Chandi Jamwa bamusibye emyaka 12

EYALI akulira ekittavu ky’abakozi ekya NSSF, David Chandi Jamwa ebibye bibi ddala kkooti ey’oku Ntiko gy’abadde alinamu essuubi bw’eragidde asibwe emyaka 12 gy’abadde yeepena olw’okufiiriza gavumenti obuwumbi busatu.

Jamwa1703422 703x422
Chandi Jamwa

Jamwa omusango guno kkooti yagumusingisa mu 2011 n’emukaliga emyaka 12 naye okuva olwo abadde yeeyimirirwa ng’okujulira kwe bwe kuwulirwa.

Abalamuzi ba kkooti ey’oku Ntiko, basatu ku bataano okwabadde Eldard Mwangusha, Dr. Lillian Tibatemwa ne Paul Mugamba bakkiriziganyizza n’ensala y’omulamuzi John Bosco Katusi nti Jamwa yatunza Crane Bank emigabo gya gavumenti nga teginnakula n’agifiiriza ssente ezo.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started