Maneja w’ebbaala e Mulago akwatiddwa ku by’obubbi

Ntaganda yakwatiddwa mu kiro ekyakeesezza ku Mmande ku ssaawa 7:00 ng’azzeeyo ku bbaala okulaba ku muganzi we Grace Mugisha.

Ntagandangakwatiddwa4 703x422
Ntaganda eyakwatiddwa

MANEJA w’ebbaala agambibwa okubba 4,800,000/- n’ebintu  ebikalu  n’adduka bamukutte azzeeyo kulaba ku muganzi we mu matumbibudde.

Brighton Ntaganda abadde maneja ku bbaala ya Just Life Bar esangibwa e Mulago ku luguudo lwa Mawanda gwe balumirizza okubba ssente zino n’ebintu okwali ttivvi oluvannyuma n’adduka.

Nnannyini bbaala Moses Ntambi yaloopa omusango ku poliisi y’oku Kaleerwe oguli ku fayiro nnamba SD REF:28/12/11/2019.

Ntaganda yakwatiddwa  mu kiro ekyakeesezza ku Mmande ku ssaawa 7:00 ng’azzeeyo ku bbaala okulaba ku muganzi we Grace Mugisha.

Ntaganda mu kwewozaako yagambye nti ebimwogerwako si bituufu wabula  yakola loosi ya mitwalo 70 we yasinziira okudduka olw’okutya mukama we ng’era mu kugenda  talina kintu kikalu kye yatwala.

Ntambi yagambye nti Ntaganda amaze omwaka mulamba ng’amukolera wabula nga ssente zirudde nga zibula nga tebamanyi azitwala kuba Ntaganda abadde amwesiga nga tamusuubira kumubba.

Yagasseeko nti Ntaganda bwe yamala okubba yadduka bwe baamukutte baazudde nti waliwo ne ssente endala z’azze abba ku bakasitoma abasasula okukolera emikolo mu kifo kino.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started