Palamenti ereeta etteeka ku banyumya akaboozi

PALAMENTI ereeta etteeka ekkambwe ku bazza emisango egyekuusa ku by’okukaka omukwano nga lirimu ekibonerezo ky’okuwanika ku kalabba omuntu yenna alina siriimu n’akaka omulala akaboozi.

Parliament703422 703x422

Abalala abagenda okuwanikibwa ku kalabba singa basingibwa omusango gw’okukaka omukwano kuliko; abakabassanya abakadde, abakwata abakazi ekirindi, abakaka abantu akaboozi ne bafuna obulemu.

Ate abantu abaganza abalala be balinako oluganda baakusibwanga mayisa singa etteeka eppya linaayisibwa Palamenti.

Ba bboosi abakanda akaboozi, omusawo asaba omulwadde omukwano, abasomesa ku bayizi omukwano n’abalala abagwa mu ttuluba eryo baakutanga obukadde buna.

Omuntu awemula oba atigatiga munne mu ngeri eyesitazza oba okumukwatako ku kabina n’amabeere bw’asingibwa omusango asibwa mwaka oba okutanga emitwalo 48.

Etteeka lino erya Sexual offences Bill 2019 lyayanjuddwa omubaka w’abakazi Monica Amoding mu palamenti sipiika n’alisindika mu kakiiko akavunaanyizibwa ku kusunsula amateeka katandike okulyekeenya n’okufuna endowooza y’abantu.

Kijja kutwalibwa ng’ekikolwa ky’okukaka omukwano singa omuntu atamiiza munne n’amutwala mu kikolwa nga teyeyagalidde. Era n’akase omulala omukwano ng’amaze kumuwunza mu ngeri ndala yonna era etteeka terimutalizza.

Omuntu agezaako okuwunza munne n’ekigendererwa ky’omukaka omukwano bw’asingibwa omusango asibwa myaka musanvu. Omuntu yenna akwata ku bisambi, ku kabina, ku mabeere,alaga omulala obwereere bwe, n’oyo ayogera ebigambo ebikwata ku by’omwegatta mu ngeri eyesitazza naye asibwa omwaka gumu oba okutanga emitwalo 48.

Omuntu asindikira munne ebifananyi by’obuseegu nga tabimusabye ne bimwesitazza ajja kutanga emitwalo 40. Kijja kuba kikolwa ku kubasanya mu by’omukwano singa omuntu ayogera ebyesitaza awali omulala,awandikira omulala akabaluwa akasaba omukwano nga gwe bawandikidde tabyetaaze.

Omuntu asiba mu kkomera omulala ng’agenderera okumusaba omukwano omusango bwe gukusinga asibwa myaka musanvu.Omuserikale akaka omusibe omukwano ajja kusibwa emyaka kkumi.Abatwala abakazi okukola obwa malaaya wano n’ebweru bwe gubasinga bajjanga kusibwa myaka 15.

Abaganza ebisolo n’abasiyazi bwe gubasinga bakusibwa myaka kkumi.Omuntu aganza omwana ataweza myaka 18 oba agezaako okumuganza bwe gumusinga asibwa emyaka 15.

Ate aganza omwaka ali wansi w’emyaka 14 oba omulema  asibwa mayisa. N’oyo alina akawuka bw’aganza omwana ataweza emyaka 18 naye asibwa mayisa. Oyo agezaako okuganza omwana ng’alina akawuka ka Siriimu oba ng’amulinako oluganda bwe gumusinga asibwa emyaka 18.

Agezaako okuwayo omwana ataweza myaka 18 bamukoleko ebyesonyi asibwa myaka kkumi.

Omuntu eyesitaza omwana omuto ng’amuwa ebifananyi eby’obuwemu asibwa emyaka kkumi.

Kyokka etteeka terikwata basomesa bya senga n’abo ababa basomesa abaana ebya sayansi oba eby’obulamu.

Atwala omwana omuto mu bw’amalaaya bwe gumusinga asibwa emyaka kkumi. Era lino likwata n’atwala omwana mu bwamalaaya ng’agenda kubukolera bweru wa ggwanga.

Akola eby’obukaba ng’omwana amulaba bwe gumusinga asibwa emyaka kkumi. Abafumbiza abaana abatanetuuka bwe bakwatibwa basibwa myaka kkumi.

Etteeka liwa kkooti obuyinza okulagira omuntu azizza omusango okuliyirira oyo gw’aba aguzizzaako. Kkooti era zijja kuba n’obuyinza okuwozesa mu kyama emisango egyekuusa ku kukaka abantu ‘akaboozi’. Era amannya g’abantu ababa bakakiddwa omukwano tegajja kukirizibwa kusasanyizibwa mu mikutu gy’amawulire wadde okwogera gye babeera.

Etteeka liragira okusaawo ligesita omuwandikibwa abantu abazza emisango gy’okukaka abalala omukwano. Era assiddwa mu ligesita tajja kukirizibwa kuweebwa mulimu gwekuusa ku kukuuma baana .Omuntu awayiriza omulala nti amukase omukwano oba agezezaako okukikola bwe gumusinga asimwa emyaka esatu.

Omukazi oba omusajja akkiriza okugenda mu kaboozi wa ddembe okugaana ng’ekikolwa tekinaggwa.

Abawabye tebagenda kukirizibwa kumenyawo musango gwekuusa ku kukaka muntu mulala kaboozi okuggyako nga ofiisi ya Ssabawabi wa gavumenti y’ekkirizza. Ate omuntu agaana okuwaaba omusango gw’okumukabasanya mu by’omukwano bwe gumusinga wakusibwa emyaka esatu.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started