JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Mu Fayinolo za Basketball
JKL Dolphins 58-69 UCU
UCU Lady Canons eyongedde ebbugumu mu fayinolo y’ekikopo kya liigi ya
basketball bw’ekubye JKL Dolphins 69-58 mu luzannya olwokuna n’edda
mu kibalo.
Ku Lwokuna, ttiimu zombi zadding’anye mu nsiike eyookuna kw’ezo
omusanvu ze balina okuttunka nga babbinkanira ekikopo kya sizoni eno.
JKL ebadde yaakawangulako enzannya bbiri, nga yeetaaga kuwangula yaakusatu
okutangaaza emikisa wabula UCU ebadde yaakawangula ogumu, yaggyeeyo
n’omu buto okufuna obuwanguzi obwokubiri.
Enkya (Lwakutaano) badding’ana mu luzannya olwokutaano nga bonna benkanya wiini
(2-2).
Ttiimu eneesooka okufuna wiini nnya y’egenda okulangirirwa ku
bwakyampiyoni bw’omwaka guno.
Zainah Lokwameri owa UCU ye yasinze okukola obugoba (15), Libbaawundi
5, Rhoda Naggita (14), Rose Akon (11) ate Sarah Ageno n’akola obugoba
12.
Libbaawundi 17 n’ayambako abateebi emirundi ettaano, kyamufudde
omuzannyi eyasinze banne bonna mu muzannyo (MVP).
Stella Oyella ye yasinze okuteebera JKL Dolphins ku

bubonero(15)
n’addirirwa Hope(10).
Mu fayinolo y’abasajja, enzannya zaabwe zaayimiriziddwa olwa City Oilers okuba nti egenda kuzannya mu mpaka za Champions of Afrika.
UCU Canons bwe battunke ne City Oilers era enzannya za fayinolo zaakuddamu nga eza Afrika ziwedde nga December 22.