozesa mu nsonga zaffe otereka omwo, obuwale bwo obusonseka wansi w’ekitanda nga sibwoze, enkumbi era nazo bw’okola. Wansi w’ekitanda ate era w’otereka ebyokulya waafuuka sitoowa! Omwami agamba nti ekisenge wakifuula kasasiro. Anti byonna by’okozesa mu nsonga zaffe otereka omwo, obuwale bwo obusonseka wansi w’ekitanda nga sibwoze, enkumbi eraContinue reading “Obucaafu bujja kugoba omusajja awaka”

Omugagga w’e Bulenga Solome Nagawa afudde nga bamutwala mu ddwaliro

Omugagga w’e Bulenga Solome Nagawa afudde nga bamutwala mu ddwaliro. OMUGAGGA w’e Bulenga Solome Nagawa 49, abadde nannyini ttaka okuli akatale k’e Bulenga afudde. Nagawa abadde yakanjula omwami we wabula alwalidde ennaku bbiri zoka bwatyo n’afa ng’atwalibwa mu ddwaliro  e Mulago.

Poliisi ekutte abatemu n’eboogeza gye baasudde omulambo gw’omusuubuzi

Poliisi ekutte abatemu n’eboogeza gye baasudde omulambo gw’omusuubuzi. Poliisi ekutte abasajja babiri ku by’okuwamba era ne batuga omusuubuzi, abadde amanyiddwanga, Ronald Mutebi Gugwa, omutuuze w’e Walusubi-Mukono. Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwatiddwa agamba kuliko; Bamwine Alex amanyiddwanga-Felix Kainerugaba, ne Emmanuel Kalema. Kigambibwa nti omugenzi baamusanze mu Kampala, ne befuula abaagala okumutwalako kyokka olwakkirizza baamwefulidde n’ekigendererwaContinue reading “Poliisi ekutte abatemu n’eboogeza gye baasudde omulambo gw’omusuubuzi”

Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we

Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we MUTABANI wakulira ekitongole ekikkesi ekya ISO, Brian Bagyenda agaanye okwewozaako mu kkooti mu musango gw’okutta muganzi we Enid Twijukye. Bagyenda aleteddwa mu kkooti enkulu okunnyonnyola ebyaliwo kyokka looya we Nsubuga Mubiru  n’ategeeza omulamuzi  Moses Kazibwe Kawumi nti basazeewo Bagyenda asirike era talina kyagenda kunyonyola kkooti. OmulamuziContinue reading “Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we”

Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we

Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we MUTABANI wakulira ekitongole ekikkesi ekya ISO, Brian Bagyenda agaanye okwewozaako mu kkooti mu musango gw’okutta muganzi we Enid Twijukye. Bagyenda aleteddwa mu kkooti enkulu okunnyonnyola ebyaliwo kyokka looya we Nsubuga Mubiru  n’ategeeza omulamuzi  Moses Kazibwe Kawumi nti basazeewo Bagyenda asirike era talina kyagenda kunyonyola kkooti. OmulamuziContinue reading “Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we”

Museveni alayizza abalamuzi ba kkooti y’okuntikko ssaako n’aba kkooti enkulu

Museveni alayizza abalamuzi ba kkooti y’okuntikko ssaako n’aba kkooti enkulu PULEZIDENTI Museveni alayizza abalamuzi ba kkooti ey’okutiko n’akulira abalamuzi ba kkooti enkulu”principal judge” n’abakuutira  okukola emirimu gyabwe mu bwesimbu. Abalamuzi abalayidde kuliko Mike Chibita abadde omuwaabi wa gavumenti omukulu DPP eyakuziddwa n’afuulibwa omulamuzi wa kkooti ey’okuntiko. Abalamuzi abalala kuliko Ezekiel Muhanguzi ne Percy Tuhaise ababadde abaContinue reading “Museveni alayizza abalamuzi ba kkooti y’okuntikko ssaako n’aba kkooti enkulu”

Omugagga Ham aduukiridde ekibiina kya Jonard Development Foundation

Omugagga Ham aduukiridde ekibiina kya Jonard Development Foundation. Ham ng’akwasa Jonard akatabo keyawandiika kebayita Success and Failure based on Reason and Reality. Hamis Kiggundu, amanyiddwa nga Ham, aduukiridde ekibiina ky’abavubuka ekya  Jonard Development Foundation, nga beetegekera olukungaana lwabwe olwa buli mwaka. Olukungaana luno lutuumiddwa  “Bunyoro Youth Convention” era nga lugenda kwetabwamu abavubuka abakyasoma naabo banneekolera gyange.Continue reading “Omugagga Ham aduukiridde ekibiina kya Jonard Development Foundation”

Abava ku dduwa batomereganye n’abava okuziika

MUSAJJAMUKULU n’abafamire ye baasimatukidde watono okutokomokera mu kabenje oluvannyuma lwa ‘Coaster’ mwe baabadde batambulidde bwe yatomeraganye ne takisi zombi ne zeesolessa mu mugga. MUSAJJAMUKULU n’abafamire ye baasimatukidde watono okutokomokera mu kabenje oluvannyuma lwa ‘Coaster’ mwe baabadde batambulidde bwe yatomeraganye ne takisi zombi ne zeesolessa mu mugga. Hajji Twaha Ssebambulidde ow’omu Kampala ne famire ye omuli n’abazzukuluContinue reading “Abava ku dduwa batomereganye n’abava okuziika”

Bobi Wine asazeewo ku by’okumwegattako

BOBI Wine obubaka bwe yawadde mu kuziika maama w’omubaka Mwiru butadde ab’oludda oluvuganya mu kattu, abamu ne bagamba nti yabalekedde okusalawo ku bintu bibiri; okumwegattako oba okwesunsulira abaabwe beesimbewo. Bobi Wine obubaka bwe yawadde mu kuziika maama w’omubaka Mwiru butadde ab’oludda oluvuganya mu kattu, abamu ne bagamba nti yabalekedde okusalawo ku bintu bibiri; okumwegattako obaContinue reading “Bobi Wine asazeewo ku by’okumwegattako”

Iran ezzeemu okukuba enfo za Amerika

IRAN ekoze olulumba olulala ku nfo za Amerika mu kiseera w’ebadde erowoozebwa nti epondoose olw’akazito ensi yonna k’etadde ku Iran oluvannyuma lw’okukuba ennyonyi ya Ukraine n’efiiramu abantu 176. BAGHDAD, Mmande IRAN ekoze olulumba olulala ku nfo za Amerika mu kiseera w’ebadde erowoozebwa nti epondoose olw’akazito ensi yonna k’etadde ku Iran oluvannyuma lw’okukuba ennyonyi ya UkraineContinue reading “Iran ezzeemu okukuba enfo za Amerika”

Laba ekyabadde ku ssomero lya Hana nga Katikkiro Mayiga akyalidde abaana mu kisaakaate

Laba ekyabadde ku ssomero lya Hana nga Katikkiro Mayiga akyalidde abaana mu kisaakaate KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akyalidde ku baana abali mu kisaakaate kya Maama Nnabagereka ekigenda mu maaso ku Hana International School e Nsangi. Agambye nti abaana bano abategeke obulungi ly’essuubi lya Buganda ne Uganda okutwalira awamu.

Villa erumbye Busoga United e Jinja

SC Villa eri mu kyakuna n’obubonero 27 so nga Busoga United yaamusanvu n’obubonero 21. SC Villa-Busoga United 10:00 Proline-Vipers 10:30 Onduparaka-Maroons 10:30 Bright Stars-KCCA 10:30 BATABANI ba Edward Kaziba aba SC Villa bakomawo leero mu nsiike nga baagala kwemalako ssungu lya URA eyabakuba (2-0), mu mupiira ogwa gulawo oluzannya olwokubiri mu Startimes Uganda Premier LeagueContinue reading “Villa erumbye Busoga United e Jinja”

Abaaferebwa eza Crypto Currence beekalakaasirizza ku kkooti

Abaaferebwa eza Crypto Currence beekalakaasirizza ku kkooti ABANTU abaaferebwa mu nkola ya Crypto currency beekalakaasizza ku kkooti e Mengo bwe balabye Ku Andre Kaggwa Kulumba agambibwa okubafera ssente zaabwe. Bano bazze n’ebipande okuwandiikiddwa ebigambo ebivumirira Kulumba n’okusaba pulezidenti Museveni ayingire mu nsonga zaabwe alagire Kulumba okubasasula. Bategeezezza nti abamu ssente baali bazeewoze mu Banka kati looniContinue reading “Abaaferebwa eza Crypto Currence beekalakaasirizza ku kkooti”

Eyagabye ekibanja kya muganda we omugenzi gamumyuse

Omukadde eyagabanyizza ekibanja kya muganda we n’agoba namwandu n’abaana gamumyuse ne yeetonda Omukadde amaaso gamumyuuse ab’obuyinza bwe babadde bamukunya olw’okwegabanya ekibanja n’aleka namwandu ne bamulekwa mu maziga. Bino bibadde ku kyalo Kisawo mu Kayunga Town Council mu disitulikiti y’e Kayunga. John Lubega, y’atuuyanye nga bwe zikala ofiisa alondoola ebintu by’abafu e Kayunga, Collins Kafeero bw’abaddeContinue reading “Eyagabye ekibanja kya muganda we omugenzi gamumyuse”

Akabenje kasse omu ku lw’e Kayunga

Takisi ebadde ewenyuka obuweewo eyabise omupiira n’etta omu akisi yeerindiggudde ekigwo n’etta omuntu n’okulumya abalala. Akabenje kano kaagudde Sinda ku luguudo oluva e Kayunga okudda e Mukono ku Lwokubiri. akisi nnamba UBB 520R yagudde mu kkoona ly’e Sinda kkiromita emu okuva mu kitoogo ky’omugga Ssezibwa. Eyafudde ye Bernard Aluma nga yakutuse atwalibwa mu ddwaaliro ly’eContinue reading “Akabenje kasse omu ku lw’e Kayunga”

Xavi asamye butendesi bwa Barcelona

Valverde ali ku ndeboolebo ya kukwatibwa ku nkoona oluvannyuma lw’omutindo gwa ttiimu omubi. EYALI omuwuwuttanyi wa Barcelona ne Spain, Xavi Hernandez akkirizza nga bwe yabaddeko mu kafubo n’abakungu ba ttiimu eyo gye buvuddeko. Oluvuuvuumo luyiting’ana nti eyali omuwuwuttanyi ono y’agenda okuddira omutendesi Ernesto Valverde mu bigere essaawa yonna. Omutindo gwa Barcelona mu kaseera kano mubiContinue reading “Xavi asamye butendesi bwa Barcelona”

Omusajja bwe yatandika okweraguza ne mmuviira

NZE Lausa Kengasi 29, mbeera Sanga Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso. Twasisinkana ne baze mu 2014 e Ziroobwe. Nnali nkola gwa kulima nga mpakasa ku kyalo ate nga baze akola gwa kwokya manda ng’agaleeta e Kampala okugatunda. Engeri gye nnali mupakasi ku kyalo, n’ewaabwe nabalimiranga ne bampa ssente okumala akaseera awo we yatandikira okunkwana n’antegeezaContinue reading “Omusajja bwe yatandika okweraguza ne mmuviira”

Yeewuunya engeri omuwala bwe yamezze abaawule babiri

MZEE Zedde yeewuunya sitani bwe yakutte abaawule baffe babiri balamba n’abamegguza eri! Byasoose kuwulikika nga bya lusaago, omuwala Perusi Nabirye bwe yavuddeyo n’alumiriza omwawule Kalende nti yamufunyisa olubuto n’amuzaalamu n’omwana. Wabula Kalende yavuddeyo n’alayira nti amazima okufiira mu kitooke kya gonja, saagalangako kawala ako kanneesibako bwesibi. Omusajja omutuufu eyakafunyisa olubuto ye Rev. Matovu era gweContinue reading “Yeewuunya engeri omuwala bwe yamezze abaawule babiri”

Lukwago alaze minisita wa Kampala ebintu 10 kw’aba assa essira

LOODI Meeya wa Kampala Erias Lukwago awandiikidde minisita omuggya Betty Amongi n’amusiima okulondebwa mu kifo ekyo kyokka n’amutegeeza nti, ajjidde mu kiseera ng’ekibuga kirina okusomoozebwa kunene era n’amulaga ebintu 10 by’ayagala akoleko mu bwangu okuli; 1 Amutegeezezza nti akole ku mbalirira ya KCCA eyayisibwa nga tekubaganyiziddwaako birowoozo n’okuyingizibwamu ensonga z’abakulembeze abafuga ekibuga. Mu bbaluwa yaContinue reading “Lukwago alaze minisita wa Kampala ebintu 10 kw’aba assa essira”

Nnabe agudde mu bwakabaka bw’e Bungereza

NNABE agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza, Omulangira Harry bw’akubye Kkwiini Elizabeth II obwami n’ategeeza nga ye ne mukyalawe, Omumerika Meghan Markle bwe bagenda okweyambula obuvunaanyizibwa bwe balina okutuukiriza nga ab’olulyo Olulangira abali ku mwanjo, basobole okwekolera ebyabwe beeyimirizeewo awatali kulindirira ssente ziva wa jjajjaabwe, Kkwiini. Yayongeddeko nti ayagala batandike okubeeranga mu Canada nga e BungerezaContinue reading “Nnabe agudde mu bwakabaka bw’e Bungereza”

Grace Nakimera avudde ku by’okuyimba ennyimba z’ensi

Nakimera afulumiza oluyimba olulala olw’eddini n’alangirira bwavudde ku z’ensi “Eby’okuyimba ennyimba z’ensi mbivuddeko kati ragga ngenda kubakubira wa Yesu.” Bwatyo omuyimbi Grace Nakimera bwe yatandise ng’ayogera ku nteekateeka ze ez’omwaka omupya 2020 mu nsike y’okuyimba. Ono omwaka oguwedde yakomawo mu nsiike oluvannyuma lw’ebbanga ng’avudde ku myuziki w’okuvuganya akola bizinesi ze era we gugwereddeko nga afulumizaContinue reading “Grace Nakimera avudde ku by’okuyimba ennyimba z’ensi”

Aba People Power bawaze

ABAAKAKIIKO k’ebyokulonda olwasisinkanye abakulembeze b’ekisinde kya People Power ekikulirwa Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) ne bawaga. “Tugenda kuddamu okufulumya enteekateeka mu bifo gye twali tutegese okwebuuza ku Bannayuganda. Mu kaweefube waffe ow’okuvuganya ku ky’obukulembeze bw’eggwanga,” Bobi wine bwe yategeezezza. Bino yabyogeredde mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza e Kamwokya oluvannyuma lw’okusisinkana abakulira ebyokulonda ku Lwokuna.Continue reading “Aba People Power bawaze”

Okwanjulwa kwa Rev Kalende eyayimiriziddwa egy’obuweereza kwa leero e Zigoti – Mityana

LEERO Rev. Ronald Kalende lw’ayanjulwa mwana munne Elusah Ssanyu Namuyige mu maka ga Rev. Daniel Sserumbawo e Kyengeza-Zigoti mu Disitulikiti y’e Mityana. Namuyige musawo ku ddwaaliro e Mengo ate nga Kalende abadde musumba w’e Mwererwe wabula yayimiriziddwa ku buweereza oluvannyuma lw’okukkiriza nti yazaala mu Perusi Nabirye . Omu ku mikwano gya Namuyige agenda okwanjula, yategeezezzaContinue reading “Okwanjulwa kwa Rev Kalende eyayimiriziddwa egy’obuweereza kwa leero e Zigoti – Mityana”

Museveni alabude abayigganya abawagizi ba NRM

‘’Abiriga ( Ibrahim eyali omubaka wa Arua mu palamenti) baamutta lwa (lwa kuwagira NRM ) kuba yali ayambala kyenvu. Lwaki otta omuntu !. Otte omuntu olw’okuba akuwangudde mu kukubaganya naye ebirowoozo !. Mu Kampala osanga abawagizi ba NRM babalumba. PULEZIDENTI Museveni agambye nti singa waaliwo ekkubo ly’okuteesa ne gavumenti tebandikutte mmundu kugenda mu nsiko muContinue reading “Museveni alabude abayigganya abawagizi ba NRM”

Proline esonjodde Umony

Umony, 31, abadde talina ttiimu gy’azannyira oluvannyuma lw’endagaano ye ne Express okuggwako omwaka oguwedde mu gwomukaaga. Brian Umony oluzannyuma lwe bbanga nga tazannya mupiira, yeegasse ku kiraabu ya Proline. Umony, 31, abadde talina ttiimu gy’azannyira oluvannyuma lw’endagaano ye ne Express okuggwako omwaka oguwedde mu gwomukaaga. Yatadde omukono ku ndagaano ya myezi mukaaga n’ekigendererwa ky’okugiwonnya okusalwakoContinue reading “Proline esonjodde Umony”

Abamyuka b’omutendesi wa Cranes basisinkanye mu gwa liigi

Police ye yatwala ekikopo kya liigi mu 2005 kyokka okuva olwo ekikopo kigiwunyira ziizi. Lwamukaaga mu StarTimes Uganda Premier League; Wakiso Giants – Police, 9:00 Ensiike ya StarTimes Uganda Premier League ey’enkya (Lwamukaaga) esuubirwa okubaako n’obugombe abamyuka b’omutendesi wa Cranes ababiri bwe banaaba bakwataganyeeko. Wakiso Giants etendekebwa Livingstone Mbabazi (omumyuka w’omutendesi wa Cranes owookubiri) egendaContinue reading “Abamyuka b’omutendesi wa Cranes basisinkanye mu gwa liigi”

Embeera y’oluguudo esannyalaza eby’entambula e Ndaggwe

Embeera y’oluguudo esannyalaza eby’entambula e Ndaggwe EBY’ENTAMBULA bisannyaladde ku luguudo oluva embiriizi Tc okuda e Ndagwe oluvannyuma lw’amazzi okwanjaala mu kkubo ssaako n’ettosi ebisannya lazza ebyentambula ku luguudo luno. Kino kitaataganyizza abasuubuzi abakozesa oluguudo luno okuva mu bitundu bye kkooki n’abo abagenda mu butale okuli kyawaggonya okulemererwa nga mwemuli n’abasaabaze abagenda mu ngendo z’enjawulo okukosebwaContinue reading “Embeera y’oluguudo esannyalaza eby’entambula e Ndaggwe”

URA ekoledde – Ssimbwa

URA yamezze SC Villa (2-0) eggulo e Ndejje ezaateebeddwa Daniel Isaigi ne Mike Birungi omutendesi Ssimbwa n’awera nga bw’atagenda kuttiira ttiimu yonna ku liiso mu luzannya olwokubiri. OMUTENDESI wa URA, Sam Ssimbwa olw’amezze SC Villa n’abukkulu nti buli ttiimu emusala mu maaso yakuloza ku bukambwe bwa batabani be. URA yamezze SC Villa (2-0) eggulo eContinue reading “URA ekoledde – Ssimbwa”

IRAQ; 50 bafiiridde mu kuziika Genero

OKUZIIKA Genero wa Iran eyatemuddwa Amerika kuggweerede mu biwoobe, ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi abeeyiye mu kibuga Kerman okuziika omuzira waabwe bwe beerinnyerinnye okukakkana ng’abantu abasoba mu 50 bafiiriddewo ate abalala 213 ne batuusibwako ebisago ebyamanyi. IRAN, Lwakubiri OKUZIIKA Genero wa Iran eyatemuddwa Amerika kuggweerede mu biwoobe, ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi abeeyiye mu kibuga Kerman okuziika omuzira waabweContinue reading “IRAQ; 50 bafiiridde mu kuziika Genero”

Mutuukirize obweyamo bwe mukola

Abakristaayo bakubiriziddwa okutuukiriza obweyamo bwe bakola nga ne Katonda lw’anaabaanukula Omusumba w’ekkanisa y’omutukuvu Steven e Kabowa, Henry Lukyamuzi abuuliridde Abakristaayo ku bweyamo bwe bakola ne Katonda waabwe nti, balina okukakasa nti baakubutuukiriza ng’omwaka tegunnaggwaako. Omusumba Lukyamuzi bwe yabadde abuulira mu kusaba ku Ssande yagambye nti, omwaka ke gutandise buli muntu asaana yeekebere yekkaanye n’omutima gweContinue reading “Mutuukirize obweyamo bwe mukola”

URA emezze Villa

Mu gwasooka e Luzira, baalemagana 1-1 wabula Sam Ssimbwa, atendeka URA yasigala alumiriza nti Villa yabagwiira olw’okubateeba ey’ekyenkanyi ng’obudde kumpi buweddeyo. URA 2-0 SC VILLA Tooro Utd – Onduparaka (teguzannyiddwa) SC VILLA abalina likodi y’okuwangula ebikopo bya liigi ebingi (16) oluzannya lwa liigi olwokubiri balutandikidde mu maziga. Bakubiddwa URA (2-0) mu gwazannyiddwa mu kisaawe kyaContinue reading “URA emezze Villa”

URA y’esooka ku SC Villa olubabu – Kirya

URA y’esooka ku SC Villa olubabu – Kirya KU Lwokubi, SC Villa lw’eggulawo oluzannya lwa liigi olwokubiri mu kaweefube waayo okulaba ng’ewangula liigi ya sizoni eno. Yaakukyalira URA FC e Bombo ku ttendekerero lya yunivasite ya Ndejje. Mu gwaggualwo liigi sizoni eno, Villa yakubwa Kyetume (1-0) sso nga n’ogwaggaddewo oluzannya olusooka, yakubwa KCCA (4-1). AmyukaContinue reading “URA y’esooka ku SC Villa olubabu – Kirya”

Babiri bafiiridde mu kabenje e Mityana

Babiri bafiiridde mu kabenje e Mityana Abantu babiri bafiiridde mu kabenje n’abalala ne babuuka n’ebisago ebyamaanyi  e Nswanjere ku luguudo oluva e Mityana okudda e Kampala. Abafudde tebanategerekeka manya naye  kubaddeko ne dereeva wa takisi ekoze akabenje ng’ono afiiriddewo n’omusaabaze. Takisi ekoze akabenje eri Namba UBB 740D nga kitegerekeseeko nti ebadde eva Fortportal. Okusinziira ku batuuze abalabye akabenjeContinue reading “Babiri bafiiridde mu kabenje e Mityana”

Afande, nze bukya nzaalibwa sibbangako

Afande, nze bukya nzaalibwa sibbangako. AFANDE, oyo omukazi ampaayiriza. Nze bukya nzaalibwa sibbangako muntu yenna kubanga sirina na mwana ku nsi eyandinzibisizza. Annet Namayanja 30 ow’e Mulago mu Nalwewuba Zooni obwedda y’alaajana ng’aleekaanira waggulu bwe baamukutte wiiki ewedde nga Zaina Nankya, omusuubuzi w’enkoko mu katale ka Mpuuga amulumiriza nga bwe yamubba emitwalo 90 emyaka 4Continue reading “Afande, nze bukya nzaalibwa sibbangako”

Chaka chaka alayidde okudda mu Uganda ayimbe

OMUYIMBI w’e South Afrika Yvonne Chakachaka eyalemeseddwa okuyimba mu ‘Nkuuka’ eyabaddemu ne Kabaka oluvannyuma lw’abobuyinza mu Uganda okumutikka ku nnyonyi ne bamuzza ewaabwe alayidde nti ajja kudda mu Uganda ayimbe. ‘’Mbakakasa nti nja kudda mu Uganda nnyimbe kuba eno (Uganda) nsi yange’’ Chakachaka bwe yawandiise ku mukutu gwe ogwa Twitter. N’awakanya ebyamwogeddwaako nti baamufulumizza UgandaContinue reading “Chaka chaka alayidde okudda mu Uganda ayimbe”

Eyali anfudde ATM namutebuka

MU bulamu, kinyuma omuntu n’akolera munne ekirungi ne bwe kiba kitono kitya ate ne gw’okikoledde n’akusiima. Awo ofuna amaanyi agamuyiiyiza ekirala ate ekisingako. Nze Alex Musaazi 19, mbeera Zzana mu Kampala. Nnafuna omuwala gwe nneegomba ne kimpaliriza okumuyimiriza ne mbeerako bye mmugamba ate naye n’akitegeera bulungi. Omuwala ono engeri gye yali omulungi kaalaala, nnalabira ddalaContinue reading “Eyali anfudde ATM namutebuka”

Kiki ekimalamu baze amaanyi?

BAZE ennaku zino alina amaanyi matono ate nze mba njagala okwegatta naye. Simanyi oba myaka kubanga alina emyaka 65 ate nze nnina 45. Ssenga mbadde mmuyambako okufuna eddagala naye bigaanyi. Asobola luutu emu yokka ate tusobola okumala wiiki emu nga teri kwegatta. Ssenga nkoze ntya ku nsonga eno?. OKUSOOKERA nze ndaba nga ku myaka 65Continue reading “Kiki ekimalamu baze amaanyi?”

Omugagga aguze Total ya Arua Park n’agimenyawo

ESSUNDIRO ly’amafuta erya Total ku Arua Park liguliddwa omugagga n’alisendawo abamu ku bavuzi b’ebidduka, abasuubuzi n’abakulembeze mu kitundu emitima ne gibeewanika. Batidde nti amafuta bwe gakuggwaako nga ovuga mmotoka mu kitundu kino tolina w’oyinza kugaggya. Abalala bagamba nti abaaguze essundiro bayinza okukolagana n’abaagula oluguudo ku Arua Park nabo ne balusenda kubanga ensonga kasookedde zitwalibwa muContinue reading “Omugagga aguze Total ya Arua Park n’agimenyawo”

‘Mwawule ebyobufuzi ku bya Katonda’

OMUBAKA wa Kyadondo East mu Palamenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu “Bobi Wine” asabye bannabyabufuzi okwekwasa Mukama Katonda n’okwewala enjawukana n’abo be balowooza nti tebali ku ludda lwe lumu. Bino yabyogeredde ku kkanisa ya Omega Healing Centre e Namasuba mu kusaba okwetabiddwaako ne bannabyabufuzi ab’enjawulo omwabadde n’omubaka akiikirira Makindye Ssaabagabo mu Palamenti, Emannuel Ssempala Kigozi “Ssajjalyabeene”,ssentebe waContinue reading “‘Mwawule ebyobufuzi ku bya Katonda’”

Ssekukkulu ya 2007 yali ya maziga

ABALALA gye babeerera mu keetalo ka Ssekukkulu, nze mba mu birowooza nga nzijjukira Ssekukkulu ya 2007 gye nnali nneesunze okulya n’abantu bange nga n’ebintu bya Ssekukkulu maze okubigula naye ne nfuna ekyekango. Nze Herman Mutebi 26, mbeera Makindye Nabisaalu. Gye nnakoma okwejagira Ssekukkulu ya 2007 n’ebizubi gye byakoma okwesomba. Mu biseera ebyo, nali nsubulira muContinue reading “Ssekukkulu ya 2007 yali ya maziga”

Bakubye essasi alumbye famire okugisanjaga

ABATUUZE b’oku Kaleerwe mu Zooni ya Kiggundu baaguddemu ekikangabwa omusajja bwe yalumbye amaka ga munnaabwe n’agezaako okubatemula. Shakirah Asiimwe yategeezezza ng’omwaka bwe yaguyingidde mu ntiisa ne famire ye omusajja eyategeerekese nga Bonny bwe yabalumbye n’ennyondo ng’awera okubatta bonna ye n’abaana be 5. Agamba nti yasoose n’abiyita byakusaaga kuba Bonny alina baganda be okumpi ne w’abeeraContinue reading “Bakubye essasi alumbye famire okugisanjaga”

Eyakola ebibumbe by’e Namugongo n’e Mmengo afudde

OMUVUBUKA Fred Kigozi Lubwama 36, eyabumba ebibumbe by’ebika bya Buganda ebiri ku luguudo Kabakanjagala e Mmengo era eyabajja ebifaananyi by’abajulizi ebiri mu myuziyamu e Namugongo, mmotoka emulinnye ng’ali ku ppikippiki n’emukutulako omutwe. Ebimu ku bibajje Lubwama bye yakola mu myuziyamu a Namugongo. Yabadde avuga ng’atuuka e Nakiyanja Namugongo mmotoka weyamutomeredde okusinziira ku kojja we, BenonContinue reading “Eyakola ebibumbe by’e Namugongo n’e Mmengo afudde”

Akabenje katuze abooluganda 5

BYABADDE biwoobe ku kyalo Musita mu ggombolola y’e Baitambogwe mu disitulikiti y‘e Mayuge mmotoka magulukkumi bwe yalemeredde ddereeva waayo n’etomera abantu10, omukaaga(6) ne bafiirawo. Abaffamire abaafudde kuliko Nakatuba Sunati abadde omutuuze w’e Kamuli, Hasifa Mutesi, n’abaana basatu okuli Twaha Sadat, Junior Ahamada, Najibu Muhammad. Omulala eyafudde ye Yeko Kigenyi abadde ssentebe wa LC II ow’omulukaContinue reading “Akabenje katuze abooluganda 5”

Bawambye omwana ne bamutta

Ibrahim Kafeero olumu eyeeyita Brian 30, yataasiddwa poliisi y’e Njeru eyamukutte wakati mu kubwatuka kw’amasasi. Kigambibwa nti, nga December 31, 2019, yateeze omwana Faridah Mbabazi 9, eyabadde agenda okugula butto n’amusobyako oluvannyuma n’amutuga n’amutta. Nnyina wa Mbabazi, Rehema Batuuka yagambye nti, ku ssaawa mukaaga n’ekitundu ez’emisana ku Lwokubiri, yawadde muwala we 500/- aguleko butto waContinue reading “Bawambye omwana ne bamutta”

LDU ne poliisi basse ateeberezebwa okubeera omubbi

Abaserikale abaabadde balawuna ku Lwokusatu ekiro mu bitundu bya Kasubi, Namungoona, Kawaala ne Nakulabye baagudde ku kibinja ky’abavubuka abateeberezebwa okubeera ababbi ne bakubako omu amasasi n’afiirawo. Eyattiddwa ye Patrick Owiny era amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, abavubuka bano baabadde bakoze kye bayita ‘eggaali’ nga bagenda babba buli muntu gweContinue reading “LDU ne poliisi basse ateeberezebwa okubeera omubbi”

FUFA enejjanjaba abazannyi ba liigi ku bwereere

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo akubye abazannyi n’abakulembeze ba kiraabu mu liigi ya ‘super’ enkata, bw’alangiridde nga FUFA bw’etaddewo yinsuwa y’abazannyi bonna abasambiramu okutandika ne sizoni ejja. Agambye nti FUFA etaddewo obukadde 400 eza yinsuwa eri abasambi 400 mu Super League, bajjanjabwe ku buli bulwadde okuva ku buvune mu kisaawe n’obulala bwonna obunaabagwiranga ng’essiddwaContinue reading “FUFA enejjanjaba abazannyi ba liigi ku bwereere”

Bp. Kibuuka asabidde emirembe mu ggwanga nga tweteegekera okulonda mu 2021

Bp. Kibuuka asabidde emirembe mu ggwanga nga tweteegekera okulonda mu 2021 OMUKABIRIZI w’e Kanisa ya Evangelical Orthodox mu Uganda, era nga y’akulira ekifo kya Mamre International Prayer Centre, Bishop Jacinto Kibuuka  asabye waleme kubaawo kuyiwa musaayi mu kulonda okubinda binda okwa 2021. Bishop Kibuuka okwogera bino  yabadde mu kusaba kw’okuyita mu kiro ekiyingira omwaka 2020Continue reading “Bp. Kibuuka asabidde emirembe mu ggwanga nga tweteegekera okulonda mu 2021”

Poliisi ekutte abagambibwa okukyusa nnamba eziteekebwa mu masimu

Poliisi ekutte abagambibwa okukyusa nnamba eziteekebwa mu masimu AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Crime Intelligence bakutte bamakanika b’amasimu babiri e Nansana nga kigambibwa nti be bamu ku kabinja k’abavubuka abakolagana n’abamenyi b’amateeka okukyusa nnamba eziteekebwa mu masimu ne kiremesa poliisi okuzirondoola. Solomon Kyome 25, makanika w’amasimu ne Stephen Kibuuka 23 be baakwatiddwa. Ddayirekita wa Crime Intelligence,Continue reading “Poliisi ekutte abagambibwa okukyusa nnamba eziteekebwa mu masimu”

Musajja ki ono atonera Ameria emmotoka buli mwaka?

AMERIA Nambala bwe kitaba ‘kiwaani’ kati atambula avimba bwe bamutonedde mmotoka ku mazaalibwa ge. Omanyi bwe baamuwadde mmotoka eno baagaanyi okwogera omuntu agimuwadde ne gyevudde ng’ate teriiko na nnamba ng’ate abamu ku mikwano gye bakimanyi taata w’abaana be akola ku payini mu Kampala we batundira mmotoka. Akabaga kano kaabadde ku Mestil Hotel mu Kampala kuContinue reading “Musajja ki ono atonera Ameria emmotoka buli mwaka?”

Eyasangibwa n’ekiso azzeemu okukwatibwa

Eyasangibwa n’ekiso azzeemu okukwatibwa . POLIISI ekutte omusajja n’ekiso ekigambibwa nti kye yeeyambisa okutigomya abantu mu Kampala. Arafat Namige ye yakwatiddwa abaserikale ababadde balawuna Burton Street nga bayambibwako abantu baabulijjo oluvannyuma lw’okumwekengera ng’aliko ebintu by’atadde mu kaveera era bwe baamwazizza baamusanze n’ekiso. Kigambibwa nti guno mulundi gwakubiri nga Namige akwatibwa n’ekiso nga ogwasooka yakwatibwa ngaContinue reading “Eyasangibwa n’ekiso azzeemu okukwatibwa”

Engeri amagye gye gaasazeeko Chaka Chaka

Engeri amagye gye gaasazeeko Chaka Chaka . AMAGYE gaasazeeko omuyimbi Yvonne Chaka Chaka ku wooteeri mwe yasuze e Nakasero. Waabaddewo okusika omuguwa ku ky’okumutikka ku nnyonyi okumuzza e South Africa abalala nga bagamba nti okumugaana okuyimba mu Nkuuka kijja kuwa ekifaananyi ekibi naddala eri abalambuzi. Wabula nga bagamba nti okumukkiriza asooke kukola bweyamo nti tajjaContinue reading “Engeri amagye gye gaasazeeko Chaka Chaka”

Mweyise nga Yesu abantu babeegombe

Ayagala okumwegomba mu nsi naddala ng’akuze alina kweyisa nga Yesu eyazaaliddwa Abaana ba Ssande School mu kkanisa y’omutukuvu Steven e Kabowa bajaganyizza olw’okuzaalibwa kw’omwana Yesu ne bamuzinira amazina n’okumuyimbira ennyimba ezimutendereza. Bano baakulembeddwaamu abasomesa ba Ssande School okwabadde muky. Teo Mukasa n’abalala nga bakira bakulembera ennyimba nga bwe bazinira wamu n’okuyimba. Baabuulidde abato amakulu g’okuzaalibwaContinue reading “Mweyise nga Yesu abantu babeegombe”

Poliisi erabudde abayimbi ne bapulomoota abategezi ebivvulu

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano alabudde abayimbi abalina omuze gw’okukwata ssente z’ebivvulu ne batalabikako nti anaaloopebwa wa kusibira mu kkooti avunaanibwe. Yategeezezza nti waliwo abayimbi abalina omuze gw’okukwata ebivvulu ebingi nga n’ebimu bakimanyi bulungi nti tebajja kusobola kutuukayo olw’obudde oba okubeera mu bitundu eby’ewala. Yawadde abategesi b’ebivvulu okuloopa abo bonna abanaabalyazamaanya kubangaContinue reading “Poliisi erabudde abayimbi ne bapulomoota abategezi ebivvulu”

Mwezze buggya mu bikolwa ne Yesu azaaliddwa

Abakristaayo abaagala okufuna omukisa ogutalina buyinike baweereddwa amagezi bazze buggya ebikolwa byabwe Abakristaayo mu busumba bw’e Kabowa bakubiriziddwa okukozesa omukisa gw’okuggya kw’omwana Yesu bezze buggya mu bikolwa n’okukkiriza balyoke bafune omukisa ogutalina buyinike n’okwetemera ekkubo erinaabatuusa mu Ggulu. Omusumba w’ekkanisa eno, Henry Lukyamuzi bwe yabaadde abuulira mu kusaba ku kkanisa y’omutukuvu Steven e Kabowa yagambye nti,Continue reading “Mwezze buggya mu bikolwa ne Yesu azaaliddwa”

Ebintu 20 abasajja bye baagala bakyala baabwe bakole mu mwaka omupya

Omwaka bwe gubeera gutandika abantu ab’enjawulo balaga bye baagala bikolebwe. Ku nkomerero ya wiiki ewedde nagudde ku basajja abaabadde ku mbaga nga bali mu kibinja kya bantu munaana ne boogera ebintu 20 bye baagala bakyala (baganzi) baabwe bakole ne bye babasuubiramu mu 2020. Bino bye baayogedde yadde oluvannyuma waabaddewo abakyala abaabaanukudde. 1 Twagala nnyo akaboozi;Continue reading “Ebintu 20 abasajja bye baagala bakyala baabwe bakole mu mwaka omupya”

Aba ‘State House’ bakutte ebikola mu labalatole ebifu

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kulondoola ebyobulamu mu maka g’obwapulezidenti ekya State House Health Monitoring Unit, kikutte omusajja agambibwa nti abadde ajingirira amazzi agakozesebwa mu kukebera omusaayi. Eyakwatiddwa ye Edwine Tom Makoporo nnannyini Tograsta Co. Ltd e Kamuli mu Kireka oluvannyuma lwa bambega okumulinnya akagere nga bamuteebereza nti, ebintu by’atunda bya bicupuli. Dr. Brian Arinaitwe eyakulembeddemu ekikwekwetoContinue reading “Aba ‘State House’ bakutte ebikola mu labalatole ebifu”

Spice Diana atuuse okuyita obukunya!

SPICE Diana ekivvulu kimuwuuba luno era wanaatuukira ku lunaku mulindwa ng’alabika takyalina ngoye. Owoolugambo waffe atugambye nti omuyimbi ono ennaku zino buli kivvulu kyagendako afunayo omuwagizi amusanyusa gwawa olugoye. Alina gye yabadde akubira omuziki ku Ssekukkulu ne yeeyambulamu ekikooti n’akiwa omuwala eyabadde amuwaana. Oluvannyuma beekubizza ebifaananyi okulaga omukwano n’enkolagana. Oba Spice Diana yamaze kulengera muwalaContinue reading “Spice Diana atuuse okuyita obukunya!”

‘Bannayuganda mulime enva endiirwa’

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwenyigira mu bulimi bw’enva endiirwa ng’ekkubo ly’okutumbula enyingiza n’okulwanyisa ebbula ly’ebiriisa mu mibiri. Kamisona Consolanya Acayo bw’abadde atongoza ekibiina ekigatta abalimi b’enva endiirwa omwegattira abalimi, abakugu abalimisa, abatunda ensigo n’abalala bonna abaliko kye bakola mu kulima enva endiirwa okuyita mu kitongole kya Integrated Seed Sector Development Programme (ISSD) okulaba ng’omulimu guno gutwalibwa muContinue reading “‘Bannayuganda mulime enva endiirwa’”

Eyagobye mukazi we atuuyanidde ku poliisi

SSEMAKA eyagobye mukazi we gw’alinamu abaana bataano mu nnyumba akaabidde mu maaso g’abaserikale n’abeegayirira obutamuyingiza mu kaduukulu ka poliisi. Ramadhan Ssekayi, ddeereva w’emmotoka e Kawempe y’awuniikirizza abatuuze bwe yeefuulidde mukyala we, Hawa Namuyanja gw’abadde naye emyaka 28 n’amusuulira ebintu ebweru n’ekigendererwa eky’okuwasizaamu omukazi omupya. Abatuuze nga bayambibwako abakulembeze ne poliisi bamulemesezza era okukkakkana ng’aggaliddwa eContinue reading “Eyagobye mukazi we atuuyanidde ku poliisi”

Abavubuka 100 bayingidde amagye mu Hoima

ABAVUBUKA okuva mu disiturikiti ttaano e Bunyoro okuli; Hoima, Kibaale, Kakumiro, Kagadi ne Kikuube abasukka mu 500 abeeyiye mu kisaawe e Booma – Hoima okwewandiisa okuyingira amagye bangi bazzeeyo bakukkuluma olw’obutabeera na byetaagisa. Abaagaaniddwa mwabaddemu abalina empapula empewufu, ab’enkovukovu ku mibiri, amabwa n’ebintu ebirala. Okusinziira ku mwogezi w’amagye ow’ekibinja ekyokubiri buvanjuba bwa Uganda Maj. CharlesContinue reading “Abavubuka 100 bayingidde amagye mu Hoima”

boogeraAbakozi mu bbaala basse omuntu abatuuze ne batabuka

ABATUUZE b’e Kasokoso balumbye ebbaala ya Eastern Pub nga balumiriza abakozi baayo okukuba mutuuze munnaabwe ne bamutta nga bamulumiriza okubuza emipiira gya ppuulu. Isma Mukasa 27, omutuuze w’e Kasokoso y’agambibwa okuttibwa abakozi mu bbaala eno omulambo gwe ne bagusuula wabweru. Hamid Kivumbi ow’ebyokwerinda e Kasokoso yategeezezza nti essaawa zaabadde nga 11:00 ez’oku makya ne wabaawoContinue reading “boogeraAbakozi mu bbaala basse omuntu abatuuze ne batabuka”

Abazigu bateeze owa ‘Mobile Money’ ne bamukuba amasasi

Byabaddewo ku ssaawa 2:00 mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga. Abazigu abaabadde batambulira ku ppikipiki etaategeerekese nnamba baataayizza Shafic Matovu 25 alina edduuka lya Mobile Money. ABAZIGU abemmundu bataayizza owa ‘Mobile money’ e Matugga ne bamukuba amasasi ku mikono nga bagezaako okubba kyokka n’abasimattuka. Amasasi yagakubiddwa nga yaakasibawo edduuka lye adda awaka. Amasasi gaamukutte ku mikono. WabulaContinue reading “Abazigu bateeze owa ‘Mobile Money’ ne bamukuba amasasi”

Paasita Mukisa akubirizza abantu okuba abakozi mu 2020.

Omusumba w’ekkanisa ya Triple Blessings e Namulanda, David Mukisa ategese okusaba kw’okuyita mu kiro nga December 31, 2019 mwagenda okusabirira eggwanga okubukalamu emirembe ssaako okukubiriza abantu okukola mu mwaka omupya ogwa 2020. Omusumba w’ekkanisa ya Triple Blessings e Namulanda, David Mukisa ategese okusaba kw’okuyita mu kiro nga December 31, 2019 mwagenda okusabirira eggwanga okubukalamu emirembeContinue reading “Paasita Mukisa akubirizza abantu okuba abakozi mu 2020.”

Njagala kutandika bya kwegatta naye mbitya.

SSENGA nnina emyaka 17, njagala kutandika kwegatta kyokka mbitya kubanga nkyasoma mu S4. Nsobola ntya okukikola ne sifuna lubuto? EYO embeera mwana wange teriiyo. Sooka osome olyoke olowooze eby’okwegatta kubanga okyali mwana muto. Osobola okufuna olubuto oba siriimu ne kikufiiriza emikisa mingi mu maaso. Ekirala, abasajja tebakyalina buvunaanyizibwa, bw’ofuna olubuto ng’akwegaana. N’ekirala mwana wange emyakaContinue reading “Njagala kutandika bya kwegatta naye mbitya.”

Bad Black akubye Don Bahati eggiraasi Don

BAD Black asiiwuuse empisa n’akuba Omusama Don Bahati eggiraasi y’omwenge ku mutwe mu bbaala. Emusaze waggulu okumpi n’eriiso era ddyo olwo n’amuleka ng’atiiriika omusaayi n’alinnya bboodabbooda n’abulawo. Babadde ku kabaga ka Don Bahati mu bbaala ya Guvnor mu kiro ekyakeesezza Olwokutano era nga entabwe yavudde ku Bahati okutabukira Bad Black eyabadde amukanda ssente n’amulangira okwavuwalaContinue reading “Bad Black akubye Don Bahati eggiraasi Don”

Kusasira azzizza omuliro ku by’okumukuba obucupa

Kusasira ng’ayogera ne Bukedde ku makya g’Olwokutaano yagambye nti abaamukubye tebamanyi byabufuzi na nsonga za bukulembeze bwe zitambula. Yannyonnyodde nti bannabyabufuzi abamu beefuula abaagala enkyukakyuka nga beekwasa nti tebafugiddwa bulungi ng’ate ebikolwa byabwe tebiwa kyakulabirako kya nkyukakyuka ya mirembe gye boogerako, eteeka ekitiibwa mu ddembe ly’abalala. Yagambye nti ekyo kiba kitegeeza nti enkyukakyuka gye baagalaContinue reading “Kusasira azzizza omuliro ku by’okumukuba obucupa”

Bugingo atutte Suzan ewa Bugembe

Aloysius Bugingo yalinnye ku siteegi ewa Pasita Wilson Bugembe n’asuulamu akayimba: “Labayo bwe kiri ekirungi abooluganda okutuula awamu…”olwo abantu ne baanukula n’enduulu wakati mu kubwatuka kw’engalo. Bugingo yayimbye akutte ku kibegabega kya Bugembe ng’akabonero k’okutabagana. Baabadde mu kivvulu kya Bugembe ku Worship House e Nansana nga December 26. Bugembe ne Bugingo bamaze emyaka 10 ngaContinue reading “Bugingo atutte Suzan ewa Bugembe”

Omukazi bamusse ne bamusonseka ebiveera mu kamwa

ABATUUZE b’e Bwaise baakeeredde mu ntiisa, bwe baasanze munnaabwe ng’attiddwa. Abaamusse kigambibwa nti baasoose kumusobyako ne bamusonseka ebiti ne biveera mu kamwa n’ebitundu by’ekyama, omulambo ne bagusuula mu Zooni eriraanyeewo. Edin Ssanyu 30, ow’omu Jambula Zooni mu Kimombasa ye yattiddwa. Owa poliisi ng’atangira abantu okugenda mu kifo awaabadde ettemu. Omulambo gwe gwasangiddwa nga guteereddwa muContinue reading “Omukazi bamusse ne bamusonseka ebiveera mu kamwa”

Ettu lya Ssekukkulu: Poliisi ewadde ebiragiro ku bifo omukung’aanira abantu

POLIISI ewadde ebiragiro ku bifo ebikuhhaaniramu abantu abangi mu Kampala okusobola okukendeeza ku bubbi obukudde ejjembe naddala ku bantu abazze okusuubula. Ssentebe wa siteegi ya Masaka mu ppaaka empya, Henry Kabiito ng’annyonnyola Mwebaze (owookubiri ku ddyo) ku mbeera mu ppaaka yaabwe. Kino kiddiridde omukazi Cathy Wanyana eyavudde e Kyotera n’ajja mu Kampala okusuubula ne bamubbaContinue reading “Ettu lya Ssekukkulu: Poliisi ewadde ebiragiro ku bifo omukung’aanira abantu”

Ebyentambula ya Ssekukkulu: Agenda e Masaka tolina ky’okima mu kibuga!

NGA Ssekukkulu ekonkona ku luggi, omugotteko gw’ebidduka mu kkubo gweyongera buli lukya,kino kyeraliikiriza ennyo abatambuze naddala abo ababa bagenda mu byalo okuliira awamu ennaku enkulu n’abantu baabwe. Vision Group etwala olupapula lwa New vision ne Bukedde ekugonderezzaamu ggwe agenda okuliira Ssekukkulumu mu disitulikiti  nga; Mpigi, Masaka ne Ssembabule, ekulaze ekkubo mw’oyinza okuyita amangu n’otatawaanyizibwa kalippaganoContinue reading “Ebyentambula ya Ssekukkulu: Agenda e Masaka tolina ky’okima mu kibuga!”

Ebisale by’entambula eri abadda mu byalo bipaaziddwa

OBUNGI bw’abantu abagenda mu byalo okulya ennaku enkulu buvuddeko ebisale by’entambula okulinnya ku nguudo ez’enjawulo. Mu ppaaka za bbaasi ezimu okuli eya Namayiba , Global Coaches eya Kampala mukadde, Kisenyi Bus Terminal, Arua Park n’endala kati kikwetaagisa okulindako okumala akaseera okufuna bbaasi etikka . Bannannyini bbaasi bagamba nti abantu abatambula beekubidde oludda lumu oluva eContinue reading “Ebisale by’entambula eri abadda mu byalo bipaaziddwa”

Gavt. ekoze bajeti ya bukadde 1,160 okutuuza Bp. Kazimba

NAMPALA wa Gavumenti Ruth Nankabirwa ategeezezza nti, gavumenti ekoze embalirira ya bbiriyoni emu n’obukadde 160 nga ze zigena okukozesebwa mu kutuuza Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen Kazimba Mugalu n’okusiibula Ssaabalabirizi Stanley Ntagali. Nankabirwa nga ye ssentebe w’akakiiko akategeka emikolo gino, yategeezezza bannamawulire ku kitebe ky’Obusaabalabirizi e Namirembe wakati mu kwetegekera okutuuza Ssaabalabirizi omuggya nga March 1,Continue reading “Gavt. ekoze bajeti ya bukadde 1,160 okutuuza Bp. Kazimba”

Bba wa Julie Angume ayogedde ku by’okusazaamu embaga yaabwe

EBIZIBU bya Julie Angume eby’okwanjula ekifaananyi byeyongedde, embaga ye nayo bw’esaziddwaamu. Julie nga yeetegereza ekifaananyi kya bba kye baaleese mu kwanjula. Ku mbaga abantu bangi kwe babadde beesungidde okulaba ku bba, Sam Musoke Sekajugo. Wabula yasaziddwaamu olw’enkaayana mu famire ng’abekika abataasanyuka olwa bba obutalabikako ku kwanjula ate bakitegedde nti ne ku mbaga tebagenda kumulabako, kubangaContinue reading “Bba wa Julie Angume ayogedde ku by’okusazaamu embaga yaabwe”

Abatuuze bakubye ebituli mu mirimu gya Poliisi y’oku Kaleerwe

Abatuuze bakubye ebituli mu mirimu gya Poliisi y’oku Kaleerwe ABAKULEMBEZE n’abatuuze  abatwalibwa Poliisi y’oku kaleerwe bemulugunyizza ku basirikale abakola ebikwekweto ne babaggyako abantu ensimbi. Ng’ebula enaku mbale okutuuka mu naku enkulu poliisi z’omu kampala zizze zikola  ebikwekweto by’okunoonya abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka nga ku Kaleerwe poliisi eyambibwako aba LDU abakulembeze n’abatuuze abasooka okubisanyukira kati babyevumaContinue reading “Abatuuze bakubye ebituli mu mirimu gya Poliisi y’oku Kaleerwe”

Kola bino munyumirwe eggandaalo lya Ssekukkulu n’omwagalwa wo

SSEKUKKULU n’okumalako omwaka kiba kiseera kya njawulo. Bwe kituuka mu baagalana, kiba kiseera kya kupima omukwano buli omu gw’alina eri munne,kubanga buli omu aba alina by’asuubira okuva eri munne. Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abafumbo agamba nti mu ggandaalo lino, buli muntu mu mbeera ye oba mu nnyingizaye asobola okulufuula olunyuvu singa buli omu abeeraContinue reading “Kola bino munyumirwe eggandaalo lya Ssekukkulu n’omwagalwa wo”

Ettu lya Ssekukkulu: Agenda mu kyalo okulya Ssekukkulu goberera bino oleme kubbibwa

NG’EBULA mbale Ssekukkulu etuuke, Bannakampala abaagalaokugiriira mu byalo gye babazaala abamu baatandise dda okugenda mu byalo. Akeetalo mu kibuga wakati kaamaanyi ate bwe kwegattiddwaako enkyukakyuka ezikolebwa omuli okukyusa enguudo ne kiyitirira. Emmotoka ezimu zaakyusibwa okuva mu ppaaka empya n’enkadde nga kati ozisanga mu ppaaka mu Kisenyi oba mu Usafi. Kino kikaluubiriza abasaabaze naddala abatatera kuyitaContinue reading “Ettu lya Ssekukkulu: Agenda mu kyalo okulya Ssekukkulu goberera bino oleme kubbibwa”

Yigiriza omwana okunaaba engalo kimusobozese okuyita mu luwummula nga mulamu

Engeri gy’oyigiriza omwana okunaaba engalo ne zitukula okugoba obuwuka obubalwaza uyigirize abaana okunaaba obulungi mu ngalo okusobola okutangira endwadde eziva ku bujama kibasobozese okuyita  mu luwummula naddala eggandaalo lya Ssekukkulu nga balamu bulungi. Okunaaba engalo lye limu ku makubo lye tuyinza okukozesa okusobola okuyigiriza abaana okwerinda endwadde eziva ku bujama baleme kulwala. Dr. Sabrina BakeeraContinue reading “Yigiriza omwana okunaaba engalo kimusobozese okuyita mu luwummula nga mulamu”

Engeri ennyangu ey’okugula ebintu

Engeri ennyangu gy’ogula ebintu eyby’omutindo ku mutimbagano n’owona okulinnyirirwa mu kibuga Okusinziira ku nsi bw’ekulaakulanye okuyitira mu tekinologiya, abantu ennaku zino  tekikyabeetaagisa kugenda Bulaaya oba okugenda ku maduuka okugula ebintu eby’enjawulo. Osobola okugula n’okusasulira  ebintu byonna bye weetaaga nga weeyambisa omutimbagano. Kino kiyamba okufissa obudde n’okolamu ebintu ebirala era n’okumala ssente ng’otambula kubanga ebintu bikusangaContinue reading “Engeri ennyangu ey’okugula ebintu”

Ghetto King acankalanyizza e Kisenyi ng’agaba ebya ssekukkulu

Ghetto King acankalanyizza e Kisenyi ng’agaba ebya ssekukkulu GHETTO King acankalanyizza abatuuze b’omu kisenyi wano mu Kampala bwabadde agenzeeyo okutwalira abaana ba Ghetto ebintu bya ssekukkulu. Ghetto King azze n’olukalala lw’emmotoka era abantu oluzirabye nga ziyingirawo mu Kisenyi nabo ne baziwerekera okutuuka awabadde wategekeddwa omukolo gw’okugabira ebyassava bya Ssekukkulu. Ebimu ku bintu Ghetto King by’awaddeContinue reading “Ghetto King acankalanyizza e Kisenyi ng’agaba ebya ssekukkulu”

Ensonga lwaki Museveni yakyusizza baminisita

NG’EBULA ebbanga ttono okulonda kwa 2021 kubeerewo, Pulezidenti Museveni yalangiridde kabineeti esookedde ddala mu kiseera era esuubirwa okumuwanguza akalulu. Kabineeti empya erimu baminisita aboogerwako ng’abakuliridde okuli; Ali Kirunda Kivejinja 84, ne Gen. Moses Ali 80. Baabagasseeko abavubuka nga Hamson Denis Obua 39, eyaweereddwa obwaminisita omubeezi ow’ebyemizannyo ne Peter Ogwang 36, minisita omubeezi owa tekinologiya. AbamuContinue reading “Ensonga lwaki Museveni yakyusizza baminisita”

Biibino ebifa ku baminisita abapya abaalondeddwa

Biibino ebifa ku baminisita abapya abaalondeddwa. BAMINISITA Pulezidenti Museveni be yalonze yaleeteddemu abantu abapya n’abaggonomolako agafo agasava. Jackson Kafuuzi , mubaka we Kyaka South mu disitulikiti ye Kyegegwa . Ye yasemba ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. Yafuuliddwa mumyuka wa Ssabawolereza wa Gavumenti. Judith Nabakooba (mukazi/Mityana) era nga yaliko omwogezi wa poliisi mu ggwangaContinue reading “Biibino ebifa ku baminisita abapya abaalondeddwa”

Makanika bamukanise ne bamutulisa emimwa

FRED Mukasa 23, omutuuze w’e Bwaise makanika mu galagi emu eriraanye ebbaala ya DB9 mu muluka gwa Makerere 1 e Kawempe. Kigambibwa yanyakudde ensawo y’omukyala akola ku Mobile Money n’adduka. Abasuubuzi baamusimbyeko ekikumi ne bamukwata ne bamukuba bubi nnyo era baagenze okumuvaako nga bamwasizza omutwe yenna afuuwa musaayi. Abantu baawuliddwa nga bagamba nti makanika bamukaniseContinue reading “Makanika bamukanise ne bamutulisa emimwa”

Bano abaana banoonya magombe?

ENKUBA efudemba ennaku zino eyombya abantu naddala abasula mu bifo ebikosebwa amazzi nga Bwaise, Lufuka n’ebitundu ebimu eby’e Najjanankumbi. Amazzi bwe gayitirira obungi nga gayingira mu nnyumba z’abantu n’abamu basula bayimiridde nga bwe bagayoola. Kyokka abaana balaba embeera etabuse nga badduka ku muliraano okufuna we beewogoma. Bano abaana twabaguddeko mu bitundu by’e Najjanankumbi I muContinue reading “Bano abaana banoonya magombe?”

Abazigu batuze omusuubuzi w’engatto e Masaka

ABANTU abatannategeerekeka bawambye omusuubuzi w’engatto e Masaka ne bamutugira mu mmotoka omulambo gwe ne bagusuula okumpi n’ekkubo nga bagulizze akandooya. Okusinziira ku akulira poliisi y’e Lukaya, Vianney Birungi, Fadul Bizimungu 34, ye yatugiddwa era omulambo gwe gwasangiddwa ku kyalo Bajja mu ggombolola y’e Bukulula ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala. Abatuuze abaabadde bagendaContinue reading “Abazigu batuze omusuubuzi w’engatto e Masaka”

Uganda yeetaaga kuwangula Kenya ewangule ekikopo kya CECAFA eky’abawala

Tanzania yalemaganye ne Uganda ggoolo 1-1 ku Ssande n’egiremesa okulangirirwa ku bwakyampiyoni. Mu za CECAFA U17 Girls Championship; Uganda 1-1 Tanzania Djibouti 0-4 Eritrea Burundi 2-3 Kenya TANZANIA yeezinze ku Uganda mu mpaka za z’omupiira gw’abawala abatasussa myaka 17 mu mawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Africa okukkakkana ng’egiremesezza okulangirirwa ku bwakyampiyoni b’empaka zino ku Ssande. UgandaContinue reading “Uganda yeetaaga kuwangula Kenya ewangule ekikopo kya CECAFA eky’abawala”

Spice Diana awangudde engule Eddy Kenzo n’acamuka

NG’OGGYEEKO okuwangula engule y’omuyimbi omukyala asinze okwambala, obuwero Spice Diana bwe yeesaze bwacamudde abalabi ne bakkiriza nti ddala yabadde asaanidde ate ne Fik Fameica n’awangula engule y’omuyimbi omusajja asinze okwesala emisono omwaka guno. Baawangudde engule mu mpaka z’ebyemisono eza Abryanz Style & Fashion Awards 2019 ezaabadde ku Serena Hotel ku Lwokutaano ekiro. Wadde nga omukoloContinue reading “Spice Diana awangudde engule Eddy Kenzo n’acamuka”

‘Gy’otega amaggwa…’

ABAAGEREESA nti gy’otega amaggwa gye bakuzza anti lutuukira bulungi ku ba KCCA bano abaagudde mu kinnya kyabwe. Bano bulijjo babalabula ku binnya ebiri mu nguudo z’omu Kampala naye nga beesuulirayo gwa nnagamba naye ku mulundi guno Katonda yabavuddemu era ekimu ku binnya byabwe ebya kazambi bye baagaana okubikka be bakyegwiiriddemu. Entambula yayonoonese okumala akaseera nayeContinue reading “‘Gy’otega amaggwa…’”

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala n’atwalibwa mu ddwaliro ng’ataawa

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu ddwaliro nga naye embeera gy’alimu ssi nnungi. Ekikangabwa kino kigudde kumpi ne yunivasite ya UCU e Mukono. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire ategeezezza nti omugenzi ye Jane Nakirya, 17, ng’ono yava BudakaContinue reading “Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala n’atwalibwa mu ddwaliro ng’ataawa”

Fayinolo ya liigi mu basketball w’abakazi ejulidde luzannya lusembayo

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo. JKL Lady Dolphins etuuyanye okulemesa UCU Lady Canons okutwalira ekikopo kya basketball sizoni eno ku luzannya olwomukaaga kw’ezo omusanvu ze balina okuzannya mu fayinolo y’omwaka guno. Ku Ssande, abawala ba JKL baavudde mabega okuwangula n’enjawulo y’akabonero kamu. Baanywesezza obugobaContinue reading “Fayinolo ya liigi mu basketball w’abakazi ejulidde luzannya lusembayo”

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n’erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n’erinnya eppya omwami we lye yamuwadde JULIE Angume akyusizza erinnya ng’ategeka okwanjula kwe. Kati bamuyita Julie The Heart Beat. Amannya gaayanjuddwa ku mukolo gwa ‘Intro shower’ ogwaddiridde okwanjula kwe okugenda okubeera e Kiboga ku Lwokuna luno mu maka ga bazaddebe, Ronald Ssemugga ne Mariam Semugga nga katiContinue reading “Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n’erinnya eppya omwami we lye yamuwadde”

Engule Bobi Wine gye yawangudde emuwanise

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku maanyi mu kalulu ka 2021. ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku maanyi mu kalulu ka 2021. Yakwasiddwa engule ya Friedrich Naumann African Freedom Award mu kibuga Johannesburg ekya South Afrika kuContinue reading “Engule Bobi Wine gye yawangudde emuwanise”

Laba engeri gy’osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Laba engeri gy’osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri NGA tusemberedde okumalako omwaka, mmanyi bangi mwalina ebiruubirirwa nga gutandika naye abamu temusobodde kubituukako. Wabula tolina kuba mwennyamivu olw’embeera y’ebyenfuna oba oli awo ekulemesezza kubanga waliwo emirimu gy’osobola okutandikawo ne ssente entono n’okyusa obulamu omwaka ogujja. Abantu abamu banyooma obukolero obutono naye mwattuContinue reading “Laba engeri gy’osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri”

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n’enguzi

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n’enguzi LUTIKKO ye Namirembe ewumye eggulo Omulabirizi we Namirembe Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira bwe yabadde ayawula abadinkoni n’abakadde b’ekkanisa. Okusaba kuno kwatandise ku ssaawa nnya ez’okumakya wakati mu basumba okuyingirira mu nnyiriri. Diini wa Lutikko ye Namirembe Rev Can Benon Kityo nga ya’buulidde asabye abawule abatikkiddwa okwewala entalo n’abakristaayo ngaContinue reading “Abaawule balabuddwa ku bwenzi n’enguzi”

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga yawuubyeko ekigere ewa Gabunga Mubiru Zziikwa e Kabowa okumubuuzako n’okumutwalira Ssekukulu. Yamutwalidde abazzukulu abapya ne baweebwa amaanya g’ekika ky’Emmamba. Kwabaddeko Herman Schutten okuva mu Germany eyatutte erya Kizito, Andrea Duharova yafunye lya Namutebi ne Olga Mutnanska n’atwala erya Namiiro nga bava muContinue reading “Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga”

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega EBINTU bya bukadde na bukadde bitokomokedde muliro ogusaanyizzzaawo emmaali y’abasuubuzi mu katale k’e Matugga. Omuliro guno gwakutte ku ssaawa 8:00 ez’ekiro ekikeesezza ku Lwokutaano nga gutandikidde mu sitoowa abasubuuzi mwe batereka emmaali yaabwe buli Lwakusatu n’Olwokuna bwe baba bagenda mu katale k’omubuulo. Ebyamaguzi ebisinze okusiriira kuliko; engatto, endibota z’engoye, ensawo, obuwungaContinue reading “Omuliro guzizza abasuubuzi emabega”

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere ABATUUZE okuva ku byalo bitaano okuli Kisaanabataka, Kijjaaba, Kakoma, Kibimba A ne Kibimba B mu ggombolola y’e Kyazanga mu disitulikiti y’e Lwengo basattira olw’obubbi bw’ebisolo n’emmere obweyongedde mu kitundu kyabwe ebyolekedde okubateeka mu njala n’okubattisa. Ebisolo okuli embizzi, enkoko, embuzi n’ente ababbi babigguddeko olutalo nga mu bbanga lyaContinue reading “Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere”

Norman Musinga ayogedde ku by’okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Norman Musinga ayogedde ku by’okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako OYO OMUKAZI ANEESIBAKO MUSINGA Musinga yategeezezza nti omukazi by’ayogerako alabika tabitegeera kuba ky’alemerako nti kkooti yamuwa obuyinza okubeera n’abaana mu 2016 ate kkooti yabimenyawo mu 2019 era abaana abalina mu mateeka gennyini. Yayongeddeko nti, Esther amwesibirako bwereere kuba takyali mukyala we kkooti yabaawukanya ekyo neContinue reading “Norman Musinga ayogedde ku by’okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako”

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana NAJAGALA OBUKADDE 100 N’ENTE 25 TWAWUKANE Kyinkuhaire yagambye nti, talina buzibu bwonna kwawukana na Musinga kubanga ye ky’ayagala naye n’agamba nti, alina okusooka okutuukiriza obukwakkulizo bwe. Yagambye nti, bwe yateekayo okusaba kwe baawukane, yamuwa obukwakkulizo kwe balina okwawukanira n’amugamba nti, ayagala amuwe ssente enkalu 100,000,000/-, enteContinue reading “Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana”

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere ABATUUZE okuva ku byalo bitaano okuli Kisaanabataka, Kijjaaba, Kakoma, Kibimba A ne Kibimba B mu ggombolola y’e Kyazanga mu disitulikiti y’e Lwengo basattira olw’obubbi bw’ebisolo n’emmere obweyongedde mu kitundu kyabwe ebyolekedde okubateeka mu njala n’okubattisa. Ebisolo okuli embizzi, enkoko, embuzi n’ente ababbi babigguddeko olutalo nga mu bbanga lyaContinue reading “Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere”

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe EKIRAGIRO kya Kabaka ku kulambula obutaka bw’ebika kivuddeko ab’Olugave okunoonya ensimbi obukadde 100 okugaziya n’okununula ekitundu ku butaka bwabwe e Katende mu ssaza ly’e Mawokota. Obutaka bw’ekika kino e Katende bwatundwa mu myaka gya 1980. Baalonze katikkiro wa Buganda eyawummula, Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere okubeera ssentebe w’olukiiko olw’okununula obutaka bw’ekika kino. “KabakaContinue reading “Aboolugave baakununula obutaka bwabwe”

Bawangudde mu mpaka z’okufumba eza Bukedde TV

Bawangudde mu mpaka z’okufumba eza Bukedde TV EMPAKA z’okufumba ekimmere ezitegekebwa Bukedde ttivvi zaakomekkerezeddwa n’ebbugumu ng’abantu bakyaziyaayaanira. Zimaze wiiki nnamba nga zibumbujjira mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Mu katale e Nakasero Sarah Naggirinya ye yasinze n’addirirwa Faridah Nantume ne Sylivia Nakaayi. Ate e Mubende zaawanguddwa Immaculate Nanyonga n’addirirwa Fiisi Biringiro, Ali Nnali ate Teddy Nakalema yeetisseContinue reading “Bawangudde mu mpaka z’okufumba eza Bukedde TV”

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba PULEZIDENTI Museveni ayimirizza omusolo gw’amayumba ogumaze ebbanga nga gwogeza abantu naddala bannannyini mayumba ebisongovu. Ekiragiro ekiwera omusolo guno yakiyisizza mu bbaluwa gye yawandiikidde minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Tom Butime ng’amulagira okuguyimiriza. Ebbaluwa yagiwandiise nga November 28, 2019. Mu bbaluwa, Pulezidenti yategeezezza nti azze afuna amawulire nti disitulikiti zibadde zisolooza omusolo gw’ebizimbeContinue reading “Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba”

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro Lukwago n’amukontola

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro Lukwago n’amukontola MINISITA wa Kampala Beti Kamya alagidde akola ng’akulira KCCA Andrew Kitaka ateeke mu nkola ennongoosereza mu tteeka lya KCCA mbagirawo ezigggyako Loodi Meeya Lukwago obuyinza okubeera Sipiika wa kanso. By’alina okutandikirako kwe kukubiriza bakkansala okwerondamu sipiika wa kkanso bamuwe ofi isi n’emmotoka mw’anaatambulira era atandikirewo okukubiriza enkiiko zaContinue reading “Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro Lukwago n’amukontola”

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke ku by’abakyala be abaanoba

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka abalala batadde omuyimbi Haruna Mubiru mu kasonda ne bamukunya olw’okulagajjalira bakyala be naddala Raudha Ssonko muwala w’omugagga Guster Lule Ntakke. Mukimanye twakkaanya bukkaanya agende mu Amerika era gy’abeera naye mwe muluzunza nti nayawukana naye. 

Kiki ekinakuwazza Naava Grey?

Yabadde Kanyanya nga nnambattaano wa SK Mbuga, Abdallah akyala mu maka ga Musa Katongole eyali owa UTODA. Era y’omu ku bayimbi abaayimbye nga Aisha muwala wa Katongole alaga abazadde omulenzi we. Ekyewuunyisizza abako, ab’awaka n’abantu bakira abamulaba ye muyimbi ono okunakuwala ng’oyinza okulowooza nti waliwo eyamukase okujja ku mukolo. Ono bwe yabadde tannayimba, yalabise ng’aliContinue reading “Kiki ekinakuwazza Naava Grey?”

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga abakyala bye baboogerera. Kino kyandowoozesa nti abasajja bonna kye kimu ekintu ekyayongera okuntiisa era ne mmaliriza obutamala gawa musajja gwe seekakasa mutima gwange. Ebiseera we byangenderera, nasalawo okuguma omutima ne nzigala amatu okuva eri mikwano gyange kuba ffenna tetufaanaganaContinue reading “Nneebaza Mukama okumpa omutuufu”

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala omwana omulenzi. Nti azaala baana balenzi bokka. Ssenga njagala omwana omulenzi ate ono omusajja andi bubi, mmwagale nfune omwana omulenzi omwami wange ndimunnyonnyola n’akitegeera. WANGI mwana wange! Ani gw’ogenda okunnyonnyola n’akitegeera? Ekirala oli mufumbo oba toli mufumbo? OmufumboContinue reading “Nnoonya mwana wa bulenzi”

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka ow’abakazi 3

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa ne mukyalamuto Teopista Nakakooza Settuba nga December 15, 2018. Nnamwandu Nakakooza n’abaana be ng’ayogera. Atudde wansi ku ddyo ye Margaret Settuba . Mu katono waggulu Settuba bw’abadde afaanana. Okuziika kwetabyeko abantu baabulijjo, bannabyabufuzi ne bannaddiini abaakulembeddwa omubuulizi Victo Sempiira.Continue reading “Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka ow’abakazi 3”

Minisita azzizza ab’e Gomba ku ttaka

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja byabwe gye baasengulwa. Abatuuze baasengulwa omugagga Peter Wasswa. Olukiiko minisita Namuganza yalutuuzizza ku kyalo Nkwale mu Town Council y’e Kanoni mu Gomba. Abatuuze baamusindidde ennaku gye bayitamu oluvannyuma lw’okusengulwa mu bibanja byabwe n’ennyumba zaabwe ne zikoonebwa ne balumiriza RDCContinue reading “Minisita azzizza ab’e Gomba ku ttaka”

Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza Katonda

ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya Piller of Fire International Ministries ey’omusumba Wasswa Kiyingi e Kanyanya bafune emikisa n’okumukwatirako ku mulimu gw’okugula ettaka waagenda okuzimba ekkanisa ennene. Omusumba ono naye muyimbi era yayimbako ne Paasita Wilson Bugembe ennyimba nga, Mukama gwe Omanyi ebyange. Era muContinue reading “Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza Katonda”

Design a site like this with WordPress.com
Get started