Akulira abakozi e Kayunga aggaddewo ofiisi z'ekitebe lwa Coronavirus

Ab’e Kayunga basattira olw’ekirwadde kya COVID-19 ekikakasiddwa mu disitulikiti.

Gula 703x422

Akulira abakozi e Kayunga Hamphrey Benson Otim ayise olukiiko lw’abakozi enkya ya leero n’agamba nti bagenda kuggalawo ekitebe kya disitulikiti basigazeewo abakozi abo bokka abatono abeetaagisa.

Otim agamba nti abalwadde tebanabajjayo e Bbaale gyebazuuliddwa kubanga bakyalinda bakulu okuva mu minisitule y’ebyobulamu.

Bano batuuze b’e Kayunga wabula obulwadde we bucaakidde nga bali Rwanda gyebaagenda okuziika. Bano ba famile emu era Bali mwenda.

RDC Maragaret Kikomeko Mwanamoiza agambye nti waliwo abantu abalala munaana bebatadde mu kalantiini mu bitundu okuli Busaana, Nazigo, Baale, Kayunga Town council ne Galiraaya nga nabo bateeberezebwa okuba n’obulwadde.

Akulira ebyobulamu e Kayunga Dr. Ahmed Matovu agambye nti bataddewo “rapid response team” okwang’anga buli webawulidde obulwadde buno.

Nnoonya omwami amanyi omukwano

Nnetaaga omwami ali ku ddagala lya ARVS, alabika obulungi, alina empisa, amanyi omukwano nga yazimba, ali wakati w’emyaka 30- 45

Abanoonya 703x422

Ggwe ani? Suzan Shamute Obeera wa? Masajja Okola mulimu ki? Ntunda dduuka Olina emyaka emeka? Ndi wa myaka 23.

Obuzibu obusanze wa? Bwa butabeera na mwami kuba mpulira ekiwuubaalo.

Oyagala alina bisaanyizo ki? Nnetaaga omwami ali ku ddagala lya ARVS, alabika obulungi, alina empisa, amanyi omukwano nga yazimba, ali wakati w’emyaka 30- 45 nga tasussa baana babbiri kuba nange nazaalako.

Bakufunye batya? Bakube 0752111484 oba 0786203740.

Twagala abakazi abalina empisa nga balungi.

NZE Ssemakula 35 mbeera Mengo mu Kampala, neddira Lugave. Nnetaaga omukyala alina eddiini, okuva ku myaka 25 n’okweyongerayo, amanyi omukwano, alina empisa ng’afaayo. Kuba 0700616173.

Nze Peter Musoke 39 mbeera mu Kampala, nazimba ate nkola. Nneetaaga omukyala atasussa myaka 30, eyasomako, nga Mulokole, atya Katonda nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.

Kuba 0772480946 Nze Moses K 36 mbeera Kasubi, ndi musuubuzi. Nnoonya mukyala ali wakati w’emyaka 25- 33, atya Katonda nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Kuba 0756240087.

Nnoonya sugammami alina ennyonta y’omukwano, ali ku ddagala lya ARVS, alabika obulungi, alina ssente ng’ali wakati w’emyaka 30- 50. Nze Roman Mugisha.

Kuba 0759843793. Nnoonya sugammami ali siriyaasi ng’ali wakati w’emyaka 28-45. Nze Hassan Yasin. Mbeera Ntinda.

Kuba 0777413658. Nze Henry 24, mbeera Masajja. Nnoonya omukyala ali wakati w’emyaka 30-45, alina wasula ate ng’akola, ne bw’aba talina ssente naye ng’ayagala mukwano ankubire ku 0708487672 oba 0785569855 twogere.

Nze Polyester 25, Mbeera Busia. Ndi Munyankole. Nnoonya mukyala atasussa myaka 45 ng’alagikako mu bantu.

Kuba 0758424438. Nze Stephen 30, Mbeera Mbale. Ndi Mugwere. Njagala omukyala wa myaka 19-24. Ali siriyaasi kuba 0784089448 oba 0751277127.

Nze John, nnoonya omukazi atya Katonda, nga si Musiraamu, alina omulimu nga mwetegefu okwekebeza omusaayi.

Siri mugagga. Omwetegefu kuba 0750397603. Nze Shadrack 23, mbeera Mukono.

Nnoonya omukyala Omuganda,Omunyankole oba Omunyarwanda. Njagala alina empisa ng’ate atya Katonda. Ateekwa okuba ng’ali wakati w’emyaka 20-23. Kuba 0778788275.

Nze Musinguzi 39. Nkolera mu Kampala, era nneekozesa, nazimba mbeera wange. Nnina omwana omu.

Njagala omukazi owokubeera naye, nga yakoowa eby’ekiyaaye nga mwetegefu okuntwala ewaabwe, nokunzaalira. Njagala omwetegefu okugenda ku musaayi. Ateekwa okuba ng’ayagala nnyo Katonda, ng’ali wakati w’emyaka 25-40. Nkubira ku 0786832123 oba 0753602740 twogere.

Okuggyawo sikwiizi w’omu kitanda lwe kukendeeza essanyu ly’omu kisenge

Ensangi zino abafumbo bangi baawudde ebitanda ekiggyewo sikwiizi w’omu kitanda n’okukendeeza oba okumalirawo ddala essanyu ly’abafumbo oba abaagalana mu kisenge.

Abafumbo3 703x422

ABAALI banyumiddwa amazina ga sikwiizi nkakasa mukuba obufaananyi nga mukwataganye ne munno muli ng’owulira akabugumu akamuva mu mubiri n’engeri entunnunsi gye zibeera zikuba! Okwenyiga okubeerawo bwe kutwala akaseera kulina obubaka bwe kuweereza ku bwongo bwa munno era wano omusajja w’awulirira ng’atuuse mu mbeera eyeetaagisa munne okumubudaabuda.

Ne sikwiizi w’omu kitanda bw’abeera ng’abaagalana oba abafumbo balina kumutuukako nga basula mu kitanda kimu. Wabula ensangi zino abafumbo bangi baawudde ebitanda ekiggyewo sikwiizi w’omu kitanda n’okukendeeza oba okumalirawo ddala essanyu ly’abafumbo oba abaagalana mu kisenge.

EBIVAAKO OKWAWULA EBITANDA

Okwawula ebitanda, okusinga kitera kuva ku busungu oba obkukyayi abaagalana bwe bafuna. Waliwo abakiteeka ku bwenzi nga bwe wabeerawo eyeekengedde munne okubaliga, ekiddirira kitera kubeera kwawula bitanda.

Ab’engeri eno babeera na busungu nga babonereza bannaabwe olw’okulabankana ne bajaajaamya omukwano gwabwe so ng’abalala babeera beekengera bannaabwe okubaleetera endwadde.

 acheal izito ngannyonnyola
Racheal Kizito ng’annyonnyola.

Mulimu abaawula ebitanda olw’ebikolwa oba emize abaagalana gye bazuula mu bannaabwe.

Oluusi kubeera kunywa mwenge oba ssigala, abalala kiva ku butanaaba so nga waliwo n’abafuluuta ne bamalako bannaabwe emirembe ekiro kyonna.

Munno bw’ayitiriza omwenge oba ssigala ate nga ggwe tobikombako kitera okukaluubiriza okusula naye.

Agumye abeera mu mbeera ya kuggwebwaako mirembe olwo atali mugumiikiriza ayiiya kya kwawula bitanda.

Abakyala bwe bazaala batera okugoba abasajja mu buliri anti olwo nga basula na baana.

Batera kuwa nsonga ya kusigala nga bayonsa bbebi ekiro mpozzi n’okumanya ebifa ku mwana ekiro olw’okukaluubirizibwa okusitunkana.

Bw’osanga omukazi azzaako amangu, omusajja ayinza okwesanga ng’amaze emyaka egiwera nga tazzeemu kusulako na munne oba obutaddiramu ddala.

Obadde okimanyi nti omusajja bw’abaako ky’alemeddwa okukolera omukyala okugeza okulemwa okumuwa ssente za bizinensi, abamu kubeera butamugulira lugoye, ngatto n’obutasasula ffi izi za baana bivaako nnyo okwawula ebitanda! Abakyala okwawula obuliri bakikozesa nga kibonerezo nga baluubirira omusajja okwetereeza okusobola okukola ky’ayagala.

Waliwo abakazi abakola obwenzi nga okwawula ebitanda bakikozesa nga kyakulwanyisa omusajja obutamugwamu oba ‘okumutawaanya’ ekiro ng’amusaba omukwano so ng’alina gye yayitidde edda.

 auline alema kwawula obuliri abafumbo abasinga mwe bafunira endwadde naddala eziva mu bwenzi nobukaba olwokwagala okuyitako ebbali mu mbeera yokweggyako ennyonta ya laavu
Pauline Kalema: Okwawula obuliri abafumbo abasinga mwe bafunira endwadde naddala eziva mu bwenzi n’obukaba olw’okwagala okuyitako ebbali mu mbeera y’okweggyako ennyonta ya laavu.

Ebizibu ebiva mu kwawula ebitanda 

Joseph Lutwama abuulirira abafumbo n’abaagalana n’okutabaganya abasoowaganye ng’akolera mu Nana Counselling services agamba nti munno buli lw’omuleka nga yeezinze mu kitanda obwomu, obeera ng’amusindika okugenda okunoonya essanyu oba akabugumu awalala.

Kino tekibeerako mukazi oba musajja kuba bwe bubeera busungu nga bw’olina ku munno, abamu basalawo okufunayo abawa ekikubagizo; ky’agamba nti awo okubaliga kubeera kuyingiddewo.

2 Lutwama agamba nti embeera eno ereetera abafumbo oba abaagalana okutandika okulowooleza munne ebintu by’atakola.

Omusajja wano w’atandikira okuteebereza mukyala we nti osanga alina abasajja abalala kuba embeera y’okwawula ebitanda eyinza okubaviirako okutwala ebbanga lya wiiki, mwezi oba emyezi nga temwegatta.

Kino kireetera omusajja obusungu oba situleesi etuuka n’okumulowoozesa nti osanga yamuzira.

 kwekubagiza kubeera kungi awaka
Okwekubagiza kubeera kungi awaka.

3 Okwawula ebitanda olw’okuba munno alina kye yakusabye n’otakituukiriza, nakyo kirina engeri gye kiyinza okusindika munno okugezaako awalala.

Embeera eno etera kweyolekera mu bakazi bwe basalawo okunoonya obuyambi awalala okufuna kye baagala.

Bwe babeera tebeewoze mu bibiina oba mu booluganda, bafuna basajja balala ate nga bano ebyabwe bibeera bya ‘kusasula’.

4 Wabula Lutwama agamba nti ate waliwo obugumiikiriza we bwetaagisa naddala ku ludda lw’abakyala nga baliko bye basabye babbaabwe ne balwawo okubituukiriza.

Akyesigamya ku mbeera y’ebyenfuna enzibu nga munno oyinza okumukanda ssente nga naye tazirina olw’obuvunaanyizibwa obungi obumwetuumako omuli okusasula ennyumba, okuwaayo ffi izi, okusasula bbiiru okuli amasannyalaze, kasasiro, amazzi, ttivvi, ggaasi afumba gattako emmere, amanda, ebyokulya n’ebirala.

5 Waliwo embeera ereetera abasajja abamu okunafuwa mu nsonga z’omu kitanda. Oluusi gibeera myaka nga bakuliridde, okukola ekisukkiridde, situleesi ya ssente oba omulimu, endya embi nga bino bireetera abasajja okubeera abanafu mu kitanda.

Embeera eno bw’ogigattamu okwawula ebitanda obudde bubeera buzze ku bunnaabwo kuba obwagazi bujja bbalirirwe.

Kye kiva kyetaagisa omusajja ali mu mbeera eno okusula mu kitanda ekimu ne mukyala we nti obwagazi we bujjira kibeera kyangu okubaako kye yeekolera ng’amaanyi gakyalimu kuba ‘amaanyi’ gaabwe gatera okubeera ag’ekiyita mu luggya.

6 Embeera eno era etera okuleetawo okuyombayomba mu baagalana, situleesi, okwerangira mpozzi n’okulwana.

Ekisenge kye kitera okubeera ekkooti y’abafumbo nga bwe mubeera n’obutakkaanya gye mubugonjoolera.

Lutwama agamba nti abaagalana bwe baawula ebitanda, yadde abamu batuuka ne ku ssa ly’okwawula ebisenge, oluusi tebafuna mukisa kwogera ku nsonga ebeera ebanyiga.

Agamba nti kye kiva kyetaagisa okusigala nga musula mu kitanda kimu olwo ne mufuba kumalawo ebibanyiiza.

Pauline Kalema: Okwawula obuliri abafumbo abasinga mwe bafunira endwadde naddala eziva mu bwenzi n’obukaba olw’okwagala okuyitako ebbali mu mbeera y’okweggyako ennyonta ya laavu. Okuggyawo sikwiizi w’omu kitanda lwe kukendeeza essanyu ly’omu kisenge Okwekubagiza kubeera kungi awaka.

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n’ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby’obulimi

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n’ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby’obulimi

Sak1 703x422

MINISITA omubeezi ow’ebyobulimi Henry Bajiire alangiridde nga gavumenti bw’egenda okwongera okukolera awamu n’ekitongole kya SASAKAWA GROBAL 2000 mukawefube owokwongera okutumbula eby’obulimi mu Uganda. Bajiire okwogera bino abadde mu lukung’aana lwa SASAKAWA olutegekebwa buli mwaka nga lubadde wali ku Fairway Hotel n’ategeeza nti gavumenti yakwongeramu amaanyi okutumbula omutindo mu byobulimi nga bakolagana n’ekibiina kya SASAKAWA ekirudde nga kitendeka abalimi kungeri gye balina okukuumamu omutindo gw’ebintu bye balima bisobole okuvuganya obulungi ku katale kensi yonna.

Akulira ekitongole kya SASAKAWA  mu Uganda Roseline Nyamutale ategeezezza nti kumulundi guno bagenda kwenyigira nnyo mukusomesa abalimi okukuuma omutindo kibayambeko okufuna ensimbi eziwerako singa banaaba batunze ebintu bino nga biri ku mutindo. Beatrice Namaloba Omukungu okuva mu minisitule yebyobulimu n’obuvubi ategeezezza nga bwebakyalina ekizibu kyabalimisa olw’ensonga nti mu kiseera kino omulimisa omu akola kubalimi abasoba mu 1800 kyokka nga baagala wakiri omulimisa omu okubeera nga wakiri asobola okukola kubantu 500.

Ayongeddeko nti ekizibu kino mu kiseera kino batandise okukinogera eddalaga oluvannyuma lw’okuba nti bagenda kutandikawo omukutu ku yintanenti nga omulimi asobola okuyitako n’abuuza ekibuuzo kyonna era nayambibwa mubudde obwo bwenyini wabuulizza. Olukung’agaana luno lwetabiddwako n’akulira ekitongole kya SASAKAWA munsi yonna Dr Mel Ouach ngono ategeezezza nga bwebatandise kaweefube owokusomesa abalimi okulimira awafunda kyokka ne baggyamu ebintu eby’omulembe eranga ku mulundi guno essira bagenda kuliteeka nnyo kunva endiirwa awamu n’ebibala

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Kig13 703x422
Robert Ssekweyama nga bamwanjula ku butendesi bwa Doves fc

TIIMU ya Doves eri mu kibinja kya wansi ekya Big League yayanjudde Robert Ssekweyama ku butendesi bwa ttiimu eno n’adda mu bigere bya Fred Musiime abaddewo ng’omutendesi ow’ekiseera. Ssekweyama (47) yaliko omutendesi wa Maroons FC ne Kamwokya United wabula ng’ebiseera ebisinga abimaze amyuka batendesi omuli Shafic Bisaso ng’ali mu Express ne Villa ssaako ne George Nsimbe mu 2019 ng’ali ku Maroons. Ssekweyama mu biseera bye ng’omusambi yazannyirako mu  Mityana UTODA ,Simba FC ne SC Villa eyo mu myaka gye 90 era nga yali akuba nnamba ssatu.

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba akawuka mu bitooke

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne biggwaawo ate ebisizzaako emmere nga nvundu!

Wanted1 703x422
Ssaalongo Washington Mugerwa ng’asomesa abazadde abaakulembeddwa akulira Vision group Robert Kabushenga (wakati) engeri y’okukola ebigimusa.

Ssaalongo Washington Mugerwa omukugu mu kulima ebitooke e Bwerenga -Entebbe agenda kusomesa abalimi b’ebitooke mu musomo gwa Harvest Money ogutegekeddwa kkampuni ya Vision group etwala ne Bukedde agenda kubangula abalimi ku ngeri y’okulwanyisa akawuka kano.

“Akawuka kano kubadde kusomooza kwamaanyi eri abalimi b’ensuku nga tulina okukasalira amagezi. Mu kiseera kino twazudde engeri y’okutabula ekigimusa ekikola ng’eddagala erisobola okulwanyisa akawuka kano”, Mugerwa bw’agamba.

Ono agamba nti mu musomo gwa Harvest Money agenda kusomesa abantu engeri y’okutabulamu eddagala lino basobole okulyekolera okulwanyisa obulwadde buno mu nsuku zaabwe kale tosaanye kusobwa.

Omwoleso guno ogugenda kubeera mu kisaawe e Namboole okutandika nga February 14-16, ng’okuyingira 10,000/- ate okwetaba mu misomo nakwo kwa 10,000/- buli lunaku.

Wategekeddwaawo emisomo egy’enjawulo okulaba ng’abalimi n’abalunzi abanaagwetabamu bongera okubangulwa mu ngeri gye basobola okubukola nga bizinensi okwongera amagoba ge bafuna mu faamu zaabwe.

Mugerwa agamba nti Uganda w’etuuse, okufuna mu bulimi olina kukozesa obwongo okusinga amaanyi kuba okulima kati kwa kubala osobole okukekkereza ensaasaanya ate ogaziye ennyingiza yo. “Obwo bwe bulimi bwa bizinensi”, Mugerwa bw’agamba.

EBIRALA BY’AGENDA OKUSOMESA

Okulimira awafunda: Mu kiseera kino ng’ettaka lyafuuka lya kaweereege, tulina okuyiga engeri y’okukozesa ettaka ettono gamba fuuti 100 X 100 n’ofuna bulungi emmere ekumala awaka n’okutundako okufunamu ssente.

Singa omuntu abeera n’ebikolo by’ebitoke 20, n’abirabirira bulungi, osobola okufuna emmere y’amatooke ekumala okuliisa ffamire yo n’otajula. Akatale: Abalimi bangi bakaaba akatale akabalemesa okufuna ssente mu nsuku zaabwe nga bafuna ssente entono okusinga ze bassaamu.

“Akatale weekali wabula okukafunamu omulimi alina okukyusa engeri gy’atundamu amatooke ge. Okugeza, ffe tutunda amatooke agasabikiddwa (Packed) obulungi, mu supamaketi n’amawanga g’ebweru olwo buli nkota n’evaamu 50,000/- n’okudda waggulu kyokka abasinga bagatundira ku nnimiro ne babawa 10,000/- buli nkota”, Mugerwa bw’agamba.

Amazzi: Mugerwa ne mukyala we Dr. Emma Naluyima balina essomero lya MST Jr. Academy mu kifo awali olusuku lwabwe.

Ono agamba nti abantu abasinga balowooza nti amazzi agayozeddwamu ebintu nga galimu ssabuuni, ga bulabe eri ebitooke ekitali kituufu kuba ewaabwe geegamu ku gakozesebwa okufukirira olusuku lwabwe.

Ggwe omulimi w’olusuku oba ayagala okutandika tosaanye kusubwa musomo guno ogugenda okukubangula n’okukuwa amagezi ku ngeri y’ekikugu gy’osobola okulabiriramu olusuku okukuwa ekisinga wadde lutono.

Omubaka wa Amerika atadde akaka ng’asiibula

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti, abakulembeze abasinga mu nsi yonna bwe balwa mu buyinza, obuyinza butera okukyuka mu bubi.

Simba 703x422
Ambasada Deborah Malac

Kino wabula Ambasada, Deborah R. Malac agamba nti si ky’ayagaliza Uganda wabula ayogera ky’amanyi naddala nti aludde ng’agoberera Uganda ate tagirabangako ng’ekyusizza obukulembeze obw’entebe y’Obwapulezidenti mu mirembe.

Deborah ku Lwokuna eyabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ku Embassy Plaza ekizimbe ekitebe kya Amerika mu Uganda we kikolera egimu ku mirimu gyakyo, yabadde asiibula oluvannyuma lw’okuweza emyaka ena ng’akola omulimu.

Yagasseeko nti, kikulu Bannayuganda okutuula ne bakuba ppulaani ku by’okukyusa obuyinza mu ddembe nga bali wamu.

Yategeezezza nti ekya Uganda okubeera ng’esingamu baana bato n’abavubuka, kyongera okussa akazito ku nsi ng’eno kubanga abantu abakulu be basinga obutono ate nga be bali mu buyinza ekitegeeza nti ebisalibwawo bikolebwa bakulu ng’ate abato be bisinga okukwatibwako. Ku ky’okulonda kwa 2021, Deborah yagambye nti kikulu okubeera okw’amazima n’obwenkanya.

Yagasseeko nti buli muntu k’abeere ali mu Gavumenti oba abagiwabula beetaaga okukuuma emirembe.

Kwe kujjukiza abavuganya Gavumenti, eddembe ly’okweyogerera lye basaba, eddembe ly’okukuhhana n’eddembe eddala lyonna lye basaba okunoonya obulungi akalulu bwe baba baliweereddwa kyetaagisa okulikozesa obulungi nga tebatabangudde mirembe egiriwo kubanga nabo bagyetaaga.

Yayiseeyise mu Gavumenti ya Amerika n’ebitongole by’Amerika bye biyambye Uganda mu myaka ena gy’amaze mu ntebe omuli; okusomesa abaana nga babawa ebyetaago naddala aba Pulayimale.

Yagambye nti batadde ssente nnyingi mu kulwanyisa obuwuka okuli aka Ebola ne Siriimu, omusujja gw’ensiri, abakyala abazaala n’ebirala.

Yagasseeko nti Amerika ekoze nnyo okukuuma emirembe mu kitundu ky’Obuvanjuba bwa Afrika ng’eyita mu kuwagira amagye ga Uganda okugenda mu mawanga agataliimu bukulembeze bulungi nga Somalia ne Central African Republic.

Yayogedde ku by’enkulaakulana Amerika by’eyambye Uganda omuli okusomesa ku by’okusima amafuta, okuzimba payipu egenda okugatwala e Tanzania okugalongosa n’ebintu ebirala ne yeeyama okugenda mu maaso nga kino kikolebwa.

Kyokka yalabudde ku nguzi ng’agamba nti abantu okukulaakulana kikulu okukwata ku babba ssente za Gavumenti kubanga bakonzibya ebyenfuna by’eggwanga ne kikosa abantu.

Wabula omumyuka w’omwogezi wa Gavumenti ya Uganda Col. Shaban Bantaliza yasambazze endowooza za Malac n’agamba nti asaanidde alekere Bannayuganda eddembe okwekolera ku nsonga zaabwe nga bwe baagala.

Yawadde eky’okulabirako nti oluvannyuma lw’okuggyibwako kwa Idi Amin Dada mu buyinza mu 1979, waaliwo okukyusa ba Pulezidenti bana okwali Polof. Yusuf Lule, Godfrey Binaisa, Paul Muwonga n’okuyingirawo kwa Dr. Milton Obote kyokka nga tekwalimu bya kuyiwa musaayi.

“Kino kitegeeza nti Bapulezidenti basobola okukyusa nga tewali lutalo mu Uganda.’’ Bwe yagambye n’agattako nti Malac by’ayogera tebiriimu nnyo ggumba.

Ku bigambibwa nti abali mu Gavumenti bakulu ng’ate ba lubatu nga bano be basalirawo abato abasinga obungi mu ggwanga (abaana n’abavubuka), Bantaliza yasoomoozezza Malac annyonnyole oba mu Amerika teri bavubuka.

‘’Trump (akulembera Amerika) muvubuka?. Ndaba naye mukadde.

Ye tasalirawo bavubuka?’’ Bwe yabuuzizza. Ng’akozesa olugero lw’Ekiganda olugamba nti ‘’eriiso ly’omukulu’’, Bantaliza yagambye nti mu Afrika kyabulijjo abakulu okusalirawo abavubuka n’agamba nti ne mu maka taata asigala asalirawo abaana ne bw’aba akuze.

Yasabye Abazungu okuleka Uganda yeesalirewo nga bw’eyagala. N’agamba nti eby’okusomesa demokulase bye bayimbirira ebimu tebikola kuba amawanga nga Libya gye bagezezzaako okumutwa tegalina kye gafunyeemu.

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Bod1 703x422
Aba Boda boda nga babasomesa

Mu kawefube wokulwanyisa omuze gw’okukozesa ebiragalalagala mu bavubuka ba boda boda abakungu okuva mu kitongole ekirwanyisa ebiragalalagala ekya Fight Drug  basomesezza ababodaboda ku siteegi y’e Namugongo Jjanda ku bulabe obuli mu kukozesa ebiragalalagala n’engeri gye bayinza okubyewala.

Okusobola okunoganya ensonga eno, babagabidde n’obukooti obuliko obubaka emabega obusomesa abantu obulabe bw’okukozesa ebiragalalagala.

Josephine Nakibuuka Afaayo okuva mu kitongole kya Fight Drug Abuse agamba nti ebiragalalaga bisinga mu bavubuka naddala baddereeva b’ebidduka nga n’ababoodabooda mwobatwalide.

Kino bakikoze n’ekigendererwa kyokulaba ng’abadoodabooda baweereza obubaka buno yonna gye balaga n’abantu abalala bebavuga ne bebatavuga nga basomye ku bubaka obuli ku bukooti buno.

Ayongerako nti kino kijja kuyambako okukendeeza ku bubenje obubeera ku nguudo okubaawo olw’okukozesa ebiragalalagala era nga kyekiseera ababoodabooda okukwate omumuli guno kitusobozese okumalawo obubenje obuva ku kukozesa ebiralagalalagala

Nakibuuka agamba nti abavubuka basinga kunuusa amafuta,enjaga,ebiragalalagala eby’obuwunga obweru,kyutekisi, super glue, amayirungi, sigala , omwenge n’ebirala bingi ebibaviirako okukubwa ekyongera ekibaviirako okusiwuuka empisa ku ngudo ekiviirideko omuwendo gw’abafuna obubenje okweyongera

 Medi Kikabi akulira siteegi ya Jjanda ategezezza nti abamu bwe banywa omwenge ,sigala,enjaga , waragi owobuveera n’ebirala, bwe bibakuba tebakola , avuga nga bwayagala kubanga tali yekka ng’ebiragalalagala bimukute ku mutwe ekiyinza okuvaako akabengye era n’asaba abantu bonna bekikwatako okuvaayo bataase abantu ku biragalalagala kubanga banaffe bangi abagude eddalu olw’ensonga eno.

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo.

Ku1 703x422
Ebiku nga bifuuyirwa

ABATUUZE   b’oku Kaleerwe balaajanidde  gavumenti  ku biku n’ebiyenje ebibasuza nga batunula.

Bategeezezza nti kyenkana buli nju  mu muluka gwa Makerere III e kawempe erimu ebiyenje n’ebiku bye bagamba nti bakoze buli kimu okubifuyiira naye eddagala lye bakozesa  kirabika terisobola kubitta ne basaba gavumenti okubadduukirira nga bwe yakola ku butimba bw’ensiri .

Muhamad Nsubuga  ategeezezza nti ebiku n’ebiyenje bibaviriddeko abatuuze  okufuna endwadde z’olususu olw’okulumwa ebiku ng’ate ebiyenje bitambulira mu by’okulya ekyongedde obucafu n’ekibavirako okulumwa embuto.

Nsubuga agambye nti embeera eno yamuwalirizza  okugulira abatuuze eddagala ly’ebiku n’ebiyenje n’abifuyiira , agasseeko nti obuzibu buvudde mu myala egitagogolwa mu budde , omugotteko, kasasiro n’obunnyogovu obuli mu kitundu nga bye bivuddeko ebiku n’ebiyenje okwegirisa .  

Baafuyiidde nju ku nju okwabadde ne poliisi y’oku kaleerwe ng’eno ebiku n’ebiyenje byabadde bingi , wakati mu kufuyiira waliwo omusawo w’ekinnansi eyabaatukiridde n’abasaba bamufuyiirireko mu ssabo lye ng’agamba nti yadde bajjajja te balumwa biku naye abalwadde bibayisa bubi .

Isma Nsanja omumyuka wa ssentebe mu ssebina zooni yagambye nti bazze bafuna okwemulugunya okuva mu batuuze ng’ebiku bw’ebifuuse ekizibu   okuli abaana  okulwala ne bajjanjabwa nga tebawoona ekiviirako abasajja okwekyawa nga bagamba bakooye okutoola ssente  ku bulwadde obutawoona.

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga omuwala anzibye

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala. Nnalina kasitoma wange nga mukyala naye ng’ajja n’angulako obugoye obunyirira naddala obuli ku mulembe kubanga yali mwambazi mulungi. Okunyirira kwe kwampaliriza okumusonseka obugambo ate naye n’akkiriza. Lumu nnali ku mulimu nga ntunda ngoye ku nguudo za Kampala, abaserikale abaali batatukkiriza kukolerawo ne bankwata ne bantwala e Luzira gye nnamala omwezi mulamba.

Kayiirajpgweb 703x422
Joshua Kayiira.

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.

Nnalina kasitoma wange nga mukyala naye ng’ajja n’angulako obugoye obunyirira naddala obuli ku mulembe  kubanga yali mwambazi mulungi. Okunyirira kwe kwampaliriza okumusonseka obugambo ate naye n’akkiriza. 

Lumu nnali ku mulimu nga ntunda ngoye ku nguudo za Kampala, abaserikale abaali batatukkiriza kukolerawo ne bankwata ne bantwala e Luzira gye nnamala omwezi mulamba.

Mu wiiki ssatu ezaasooka nga ndi Luzira, yasooka n’ajja okunnambulako naye olumu yajja n’antegeeza nti landiroodi amubanja  ssente z’ennyumba era yamugobye mu nnyumba nga yali atandise kubeera wa muganda we kyokka ng’alimba. 

Ku bbanga ery’omwaka lye nnali mmaze nga mbeera n’omukyala ono, nnali simusuubiramu buyaaye era nga mmwesiga. 

Ku lunaku lwe banta okuva mu kkomera e Luzira, omukyala ono yajja n’annonako naye bwe twatuuka mu kibuga, kwe kuhhamba nga bwe yali agenda ewa muganda we era nange saamukaluubiriza ne mmuleka. Yalowooza nti nnali hhenze kyokka nasigala mulinnya akagere okukkakkana nga ntuuse ku nnyumba gye yali apangisa nga n’ebintu byange byonna yabyezza.

Nagezaako okubimusaba n’agaana nange kwe kusalawo okumwesonyiwa. Nakola ebintu ebirala ne nfuna n’omukyala omulala nga kati tulina n’omwana era obulamu butambula bulungi.

Minisita Kasolo awabudde abavubuka ku mivuyo

Minisita omubeezi owa Micro Finance mu ggwanga, Haruna Kyeyune Kasolo, era omubaka wa Palamenti owa Kyotera, akuutidde abavubuka okwewala emivuyo bwe baba baagala okugenda mu maaso n’okweyagalira mu nsi yaabwe. Bino yabogeredde Gayaza ku musanvu ku mukolo gwa SACCO y’abookya embuzi eya Kiteetikka Mbuzi Market Cooperative SACCO, kwe baabadde bagabira bannaabwe ettaka ne ppikippiki okwekulaakulanya era ye yabadde omugenyi omukulu.

Sacco2jpgweb 703x422

Minisita Haruna Kasolo ng’awaayo ssente eri aba SACCO y’abookya embuzi e Gayaza.

Minisita omubeezi owa Micro Finance mu ggwanga, Haruna Kyeyune Kasolo, era omubaka wa Palamenti owa Kyotera, akuutidde abavubuka  okwewala emivuyo bwe baba baagala okugenda mu maaso n’okweyagalira mu nsi yaabwe.

Bino yabogeredde Gayaza ku musanvu ku mukolo gwa SACCO y’abookya embuzi eya Kiteetikka Mbuzi Market Cooperative SACCO, kwe baabadde bagabira bannaabwe ettaka ne ppikippiki okwekulaakulanya era ye yabadde omugenyi omukulu.

 inisita aruna yeyune asolo wookubiri ku ddyo ku mukolo gwokugaba ppikippiki eri  yabookya embuzi e ayaza
Minisita Haruna Kyeyune Kasolo (Owookubiri ku ddyo) ku mukolo gw’okugaba ppikippiki eri SACCO y’abookya embuzi e Gayaza.

Yabawadde obukadde 10 bongere mu SACCO yaabwe beekulaakulanye.

Yagambye nti, omwaka guno gavumenti yateekawo ssente nnyingi ez’okugabira ebibiina 17 mu buli disitulikiti ya Uganda ebyetegese obulungi bongere okwekulaakulanya, nti kale basaanye beewale emivuyo ng’okwekalakaasa, n’emivuyo gy’ebyobufuzi emirala bwe baba baagala okugenda mu maaso.

Ku mukolo guno abavubuka basatu okuli, Sharif Kiyimba, Edward Kigozi ne Cryspus Ahimbisibwe baawangudde ppikippiki ate Josua Ibanda ne Frank Jacob Odongo ne bawangula poloti eza ffuuti 50 ku 100, oluvannyuma lw’okukwata obululu.

Frank Jacob Odongo, ssentebe wa SACCO eno alojjedde minisita ebizibu bye bayitamu omuli; obutaba na kifo kigazi era bakolera mu kkubo, entambuza y’embuzi okuva mu bitundu by’ewala ne ssente entono mu SACCO, ate nga ba memba bangi beetaaga ssente okwewola beekulaakulanye.

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu n’agamba nti, kino kyavudde ku kugaana kuganza mukama we.

Salma 703x422
Saluma (azingiridde omutwe ne Kisekka (ku ddyo) ate mu katono bw’afaanana.

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu n’agamba nti, kino kyavudde ku kugaana kuganza mukama we.

Omukazi eyategeerekeseeko erya Saluma lyokka yatandika okukola ne mukama we Musa Kisekka mu December wa 2019 bwe yamukwasa obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya ekirabo ky’emmere ekisangibwa e Namungoona ku zooni ya Luyinja. Kisekka agamba nti yagenze okulaba nga takyalina ssente z’afunamu nga bwe baali bakkiriziganyizza ne Saluma kwe kusalawo okumugoba ku mulimu.

Saluma yagambye tayinza kumuwummuza ku mulimu n’agenda ngalo nsa kubanga naye aliko ssente ze yayongeramu kye yavudde asiba ebimu ku bintu ebibadde bikozesebwa mu kirabo ky’emmere okwabadde omufaliso, amaseffuliya, amasowaani, essigiri, ebidomola n’ebintu ebirala n’abitwala gye yapangisizza.

Eno Kiseka gye yamulumbye okubanja ebintu bino n’ekyaddiridde kwe kwasanguza
ebyama byabwe Saluma ’amulangira nti, yamugobye lwakwagala kumufuula mukyala we nnamba bbiri bwe yagaanyi ensonyi n’azifuula obusungu.

Saluma yannyonnyodde nti Kiseka yamuperereza n’amugaana kubanga ekisooka amulaba nga kitaawe kubanga yasoma ne mutabani wa Kisekka mu ssomero lya Namungoona High era nga yali yamuganza nga yali tayinza kugatta mwana ne
kitaawe ng’alaba kino kivve.

“Byonna nabinnyonnyola Kisekka n’alemerako nti, ekyo si kikulu okutuusa bwe yalabye nga sigenda kukyusa we nsibidde kwe kusalawo angobe”,
Saluma bwe yategeezezza abantu abaabaddewo. Kisekka musajja mufumbo era amaka ge gali Namungoona .

Kiseka yakkirizza nti ddala kituufu abadde akwana Saluma era baagendako n’okwekebeza musaayi kyokka bwe baatuuka eyo Saluma n’amugamba nti, okwekebeza omusaayi amala budde kubanga alina omusajja gwe yalina ng’alina akawuka era ye Kisekka kwesika n’amwesonyiwa.

Saluma yamuzzeemu n’amugamba nti, mulamu nnyo ekyo yakikola kumalamu Kisekka maanyi asobole okumwesonyiwa kubanga yali amulemeddeko nnyo ate
ng’awulira abantu bagamba nti, aganzaganza obuwala obuto ku kyalo okwo. Ssaalongo Lutaaya ayafunira Saluma ennyumba ewa Kisekka agamba nti abadde
akiwulira nti baafuuka dda mwami na mukyala.

Naye ekimuggye enviiri ku mutwe okulaba nga Kisekka aggya ku Saluma emifaliso emikadde, ebikopo n’obuseppiki bye yamugulira mu mukwano.

Bino gye byaggweeredde nga Kisekka asinzizza Salumaamaanyi n’amutwalako ebintu byonna bye yabadde atutte mu kazigo ke akapya.

Aba City Oilers 2 batambulira ku miggo

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo oluvannyuma lw’okulongoosebwa amaviivi .

Thumbnailabazannyibacityoilersngabafaessanyulyekikopoekyomusanvu2 703x422
Aba City Oilers nga bafa essanyu olw’okuwangula empaka ez’omulundi ogwomusanvu

Wiiki ewedde omunigeria Francis Azolibe yalongooseddwa evviivi ly’okugulu kwa ddyo ne Steven Omony evviivi ly’okugulu kwa kkono, ababiri bano babadde mpagi luwaga mu kuyamba City Oilers okuwangula ekikopo kya sizoni wabula baafuna obuvune mu kiseera nga sizoni eneetera okuwunzikibwa.

Ku Ssande City Oilers yawangudde ekikopo kya Basketball ekyomusanvu mu sizoni musanvu ez’omuddiring’anwa  bwe baakubye UCU Canons ku bugoba 72-57  ku luzannya olwomusanvu ekyabafudde ttiimu ekyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi.

“Kiwa essuubi nti abazannyi baffe baalongoseddwa ne watabaawo buzibu bulala ate bubalukawo, era tusuubira nti bagenda kuwona mangu ate bakomewo ku ttiimu, tulina abazannyi bangi ate bonna basobola era tugenda kutambula n’abo mu mpaka ez’enjawulo,” Mandy Juruni atendeka City Oilers bwe yategeezezza.

Omutendesi Kabonge awanduse mu Uganda Cup ne yeekwasa

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa ddirifi okugabira Proline FC Penati bwe baabadde battunka mu Stanbic Uganda Cup.

Thumbnailkabongengomupiiraagulabiraeberuwekisaawe 703x422

Enkya(Lwakuna) mu Uganda Cup

oboko Rising Stars – Bright Stars,Koboko

Super Eagles – SC Villa,Gulu

Young Elephants – Maroons,Nwoya

Six O’clock – Kitara,Kizinda

Kampala University – Kataka,Luweero

Gagaba – Kiboga Young, Buziga

Proline yaggyeemu Katwe United mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup bwe yagikubye ggoolo 2-1 mu kisaawe e Lugogo wabula omutendesi Kabonge n’okutuuka leero akyayomba nga yeekwasa ddifiri Shamirah Nabadda okubasaliriza eddakiika zonna 90 nga yeekubira ku ludda lw’abalina ekikopo kino aba Proline.

Katwe ye yasoose okufuna ggoolo mu kitundu ky’omuzannyo ekisooka ng’eyita mu Micheal Lubowa wabula Proline n’efuna penati mu ddakiika 68 ng’eyita mu Mustafa Mujuzi ate ne Hakim Kiwanuka n’afuna ey’obuwanguzi ng’ebula eddakiika 6 omupiira guggwe.

Kabonge agamba nti ddifiri Nabadda ye yabakubizza omupiira guno ng’ayeekubira ku ludda lwa Proline n’atuuka n’okubawa penati ey’amankyolo.

“Obwedda ddifiri ensobi ze batukolako yeefuula ataziraba, eyo penati teyabaddeyo, omuzannyi wa Proline yeesudde, emipiira nga gino egy’amaanyi FUFA yandibadde tegiwa baddifiri baakiboggwe,” Kabonge bwe yeemulugunyizza.

Abadiventi beebugira lukung’aana lwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw’aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival nga luno lwakumala ennaku nga luyindira mu kisaawe e Nambole.

Genda 703x422

ulezidenti w’aba Advent, Dr Daniel Matte ategeezezza nga olukunngana luno bwe lugenda okutandika nga January 29, 2020 okutuusa nga Feb 1, 2020 era lwakwetabwamu abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo ne mu mawanga agatulinaanye  bw’atyo n’akubiriz abantu naddala abalina bizinensi okukozesa omukisa guno basobole okuganyurwa mu lukung’ana luno.


Mu ngeri y’emu, Dr Matte ategeezezza nti ne mu ggwanga lya Rwanda babadde basuubirayo abantu abaneetaba mu lukungana luno kyokka kino kiyinza obutasoboka olwembeera eriwo nga wano w’asinzidde n’asaba  wabeewo enteeseganya ez’amangu ezikolebwa wakati w’amawanga okuzza embeera mu nteeko.

Ono era akubirizza abeebyobufuzi okubeera abakkakkamu mu buli nsonga yonna nga kino kyakuyambako okukuuma obutebenkevu mu ggwanga.

Ye Omulabirizi wa Central Uganda Conference, Samuel Kajoba yennyamidde olwabasumba abamu gye bakuttemu Bayibuli ku nsonga ezikwatana n’obufumbo nga bawakanya eky’okugattibwa n’ategeeza nti okuviira ddala ku luberyeberye Bayibuli eyogera ku musajja n’omukazi.

Omulabirizi Kajoba wano waasinzidde n’akubiriza abantu bonna okwerekereza byonna bajje beetabe mu lukungaana luno olwebyafaayo.

Eyali yagongobala ateredde n’asuubiza okuddayo okusoma

Eyali yagongobala ateredde n’asuubiza okuddayo okusoma

Sit16 703x422

OLUNAKU lw’eggulo banna Rotary ettabi lye Kololo nga bakulemberwa pulezidenti waabwe Bonny Nsambu baakungaanye ku woteeri ya Africana okwelabira ku Kuhumuza bbo gwe baayisa eky’amagero.

Nsambu yategeezezza nti Rotary eriwo okuyamba era basanyufu okulaba obuyambi bwabwe bwakola enjawulo bw’atyo n’akubiriza n’abalala okuyamba abalala n’akatono kebalina,bano baamusondedde ensimbi kwanatandikira okusoma kwossa n’okusuubiza okumwongerayo.

Ab’ekitongole ekigaba paasipooti bannyonnyodde

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde nti enkola empya mu kugaba pasipooti egenda kuyambako nnyo mu okumalawo ababadde baggya ku bantu ssente kubanga kati omuntu yeeyejjuliza empapula ku kompyuta n’azitwalayo nga ziwedde.

Siminyu703422 703x422

Agamba nti paasipooti empya gavumenti gy’ereese ekozesa tekinologiya ow’omulembe era okusinziira ku nteekateeka eriwo, January 2021 wegunatuukira nga pasipooti enkadde ziweddemu n’abanabeera bakyazirina zijja kuba tezikyakozesebwa.

Agamba nti kino Uganda ekituseeko oluvanyuma lw’ensi yonna okulinnyisa omutindo gwa tekinologiya nga Uganda tesobola kuzinga mikono ng’ensi egireka.

Paasipooti zino zaakuyamba nnyo mu kukendeeza ku budde omuntu bwabadde amala ng’akola ku by’okufuluma eggwanga kyokka neby’okwerinda binywera kubanga ababbi basobola bulungi okubalondoola gye baddukidde nga bakozesa paasipooti eno esomebwa kompyuta ne bamanya ebikwata ku nnannyini yo.

ENGERI PAASIPOOTI EMPYA GY’EYAWUKANA KU NKADDE

Amanya annyonnyola nti paasipooti empya eriko ka akafo (‘Chip’) akatereka kalonda yenna akwata ku muntu omuli ebinkumu n’obuzaale bwe.

Ku kisaawe e Ntebe waatereddwaayo enzigi okuli tekinologiya ng’omuntu asobola okweggulira ng’atunuzaamu butunuza paasipooti eno. Kino kyakumalawo 

obubbi kubanga kiggyewo abantu ababadde beefuula nti bayambako ne baggya ku bantu 

ssente. Paasipooti empya era eriko ebigambo bya East African Community ekitegeeza nti osobola okutambula amawanga g’Obuvanjuba bw’Africa nga tofunye Visa. Amawanga gano gonna gakolaganira wamu era paasipooti zifaanagana kubanga gonna gaakitesaako.

EBYOKWERINDA BIRONGOSEDDWA

Col. Geoffrey Kambehe, Kaminsona avunaanyizibwa ku bayingira n’okufuluma eggwanga yagambye nti  abantu babadde bakyusakyusa ebibakwatako ebiwandiikibwa ku paasipooti era nga tewali ngeri yonna yakubalondoolamu.

Naye mu paasipooti empya ekusobozesa okumanya ebikwata ku muntu ne bw’aba agezezaako okukyusa ebiwandiiko.

Kino kyakuyamba okumanya abamenyi b’amateeka mu bwangu. Yanyonyodde nti bakolagana butereevu n’abeebyokwerinda bonna okuli ne poliisi y’ensi yonna era amannya g’abamenyi b’amateeka n’emisango gye bazza babirina.

Oluba okutunuza paasipooti mu kyuma byonna nga ebimukwatako nga byeyiwa bw’aba tamalirizanga misango gye ng’aweebwayo mu b’obuyinza.

ENTEEKATEEKA ENO YAAKUBUNYISIBWA MU BITUNDU EBY’ENJAWULO

Jacob Siminyu omwogezi wa Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga yategeezezza nti enteekateeka ya pasipooti empya yakubunyisibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’omuntu tekimwetaagisa kutambula ngendo z’e Kampala.

Yannyonnyodde nti oluvannyuma lw’omuntu okusaba paasipooti ng’ayita ku yintaneenti ajja kuba agenda ku kitebe ekiri mu kitundu mwali agibweeko ebinkumu n’okukola ku nsonga endala nga tekimwetaagisa kujja Kampala.

Kino tekigenda kusukka February w’omwaka guno. Ate mu March 2020 enteekateeka eno yakutwalibwa mu nsi musanvu awali ebitebe bya Uganda nga tekyetaagisa muntu kukomawo mu Uganda okusobola okukola ku bya paasipooti.

Ebibuga omugenda okuteekebwa enkola eno kuliko: Pretoria e South Africa, London e Bungereza, Washington mu America, New Delhi e Buyindi, Beijing e China, Copenhagen mu Denmark ne Abu Dhabi mu United Arab Emirates.

Eyagaba abalongo bange yantamya laavu

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu mu kibanda kya firimu era nga nfuna ku ssente eziwera ezimbeezaawo.

Kuba 703x422

Okuliraana we nnali nkolera, waaliwo ekirabo ky’emmere omwali mwana muwala eyankuba ne mmwagala era ne mugamba ensonga yange.

Teyantambuza bbanga ddene ng’abamu bwe bakola era yanzikiriza ne mwetegerereza emyezi mukaaga ne tukkiriziganya tufumbiriganwe. Nga wayise ebbanga ttono, omukyala yafuna olubuto n’azaala abalongo.

Nasanyuka okuba nti yantuusa ku kkula lya Ssaalongo nga nkyali muto, wabula gye nakomya okusanyuka ate n’ennaku gye yatandikira.

Munnange yatandika mpola mpola okukyuka, eyali tayomba yatandika okuyombera ebitaliimu. Nneebuuza ekyali kikyusizza Nnaalongo wange  amangu gatyo nga sikitegeera.

Yangobako mikwano gyange gyonna ng’alowooza nti baali bampangira abawala ate mikwano gyange abawala ng’alowooza nti baganzi bange.

Embeera yantabukira ddala awaka era ekyavaamu olw’obutayagala kunnyiiza munnange, nasalawo omulimu ngwesonyiwe olwo embeera n’etunyigiriza nga n’ekyokulya kitubula.

Embeera eno yamuwaliriza okundekawo n’abaana bange n’abagabira omusajja omulala.

Mu kiseera we yanobera  saali waka nnali ntambuddemu nga noonya mirimu.

Kino kyannuma kubanga newankubadde yali muyombi, Nnaalongo wange nnali mmwagala era nga mumanyidde n’abaana bange.

Nakubanga ku ssimu ze nga teziriiko okumala emyezi munaana kwe kugezaako okumunoonya ewaabwe nayo taliiyo.

Naatuuka ekiseera ne nguma omutima ne mwesonyiwa ne nva e Jinja ne nsengukira e Mukono.

Wabula lumu mba ndi awo, ng’ ankubira essimu nti ayagala tuddihhane nga bw’ansaba ne ssente.

Nasooka ne hhaana okuzimuwa naye bwe nalowooza ku balongo bange ate nga mu mutima nnali nkimanyi nti bange kubanga baali banfaanana wabula oluvanyuma napondooka ne ntandika okumuweereza obuyambi.

Eky’okumuddira kyo  nakigaana olw’okutya nti ayinza okunsiiga obulwadde era nasigaliza kumuyambira yonna gy’ali.

Nsaba Katonda ansaasire nfune ssente mbatwale ku musaayi manyire ddala oba baana bange.

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu mu bulimi

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye ne weewala okufiirwa n’okufootolwa abaguzi mu kaseera k’amakungula.

Melon1 703x422
Omulimi ng’asunzula ennyaanya.

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye ne weewala okufiirwa n’okufootolwa abaguzi mu kaseera k’amakungula.

Francis Ssekate 24, omulimi wa wootameroni e Namayamba mu ggombolola y’e Makulubita mu Luweero y’omu ku balimi abali mu nkola eno era ng’agamba nti emuyambye okufuna mu bulimi bw’alimu kuba agenda okutuuka ku makungula ng’akatale kamulindiridde.

“Ekisinga obulungi ku nkola eno, obeera mukakafu nti akatale k’ebyamaguzi byo weekali nga ky’olina okukola kwe kugoberera obukwakkulizo obukuweebwa abaguzi naddala obw’omutindo kuba kikulu”, Ssekate bw’agamba.

 mulimi ngava okuyunja amatooke
Omulimi ng’ava okuyunja amatooke.
 

NTANDIKA OKULIMA

Bwe nnava mu ssomero ku myaka nga 18, natandikawo kkampuni ekola emmere y’enkoko okuva mu musaayi gwe naggyanga ku Kaleerwe kyokka nga temuli magoba ne nsalawo okuyingira obulimi bwe nakula nga ndabako ate nga ssente z’okulima zijja omulundi gumu n’obaako ky’okola eky’omugaso.

Agamba nti, awezezza emyaka etaano ng’alima wootameroni ebika eby’enjawulo kuba zanguwa okukula ng’alima za myezi ebiri n’ekitundu ng’atandika okukungula ate nga teriiko mirimu mingi ng’ebirime ebirala.

 atovu ngali nomulimi wa cukamba
Matovu ng’ali n’omulimi wa Ccukamba.

OKULIMA WOOTAMERONI

Ssekate agamba, Watameroni alina ebika ebisoba mu 1,000 wadde ng’abamu bamanyi za bibomboola ne kiragala omukwafu wabula mu bino, mulimu ebika era buli lukya waliwo ebifulumizibwa. Enzirugavu nnima Black king ate ez’ebikuubo nnima JY ne Sina kuba zino zikulira mu myezi ebiri n’ekitundu wadde ng’eriyo endala ez’emyezi egisingawo.

“Bw’embeera nsimba ndeka amabanga ga ffuuti 4×4 ne nfuna ebikolo 1200 nga buli kinnya nteekamu ebikolo bibiri. Omukebe gw’ensigo gugula 300,000/- ebika byonna by’ensimba era nga gusobola okusimba yiika”, bw’agamba.

Ayongerako nti wootameroni teyeetaaga mazzi mangi wadde enkuba kuba kigiremesa okugejja, n’okukula obulungi era ssinga enkuba ekikwata nga waakasimba ensigo mu ttaka tezimera so nga n’eddagala zeetaaga ttono.

Zisinga kutawaanyizibwa kalalankoma azirya ne zivunda. Ono amutega n’eddagala erissibwa mu bucupa (Fry traps), n’ekigenge nga kino kikuba ebikoola n’ebibala byennyini. Wano obeera olina okuzifuuyira kuba eddagala gyeriri mu maduuka wadde lya buseere.

 sekate ngalabirira ssamya eroni ze
Ssekate ng’alabirira ssamya Meroni ze.

AKATALE

Ssekate agamba nti, “akatale kansumbuwako ng’atandika okulima. Natandika okunoonya akatale era bwe nawulira aba Kulima Bugagga, ne nkwatagana nabo ne bampa kontulakiti era okuva awo hhenda okusimba nga mmanyi wehhenda okuzitunda”.

Bano nga tebannaba kukuwa kontulakiti musooka okutuula ne bakulaga bye bakwetaagamu okusinziira ku katale kaabwe kuba bo balina akatale kuno n’ebweru w’eggwanga.

Wano olina okukuuma omutindo kuba wootameroni erina okuba ng’ewooma ate nga mmyufu era ng’esibye bulungi. “Tussaako ekijimusa kya NPK ne CAN naddala ku kuwooma, eddagala eriyambako okuwooma n’okumyuka nga Mancozeb”, Ssekate bw’agamba.

Agamba nti, tewali bbeeyi ya ssalirwa wabula bakuwa bbeeyi esembayo gamba mu kiseera ky’ekidibo tebakka wansi wa 2,000/- ennene ate nga waliwo lwe tulinnya ne batuwa ne 10,000/- mu wootameroni emu. Noolwekyo olina okukola ekintu nga kirungi ne bakuwa ssente ezeegasa naye nabo bagendera ku bbeeyi y’akatale.

Ayongerako nti, ssente z’oyinza okufuna mu yiika ya wootameroni kisinziira ku ngeri gy’olabiriddemu ennimiro yo ate n’embeera y’obudde kuba ssinga enkuba etonnya nga bw’ebadde, togenda kufunamu so nga ssinga obeera n’obusobozi obufukirira ne bwe kibeera kitono kitya ku musana, osobola okulya ssente kuba zigejja ate nga mpoomu.

“Tewali ssente za ssalira z’osobola kugamba nti ze ziva mu yiika kuba kisinziira ku bbeeyi eri mu katale, engeri gy’olabiridde ennimiro yo n’ebirala. Waliwo we nafuna obukadde 10 mu yiika ate bwe nazzaawo n’afunamu 7”, bw’agamba.

Yagambye nti, kontulakiti eno emuyambye okufuna mu bulimi era naye aliko bavubuka banne baagenze akwatako ne balima okulaba nga basobola okusigala ng’abawa kkampuni ebibala.

OKUSOOMOOZEBWA

Ssekate agamba nti, alina okusoomoozebwa kw’abakozi kuba abavubuka tebaagala kukola ate ng’abalala abajja okuyigirizibwa batwala abakazi b’obeera nabo.

Ssekate ayagala okulima ekisingawo wabula alina okusoomoozebwa kwa kapito okusobola okugaziya kuba gy’okoma okukola ekinene n’okufunamu.

KONTULAKITI EKUKAKASA AKATALE

Med Matovu dayirekita w‘ekibiina kya Kulima Bugagga, agamba nti, omulimi yenna ayagala okufuna kontulakiti yaabwe alina okubeera mmemba mu kibiina kya Kulima Bugagga ekisangibwa e Lubowa ku lw’e Ntebe.

“Tulina akatale kuno n’ebweru mu Kenya, Sudan, amawange ga Buwalabu ne Bulaaya. Olw’okukakasa omutindo, twasalawo okutandikawo ekibiina era buli ayagala okufuna kontulakiti yaffe alina kwegatta ku kibiina kino”, Matovu bw’agamba.

Annyonnyola nti mu kontulakiti essibwako omukono gw’omulimi n’abakulira ekibiina mubaamu ebikkaanyizibwako nga wano omulimi alina okwekakasa ky’agenda okulima; ng’amanyi erinnya, ebbanga kwe kikulira, obungi bw’amakungula, obunene, obuwoomi, obulungi bw’okungulu n’ebirala.

Bano basasulwa okusinziira ku nzikiriziganya etuukiddwaako okutandika ku buli mwezi okutuukira ddala ku luvannyuma lw’omwaka.

EBIRUNGI

Omulimi yandibadde yeegatta ku nkola ya kontulakiti kuba kimuyamba obutafiirwa mu kiseera ky’amakungula kuba assaamu ssente nga wano ky’etaagisa okubeera omukakafu nti olina akatale mw’onatunda ebibala byo.

Mu ngeri y’emu, omulimi akakatibwako okwenyigira mu mirimu gyonna ku ffaamu ye abeera alina okukekkerezza ssente z’asaasaanya n’okumanya entambula ya ffaamu okukakasa omutindo.

“Mu Kulima Bugagga tugula buli kireme ‘ebitamanyiddwa okugeza ‘Gunda’ nga kino tukijja Jinja wabula nga tusunsula mu bunene n’ebika. Okugeza amatooke tutwala bika binnansi okusingira ddala Musakala kuba ono abeera n’eminwe eminene ate ng’awangaala nga tannayonooneka naddala nga tumutwala mu Bulaaya”, Matovu bw’agamba.

Bugingo ayanukudde abamulumba ku nyiriri za Bayibuli ku bufumbo

PAASITA Bugingo ow’ekkanisa ya House of Prayer Ministries ayambalidde bannadiini abavuddeyo okuvumiriira ensomesa ye ku nyiriri ezitali mu Bayibuli n’agamba nti bano bananfuusi kuba amazima bagamanyi.

Bugingo703422 703x422
Paasita Bugingo

Bugingo eyabadde abuulira ku Ssande yategeezezza abagobereezi be nga bwe waliwo bannaddini abavuddeyo ne bamuyita omulalu olw’okuvaayo “nabuusa” abantu ku bintu eby’enjawulo ebitali mu Bayibuli kyokka nga bannadiini babibuusa amaaso. Yagambye nti tebalina njawulo na Bafalisaayo abawakanyanga yesu!!.

Yagasseeko nti kyewuunyisa okulaba ng’abantu abandimweyunzeeko okusomesa enjiri ya Kristo eno be bamu kw’abo abagufudde omugano okumulwanyisa n’awera nga bwakyagenda mu maaso n’okubuliira abantu amazima.

Yasekeredde bagamba nti beefudde abalamuzi abasala “ogwa kawala” nga tebafuddeyo kuwuliira gwa kalenzi n’agamba nti bano bakoze kineene okuwubya abantu naddala ku nsonga za makage.

Ono obwedda ayogera kimu bibbiri nga akaatiriza nga bwe yasoma” agamba nti ku mulembe guno yeewuunya n’abasumba abasiiba bamuyita nabbi w’obulimba kyokka nga tewali avaayo kumuwolereza kyokka bw’avaayo okulung’amya ku byawandikibwa nga bamulwanyisa.

Yategeezezza nti abantu bangi bamulwanyisa era bamuvumaganyisa kyokka ne batamanya nti bamwongera tuttumu n’ategeeza nti ye alinga Yusuf eyalwanyisibwa kyokka oluvannyuma Katonda n’amuyimusa okufuuka katikiiro wa Misiri era bonna abamulwanyisanga ne baswala.

Yagasseeko nti ategese okusaba okw’enjawulo nga January 26, 2020 kwe bagenda okujagulizaako emyaka 9 mu buwereeza ku Canan Land n’ategeeza nti bangi bafubye okumulwanyisa naye Katonda akyayimiridde naye.

Kazimba asiibudde ab’e Mityana

EKKANISA lutikko e Namukozi yawuumye eggulo nga basiibula abadde Omulabirizi wa Mityana, Dr Samuel Kazimba eyalondeddwa ku kya Ssaabalabirizi wa Uganda.

Set2703422 703x422
Bp. Kazimba

Gwabadde mukolo gwa kitiibwa okwayogereddwa ebigambo eby’amaanyi okwebaza Kazimba omulimu omunene gwakoze e Mityana okuli okukulembera okuzimba lutikko e Namukozi. Kazimba ye yakulembedde okusaba wakati mu nnyimba enjiiye n’ez’amaloboozi amatabule ezitendereza Omutonzi. Mukwano gwa Kazimba, Ssaalongo Mukiibi Muzanganda yayimbidde Kazimba oluyimba n’agattako okweyama okuwagira emirimu gye emiggya egya Ssaabalabirizi.

 p azimba ngayogera eri bakristaayo u ssuuti ye uzanganda nomukyala
Bp. Kazimba ng’ayogera eri Abakristaayo. Mu ssuuti ye Muzanganda n’omukyala.

Oluyimba lugamba: Katonda y’agabirira buli omu n’addira abaavu ne balya n’Abalangira, addira ensozi n’ozifuula omuseetwe. Bp Kazimba yavunnama ku maviivi n’ akusaba Katonda omuwe omukisa. Wawulira essaala ze kati by’ebitiibwa by’aliko…. Muzanganda ali mu ttiimu ekulirwa Freeman Kiyimba ewagidde ennyo Kazimba mu mirimu gy’ekkanisa. Kiyimba era y’akulidde akakiiko k’okusiibula Kazimba ate n’okwaniriza n’okutuuza Omulabirizi w’e Mityana omuggya Rev. James Bukomeko. Ab’e Mityana, Kazimba yabalekedde obubaka okubeera obumu lwe bajja okusobola okutwala ekkanisa n’eggwanga mu maaso. “Mwewale enjawukana, okuyombagana naye mubeerenga bumu nga mukolagana mu buli nsonga yonna.” Yayogedde ku nsonga z’abaana n’agamba nti omwaka 2020, ekkanisa yagulangiridde okuba ogw’abaana bwatyo n’akuutira abantu okulabirira abaana kubanga be bagenda okuyimirizaawo eggwanga n’ekkanisa mu myaka egijja. Freeman Kiyimba yasiimye bonna abaawaddeyo ensimbi n’abo bonna abalina kye bakoze okutegeka omukolo. Yakunze abantu okuwagira Dr. Bukomeko nga bwe babadde bakolaNnampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa era nga ye ssentebe w’olukiiko olutegeka okutuuza Ssaabalabirizi yakunze Bannayuganda okuwagira enteekateeka. Kazimba alituuzibwa March 1, mu lutikko e Namirembe.

Kkwiini akkirizza Harry ne Meghan okukwekutula ku lulyo olulangira

ABANGEREZA bongedde okusiikuuka emmeeme, Kwiini Elizabeth bw’akkirizza muzzukkulu we, Omulangira Harry Charles Albert David 35, ne mukyalawe Meghan Markle 38, okwekutula ku lulyo olulangira batandike obulamu obupya ng’abantu baabulijjo.

Teeba 703x422

Kwiini yasazzeewo eggoye ku nsonga ya Harry ne Meghan emaze kati omwezi mulamba ng’ebobbya Abangereza omutwe era ng’olukongoolo balutadde ku mwana muwala Meghan alinamu omusaayi omuddugavu nti alabika aliko abaamuwendula okutabutatabula obwakabaka bwa Bungereza era nti y’akozesa Omulangira ensobi.

Kyokka Kkwiini mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Ssande yategeezezza nti ensonga za muzukkulu we Harry ne ffamire ye (Meghan ne mutabani waabwe Archie) baagikkaanyizzaako ng’olulyo Olulangira ne basalawo okubawa ekyanya batandike obulamu obupya era bajja kubawagira mu ngeri yonna.

Wabula yagambye nti bombi baggyiddwaako ekitiibwa ekya HRH wamu ne Harry okuggyibwako ebitiibwa by’abadde alina mu magye ga Bungereza gattako n’obutaddamu kukiikirira Kkwiini ku mikolo kyokka basigazza ebitiibwa byabwe ebya Duke ne Duchess ab’e Sussex.

Kkwiini era agambye nti Harry ne mukyalawe si baakuddamu kulabirirwa ku nsimbi ez’omuwi w’omusolo n’ensimbi Pawunda obukadde bubiri n’emitwalo 40 ze baafuna nga baddaabiriza amaka gaabwe amatongole, bakkiriza okuzisasula.

Wabula bino binyiizizza Abangereza ne bategeeza nti Kkwiini abadde alina okugoba Harry mu lulyo Olulangira n’agenda me Meghan ne bafuukira ddala abakopi.

Trump atandika nkya okwewozaako ku by’omukuggya mu ntebe y’Obwapulezidenti

ENTEEKATEEKA ziwedde Palamenti ya Amerika okutandika enkya ku Lwokubiri okuwozesa Pulezidenti Donald Trump, ababaka basalewo okumuggya mu ntebe eya Pulezidenti asinga amaanyi mu nsi yonna oba okumwejjeereza.

Shutterstockeditorial10434333bm 703x422
Donald Trump

Trump bagenda kumuwozesesa mu Palamenti enkulu eyitibwa Senate omutuula ababaka 100 ng’eno gy’alina omukisa ogusembayo oluvannyuma lw’okumeggebwa akalulu akaamukubiddwaako nga December 18, 2019 mu Palamenti ento eya House of Representatives ku misango gy’avunaanibwa ab’oludda oluvuganya gavumenti ye. Trump yavunaaniddwa emisango ebiri; ogw’okukozesa obubi ofi isi ey’Obwapulezidenti  n’ogwokuyisa mu Palamenti olugaayu era emisango gyombi gyamusse mu vvi. Yakubiddwaako obululu bwa mirundi ebiri; ak’okusalawo oba yakozesa bubi ofi isi ey’obwapulezidenti ako ne kamumegga kyabugazi n’obululu 230 ku 197 ate mu kalulu akookubiri ak’okusalawo oba yayisa olugaayo mu Palamenti, Trump nako teyakwatamu nga yameggebwa obululu 229 ku 198. Palamenti eya House of Representatives erina ababaka 435 ng’ekibiina kya Democrats  kye kisinzaako ababaka abangi (233), ate ba Republicans abali mu buyinza balinako 179 era bonna tekuli yavudde mu Trump. Ababaka 6 abatuula mu Palamenti eno amateeka tegabakkiriza kukuba kalulu wadde nga balina ebibiina bye bagwamu. Ebifo 4 bikalu tebinnajjuzibwa. Oluvannyuma lw’okumeggebwa mu Palamenti eno, kati ensiitaano egenze mu Senate wabula eyo Trump alinayo enkizo kubanga ekibiina kye ekya Republican kye kisinzaayo ababaka abangi. Ku babaka 100, ekibiina  kya Trump ekya Republicans kirinako ababaka 53, eky’aba Democrats kirinako 45, ate ababaka 2 tebalina kibiina era kisuubirwa nti Trump alina emikisa mingi okusimattukira ku mutendera guno. Ababaka aba Senate batandika enkya ku Lwokubiri okuwozesa Trump, wabula kigambibwa nti ab’ekibiina kya Republican  olw’okubanga be basinga obungi mu Senate, bateekateeka obutaganya kiteeso ekyokuggyamu Trump bwesige kutuuka ku mutendera ogw’okuwozesa mukama waabwe. Akulira ababaka aba Republicans  mu Senate Mitch McConnell y’akulembeddemu kaweefube ow’okulemesa ekiteeso era yalemesezza aba Democrats abaabadde bamusaba akkirize obujulizi obupya obwafuniddwa nga buluma Trump. Bannakibiina kya Democrats  baalonze ababaka musanvu okuli: Adam Schiff (California) Jerry Nadler ( New York),  Zoe Lofgren ( California), Hakeem Jeffries ( New York), Val Demings (Florida),  Jason Crow ( Colorado) ne Sylvia Garcia (Texas) nga be bagenda okukola ng’abawaabi mu musango guno ate Trump ayungudde ttiimu ya bannamateeka be Pat Cipollone, Alan Dershowitz, wamu ne munnamateeka ow’erinnya Ken Starr eyali mu musango Bill Clinton eyali Pulezidenti bwe yali attunka n’emisango egy’okuganza Monica Lewinsky.

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya.

Nrm1 703x422
Kintu John y’omu ku bazze okuvuganya ku kifo kino

OKULONDA  Ssentebe wa NRM e Mityana kutandise na bbugumu nga buli agenze okwewandiisa awera kugatta bantu n’okwagazisa abalonzi ekibiina kya NRM. Kino kiddiridde eyali sentebe Omugenzi Enock Kato okufa nga Nov.29 2016 ekifo ne kisigalamu omumyuka Hajji Haruna Nziiza Kibirige. Gavumenti yasazeewo okussaawo okulonda Sentebe ekifo kijjuzibwe ng’okulonda kw’aba Sentebe okwa bonna okutegekebwa okubeerayo mu March omwaka guno kubindabinda. Okulonda sentebe kwakubeerawo ku lwakubiri ekitegeeza nti abaagala ekifo kino baweereddwa ennaku bbiri zokka okwewandiisa.

 ajji arunah ziiza ibirige abadde ssentebe owekiseera naye akomyewo okuvuganya
Hajji Harunah Nziiza Kibirige abadde ssentebe ow’ekiseera naye akomyewo okuvuganya

Abewandiisizza kwabaddeko John Kintu Dayirekita wa Mityana Nursing and Midwifrey ne ttendekero lya Agrovet,kakumba Ssennabulya eyaliko omuwandiisi mu wofiisi ya NRM ne Hajji Haruna Nziiza Kibirige nga ye yasoose kulekulira kifo kya mumyuka kyeyabaddeko nakyo kivuganyizibwa. Twayogeddeko n’abarala abasuubirwa okwesimba ku kifo kino ku lukomo  lw’essimu ku barala abagala ekifo Mande Buwembo Sentebe we ggombolola ye Malangala yakkirizza nti wakubeera mu lw’okaano. Buli eyesimbyewo yayogedde byatandikirako okukolaJohn kintu,-Ngenda kugatta Banna Kibiina,okuva kato lweyafa ekibiina kibaddemu okwerumaruma,NRM tukyetaaga emikwano gyengenda okusaka. -Twetaaga okubeera obumu ng’ekibiina,abebibiina ebirala tulina okubasikiriza n’ebikolwa batwegatteko nga kino ndiwakukikola nga nsikiriza abavubuka okwejja mu bwavu. -Tulina okumanyaganya nga Banna NRM ekitabaddewoHajji Haruna Nziiza Kibirige agamba, -Ebimu ku byensobodde okukolako mu bbanga ettono lyembadde mu ntebe byeyogerera okugeza nafunira ekibiina ettaka okuva mu bawagizi b’ekibiina e Kunywa kwetuli mukuzimba ekitebe kya NRM. -Nnina essuubi okwongera okugatta abantu n’abakulembeze bonna mu kibiina.-Ssetiririra mu kunonyeza ba kulembeze ba NRM akalulu abavuganya ku bifo ebyenjawulo e Mityana.

 akumba sennabulya naye azze okuvuganya
Kakumba Ssennabulya naye azze okuvuganya

Kakumba Ssenabulya agamba;Obukulembeze bwabadde tebujudde nina essuubi n’obusobozi okutwala obukulembeze bwa NRM obwa disitulikiti mu maaso kubanga nnaliko omukulembeze mu wofiisi yeemu. Mande Buwembo-Ngenda kussaawo enkola egatta abantu ba NRM mu kifo ky’okubavuma ng’abarala bwebakola n’okwongera ku muwendo g’wabawagira NRM. Akulira okulonda mu NRM e Mityana Faith Tumwebaze yagambye nti okulonda kwakubeerawo ku lwokubiri nga kusubirwa okwetabibwamu  n’omwogezi w’ekibiina kya NRM Tanga Odoi alangirire Sentebe analondebwa. Yawadde abesimbyeewo amagezi okwewala okugulirira abalonzi,okukuuma  empisa n’okufuga abalonzi babwe. Yagasseeko nti abalonzi bali 300 okuva mu maggombolola 13 nga buli Ggombolola liweebwa omukisa okuleeta abantu 11.

Obunkenke e Namirembe nga Reverand Kalende akuba embaga

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev. Mayanja bwe yatandise omukolo gw’okugatta abagole enduulu n’esaanikira lutikko y’Omutukuvu Paul e Namirembe ku Lutikko.

Kalendeweds1 703x422
Ba Kalende oluvannyuma lw’okugattibwa e Namirembe.

“Waliwo alina ensonga erobera ababiri bano okugattibwa mu bufumbo obutukuvu? Bwaba taliiwo asirikiranga ddala emirembe n’emirembe” bwe yabuuzizza.

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev. Mayanja bwe yatandise omukolo gw’okugatta abagole enduulu n’esaanikira lutikko y’Omutukuvu Paul e Namirembe ku Lutikko.

byokwerinda bibadde gguluggulu ku utikko e amirembe
Ebyokwerinda bibadde gguluggulu ku Lutikko e Namirembe.

Bino byabadde ku mbaga ya Rev. Ronald Yobu Kalenda ne Ssanyu Erusah Namuyige mu lutikko e Namirembe, era ng’embeera ebadde ya bunkenke ddala.

Bano baagattiddwa Rev Erisa Mayanja ow’e Kasubi era ono nga tanabagatta yasoose kubuuza oba waliwo alina ensonga erobera ababiri okufumbiriganwa nga tannaba kugatta bagole.

Akaseera k’okuteeka emikono ku satifikeeti y’abagole, entambi z’omu Lutikko abantu kwe bagobererera ebigenda mu maaso ziggyiddwaako era abantu tebalabye baani abateereddeko abagole emikono. Olivia Muwonge yabadde matron ate BestMan abadde Rev. Andres Ruiz Caro Goga.

 mukazi owa kkamera ngagezaako okusonga mu bannamawulire babagobaganye
Omukazi owa kkamera (ku kkono mu gomesi) ng’agezaako okdduumira banne bakube bannamawulire baffe.
 

Okufaanako n’embeera eyali mu kwanjula ku miryango egiyingira lutikko kwabaddeko abaserikale era nga tebakiriza kkamera yonna kukwata bifaananyi okuggyako ebbiri entongole ezaabadde zatabulidde ku bagole.

Gye buvuddeko Rev. Kalende yafunye obuzibu omuwala Perusi Nabirye  bwe yavuddeyo n’amulumiriza nga bwe yamuzaalamu omwana n’agaana okumuwa obuyambi. Kyokka bino Kalende yabyegaana n’alumiriza mukwano gwe nfa nfe Rev. Julius Matovu ow’e Jjungo okubeera kitaawe w’omwana ono.

 mukazi ono bakira asonga mu bannamawulire baffe ngaduumira babakube
Omukazi ono bakira asonga mu bannamawulire baffe ng’aduumira babakube.

Embeera eno yawaliriza Nabirye okuddukira ewa minisita w’abaana ‘nabavubuka,  Florence Nakiwala Kiyingi eyayita abaawule bombi ne Nabirye n’abatuuza era oluvannyuma Kalende yakkiriza nti omwana wuwe n’akiriza n’okumulabirira.

Bano oluvannyuma baasembeza abagenyi baabwe ku ssomero lya Mengo SSS.

Omukazi n’akapanka eyakubidde ebifaananyi mu gomesi ng’agezaako okuduumira bakube bannamawulire abaabadde basaka amawulire g’embaga eno.

Tekinologiya wa Iran asannyalazza Amerika

Tekinologiya wa Iran asannyalazza Amerika

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala ng’amagye ga Amerika gamutegeezezza nti ennyonyi musanvu ezeevuga zokka zicankalanyiziddwa nga ziri mu bwengula nga tezikyasobola kudda ku nkambi y’Abamerika.

War1 703x422
Drone ekika kya MQ – 1C Gray Eagle ezaabuze ku Bamerika oluvaannyuma lw’okukubwa mizayiro za Iran. Buli drone yabaddeko mizayiro ez’amaanyi nnya ekika kya Hellfire wansi nga bwe zifaanana.

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala ng’amagye ga Amerika gamutegeezezza nti ennyonyi musanvu ezeevuga zokka zicankalanyiziddwa nga ziri mu bwengula nga tezikyasobola kudda ku nkambi y’Abamerika.

Amaanyi Iran yagaggye ku tekinologiya omupya gwe yasabuukuludde ku nkomerero y’omwaka oguwedde, kyokka Amerika ne banywanyi baayo okuli Bungereza, Bufaransa ne Germany ne batasooka kutegeera maanyi ga tekinologiya oyo.

Tekinologiya ono gwe baakozesezza okuketta mu nkambi ya Amerika e Iraq eya Ain al-Asad Airbase era enkambi eno Iran gye yakubyeko mizayiro wiiki ewedde.

Pulezidenti wa Iran Hassan Rouhani okwogeza amaanyi ng’alaalika amagye ga Amerika okwamuka amawanga ga Buwalabu, kigambibwa nti embavu yaziggye ku tekinogiya ono eyatandikiddewo edda okusattiza Donald Trump.

Mu kulaalika amagye ga Amerika agali mu nkambi ezaateekebwa mu kyondo kya Buwalabu, Rouhani yayogezza amaanyi g’atayogezangako mu byafaayo by’obukulembeze bwe era nga kigambibwa nti amaanyi yagafunye lwa tekinologiya ono eyatandise dda okukola “ebyamagero”.

Rouhani yagambye nti kiyamba Amerika okuggyayo amagye gaayo mu nkambi zonna Abamerika ze baateeka mu nsi za Buwalabu naddala e Iraq, n’agattako nti tewabaawo Mumerika yenna agamba nti tebaalabulwa ku biyinza okuddirira singa tebaggyaayo magye gaabwe.

Iran yasoose okukozesa tekinologiya ono ng’erumba enkambi ya Amerika eya Ain al-Asad Airbase. Tekinologiya ono akyali omupya, asannyalaza ennyonyi ennwaanyi eziba mu bwengula, olwo ne bakola olulumba ng’omulabe bamaze okumusannyalaza.

Ennumba zino zaatandise ku saawa 7:35 wabula mu kiseera ekyo, Amerika yabadde esindise ennyonyi zaayo enkessi ezeevuga zokka ez’ekika kya MQ-1C Gray Eagles era zaabadde mu bwengula.

 yatollah hamenei ne oleimani ku ddyo eyavuddeko embeera eriwo
Ayatollah Khamenei ne Soleimani (ku ddyo) eyavuddeko embeera eriwo.

Tekinologiya wa Iran, y’omu ono agwa mu ttuluba lya Marine Air Defense Integrated System (MADIS), akola omulimu omulala ogw’okusannyalaza ennyonyi eziba zisindikiddwa okukola obulumbaganyi era ne ku mulundi guno kye yakoze n’asannyalaza ennyonyi za Amerika musanvu.

Bamuyunga ku bikompola bye bakuba mu bbanga ennyonyi ze baba baagala okusannyalaza we ziba zirabiddwa era amangu ago ennyonyi nga zitandikirawo okubutaabutanira mu bwengula. Tekinologiya ono akuba ekizikiza mu bwengula wonna ne wakwata enzikiza, ennyonyi nne zibulwa we zidda. Ennyonyi za Amerika zaamaze essaawa 4 nga ziri mu bwengula zicankalanye era kaweefube yabadde wa maanyi okuzitaasa.

ENGERI AMERIKA GYE YALWANYE OKUTAASA ENNYONYI ZAAYO

Amerika ng’ekozesa ekitongole kyayo ekikessi wamu ne banywanyi baayo aba Israel, baabadde bafunye ku mawulire nti Iran erina akatiisa k’etegeka okukolawo era ne baddira abajaasi 1,500 abaabadde mu nkambi ne bayingira wansi mu mpuku mizayiro gye zaabadde tezisobola kutuuka.

Abakugu bana abaabadde mu busenge obugumu ennyo era obuziyivu embeera yabatabuseeko nga balaba tebakyasobola kulondoola nnyonyi ze baabadde bavugira ku kompyuta, wabula ekizikiza ne kikwata wonna. Amerika bwe yafunye amawulire nti Iran etegeka okubalumba ne balowooza nti egenda kuyita ku ttaka.

Baasindise ennyonyi zino mu bbanga okulondoola embeera, okuketta nga bwe zikuba ebifaananyi nga zikozesa “seetirayiti” okuweereza ebifaananyi ku kitebe ky’amagye mu Amerika (Pentagon).

Wabula Iran yabadde emaze okukozesa tekinologita waayo omupya n’esannyalaza ebimu ku byuma bya Amerika olwo n’ekuba mizayiro nga zookya ebifo ne waya engumu ennyo ze baakozesa okuyunga ebyuma bya Amerika ne banywanyi baayo ku mirongooti egiyunga ennyonyi ku nkambi mu kifo we bazirondoolera.

Bino byonna okutuuka okuvaayo, Sergeant Costin Herwig 26, omu ku bagoba b’ennyonyi abaabadde ku “misoni”, yabadde alojja nga bwe yasimattuse amagombe kubanga yategeezezza nti ekizikiza bwe kyakutte wonna n’awulira okubwatuka okw’amaanyi okwamaze essaawa ssatu nnamba n’awanika ng’amanyi nti obubwe bwabadde bukomye.

Yagambye nti waabaddewo okubwatuka era okubwatuka okwasoose kwakubye wonna era kwabuutikidde wonna n’enfuufu n’ekwata wonna ne baziyira nga balowooza oba oli awo baabadde babakubyemu omukka ogw’obutwa.

Okusinziira ku Herwig nga bwe yategeezezza omukutu gwa AFP, yagenze okuwulira ng’okubwatuka okwabadde kwesudde ekifo we bali ebyazzeeko nga bibwatukira ku kifo kyennyini we baabadde n’asaba essaawa esembayo kyokka ne basimattuka.

Bino byonna Iran ebikola okwesasuza olwa Amerika eyakoze obulumbaganyi ku Baghdad International Airport nga January 3, 2020 n’etta Genero wa Iran Qasem Soleimani. Aba Iran baayanukul nti lino lye batayinza kugumiikiriza be balaalika okwesasuza.

Tekinologiya ono bamwolekezza butereevu ku kifo abaserikale we babadde basula ekiriraanye ekifo abagoba b’ennyonyi we baabadde bakolera emirimu gyabwe (pilots’ operations rooms). Herwig yeemuludde okwekweka mu kifo ekirala n’alaba eddiiro nga lituntumuka lyokya waya zonna eziyunga ekifo mwe bakolera ku mirongooti.

Amerika yayise mu Katikkiro wa Bungereza Boris Johnson n’aleeta ekiteeso ng’ayagala Iran eddemu eteese ne Amerika ku ndagaano ya nukiriya Obama gye yaleka akoze wabula Trump n’agisazaamu. Iran yabaanukudde nti eppeesa baanyize ffu tekyalina kyeyagala kuteesa.

Trump bwe yamaze okwetegereza tekinologiya ono, n’alagira baweerezeeyo ennyonyi ez’omutawaana ezitamala gakubwa. Ennyonyi ze yalagidde okusindika e Iraq awali ensiitaano, okumala essaawa 27 ng’eri mu bwengula.

Enkola empya eya UNEB eyongedde obwesimbu mu kugolola ebibuuzo

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo ekya UNEB, enkyukakyuka ze kyakola mu bibuuzo bya PLE omwaka oguwedde zikyusizza ebyavudde mu bigezo.

Kalule1 703x422
Jennifer Kalule owa UNEB.

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo ekya UNEB, enkyukakyuka ze kyakola mu bibuuzo bya PLE omwaka oguwedde zikyusizza ebyavudde mu bigezo.

Mu bibuuzo bya PLE eby’omwaka oguwedde (ebifuluma leero), UNEB yaleeta enkola
empya emanyiddwa nga ‘Coding system’, ng’abayizi bonna abaatuula baaweebwa ennamba ze baakozesa mu kifo ky’okuwandiika erinnya ly’essomero ku lupapula.

Ennamba eno, omuyizi yalina okugikozesa awamu n’eyo ennamba eyamuweebwa UNEB mu kwewandiisa okutuula ebibuuzo.

Omuyizi era yaweebwanga ne nnamba ya disitulikiti ng’eno ye yakozesebwa mu kifo
ky’okuwandiika erinnya lya disitulikiti omuyizi gy’atuulidde ebigezo.

Enkola eno eyatandika okukola ku ba P7 omwaka oguwedde, ebibala byayo bye bivudde mu bigezo ebifulumye leero ku Lwokutaano.

Ekigendererwa kyayo kyali kukendeeza bukuluppya n’obubbi bw’ebigezo ku mutendera nga bigololwa. UNEB bwe yabadde eyogera ku nkola eno, yategeezezza
nti omwaka guno abayizi bafunidde ddala obubonero bwabwe mu bwesimbu bwennyini awatali kugaba bubonero ng’osinziira ku ssomero ly’ogolola.

Omwogezi w’ekitongole kya UNEB, Jennifer Kalule Musamba, yagambye nti mu kuleeta enkola eno, ekitongole kyasinga kutunuulira kulwanyisa bubbi bwa bigezo
obubaddenga bukolebwa mu kugolola ebibuuzo.

Yagambye nti UNEB, kibaddenga kifuna okwemulugunya okuva mu masomero agamu ku ngeri ebibuuzo byabwe gye bigololwamu ng’abamu balowooza nti waliwo amasomero ge babbira.

Kalule agamba nti mu nkola eno, essira baaliteeka ku kukweka erinnya ly’essomero okukendeeza ku kyekubiira abamu ku bagolola ebibuuzo gwe babadde naye.

Yagambye nti enkola eno empya ku mulundi ebayambye mu kugulola ebibuuzo kubanga abagolozi tebalina busobozi kumanya ssomero ki lye bagolola.

Kalule yagambye nti tebasuubira nnyo kufuna kwemulugunya olw’ensonga nti ebibuuzo byagoloddwa mu bwesimbu obukyasingidde ddala.

Kalule agamba nti ku mulundi guno tebadde ngeri yonna omuyizi gy’abadde ayinza okufunamu obubonero bw’atakoleredde ng’asinziira ku linnya ly’essomero mwe yatuulira ebigezo.

Yagambye nti kino kibongedde amaanyi okulwanyisa omuze gw’okubba ebibuuzo kubanga bagirabye ng’esobolera ddala okubayamba okubulwanyisiza ddala.

Okusoomoozebwa Kalule yategeezezza nti baliko okusoomoozebwa kwe baasanze
mu kugezesa enkola eno. Abaana abamu bwe baamala okuwandiika nnamba y’essomero gye baabawa ate nga beerabira okussaako amannya gaabwe, ky’agamba nti kyabakaluubirizzaamu.

Agumizza amasomero

Yagambye nti nga tebannatandika kugolola bibuuzo, baasooka kwetegereza nsobi zonna ezaali zikoleddwa abamu ku bayizi abaali tebategedde bulungi nkola eno.

Yagumizza abakulira amasomero nti teri bibuuzo byonna byabuze olw’enkola eno empya noolwekyo babeere bagumu.

Bye basuubira mu maaso

Yagambye nti nga bwe baakizudde nti waliwo abatannaba kugitegeera bulungi, baakukola enteekateeka ez’enjawulo okwongera okugisomesa bonna be kikwatako okulaba ng’omwaka guno tebaddamu kufuna kusoomoozebwa.

Yasabye abasomesa okunnyikiza enkola bukeno mu bayizi, babateeketeeke

bulungi.

Ssekikubo bamukkirizza okweyimirirwa n’ayimbulwa

OMUBAKA we Lwemiyaga Theodre Ssekikubo azzeemu okuyimbulwa Kkooti e Masaka ku misango gy’okukuma mu bantu omuliro gy’agambibwa okuzza nga January 02, 2020 nga gino gyamukwasizza olunaku lw’eggulo mu bbanga lya ssaawa busaawa nga ky’aggye ayimbulwe kkooti y’emu ku misaango gy’okubeera n’emmundu mu ngeri emenya amateeka n’okucankalanya okulonda kwa NRM okwaliwo mu 2010 e Lwemiyaga – Ssembabule.

03 703x422

Omulamuzi Deogratius Ssejjemba akkiriza Ssekikubo okweyimirirwa ku kakalu ka bukadde 10 ezitali za buliwo ate abamweyimiridde okubadde babaka banne;  Mathias Mpuuga Nsamba, Patrick Nsamba, Anifah Kawooya ku bukadde 15 buli omu nazo ezitali za buliwo. Ssekikubo oluyimbuddwa n’awera okugenda mu maaso ng’alwanirira abantu b’e Ssembabule n’ategeeza nti Minisita Gen. Elly Tumwine y’amukola bino byonna ng’amuggulako ebisangosango ebitategeerekeka kyokka n’asiima Kkooti okumuyimbula.

Iran egezesezza pulaani y’okukuba Amerika

IRAN efulumizza akatambi akalaga engeri gye bagenda okuttamu pulezidenti wa Amerika Donald Trump ne balabula nti egeri gye bagenda okuwooleramu eggwanga ejja kubeera ya kuyiwa musaayi.

Ayatollah1 703x422
Ekifaananyi ekyafulumiziddwa ofiisi ya Ayatollah (wakati) ng’ali ne Rouhani (ku kkono) ne Gen. Isamil Qaani eyazze mu kifo kya Soleimani.

IRAN efulumizza akatambi akalaga engeri gye bagenda okuttamu pulezidenti wa Amerika Donald Trump ne balabula nti egeri gye bagenda okuwooleramu eggwanga ejja kubeera ya kuyiwa musaayi.

Akatambi kano baakakoze nga kalaga embeera eyaliwo ng’abeebyokwerinda bakwakkula pulezidenti Trump ku kadaala k’ebyobufuzi e Nevada bwe baafuna okwekengera nti mu bantu abamwetoolodde mulimu abalina emmundu ng’ekiseera kyonna baali basobola okumutusaako obulabe.

Bino byonna babitegeka nga baagala okwesasuza olwa Amerika eyasse Genero wa Iran, Qasem Soleimani nga January 3, 20120.

Akatambi kano kalaga engeri Iran gy’eyinza okweyambisa omutujju omupangise n’asindirira Trump amasasi ng’eno abaserikale bwe balwana okumuggya ku katuuti.

Kuno bawerekerezaako obubaka obutiisatiisa nti singa Amerika kagitanda n’etandika olutalo Iran ejja kuluzikiza. Akatambi kano kazze kalaga ennumba ez’enjawulo Irano z’ezze ekola ku nfo za Amerika n’etuuka n’okukuba mizayiro ezaakubiddemu ennyonyi ya Ukraine n’efiiramu abantu 176.

Akatambi kalaga omukulembeze wa Iran ow’oku ntikko Ayatollah Ali Khamenei ng’atuuza olukiiko lwa Bagenero e Iran n’abalagira bafeffete buli awali enfo ya Amerika basobole okulangirira ekiddako.

OMUKYUKA WA PULEZIDENTI MU IRAN AYOGEZZA BUKAMBWE

 rump
Trump

Massoumeh Ebtekar omumyuka wa pulezidenti wa Iran.

yavuddeyo n’ategeeza nti akimanyi bulungi Trump ne Amerika okutwaliza awamu ekiseera kino bejjusa olw’okutta Gen. Soleimani kubanga Iran bw’enabeera yeesasuza tegenda kukoma ku
kulumya Amerika yokka wabula n’amawanga agamu mu Bulaaya gaakusigaza ebinuubule.

Yagambye nti okusinziira ku by’azze agoberera ebifulumira ku mikutu egy’enjawulo akakasa nti kati ensi yonna etegeera bulungi ebikolwa bya Amerika eby’ekko.

Yayongeddeko nti ng’omusajja omukulu ategeera ensi n’ebigenda mu maaso era ng’alabye ku bapulezidenti ba Amerika ab’enjawulo, ono Trump ali ku muzannyo kubanga akabanga kaasigazizza okumalako ekisanja kye ajja kukamalako ng’asangula maziga kubanga lino eppeesa yanyize ffu teyasoose kubala ng’akikola.

Pulezidenti wa Iran Hassan Rouhani ayongedde okulabula nti kati bagenda kukuba buli awali amagye ga Amerika ne banywanyi baayo agali mu Buwarabu.

Yasinzidde ku ttivvi y’eggwanga eggulo mu kwogera kwe eri eggwanga nga munyiivu ne bye yayogedde nga bya bukyayi,yagambye nti olwa Amerika okulemwa okussa ekitiibwa mu ndagaano gye yali ekoze ne Iran ku nsonga za Amerika mu 2015 amagye ga Amerika agali mu Buwalabu gatudde ku bbomu.

Era n’amagye gaamawanga ga Bulaaya kati gakeesa lukya kubanga essaawa yonna gagwa ku kyokya. Bino agenze okubyogera nga Amerika yaakamala okwongera amagye amalala mu kyondo kya Buwarabu.

Yagenze okwogera bino nga Katikkiro wa Bungereza Boris Johnson yakamala okuvaayo n’akubiriza Iran okuddamu okuteesa ne Amerika baddemu okukola
engaano ku by’okulwanyisa bya nukiriya wabula yabadde yakabiggya mu kamwa Rouhani n’amwambalira ng’agamba nti ono amulaba nga kasitaani akeewogomye mu mugongo gwa Trump kubanga akimanyi bulungi nti Bungereza, Bufaransa ne German
balinnya mu kimu ne Amerika.

Yagambye nti Amerika okutta Gen. Qasem kiyinza okuviiramu Amerika ebizibu ebinene ennyo okusinga bw’erowooza ng’ebalaata okudda mu kwogera ku nukiraya
nga baakamala okutugumbula omuntu waabwe omunene bwatyo mu ggwanga.

 ran yasiize ekifaananyi kya oleimani nekissa munda mu kizimbe kya merika mu kibuga ehran wabula nga mu kiseera kino bamerika baakiddukamu
Iran yasiize ekifaananyi kya Soleimani n’ekissa munda mu kizimbe kya Amerika mu kibuga Tehran wabula nga mu kiseera kino Abamerika baakiddukamu.

AMERIKA EYANUKUZZA BUJULIZI KU NNYONYI IRAN GYE YAKUBA

Pulezidenti wa Iran yabadde awanda omuliro nga Amerika egenda mu maaso na kufulumya butambi obulaga engeri mizayiro za Iran gye zaakubyemu ennyonyi ya Ukraine gye baagambye nti baagikubye mu butanwa.

Omukutu gwa The New York Times gwafulumizza amawulire nga bategeeza nti bamaze kwekenneenya obutambi bwonna obufulumiziddwa ebitongole by’ebyokwerinda bulaga bulungi nti Iran yasooka kwetegeka era ne basumulura mizayiro nga bakitegedde nti ennyonyi gye bakuba ya basaabaze terina mutawaana.

Bino byagenze okujja nga Canada eyali esinza abantu abangi ku nnyonyi eno eyongera okulumiriza nti Trump bye yakola bye byaviirako okukuba ennyonyi ne
bafiira abantu abasoba mu 60.

Aba Middle East babaggyeeko layisensi y’okutwala abantu ku kyeyo

MINISTULE y’ekikula ky’abantu n’emirimu eyimirizza kampuni ya Middle East Consults okutwala abantu ebweru okukola.

Middleeast13 703x422

Byogeddwa kamisona Matia Wandera  akulira  ebyemirimu mu ministule eno bw’abadde  asisinkanye abavubuka 38 ng beebamu kw’abo abalumiriza kampuni eno okubajjako ssente ng’ebasuubizza okubatwala ebweru okukola kyokka nebatatwalibwa.

Wandera yabadde ku ofiisi z’akakiiko akalwanyisa enguzi aka Anti-Corruption Unit akakulirwa  Lt Col Edith Nakalema n’ategeeza nti oyo yenna akolagana ne kampuni eno abeera akikola ku lulwe.

Wandera yagambye nti ebbaluwa eyimiriza kkampuni ya Middle East egenda kuwerezebwa mu ofiisi zonna ezivunanyizibwa ku ntambula yabantu abagenda okufuna emirimu ebweru w’eggwanga.

Yayongeddeko  nti ebbaluwa eno yawandiikibwa nga January 10, 2020 nga yatekebwako omukono omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno James Ebitu oluvanyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu bantu abawerako ku kampuni eno.

Aba Middle East ebintu byabonekera abavubuka abasukkamu 100 bwe baavaayo nga babalumiriza okubaggyako ssente eziri wakati w’obukadde bubiri n’obukadde butaano nga babasuubizza okubatwala mu mawanga okuli Oman , Dubai, n’amawanga g’omu Buwarabu okukola emirimu egyenjawulo kyokka ne batabatwala.

Abavubuka bano era baalumiriza nti kampuni eno yalemwa okubsasula ssente zaabwe zebaali baabawa ekyaviirako okukwatibwa nebatwalibwa mu kkooti nga mu kiseera kino bw’erennemba n’emisango mu kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna e Kololo.

Mu nsisinkano eno abavubuka balojjedde  Nakalema ennaku gyebayitamu okuva kampuni eno lwe yabalimba okubafunira emirimu ne batwalako ssente zaabwe ate n’etabawa mirimu nga bwe yali yasuubizza.

Bano nga bakulemebddwa Ambrose Omale bategezezza waliwo munnaabwe amanyiddwako erya Julius eyaafudde olw’embeera ey’okunyigirizibwa gyabadde ayitamu nga yalya n’amabanja kyokka negamulema okusasula.

Omale yagambye nti Julius yafudde kyokka nabo basula ku mbalaza kubanga bangi baagobeddwa mu mayumba nga n’abaana baabwe tebasoma ssaako okunyigirizibwa okwenjawulo kwe bayitamu.

Abavubuka abalala bategeezezza nga aba kampuni eno bwe beekobaana ne poliisi ne banokalayo ey’e Kabalagala nga bwe bagendayo okuloopa babatunuulira kya muli.

Lt. Col Edith Nakalema yalagidde abakulu mu ofiisi ye okutandiika okunoonyereza ku ba poliisi bano n’alabula abavubuka obutaddamu kunoonya mirimu  bweru wa ggwanga bagumire mu Uganda mu buli mbeera n’abagumya nti buli kimu kijja kutereera.

Wandera yategeezezza nga Minisitule bw’egenda okuggyayo ssente obukadde 50 eziri ku akawunti ya Middle East esasule abavubuka bano wadde nga tezigenda kumalayo bbanja lyonna ly’ebabanja.

Abawala lwe bakandaalirirza abasajja nga bakyabeetegereza

ABAWALA babeera mu mukwano naye nga bakyetegereza baganzi baabwe. Bano batera okukola ebintu ebiremesa baganzi baabwe okwegatta mu mukwano nga kye banoonya kwe kuzuula oba omuntu gw’ali naye amwagalira ddala oba ayagala kumukozesa bukozesa oluvannyuma amusuulewo.

129633552surfinginternetyoungblackcouplerelaxingwithlaptopandcoffeeenjoyingweekendathome 703x422

Mu mbeera  eno abawala balina obukodyo bwe batera okukozesa okulemesa baganzi baabwe  okwegatta naye n’ekigendererwa ky’okuzuula omukwabuzi n’oyo amwagalira ddala.

1. Okutambula ne mikwano gye: Abasajja abasinga batya okwegatta n’omuwala  nga waliwo omuntu omulala mu nnyumba.  Omuwala bw’aba tayagala yeegatte na musajja, okutambula ne mikwano gye abeera akikozesa  ng’akakodyo okulemesa muganzi we okusinda naye omukwano naddala ng’akyamwetegereza. Omusajja bw’agezaako okulemerako ng’amujuliza nga bwe bajja okuswala mu maaso ga mikwano gyabwe. 

2. Beewala okutuula ku buliri. Abawala bwe baba beewala okwegatta ne baganzi baabwe  tebeetantala kutuula ku buliri oba okuyingira mu kisenge nga bakyaddeyo kuba baba bawulira ng’abagwa mu katego okugenda mu kikolwa ky’okwegatta.

3. Bafuna essimu ez’okumukumu: Abawala abamu bwe babeera bagenda mu baganzi baabwe nga tebaagala kwegatta nabo beekobaana ne bannaabwe ne babakubira essimu buli kiseera nga kibeera  kizibu ate okutandika okumuzza mu by’okwegatta. Essimu bagikozesa ng’akakodyo akakuggya ku mulamwa gw’okwegatta. Abamu beefuula be beetaaga oba nga waliwo munnaabwe afunye ekizibu.

4. Okugenda mu nsonga. Abawala bamanyi nti abasajja tebaagala kuwulira nti omuwala ali mu nsonga olunaku lw’agenze ewuwe. Abasajja abamu oluwulira nti munne ali mu nsonga bw’aba abadde anyumya ku byakwegatta abivaako amangu ago. Wabula mulimu abasajja  b’otanyumiza ebyo ng’asooka kukukebera okukakasa ky’oyogerako.

5. Okwefuula akola kino na kiri n’atawa musajja mwagaanya  kwegatta. Abawala abamu nga tebaagala  kwegatta na baganzi baabwe beefuula abakola ennyo okugeza okulongoosa awaka, okusoma ebitabo abalala babeera balaba firimu oba okuva ku mirimu nga balojja nga bwe bakooye ennyo.

6. Emboozi ezennyamiza: Ebiseera ebimu abawala banyumya emboozi ezikwasa abasajja ennaku, wano nga boogera ku ngeri gye babonyeebonyemu oba engeri gye bayisiddwamu embi mu mukwano gwabwe omukadde  nga balaga nti batya okuddamu okugwa mu mukwano oba okukola ekikolwa kyonna eky’omukwano ne badda mu mbeeera gye baayitamu. Kino oluusi kiwa n’omusajja endowooza nti tekijja kulabika bulungi okugezaako okutandikawo embeera y’okwegatta mu bwangu.

7. Okwefuula abatalina mirembe: Ebiseera ebimu abawala bateekawo embeera eraga omusajja nti tebalina mirembe okugeza ku mulimu, okubeera n’ensonga z’awaka oba ezikwata ku booluganda lwabwe. Abasajja bafuna okutya nti ssinga beetantala okutandika eby’okwegatta bayinza obutanyumirwa oba ebintu obutabagendera bulungi.

Kansala abuulirira abali mu mukwano n’abafumbo, Dan Ddamulira owa NANA Counselling Services   agamba nti okulindiriza munno nga temwegasse mu buliri kirungi ng’oyagala okwetegereza gwoli naye mu mukwano kuba abasajja abamu bwe baloza ku  bannaabwe oluusi babasuulawo mangu nga babalaba ng’abangu mu nsonga z’omukwano oba nga tamusanyusizza nga bw’abadde asuubira.

Trump bimukyukidde

Eby’ennyonnyi ya Ukraine eyakubiddwa Iran mu butanwa nga yeesasuza olwa Amerika okutta Gen. Soleimani bikyukidde Pulezidenti Trump. Canada ekimutaddeko bwe yavuddeko okuttibwa kw’abantu 176 abaagibaddemu.

Iran1 703x422
Trump

Eby’ennyonnyi ya Ukraine eyakubiddwa Iran mu butanwa nga yeesasuza olwa Amerika okutta Gen. Soleimani bikyukidde Pulezidenti Trump. Canada ekimutaddeko bwe yavuddeko okuttibwa kw’abantu 176 abaagibaddemu.

Katikkiro wa Canada, Justin Trudeau ategeezezza nti embiranye wakati wa Iran ne Amerika yeyavuddeko okuttibwa kw’abantu 176 okwabadde bannansi ba Canada 56
n’agamba nti abantu abo bandibadde balamu singa tewaabaddewo mbiranye wakati wa Iran ne Amerika.

Trudeau ayongedde okussa akazito ku Iran okuliyirira famile z’abantu abattiddwa era n’agugumbula ne Trump nti ensonga yazikutte bubi.

Gavumenti ya Iran yalangiridde ku Lwokubiri nga bwe waliwo abakungu ne bannamagye abaakwatiddwa olw’ensobi eyakoleddwa  mu kukuba ennyonyi ya Ukraine wabula omuwendo gw’abaakwatiddwa tegwayogeddwa.

Kyokka Pulezidenti Hassan Rouhani yagambye nti wassiddwawo kkooti ey’enjawulo mwe bagenda okusimbibwa bavunaanibwe.

Abanene mu kibiina kyaffe mukomye okujeemera ssemateeka- DP

BANNAKIBIINA kya DP, balabudde abanene mu kibiina kino abasusse okwegulumiza n’okwetwala nga abekitalo mu kibiina olw’ebifo by’obukulembeze bye balimu ne batuuka n’okuyisa amaaso mu ssemateeka w’ekibiina nti boolekedde okufiirwa kaadi y’ekibiina mu kalulu ka 2021.

Sirandanew 703x422
Ku ddyo ye Ssaabawandiisi wa Dp,Gerald Siranda ng’ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina, (mu ssuuti enzirugavu) y’akulira ebyamawulire mu DP, Kamya Kasozi

BANNAKIBIINA kya DP, balabudde  abanene mu kibiina kino abasusse okwegulumiza n’okwetwala nga abekitalo mu kibiina olw’ebifo by’obukulembeze bye balimu ne batuuka n’okuyisa amaaso mu ssemateeka w’ekibiina nti boolekedde okufiirwa kaadi y’ekibiina mu kalulu ka 2021.

Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Gerald Siranda, yabadde mu lukungaana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala n’ategeeza nga bwe waliwo abanene mu kibiina kya DP abeetwala okuba ab’amaanyi okusinga ekibiina, ye ky’agamba nti kikyamu.

Siranda yagambye nti bayise olukiiko lw’ekibiina olw’oku ntikko enkya, okusala entotto ku ngeri bwe bayinza okumalawo okusoomoozebwa okuliwo mu kibiina, okwetegereza omukago gwa DP Block, okulaba engeri gye bayinza okukyusa obukulembeze bw’ekibiina ku mitendera egy’enjawulo n’okukubaganya ebirowoozo ku ky’abooludda oluvuganya okusimbawo omuntu omu ku bwa pulezidenti mu kalulu ka 2021.

Yagasseeko nti oluvannyuma ng’olukiiko olw’oku ntikko lumaze okutuula, baakukola enteekateeka y’okuwandiisa bannakibiina okwetooloola eggwanga lyonna.

“ Buli  abeegwanyiza okwesimbawo ku kaadi ya DP oba okulonda mu kamyufu k’ekibiina kino ateekwa okuba nga yeewandiisa nga munnakibiina, ssinga aba takikoze ebya DP abyesonyiwe,” bwe yagambye.

UNEB ennyonnyodde ku bigezo ebisazibwamu

Harry ne Meghan baddukidde kkooti okwetangira…Previous Story

UNEB ennyonnyodde ku bigezo ebisazibwamu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2020

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kirabudde abakulu b’amasomero ku bafere naddala mu kiseera kino ng’ebyava mu bigezo bya PLE eby’omwaka oguwedde bisulirira okufuluma enkya ku Lwokutaano.

Pro12 703x422
Kasule ng’ayogera

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kirabudde abakulu b’amasomero ku bafere naddala mu kiseera kino ng’ebyava mu bigezo bya PLE eby’omwaka oguwedde bisulirira okufuluma enkya ku Lwokutaano.

Omwogezi wa UNEB, Jennifer Kalule Musamba agambye nti okuva mu December w’omwaka oguwedde bazze bafuna okwemulugunya okuva mu bakulu b’amasomero agamu nga bwe waliwo abantu ababatiisatiisa nga ebibuuzo byabwe bwe bigenda okukwatibwa nti beenyigira mu bubbi bw’ebigezo, olwo ne babasaba ssente nti babitaase okukwatibwa.

Kalule akkaatiriza nti abantu bano bafere era abakulu b’amasomero basaanidde okubatwala ku poliisi.

Yategeezezza nti UNEB erina emitendera egigobererwa okutuuka ku kusazaamu ebibuuzo by’essomero era bwe basalawo okubikwata oba okubisazaamu tebalina ssente zonna ze basaba bannannyini masomero.

Amasomero gali ku bunkenke mu kiseera kino nga galindirira ekitongole ky’ebigezo okulangirira ebyava mu bibuuzo by’ekibiina ekyomusanvu ebyatuulibwa omwaka oguwedde ebigenda okufulumizibwa enkya ku Lwokutaano nga January 17, 2020.

Obucaafu bujja kugoba omusajja awaka

Omwami agamba nti ekisenge wakifuula kasasiro. Anti byonna by’okozesa mu nsonga zaffe otereka omwo, obuwale bwo obusonseka wansi w’ekitanda nga sibwoze, enkumbi era nazo bw’okola. Wansi w’ekitanda ate era w’otereka ebyokulya waafuuka sitoowa!

Omwami agamba nti ekisenge wakifuula kasasiro. Anti byonna by’okozesa mu nsonga zaffe otereka omwo, obuwale bwo obusonseka wansi w’ekitanda nga sibwoze, enkumbi era nazo bw’okola. Wansi w’ekitanda ate era w’otereka ebyokulya waafuuka sitoowa!
Mwana wange okusookera ddala ekisenge kifo kikulu nnyo mu bufumbo.

Ggwe ng’omukyala olina okulaba ng’ekisenge kyammwe kirabika bulungi era okiyonja okusikiriza omusajja okwegatta naawe oba okusobola okufuna obwagazi. Kati neewuunya lwaki okuuma by’okozesa mu nsonga nga paadi, obuwale obucaafu  n’enkumbi. Tomanyi kwoza oba oli mugayaavu?

Ate omuntu bw’akusanga mu kibuga oba onyiridde nnyo nga by’oyambadde byonna biyonjo. Ate ekinneewuunyisa kwe kutereka ebyokulya nga sukaali, omuceere n’obuwunga  wansi mu kitanda. Sigaanyi muli wafunda naye ate eyo gy’otereka si kyekifo ekituufu.

Mwana wange omusajja agenda kukuleka. Yang’ambye nti ekisenge kiwunya kivundu. Ate tomanyi na kuggula madirisa kale oluusu lusigala omwo.
Simanyi kye nnalekayo nga nkubuulirira ku mbeera z’omu kisenge, oba nnina kuddamu kubanga sikitegeera ate kiswaza nnyo omukyala omufumbo okukola ebyo ate nga mubuulirire. Oli mugayaavu oba olina ensonga lwaki okola bwotyo?

Era omwami yanga’mbye nti ennaku zino omugamba nti waliwo abaakugamba nti omusajja alina okuwunyiriza ekivundu mu kisenge aleme kukukyawa.
Nti era watandika okweraguza nti oyagala kukuuma musajja waka. Oba ani yakulimba nti ebivundu bikuuma abasajja awaka! Teri musajja ayagala bucaafu era abasinga bw’alaba ng’oyitirizza obucaafu afuna omukyala muyonjo oba yeewala awaka. Ekiva mu kwewala awaka, amaka gagenda gafa mpola mpola ogenda okulaba nga n’awaka talyawo mmere.

Abakyala abangi beebuuza lwaki abasajja tebalya waka naye ng’oluusi bucaafu. Agenda n’alaba obucaafu era n’ateebereza nti n’emmere gy’ofumba erina kubeera ncaafu.
Kale mwana wange olina okukyusaamu era nzija ku wiikendi nziremu nkusomese obuyonjo mu kisenge. Bye weeraguza si bituufu, abo baagala kukulemesa bufumbo bwo.

Omugagga w’e Bulenga Solome Nagawa afudde nga bamutwala mu ddwaliro

Omugagga w’e Bulenga Solome Nagawa afudde nga bamutwala mu ddwaliro.

Nas11 703x422
Omugenzi Solome Nagawa nga bwabadde afaanana

OMUGAGGA w’e Bulenga Solome Nagawa 49, abadde nannyini ttaka okuli akatale k’e Bulenga afudde.

Nagawa abadde yakanjula omwami we wabula alwalidde ennaku bbiri zoka bwatyo n’afa ng’atwalibwa mu ddwaliro  e Mulago.

Poliisi ekutte abatemu n’eboogeza gye baasudde omulambo gw’omusuubuzi

Poliisi ekutte abatemu n’eboogeza gye baasudde omulambo gw’omusuubuzi.

Kip11 703x422
Mutebi Gugu eyattiddwa

Poliisi ekutte abasajja babiri ku by’okuwamba era ne batuga omusuubuzi, abadde amanyiddwanga, Ronald Mutebi Gugwa, omutuuze w’e Walusubi-Mukono. Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwatiddwa agamba kuliko; Bamwine Alex amanyiddwanga-Felix Kainerugaba, ne Emmanuel Kalema. Kigambibwa nti omugenzi baamusanze mu Kampala, ne befuula abaagala okumutwalako kyokka olwakkirizza baamwefulidde n’ekigendererwa eky’okumubbako ssente. Poliisi ategeezezza nti abakwatiddwa babasanze ku luguudo lwa Masaka olukadde, nga bayambibwako kkamera zebassa ku nguudo. Bano okusinziira ku Poliisi bakkirizza okutta Mutebi, nti era oluvannyuma omulambogwe ne bagusuula emabbali w’oluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi, mu katawuni k’e Kyetume. Baabadde batambulira mu mmotoka njeru ekika kya Mark II, namba UAR 066B.Omugenzi era abadde n’amaka amalala ku mwalo gw’e Ssenyi, mu ggombolola y’e Ssi, mu disitulikiti y’e Buikwe

Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we

Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we

Baj1 703x422
Brian Bagyenda abagambibwa okutemu eyali muganzi we n’afa omulambo gwe ne gusangibwa mu kibira e Namanve

MUTABANI wakulira ekitongole ekikkesi ekya ISO, Brian Bagyenda agaanye okwewozaako mu kkooti mu musango gw’okutta muganzi we Enid Twijukye. Bagyenda aleteddwa mu kkooti enkulu okunnyonnyola ebyaliwo kyokka looya we Nsubuga Mubiru  n’ategeeza omulamuzi  Moses Kazibwe Kawumi nti basazeewo Bagyenda asirike era talina kyagenda kunyonyola kkooti. Omulamuzi asoose kumunnyonnyola engeri 3 mwasobola okuyita okwewozaako omuli okusooka okulayira, obutalayira oba okusirika natabaako kyayogera ye kwekulondako ekyokusirika. Ategeezezza nti yadde nga asazeewo kusirika agenda kuyita abajulizi 3 okuli muganda we Frances Nantamu n’omusawo we ddwaliro e Butabika Dr. Brian Mutumba okumuwolereza era balage ne kkooti nti yalina ekikyamu ku mutwe. Wiiki ewedde omulamuzi Kazibwe yalagira Bagyenda yewozaako oluvanyuma lwokuwulira obujulizi bw’abntu 16 nga bwonna bulumika Bagyenda nti yeyatta Twijukye nga amutebereza okubaayo n’omusajja omulala. Okusinziira ku bujuliz bw’oludda oluwaabi Bagyenda yayambibwako banne Vicent Rwahirwe ne Innocent Bainomugisha nga bano bebasiba Twijukye emiguwa ne “soloteepu” ku miwa olwo Bagyenda namuttisa “piro” gyeyamunyiggiriza mu feesi nalemwa okussa. Twijukye yafiira ku mwayak 22 mu January 2017 era yali asoma ku yunivasite e Ndejje. Omulambo gwa Twijukye poliisi yagusanga mu kibira kye Namanve nga gutandiise okuvvunda.

Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we

Mutabani w’akulira ISO Brian Bagyenda yezooba na gw’akutta eyali muganzi we

Baj1 703x422
Brian Bagyenda abagambibwa okutemu eyali muganzi we n’afa omulambo gwe ne gusangibwa mu kibira e Namanve

MUTABANI wakulira ekitongole ekikkesi ekya ISO, Brian Bagyenda agaanye okwewozaako mu kkooti mu musango gw’okutta muganzi we Enid Twijukye. Bagyenda aleteddwa mu kkooti enkulu okunnyonnyola ebyaliwo kyokka looya we Nsubuga Mubiru  n’ategeeza omulamuzi  Moses Kazibwe Kawumi nti basazeewo Bagyenda asirike era talina kyagenda kunyonyola kkooti. Omulamuzi asoose kumunnyonnyola engeri 3 mwasobola okuyita okwewozaako omuli okusooka okulayira, obutalayira oba okusirika natabaako kyayogera ye kwekulondako ekyokusirika. Ategeezezza nti yadde nga asazeewo kusirika agenda kuyita abajulizi 3 okuli muganda we Frances Nantamu n’omusawo we ddwaliro e Butabika Dr. Brian Mutumba okumuwolereza era balage ne kkooti nti yalina ekikyamu ku mutwe. Wiiki ewedde omulamuzi Kazibwe yalagira Bagyenda yewozaako oluvanyuma lwokuwulira obujulizi bw’abntu 16 nga bwonna bulumika Bagyenda nti yeyatta Twijukye nga amutebereza okubaayo n’omusajja omulala. Okusinziira ku bujuliz bw’oludda oluwaabi Bagyenda yayambibwako banne Vicent Rwahirwe ne Innocent Bainomugisha nga bano bebasiba Twijukye emiguwa ne “soloteepu” ku miwa olwo Bagyenda namuttisa “piro” gyeyamunyiggiriza mu feesi nalemwa okussa. Twijukye yafiira ku mwayak 22 mu January 2017 era yali asoma ku yunivasite e Ndejje. Omulambo gwa Twijukye poliisi yagusanga mu kibira kye Namanve nga gutandiise okuvvunda

Museveni alayizza abalamuzi ba kkooti y’okuntikko ssaako n’aba kkooti enkulu

Museveni alayizza abalamuzi ba kkooti y’okuntikko ssaako n’aba kkooti enkulu

Mus11 703x422

PULEZIDENTI Museveni alayizza abalamuzi ba kkooti ey’okutiko n’akulira abalamuzi ba kkooti enkulu”principal judge” n’abakuutira  okukola emirimu gyabwe mu bwesimbu. Abalamuzi abalayidde kuliko Mike Chibita abadde omuwaabi wa gavumenti omukulu DPP eyakuziddwa n’afuulibwa omulamuzi wa kkooti ey’okuntiko.

Abalamuzi abalala kuliko Ezekiel Muhanguzi ne Percy Tuhaise ababadde aba kkooti ejulirwamu nga bano bakuziddwa ne befuulibwa abalamuzi ba kkooti ey’okuntiko. Bano bajjukirwa nnyo mu musango gw’abasiramu okuli Sheikh Muhammad Yunus Kamoga ne banne munaana abaasibwa emyaka gya bulamu bwabwe olw’omusango gw’obutujju.

Omulamuzi Flavian Zeija naye alayiziddwa okukukelembera abalamuzi ba kkooti enkulu “Principal Judge” nga ekifo kino kibaddemu omulamuzi Yorokamu Bamwine eyawummula mu December w’omwaka oguwedde.Omukolo gubadde mu maka g’obwa pulezidenti  Entebe 

Omugagga Ham aduukiridde ekibiina kya Jonard Development Foundation

Omugagga Ham aduukiridde ekibiina kya Jonard Development Foundation.

Kig12 703x422

Ham ng’akwasa Jonard akatabo keyawandiika kebayita Success and Failure based on Reason and Reality.

Hamis Kiggundu, amanyiddwa nga Ham, aduukiridde ekibiina ky’abavubuka ekya  Jonard Development Foundation, nga beetegekera olukungaana lwabwe olwa buli mwaka. Olukungaana luno lutuumiddwa  “Bunyoro Youth Convention” era nga lugenda kwetabwamu abavubuka abakyasoma naabo banneekolera gyange.

Asiimwe agamba nti bagenderedde okuyamba abavubuka nga babasomesa obukodyo bwe bayinza okuyitamu okwekulaakulanya nga batandikawo bu bizinensi obw’enjawulo, n’okutumbula ebitone byabwe, mu bitundu bya Bunyoro ebitali bimu.

Ekitabo Ham kyeyawandiika ekimanyiddwa nga Success and Failure based on Reason and Reality

Akulira ekibiina kino, Ying. Jonard Asiimwe, yategeezezza Bukedde, nti obutabo bwe bafunye bubalirirwamu ensimbi obukadde mukaaga, nti era bagenda kubweyambisa okuwa abavubuka naddala ababeera e Kanenankumba,mu munisipaali ya Hoima, Kyanaisoke Kagadi, Ngogoma Hoima, n’ebitundu ebiriraanye ennyanja Muttanzige, (Lake Albert) mu disitulikiti y’e Buliisa, n’ebitundu ebiriraanyewo. Asiimwe, ayongerako nti olukungaana lw’omwaka guno lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti, “Tandika ne ky’olina’ era nga Pulezidenti Yoweri Museveni,yasuubirwa okubeera omugenyi Omukulu.

Abava ku dduwa batomereganye n’abava okuziika

MUSAJJAMUKULU n’abafamire ye baasimatukidde watono okutokomokera mu kabenje oluvannyuma lwa ‘Coaster’ mwe baabadde batambulidde bwe yatomeraganye ne takisi zombi ne zeesolessa mu mugga.

Duwa1 703x422
Emu ku mmotoka ng’eri mu mugga mwe yagudde.

MUSAJJAMUKULU n’abafamire ye baasimatukidde watono okutokomokera mu kabenje oluvannyuma lwa ‘Coaster’ mwe baabadde batambulidde bwe yatomeraganye ne takisi zombi ne zeesolessa mu mugga. Hajji Twaha Ssebambulidde ow’omu Kampala ne famire ye omuli n’abazzukulu yagenze nabo mu kyalo Butega mu Bukomansimbi mu maka ga Hajji Muhamoood Sserunkuuma okulomba dduwa kyokka mu kudda ne bagwa ku kabenje. Ebyembi ne takisi gye baatomeraganye nayo yabadde ejja bantu kuziika e Ssembabule ng’evugibwa Lawrence Nswa ow’e Kitintale ng’alumiriza owa Coaster okumutomera emabega. Mu kusooka waabaddewo akasattiro nga muzeeyi Ssebambulidde n’abafamire okuli Sheikh Muhamood Bbosa ow’e Kitemu banoonya abamu ku baana be baabadde nabo nga tebalaba. Muzeeyi Ssebambulidde ne Hajjati we babuutikiddwa ensisi nga bakira bakaabira abazzukulu baabwe be bataategedde nti baataasiddwa ne batakafiiramu.

 ajji sebambulidde ngasobeddwa
Hajji Ssebambulidde ng’asobeddwa.

Mmotoka zino olwetomedde zaavudde ku kkubo ne zeesolessa mu mugga egikutulira mu Lwera wabula ne ziyambibwa nnakasagi n’ebiddo ebirala ebyazikutte ne zitaggwerayo mu mazzi. Abaabadde mu Coaster omusango baagutadde ku wa takisi nti yasibye mangu ekyaleetedde owaabwe okumutomera emabega ekyawakanyiziddwa ddereeva Nswa ng’alumiriza owa Coaster okudduka ennyo. Abasaabaze abalala omusango baagutadde ku nkola embi eya bayinginiya ba UNRA olw’okukola obubi oluguudo luno ne lufiira mu kaseera akatono ate ne batassaawo kapande konna kalambika ba bidduka. Ekyewuunyisizza abantu ye kasiringi eyasoose okuleetebwa Poliisi ate okufiira mu kifo kyennyini ng’etandika okusikayo Coaster wadde nga bannyiniyo baagezezzaako okugikanika kyokka n’erema ne bagisikawo n’endala. Akulira Poliisi y’ebidduka mu Kalungu, ASP Victor Tumwebaze yakakasizza nti okuggyako abaafunye ebisago ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo ekirungi tewali yakafiiriddemu. Mmotoka zonna zannyuluddwamu ne zitwalibwa ku Poliisi e Lukaya we zikuumirwa.

Bobi Wine asazeewo ku by’okumwegattako

BOBI Wine obubaka bwe yawadde mu kuziika maama w’omubaka Mwiru butadde ab’oludda oluvuganya mu kattu, abamu ne bagamba nti yabalekedde okusalawo ku bintu bibiri; okumwegattako oba okwesunsulira abaabwe beesimbewo.

Bobi 703x422
Omukulembeze wa People Power, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ng’ayogera eri abantu e Nkumba.

Bobi Wine obubaka bwe yawadde mu kuziika maama w’omubaka Mwiru butadde ab’oludda oluvuganya mu kattu, abamu ne bagamba nti yabalekedde okusalawo ku bintu bibiri; okumwegattako oba okwesunsulira abaabwe beesimbewo. Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akulira People Power era nga ye mubaka wa Kyaddondo East mu Paalamenti yagambye nti, tewali budde bwa kudda mu nkiiko kusalawo ani anaavuganya Pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2021 kubanga gwe baagala okuvuganya naye awo yayitawo dda. Yagambye nti ye yasimbudde dda era n’agattako nti, “Abaagala enkyukakyuka mwenna mbasaba tukwatagane mu budde buno, abalala tukwatagane mu kkubo nga tutambula ate abalala tujja kukwatagana mu maaso nga tuwangudde mu kiseera ky’okwambala engule.” Yagambye nti, ye omuliro takyaddiriza era ayaniriza bonna abaagala okukolera awamu naye okuleeta enkyukakyuka. Yannyonnyodde nti, ye akutte bendera y’abaagala enkyukakyuka kyokka tayawula mu bibiina bya bufuzi kubanga mu b’akwatidde bendera mulimu n’aba NRM abaagala okulaba Uganda ng’ekyusa obukulembeze okuva mu Pulezidenti omu okudda ku mulala era ng’akikola mu mirembe. Yasinzidde mu kuziika maama w’omubaka wa Jinja East, Paul Mwiru okwabadde ku kyalo Kasenyi e Nkumba mu ggombolola y’e Katabi ku Ssande. Yategeezezza nti, wadde ng’akkiririza mu kwegatta era nga buli gy’ayitira bakimugamba, kyokka tebalina budde bwa nkiiko era bo abaagala okuggya Pulezidenti Museveni mu ntebe baasimbudde dda. Yayongeddeko nti, bannabyabufuzi bwe banaalemwa okwegatta, akakasa nti abantu baabulijjo n’ab’omu “Ghetto” bo bajja kwegatta kuba tebakkiririza mu njawukana za mawanga n’amaddiini ebyali bibaawula. Ekisinde kya People Power yagambye nti, baasalawo obutakiwandiisa ng’ekibiina ky’ebyobufuzi si lwakuba nti tebalina bibiina byabalera naye lwakuba baakimanya nti, obwo buzannyo Museveni bw’akozesa okunyigiriza ebibiina ebirala. Ebigambo bya Bobi Wine byalanze ng’oluyiira era bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya abamu ne bamuwagira ate abalala ne bamulabula nti, olutalo lwazzeemu si lwangu kuba balubaddemu ebbanga okumusinga era nti alina okutuula nabo bakkaanye ani gwe basimbawo era buli kibiina kinaakola mulimu ki okuyisaawo gwe banaaba bakkaanyizzaako. Harold Kaija, amyuka omuwandiisi wa FDC yagambye nti eby’okuvuganya ku bwapulezidenti kalinga katale buli muntu w’atundira endowooza ye abantu ne bagigula oba okugigaana. “Abaagala ekifo bonna ba ddembe okujja era nze ndabawo omukisa gw’okuddamu okulonda ogwokubiri mu 2021 era ku mulundi ogwo ng’abavuganya gavumenti tujja kuwagira munaffe yenna anaaba asinzizza obululu,” Kaija bwe yategeezezza. Semakula Luttamaguzi (Nakaseke South) yagambye nti, ne bw’ebeera ttiimu ya mupiira nga muli bangi naye mubeerako ne munnammwe gwe mulaba asaana obwa kapiteeni mwenna gwe mulina okugoberera. Mu kiseera kino agamba nti, kimanyiddwa n’ayonka nti Bobi Wine y’asinga obuwagizi mu bantu era bonna gwe balina okuwagira kuba ensi yamwaniriza dda. Embeera y’okuteesa mu bisenge erimu obuzibu nti, waliwo abalowooza nti bwe kubeera kwegatta balina kwegatta ku bo, wadde nga babaddewo ekiseera era nga kati ne mu bantu tebalina buwagizi. Kino kibeerawo kuba abamu bajja n’ebigendererwa eby’enjawulo ebitali bya kuwangula bwapulezidenti bwa ggwanga wabula okwenywereza webali. Polof. Sabiiti Makara, omusomesa w’ebyobufuzi ku yunivasite e Makerere yagambye nti ekizibu kya bannabyabufuzi ye buli muntu okulowooza nti wa maanyi n’atandika okulowooza nti banne balina kumwegattako. Yagambye nti, embeera eyo Dr. Kizza Besigye ne Amama Mbabazi gye baayitamu nga buli omu yeemanyi eryaanyi era bonna baafundikira tebawangudde. Yategeezezza nti, wadde nga mu kiseera kino Kyagulanyi alabika nga ow’amaanyi, alina okukimanya nti n’ebibiina byobufuzi birina emirandira mu bantu gye yeetaaga okutambuza obulungi kakuyege we. Yagambye nti bonna bandisoose kutuula ne basemba omuntu omu gwe balaba abasukkulumyeko mu buwagizi olwo bonna ne bamuwa obuwagizi. Yalabudde abavuganya nti, balina okukimanya nti, olutalo lw’okuwangula Pulezidenti Museveni lwetaagisa okukolera awamu bonna kuba omuntu gwe bavuganya alina obuwagizi bw’ekibiina kya NRM, abakulembeze ba L.C, ebitongole by’okwerinda awamu n’ensimbi okubasinga. Gerald Siranda, akola nga ssaabawandiisi wa DP yagambye nti bannabyabufuzi bonna ku ludda oluvuganya Pulezidenti Museveni tewali atayagala aveeko era baaniriza omuntu yenna ayinza okumusobola okumubawangulira era Kyangulanyi bw’aba alina obusobozi obumuwangula kye baagala. Kyokka yagasseeko nti, ekiseera kino tewali muntu ayinza kukola yekka asobola kuwangula pulezidenti Museveni okuggyako nga wabaddewo okwegatta n’okukolera awamu obuwanguzi buyinza okubaanguyira. Samuel Lubega Mukaaku (DP BLOC) yagambye nti, Kyagulanyi naye alina eddembe okwogera ekirowoozo kye kubanga y’akulembedde ekisinde kyokka bo ng’abatambula naye omulimu gwabwe gwa kumuluhhamya n’okwongera okulengera ewala ssinga wabeerawo okuwaba naye bwe kutabaawo bagenda mu maaso n’okumuwagira. Yategeezezza nti, buli muntu yeetaaga munne mu lutalo olwokununula eggwanga naye kiba kizibu okuggusa olutalo olwo nga mweyawudde kuba bakimanyi nti okwegatta ge maanyi. Fred Nyanzi (wa People Power) yagambye nti, ye ng’owa People Power akiraba nti ekisinde kyasimbula dda nti abantu wansi bakkiriza dda Kyagulanyi abakulembere.Okwegatta nabo bakwagala naye abalonzi baalaga dda nti waliwo obwetaavu obw’enjawulo. Bannabyabufuzi basaana balage nti nabo baagala okuggyako pulezidenti Museveni nga basalawo ku muntu alina amaanyi ag’enjawulo. Abawagizi ba Bobi Wine abamu baalaze essanyu ku bye yayogedde nga bagamba nti, olumu bannabyabufuzi badda mu nkiiko ne boogera Oluzungu lungi ne bawunzika nga basazeewo ebikontana n’ekiri mu bantu.

Iran ezzeemu okukuba enfo za Amerika

IRAN ekoze olulumba olulala ku nfo za Amerika mu kiseera w’ebadde erowoozebwa nti epondoose olw’akazito ensi yonna k’etadde ku Iran oluvannyuma lw’okukuba ennyonyi ya Ukraine n’efiiramu abantu 176.

Bagdad2 703x422
Ekimu ku bitundu ekyakubiddwa amagye ya Iran.

BAGHDAD, Mmande

IRAN ekoze olulumba olulala ku nfo za Amerika mu kiseera w’ebadde erowoozebwa nti epondoose olw’akazito ensi yonna k’etadde ku Iran oluvannyuma lw’okukuba ennyonyi ya Ukraine n’efiiramu abantu 176.

Omukambwe wa Iran, Ayatollah Ali Khomeini aweerezza obubaka obwogera ku lulumba luno n’agamba:

Twagala ensi yonna ekimanye nti Iran terina ky’etya. Tunyweredde ku bye twasalawo okukuba Amerika n’eggwanga lyonna erinekiika mu kkubo lyaffe.

Obulumbaganyi bwakoleddwa mu kiro kya Ssande, ebikompola munaana eby’ekika kya Katyusha enkola ya Russia bwe byakubiddwa mu nkambi y’amagye ga Amerika n’aga Iraq eyitibwa Balad Joint airbase, eyeesudde mayiro 50 mu bukiika kkono
bw’ekibuga Baghdad.

 baserikale ba merika nga beewuunaganya ku ngeri ran gye yakubye enfo yaabwe esangibwa mu kitundu kya inal sad mu raq
Abaserikale ba Amerika nga beewuunaganya ku ngeri Iran gye yakubye enfo yaabwe esangibwa mu kitundu kya Ain-al- Asad mu Iraq.

Enkambi eno erimu abaserikale 1,500 esinga kukozesebwa mu kutendeka abajaasi ba Iraq era ekiriko ne ggalagi obwaguuga ey’ennyonnyi ennwaanyi naddala ekika kya F-16 aircraft.

Ebikompola ebimu byagudde ku kifo abajaasi we baliira emmere, ebirala ne bikuba ku
luguudo ennyonnyi we zibuukira.

Ekitebe kya Amerika eky’Ebyokwerinda ekya Pentagon kitegeezezza nti tewali mujaasi
waabwe yenna yattiddwa mu bulumbaganyi okuggyako abajaasi ba Iraq bana abaafunye ebisago.

Buno bwe bulumbaganyi obw’omulundi ogwokubiri nga Iran esomooza Amerika.

Obulumbaganyi obwasoose bwakoleddwa mu kiro ekyakeesa Olwokusatu oluwedde ku nkambi za Amerika bbiri- ey’e Ain al-Asad mu ssaza ly’e Anbar n’etterekero ly’ebyokulwanyisa mu kitundu ky’e Erbil mu Iraq.

Amagye ga Iraq gaategeeza nti Iran yanyugunya mizayiro 22 nga tetalizza naalumanya na saalumanya kyokka Trump yasekerera aba Iran nti bumizayiro
bwabwe tebulina kye bwakola era obumu n’okwabika bwalemwa okwabika ate obwayabika tebwasimula wadde akayinja mu ttaka mu nkambi za Amerika n’olwekyo baamala biseera byabwe. mujaasi wa merika mu nfo yaabwe eyakubiddwa 

Omujaasi wa Amerika mu nfo yaabwe eyakubiddwa.

Obulumbaganyi obwo, Iran yabukola okwesasuza okutta omuduumizi w’amagye w’ekibinja kya bamuntusolo ekya Quds Forces Gen. Qassem Soleimani eyakubwa mizayiro za Amerika zimutasubwa nga January 3, bwe yali mu luseregende lwa mmotoka ng’ava ku kisaawe ky’ennyonyi mu kibuga Baghdad gye yali yaakatonnya ng’ava mu Syria.

Gen. Soleimani yattibwa ne munnamagye wa Iraq, Abu Mahdi al-Muhandis ng’ono muduumizi w’ekibinja ekyomutawaana ekya Hashd al-Shaabi ekiwagirwa Iran
okulwanyisa amagye ga Amerika agali mu Iraq.

Mu lulumba lw’oku Ssande, Iran yeeyambisizza ebikompola bya Katyusha so nga mu lulumba olwasooka Iran yeeyambisa mizayiro za bika bibiri; Fateh-110 ne Qiam1 nga zino ze zimu ku mizayiro Iran z’esinga okwesiga era nga zaakubwa okuva munda
mu Iran.

Wabula mu lulumba lw’oku Ssande, ebikompola byakubiddwa okuva mu kitundu ky’e Fadhlan mu disitulikiti y’e Dujail mu pulovinsi y’e Salahuddin esangibwa mu bukiika kkono bwa Iraq.

Omwogezi w’ekitebe ekya Pentagon, Rebecca Rebarich yalabudde Iran okukomya effujjo lyabwe n’agamba nti Amerika etandise okunoonyereza okuzuula ebyabadde n’oluvannyuma ensi egenda kumanya ekibonerezo Iran gy’egena okufuna.

Obulumbaganayi bw’akoleddwa nga tebusuubirwa kubanga Iran eri kasattiro olw’amawanga agenjawulo agagiri obubi oluvannyuma lwa mizayiro zaayo okukuba ennyonyi ya Ukraine n’efiiramu abantu 176 ng’abasinga nzaalwa z’e Canada.

Laba ekyabadde ku ssomero lya Hana nga Katikkiro Mayiga akyalidde abaana mu kisaakaate

Laba ekyabadde ku ssomero lya Hana nga Katikkiro Mayiga akyalidde abaana mu kisaakaate

Kis1 703x422
Katikkiro ng’ali n’abasakaate

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akyalidde ku baana abali mu kisaakaate kya Maama Nnabagereka ekigenda mu maaso ku Hana International School e Nsangi.

Agambye nti abaana bano abategeke obulungi ly’essuubi lya Buganda ne Uganda okutwalira awamu.

Villa erumbye Busoga United e Jinja

SC Villa eri mu kyakuna n’obubonero 27 so nga Busoga United yaamusanvu n’obubonero 21.

Scvilla333 703x422
Abazannyi ba Villa mu kutendekebwa.

SC Villa-Busoga United 10:00

Proline-Vipers 10:30

Onduparaka-Maroons 10:30

Bright Stars-KCCA 10:30

BATABANI ba Edward Kaziba aba SC Villa bakomawo leero mu nsiike nga baagala kwemalako ssungu lya URA eyabakuba (2-0), mu mupiira ogwa gulawo oluzannya olwokubiri mu Startimes Uganda Premier League wiiki ewedde.

Bakuttunka ne Busoga United eyaakamegga Express (2-0). Kaziba aweze nga ttiimu ye bwetagenda kusuula mupiira gwakubiri gwamudirig’ana kuba beetaaga obubonero busatu okuzza emitima gy’abawagizi.

“Tugenda kuzannya mupiira gwakulumba bulumbi kuba twetaaga obubonero busatu okuddamu okuvuganya ku kikopo kya sizoni eno.” Kaziba bwe yagambye.

 mutendesi wa illa aziba
Omutendesi wa Villa Kaziba.

Abbey Kikomeko atendeka Busoga United asuubizza okusuuza SC Villa obubonero wadde ng’omuteebi we Joel Madondo yabaabulidde ne yeegatta ku Wydad Casablanca tekigenda kutulemesa kuba abakkiririzaamu. Mu luzannya olwasooka e Jinja, baakola maliri  (1-1).

SC Villa eri mu kyakuna n’obubonero 27 so nga Busoga United yaamusanvu n’obubonero 21.

Abaaferebwa eza Crypto Currence beekalakaasirizza ku kkooti

Abaaferebwa eza Crypto Currence beekalakaasirizza ku kkooti

Set12 703x422

ABANTU abaaferebwa mu nkola ya Crypto currency beekalakaasizza ku kkooti e Mengo bwe balabye Ku Andre Kaggwa Kulumba agambibwa okubafera ssente zaabwe. Bano bazze n’ebipande okuwandiikiddwa ebigambo ebivumirira Kulumba n’okusaba pulezidenti Museveni ayingire mu nsonga zaabwe alagire Kulumba okubasasula.

Bategeezezza nti abamu ssente baali bazeewoze mu Banka kati looni zibatudde mu bifuba ate abalala baggyayo ze baali baatereka ne bazimuwa nga bamanyi nti zigenda kukola amagoba kyokka Kulumba n’abafera. Kkooti esoose kutuula nga omuwaabi wa gavumenti taliiwo ate nga ne Kulumba baasi ye Luzira tennamuleeta okuva e Luzira omulamuzi Joel Wegoye omusango nagwongezaayo paka Ku Lwokunna lwa wiiki eno.

Abantu abaferebwa babadde bakafuluma kkooti newabaawo ababagulizaako nti Kulumba bamuleese ali mu kkooti awo embeera weyonoonekedde nebekalakaasa era babadde bagala omulamuzi addemu ayite fayiro kyokka nagaana nga agamba nti fayiro yagyongezaayo dda tasobola kugiddamu. Kulumba ngayita mu kkampuni ye eya Crptocurrency agambibwa okufera abantu ssente ezisoba mu buwumbi 10 naye bakamuggulako fayiro emu yokkq yakufera paasita Ssemakula obukadde obutemera mu 200.


Eyagabye ekibanja kya muganda we omugenzi gamumyuse

Omukadde eyagabanyizza ekibanja kya muganda we n’agoba namwandu n’abaana gamumyuse ne yeetonda

Lubeganempaanyizebaamukuuzisizzamukibanjakyannamwandukyeyabaddeyegabanyizzawebuse 703x422
John Lubega eyabadde agabanyizza ekibanja kya muganda we eyafudde ng’akudde empaanyi ze yabadde asimbye

Omukadde amaaso gamumyuuse ab’obuyinza bwe babadde bamukunya olw’okwegabanya ekibanja n’aleka namwandu ne bamulekwa mu maziga.

Bino bibadde ku kyalo Kisawo mu Kayunga Town Council mu disitulikiti y’e Kayunga.

John Lubega, y’atuuyanye nga bwe zikala ofiisa alondoola ebintu by’abafu e Kayunga, Collins Kafeero bw’abadde amusoya kajojijjogi w’ebibuuzo lwaki yeegabanyizza ekibanja kya muganda we, Godfrey Luwunge eyafiiridde mu bikujjuko by’okuyingira omwaka omupya.

 vunaanyizibwa ku bintu byabafu e ayunga ollins afeero ngakunya ubega
Avunaanyizibwa ku bintu by’abafu e Kayunga, Collins Kafeero ng’akunya Lubega

Kafeero atugambye nti, Lubega akkirizza nga bwe yakola ensobi era yeetondedde namwandu Justine Nabukeera n’empaanyi ze yabadde asimbye n’azisimbulamu.

Lubega olwamaze okuziika muganda we yatandikiddewo okunoonya abagula ekibanja era yagenze n’akisalaasalamu n’empaanyi ne yeegabirako ekitundu n’abaana be abamu ku baana b’omugenzi baaviiriddemu awo. 

Oluvannyuma yalagidde Nabukeera okufulumya engugu n’abaana abataafunye abatwale kubanga tebaafaanana mugenzi era balabika si babe.

 amwandu wa uwunge ustine abukeera
Namwandu wa Luwunge, Justine Nabukeera

Namwandu Nabukeera yadduse mu ofiisi ya Kafeero eyagenze ku kyalo ensonga ne bazituulamu era okukkakkana nga Lubega yeetondedde namwandu n’empaanyi ze yabadde asimbye ng’agabanya ekibanja n’azikuulayo.

Kafeero alabudde bonna abeewa obuyinza ne badobonkanya ebintu by’abafu n’okubigaba nga tebafunye lukusa okuva ew’avunaanyizibwa ku bintu by’abafu kubanga bw’anaabakwatako kaakubajjuutuka.

Oluvannyuma lw’okukuula empaanyi yalinnye pikipiki ye ne banne ne yeeyongerayo.

Akabenje kasse omu ku lw’e Kayunga

Takisi ebadde ewenyuka obuweewo eyabise omupiira n’etta omu

Takisieyaguddenemipiiranegiddawagguluekifsaulwokulira2webuse 703x422
Takisi eyeegalise n’abaserikale b’ebidduka (ku kkono) nga bapima awaabadde akabenje

akisi yeerindiggudde ekigwo n’etta omuntu n’okulumya abalala.

Akabenje kano kaagudde Sinda ku luguudo oluva e Kayunga okudda e Mukono ku Lwokubiri.

akisi nnamba UBB 520R yagudde mu kkoona ly’e Sinda kkiromita emu okuva mu kitoogo ky’omugga Ssezibwa.

Eyafudde ye Bernard Aluma nga yakutuse atwalibwa mu ddwaaliro ly’e Naggalama.

Abatuuze abaalabye ng’akabenje kagwaawo baategeezezza nti, takisi yayabise omupiira ate ng’eri ku misinde minene ne yeefuula.

Abamu ku baafunye ebisago baamenyese amagulu, abalala emikono era baatwaliddwa mu malwaliro okuli Kayunga ne Naggalama.

Abaserikale b’ebidduka okuva ku poliisi e Naggalama nga bakulembeddwaamu CPL Kirunda bazze ne kasiringi ne basika takisi ne bagitwala.

Xavi asamye butendesi bwa Barcelona

Valverde ali ku ndeboolebo ya kukwatibwa ku nkoona oluvannyuma lw’omutindo gwa ttiimu omubi.

Xavii 703x422
Xavi eyaliko omuwuwuttanyi wa Barcelona.

EYALI omuwuwuttanyi wa Barcelona ne Spain, Xavi Hernandez akkirizza nga bwe yabaddeko mu kafubo n’abakungu ba ttiimu eyo gye buvuddeko.

Oluvuuvuumo luyiting’ana nti eyali omuwuwuttanyi ono y’agenda okuddira omutendesi Ernesto Valverde mu bigere essaawa yonna.

Omutindo gwa Barcelona mu kaseera kano mubi nga ne gye buvuddeko, Atletico yabakubye ggoolo 3-2 n’ebaggya mu kikopo kya Spanish Super Cup.

 alverde asuubirwa okugobwa ku butendesi bwa arcelona
Valverde asuubirwa okugobwa ku butendesi bwa Barcelona.

Xavi, atendeka Al Sadd eya Qatar, yakkirizza okusisinkana Eric Abidal, akulira ebyekikugu mu Barcelona n’akulira emirimu mu ttiimu eyo Oscar Grau  kyokka yagaanyi okubuulira bannamawulire byonna bye baayogeddeko.

Yakkirizza nti kirooto kye okutendeka ttiimu gye yazannyira emyaka 17 n’agiwangulira ebikopo 25.

Xavi ye muzannyi akyasinze okuzannyira Barcelona emipiira emingi era mu 2008 ne 2012, yayamba Spain okuwangula ekikopo kya Bulaaya sso nga mu 2010 e South Afrika, yagiyamba okuwangula World Cup.

Ku Ssande, Barcelona yaakwambalagana ne Granada, emu ku ttiimu ezaagikuba mu gw’oluzannya olwasooka.

Omusajja bwe yatandika okweraguza ne mmuviira

NZE Lausa Kengasi 29, mbeera Sanga Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso. Twasisinkana ne baze mu 2014 e Ziroobwe. Nnali nkola gwa kulima nga mpakasa ku kyalo ate nga baze akola gwa kwokya manda ng’agaleeta e Kampala okugatunda.

Yahweh 703x422

Engeri gye nnali mupakasi ku kyalo, n’ewaabwe nabalimiranga ne bampa ssente okumala akaseera awo we yatandikira okunkwana n’antegeeza nga bwe yanjagalirawo nga yaakandaba Twatwala akabanga naye oluvannyuma nnamala ne nzikiriza ne tutandika okwagalana.

Omukwano gwaffe gwatandikira mu ggiya era we twava baze n’ansaba tutandike okubeera fenna.

Olw’okuba nti ye yalina ku ssente okunsinga, nnakkiriza tubeere ffembi nga nnina essuubi nti osanga embeera yange eneekyukamu engeri gye nnali nfunye omusajja alina ku ssente ate ng’anjagala.

Emyaka ena gye nnamala naye, omukwano gwaffe gwali gutambula bulungi ne tuzaala n’omwana omuwala.

Wabula nga wayise ekiseera, baze yatandika okukyuka n’atandika okuboggoka n’okunkuba olutatadde wabula ne hhumiiikiriza wadde ng’embeera yatuuka ekiseera n’entabukako.

Baze yatuuka ekiseera n’atandika okugenda ku basawo b’ekinnansi okweraguza. Ebyavaamu byali bya kweyita musawo Muganda era ng’abantu bajja awaka nti bazze kubajjanjaba ekintu kye nnali sikkiriziganya nakyo.

Nze ndi mukyala akkiririza mu Katonda era seeraguzangako ate ng’alinga ankaka nange mwegatteko. Olw’embeera eyo nasalawo okumuviira era bwetutyo ne twawukana.

Wabula obuzibu bwe nsanze nti bwe nayawukana naye, n’agaana okuddamu okutuwa obuyambi n’omwana wange era ndi mu mbeera mbi kuba sirina mulimu ate ng’omwana atuuse okusoma.

Nsaba abasomi ba Bukedde okunnyamba nfune kye nkola nsobole okulabirira omwana wange.

Naye nsaba omulimu ogwo gubeere nga gunzikiriza okugenda ne nsaba ku Lwomukaaga kuba ye Sabiiti yange.

Yeewuunya engeri omuwala bwe yamezze abaawule babiri

MZEE Zedde yeewuunya sitani bwe yakutte abaawule baffe babiri balamba n’abamegguza eri!

Bawule 703x422
Rev. Kalende (ku kkono) Perusi gw’alumiriza okumuzaalamu omwana (gw’aleze). Mu katono ye Rev. Matovu

Byasoose kuwulikika nga bya lusaago, omuwala Perusi Nabirye bwe yavuddeyo n’alumiriza omwawule Kalende nti yamufunyisa olubuto n’amuzaalamu n’omwana.

Wabula Kalende yavuddeyo n’alayira nti amazima okufiira mu kitooke kya gonja, saagalangako kawala ako kanneesibako bwesibi. Omusajja omutuufu eyakafunyisa olubuto ye Rev. Matovu era gwe kaba katwalira omwana.

Ebyaddiridde byabadde biwanvu era gye byakkidde, ng’ensonga zituuse ewa minisita avunaanyizibwa ku by’abaana, Muky. Nakiwala Kiyingi ateerya ntama ku nsonga z’abasajja abalagajjalira abaana. Omusumba Kalende yatuuse ku ssaawa envannyuma ng’akyegaana nti, talina ky’amanyi ku bya muwala ono.

Kyokka omusumba Kalende yalabye minisita ayisizza ekiragiro ekisembayo okumuggyako omusaayi, kwe kukakkana n’asaba eby’omusaayi biyimirizibwe era amangu ago n’akkiriza nti omwana wuwe n’amutuumirawo n’erinnya.

Omanyi ekyasinze okussa mukulu Kalende mu buzibu, kwe kuba nti agenda kuwasa era enteekateeka z’embaga ye zigenda mu maaso. Omulabirizi Wilberforce Kityo Luwalira yali akkirizza okugatta abagole wabula kati ekitamanyiddwa, oba kitaffe mu Katonda anaasobola okugenda mu maaso n’ensonga eno erabikidde ennyo mu mawulire ng’ettattana ekifaananyi ky’Ekkanisa.

Rev. Kalende afuuse ssemusota guli mu ntamu. Bw’omuyimiriza oba ovudde ku nnono esonyiwa omwonoonyi naddala nga yeenenyezza, ate bw’otomuyimiriza ossa ekifaananyi ky’Ekkanisa mu matigga.

Ekyandibadde kikolebwa, ye Rev. Kalende okwetonda olw’ekibi kye yakola olwo bakama be bamuyise mu mitendera egiyisibwamu omuntu asobezza nga muweereza era oluvannyuma lw’okukolebwamu omulimu, aweebwe obuvunaanyizinbwa obulala.

Kyandisaanye Kalende aweebwe emirimu emirala mu Kkanisa egitali gya kulinnya ku kituuti kubuulira njiri kubanga kino kiyinza okuleetawo okusomooza olw’engeri abantu gye bamulabamu oluvannyuma lw’ebyo ebyamuguddeko.

Bakama ba Kalende baakoze kituufu okusooka okuyimiriza ku bantu bano bamale okwetegereza ensonga kubanga kyandibadde kya ngeri ku Ssande eno omukulu okulinnya ekituuti n’atandika okubuulira enjiri ng’awatali kyabaddewo.

Ekkanisa n’enzikiriza endala zonna zirina okusoomoozebwa kunene mu kiseera kino ng’abaweereza ba Katonda basazeewo okwevulunga mu bitoomi, bya sitaani olw’ebikolwa byabwe ebikontana n’ekyo kye bakkiririzaamu.

Abaweereza bangi balinnya ku bituuti ne babuulira ekigambo kyokka endiga ng’eno zibayisaamu emimwa olw’ebyama bye zibamanyiiko naye ebitavaayo kumanyika mu lujjudde naye abatono ababimanyi ne bafiira muli ekizizi.

Kuba kusomooza kunene ng’omuntu wa Katonda ali waggulu ku katuuti mu ndiga z’asumba mulimu eziri embuto, eziyonsa nga bano bonna baana be kyokka olw’okuba tewali akimanyi, ye n’asirika n’ekyama kye obulamu ne bugenda mu maaso.

Lukwago alaze minisita wa Kampala ebintu 10 kw’aba assa essira

LOODI Meeya wa Kampala Erias Lukwago awandiikidde minisita omuggya Betty Amongi n’amusiima okulondebwa mu kifo ekyo kyokka n’amutegeeza nti, ajjidde mu kiseera ng’ekibuga kirina okusomoozebwa kunene era n’amulaga ebintu 10 by’ayagala akoleko mu bwangu okuli;

Skjhtlu3 703x422
Loodi Meeya Erias Lukwago

1 Amutegeezezza nti akole ku mbalirira ya KCCA eyayisibwa nga tekubaganyiziddwaako birowoozo n’okuyingizibwamu ensonga z’abakulembeze abafuga ekibuga.

Mu bbaluwa ya Beti Kamya abadde owa Kampala, yakkiriza nti embalirira tegenda kwanjulibwa mu Palamenti nga tesoose kukomezebwaawo bagiyise n’okuyingizaamu ebyabwe era n’asaba Betty Amongi akikole.

2 Amulaze nti kasookedde eyali dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula ava ku mulimu nga December 15 2018 ne balonda Andrew Mubiri Kitaka (tannakakasibwa) akole mangu ku nsonga eyo basobole okukolera mu mateeka nga ssentebe w’akakiiko akafuga abakozi Ralph Ochan bwe yawabula.

 Erza Lukwago agambye nti ayagala enteekateeka empya ey’okukulaakulanya ebimu ku bitundu bya Kampala kutandike omwaka guno. Yamugambye nti bagenda kutandikira mu kitundu kya Kololo, Makerere, Nakasero ne Mulago okukyusa ekibuga nga tewali azimba nga tagoberedde pulaani.

4 Amwanjulidde nti KCCA yafunye ensimbi pawundi za Bungereza 800,000 okukooa ku mataala g’oku nguudo era ayagala pulojekiti eno ewagirwe bulungi n’okukolebwa ekibuga kyake . Mu ntegeka eno ayagala ekibuga kikozese amataala g’oku nguudo ebitundu 75 ku 100.

5 Pulaani y’okukola emyala mu Kampala essibwe mu nkola wadde egenda kumalawo ensimbi obuwumbi obusoba mu 774. Mu pulaani eno emyala gyonna egitawaanya Kampala singa bagiyisa gigenda kukolebwa. Egimu ku myala egigenda okusookerwako kuliko; Nalukolongo, Nakamiro, Lubigi, Nakivubo Channel, Kaliddubi Mayanja, Nalubago, Kinawattaka, Kansanga / Ggaba era yasabye Gavumenti eyise ssente pulaani essibwe mu nkola.

6 KCCA eteekwa okufunira Bannakampala ebifo we bakolera okuli okubazimbira ppaaka za ttakisi ne loole, ebifo we basimba mmotoka, obutale ne kaabuyonjo ez’olukale.

7 Ebbaluwa eraze nti Kampala avaamu kasasiro mungi era buvunaanyizibwa bwabwe okuyoola kasasiro ate n’okumuggyamu ebintu eby’enjawulo ng’amasannyalaze nga bakulaakulanya ekifo kyabwe kye baagula e Ddundu.
8 Lukwago yategeezezza nti enguudo nnyingi ze bazimbye mu Kampala naye teziriiko bifo batambuza bigere we batambulira ate n’endala tezinnaba kukolebwa. Yategeezezza minisita nti kino asaana akyanguyire kubanga embeera mu Kampala mbi.

9 Yamutegeezezza nti balina amateeka mangi ge bakoze ne bagasindika mu ofiisi ya Ssaabalungamya wa Gavumenti ku by’amateeka kyokka galemeddeyo. Agamu ku mateeka mulimu erifuga obutale, kazambi ne kaabuyonjo mu Kampala, erifuga abaana b’oku nguudo, erifuga enkozesa ya kkamera mu Kampala, okusimba mmotoka ku nguudo, ekitongole ekikwasisa amateeka mu Kampala, okutuuma amannya enguudo, erifuga boodabooda ne ttakisi, abatembeeyi n’abakolera ku nduudo.

10 Minisita awagire pulaani y’okukyusa ebyentambula mu Kampala okuli; enkozesa y’eggaali y’omukka, ne bbaasi.

Ebbaluwa yagyanjulidde olukiiko lwa bakkansala olwatudde eggulo ku City Hall ne bagiwagira. Kyokka olukiiko terwaluddewo olw’abakozi ba Gavumenti okugaana okulwetabamu ate ne kalaani w’olukiiko n’atalabikako.

Mu lukiiko luno yagambye nti ayagala n’ensonga ya bannannyini bizimbe mu Kampala ng’omuntu alina ekizimbe ekitaweza ssente bukadde butaano omwaka tasasula. Abalina ebizimbe ebiweza obukadde butaano nga tebisussa bukadde 20 basasule ebitundu bisatu ku 100.

Ate abagagga abalina akeedi ezivaamu ensimbi ezisoba mu bukadde 20 omwaka basasule ssente ebitundu bitaano ku buli 100.

Nnabe agudde mu bwakabaka bw’e Bungereza

NNABE agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza, Omulangira Harry bw’akubye Kkwiini Elizabeth II obwami n’ategeeza nga ye ne mukyalawe, Omumerika Meghan Markle bwe bagenda okweyambula obuvunaanyizibwa bwe balina okutuukiriza nga ab’olulyo Olulangira abali ku mwanjo, basobole okwekolera ebyabwe beeyimirizeewo awatali kulindirira ssente ziva wa jjajjaabwe, Kkwiini.

Tambu 703x422
Harry ne Meghan

Yayongeddeko nti ayagala batandike okubeeranga mu Canada nga e Bungereza bajjayo bwe kiba kyetaagisizza.

Ekimu ku bisinze okwewuunyisa Abangereza kwe kuba ng’obubaka bw’okusenguka baabutadde ku mikutu gy’amawulire nga tebamaze kwebuuza wadde okutegeeza ku jjajjaabwe, Kkwiini ate nga ye kitaabwe, Charles ne mukulu waabwe William baabategeezezzaako ng’ebula eddakiika 10 zokka okubifulumya era wadde baabawadde amagezi obutakikola tebaabawulirizza.

Ekyebuuzibwa kiri nti omulangira omulamba lwaki yandyagadde okuleka ejjaliiri n’ebitiibwa by’Obulangira okuli n’omusimbi agende atobe n’ensi ng’anoonya ssente okweyimirizaawo?

Omulangira Harry w’asaliddewo okweyambula obuvunaanyizibwa n’ebimu ku bitiibwa by’Obulangira, agende atobe n’ensi, ng’ayita mu kiseera kizibu n’abaamawulire b’azze yeemulugunyaako nti bamukonjera n’okumuwandiikako obubi nga kwe batadde okumulondoola buli wamu era mu ngeri etali ya bulijjo mu October w’omwaka oguwedde yatandika okuloopa emikutu gy’amawulire egy’enjawulo ng’abalanga okumulebula.

Okumanya ng’embeera esusse ku Mulangira, gye buvuddeko yatuuka n’okutegeeza nga bw’atayinza kukkiriza ffamire ye kufuna buzibu nga obwo nnyina, Omumbejja Diana bwe yafuna, obw’okumulimirira n’okumulondoola ekyavaako okufiira mu kabenje mu kibuga Paris ekya Bufalansa mu 1997 bwe yali adduka papalazi eyali ayagala okumukuba ebifaananyi.

“Twagala nnyo okusigala nga tuweereza Kkwiini wa Bungereza, kyokka kino twagala tukikole nga twetongodde,” Harry bwe yategeezezza mu bubaka bwe yaweerezza.

Abangereza ekisinze okubaleeta emitaafu kwe kuba nti Harry, w’akubidde Kkwiini obwami nga waliwo n’Omulangira omulala, Andrew, muganda wa Charles gwe baakambula ebitiibwa olw’okweyisa mu nneeyisa eweebuula ekitiibwa ky’Olulyo Olulangira.

Bagamba nti Harry naye bw’aneeyambula obuvunaanyizibwa ng’obufuzi bwa Kkwiini bwolekedde akatyabaga sinakindi n’okusasika.

Ekirala ekibaluma kwe kuba nti wadde Harry ayagala Kkwiini alekere awo okumuwa ssente ezibadde zimusasulwa olw’obuvunaanyizibwa obwo kyokka ayagala asigaze ezo eziva mu nsawo ya kitaawe Charles era asigale ng’aweebwa obukuumi nga Omulangira nga buno busasulirwa muwi wa musolo mu Bungereza.

Kino Abangereza bakitapuse nti ayagala yeeyambule obuvunaanyizibwa kyokka asigale ng’afuna ssente n’ebitiibwa kye bawakanya nga bagamba nti obulangira obeera olina emirimu gy’olina okutuukiriza nga tewali ngeri gy’osobola kuba mulangira wa kitundu ng’ekitundu ekirala kyeyisa nga muntu waabulijjo.

Harry atutte ekiseera nga si musanyufu era ne ku kabaga ka Ssekukkulu akategekebwa Kkwiini buli mwaka mu lubiri lwe Sandringham teyalabikayo. Olunaku yalumala ne nnyina wa mukyala we ayitibwa Doria Ragland.

Okuva lwe yasalawo okuwasa Omumerika alimu omusaayi gw’Ekiddugavu Meghan Markle, Harry abadde ayita mu kaseera kazibu olw’Abangereza abamu ababadde bamuboola era bwe baazaala omwana waabwe asooka, Archie, waliwo katuuni eyakubibwa ng’eteekeddwako akakookolo ku mutwe akalaga wansi omulangira, kyokka ng’omutwe gwa zzike, ekyayoleka obusosoze.

Waliwo n’amawulire agazze gafulumira ku mikutu gya Bungereza nga Daily Mail nga galaga nti abalangira Harry ne William babadde baafuna obutakkaanya nga kigambibwa nti bwava ku kuba nti William yali alabudde Harry nti atwale okubuulirirwa kwa nnyaabwe, aleme kupapirira kuwasa Meghan, ekyanyiiza Harry.

Kyokka abalala bagamba nti mukyala we Meghan y’amuwaga kubanga ye sereebu era muzannyi wa firimu ayagala obutaala bw’atafuna mu lulyo olulangira lwa Bungereza.

Abalala bagamba nti batunuulidde musimbi gwe boolekedde okufuna nga bavudde mu lulyo olulangira ne beetandikirawo ekyabwe kye baatuumye Sussex Royals abamu kye batidde nti kiringa ekitandikawo olulyo olulangira olulala.

Wadde baasaba mu December okuwandiisa ekintu kyabwe kino kye baatuuma Sussex Royals, tekinnakkirizibwa.

Grace Nakimera avudde ku by’okuyimba ennyimba z’ensi

Nakimera afulumiza oluyimba olulala olw’eddini n’alangirira bwavudde ku z’ensi

Nakimera 703x422
Grace Nakimera

“Eby’okuyimba ennyimba z’ensi mbivuddeko kati ragga ngenda kubakubira wa Yesu.”

Bwatyo omuyimbi Grace Nakimera bwe yatandise ng’ayogera ku nteekateeka ze ez’omwaka omupya 2020 mu nsike y’okuyimba.

Ono omwaka oguwedde yakomawo mu nsiike oluvannyuma lw’ebbanga ng’avudde ku myuziki w’okuvuganya akola bizinesi ze era we gugwereddeko nga afulumiza ennyimba okuli; Aviriddeyo ne Yansasira.

Okufananako ne Desire Luzinda kati ali mu Amerika eyalangirira bw’alokose era nti avudde ku myuziki w’ensi,

 akimera ku kkono naba famire  gyagenda okuzimbira amaka
Nakimera ku kkono n’aba famire gy’agenda okuzimbira amaka.

Nakimera naye agamba mukyala mulokole yasalawo okuwereeza Katonda ng’ayita mu kuyimba era ennyimba kazi z’ayimba za ddini.

“2020 ngusuubiramu bingi era mulindirire okulaba ebyamagero. Ng’omukyala omulokole sigenda kuva ku mulamwa ngenda kubakuba miziki gya Yesu gyoka. Waliwo abantu ababadde bang’amba nti basuubwa sitayiro yange eri enkadde bagala mbakolereyo ennyimba mu nsitayiro eyo naye ekirungi ne mu nnyimba z’eddini kisoboka okuyimba mu sitayiro yonna era balindirire bagenda kulaba.

W’osomera bino, Nakimera yafulumiza dda amaze dda oluyimba lwe oluguddewo omwaka guno ‘King of Kings’ era agamba alinayo n’enddala z’asuubira okuta mu mpola.

Ng’aggyeko okuyimba, agamba amaanyi agenda kugateeka mu kuyamba bantu abatalina mwasirizi kubanga kino yakyeyaama okukikola buli mwaka.

Mu kiseera kino Nakimera aliko famire emu mu bitundu by’e Namugongo- Bukerere gy’ali mu kusakira obuyambi okulaba nga abazimbira amaka agegasa oluvannyuma lw’akayumba ak’ettaka mwe babadde basuula okusaanawo.

Aba People Power bawaze

ABAAKAKIIKO k’ebyokulonda olwasisinkanye abakulembeze b’ekisinde kya People Power ekikulirwa Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) ne bawaga.

Power 703x422
Bobi wine(wakati), Ssennyonyi (ku ddyo) n’aba People Power oluvannyuma lw’okwogerako ne bannamawulire.

“Tugenda kuddamu okufulumya enteekateeka mu bifo gye twali tutegese okwebuuza ku Bannayuganda.

Mu kaweefube waffe ow’okuvuganya ku ky’obukulembeze bw’eggwanga,” Bobi wine bwe yategeezezza. Bino yabyogeredde mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza e Kamwokya oluvannyuma lw’okusisinkana abakulira ebyokulonda ku Lwokuna.

Omulamuzi Simon Byabakama, akulira akakiiko k’ebyokulonda yategeezezza bannamawulire nti ekigendererwa ekikulu mu nsisinkano eno kyabadde kya kussaawo mpuliziganya ennuhhamu wakati wa People Power ne poliisi.

Bobi wine yagambye nti oluvannyuma lw’okwemulugunya ku ngeri poliisi gy’ebadde ebayisaamu, abakulu basuubizza okukyusa.

Omwogezi wa People Power, Joel Ssenyonyi yagambye nti, bagenda kutandikira Gayaza awaali wategekeddwa olukiiko olwayiibwa poliisi, n’oluvannyuma batalaage ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Yannyonnyodde nti beekubidde enduulu eri akakiiko k’ebyokulonda ku bintu poliisi by’ebasaba ebitasoboka, n’ekigendererwa eky’okubalemesa.

Bano era balumiriza abakozi ba Gavumenti omuli ba RDC, DPC, GISO, PISO ne bannamagye okulumba bannannyini bifo bye baba bapangisizza ne babalagira okusazaamu enkiiko n’okubatiisatiisa.

Ate ye munnamateeka wa People Power, Asuman Basalirwa yagambye nti ssinga poliisi emenya endagaano eyatuukiddwaako, baakuvaayo ensonga bazikoleko mu ngeri yonna esoboka.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yagambye nti weebali okulaba nga buli kimu kitambula bulungi.

Bobi Wine yawerekeddwaako bannamateeka be okuli; Asuman Basaalirwa, Deus Lubongoya, Benjamin Katana, Flavia Kalule akulira abakyala mu People Power n’omwogezi Joel Ssenyonyi.

Poliisi yakiikiriddwa amyuka omuduumizi waayo mu ggwanga, Gen. Sabiiti Muzeyi, Asuman Mugyenyi akulira ebikwekweto mu poliisi, Patrick Onyango n’abalala. Waabaddewo okunyweza ebyokwerinda era poliisi yeetoolodde ekifo kyonna.

Okwanjulwa kwa Rev Kalende eyayimiriziddwa egy’obuweereza kwa leero e Zigoti – Mityana

LEERO Rev. Ronald Kalende lw’ayanjulwa mwana munne Elusah Ssanyu Namuyige mu maka ga Rev. Daniel Sserumbawo e Kyengeza-Zigoti mu Disitulikiti y’e Mityana.

Waapi 703x422
Rev. Kalende ne Namuyige agenda okumwanjula lero mu maka ga bakadde e Zigoti Mityana

Namuyige musawo ku ddwaaliro e Mengo ate nga Kalende abadde musumba w’e Mwererwe wabula yayimiriziddwa ku buweereza oluvannyuma lw’okukkiriza nti yazaala mu Perusi Nabirye .

Omu ku mikwano gya Namuyige agenda okwanjula, yategeezezza nti omugole ali mu mbeera nnungi era buli kimu kigenda bulungi era alinda ssaawa yokka baanirize abagenyi baabwe be balindirtidde n’essanyu.

Rev. Sserumbawo yategeezezza nti enteekateekan zonna ziwedde era zitambudde bulungi nga balinda ssaawa yokka okulaba ku bako.

Yagambye nti ebyokwerinda binywezeddwa nnyo ng’abaserikale bateereddwaawo okukakasa nti tewali akola kavuyo ku mukolo.

 bakyala nga bakola ekituuti mu maaso genju awali okwanjula
Abakyala nga bakola ekituuti mu maaso g’enju awali okwanjula.

“Emikolo gigenda mu maaso n’amaanyi era tewali kyayimiriddemu era tulinze bako kujja kubazaala omwana waffe asobole okutwalibwa mu kitiibwa.

Ebyokwerinda tubitaddemu amaanyi okulaba nga tewali ffujjo oba kutyobola kwonna kukolebwa mu kifo kino,” Rev. Sserumbawo bwe yayongeddeko.

Okusinziira ku nsonda okuva mu bako, bagenda kusimbula ku kitebe ky’obussaabadinkoni bw’e Kazo boolekere e Zigoti mu Mityana awagenda okubeera omukolo gy’okwanjula.

Basuubirwa okutuuka ku ssaawa 7.00 ez’emisana olwo nga zikunukkiriza okuwera 8:00 Rev Kalende ayingizibwe munda asobole okuzaalibwa. Era mu ssaawa ezo mwebagenda okugabulira abagenyi.

 bakyala nga bawaata ewa ev serumbawo mu katono
Abakyala nga bawaata ewa Rev. Sserumbawo (mu katono).

EMBEERA BWE YABADDE EGGULO KU KYALO

Eggulo Bukedde yasobodde okutuka mu maka ga Rev. Sserumbawo ku kyalo Kyengeza mu Zogoti e Mityana okwekenneenya embeera nga bweri.

Eno twatuuseeyo ku ssaawa 3 ez’oku makya nga twasanze abantu abatonotono bali mu kuwaata mmere n’okukola emirimu egitali gimu okwetegekera omukolo.

Henry Mugenyi ye yakoze ku kutimba ekifo era zaaweze ssaawa 5:00 ez’oku makya nga weema amaze okuziteekayo waggulu.

Okutimba ekifo yakikoledde olunaku lulamba omuli okutonaatona weema y’abako ssaako ez’abazadde n’abagenyi abayite.

Omugole ye yatuuse mu ssaawa z’ekyemisana ne kitaawe Rev. Sserumbawo.

Museveni alabude abayigganya abawagizi ba NRM

‘’Abiriga ( Ibrahim eyali omubaka wa Arua mu palamenti) baamutta lwa (lwa kuwagira NRM ) kuba yali ayambala kyenvu. Lwaki otta omuntu !. Otte omuntu olw’okuba akuwangudde mu kukubaganya naye ebirowoozo !. Mu Kampala osanga abawagizi ba NRM babalumba.

Ant7 703x422

PULEZIDENTI Museveni agambye nti singa waaliwo ekkubo ly’okuteesa ne gavumenti tebandikutte mmundu kugenda mu nsiko mu myaka gy’ekinaana n’asomooza abalina bye batakkaanya na NRM bayitire mu kuteeseganya mu kifo ky’okulowooleza mu kusaawo obugulumbo.

‘’Abiriga ( Ibrahim  eyali  omubaka wa Arua mu palamenti) baamutta lwa (lwa kuwagira NRM ) kuba yali ayambala kyenvu. Lwaki otta omuntu !. Otte omuntu olw’okuba akuwangudde  mu kukubaganya naye ebirowoozo !. Mu Kampala osanga abawagizi ba NRM babalumba. Lwaki temukubaganya nabo birowoozo ?’’ Museveni bw’atyo bwe yebuuzizza n’agamba nti gavumenti nnyingi zizze ziyingirawo na kifuba kuba tewabaddenga mukisa gwa kuteesa.

‘’ Okuva mu ntalo  z’okuggyako Kabaka Muteesa II  mu 1966 zibadde mmundu. Amin (Dada) naye bwatyo bwe yayingirawo. Tewabaddenga kuteesa. Ffe bwe twajja ne tutandika okuteesa era ne bannyini ttaka tuzze tuteesa nabo’’ Museveni bwe yategeezezza e Birembo  mu Bunyoro ng’asiibula abantu abeetabye mu kutambula okuva e Garamba mu Wakiso .

Baatambudde kilomota 74 kwezo 195 ezaabadde zirina okutambulwa Pulezidenti n’agamba nti baabadde batambula kasoobo ng’abantu babayimiriza nga kijja kubatwalira ebbanga ddene okutuuka.

Museveni yategeezezza nti singa okuteesa kwali kusoboka okubeerawo mu myaka gy’ekinaana osanga tebandigenze mu nsiko.

Museveni yesogga ensigo n’abayekera ba NRA be yali akulira mu kiseera ekyo ng’alumiriza Milton Obote gwe yagenda okulwanyisa nti yabba obululu mu kulonda okwaliwo mu 1980.

Yafuna obuyinza mu 1986 oluvannyuma lw’okuggyako Gen. Tito Okello Lutwa. Museveni era yetaga mu ntalo z’okulwanyisa Idi Amin mu myaka gy’ensanvu.

Ku nsonga endala Museveni yabuuliridde abantu okwewala ettamiiro n’obwenzi ng’agamba nti bijja kubatwalako obulamu bwabwe. N’agamba nti musajja musajja mukadde  kyokka akyalimu endasi kuba obulamu bwe abukuuma bulungi.

‘’Buli w’ojjira nsobola okukwambalira. Oba oyagala lutalo osanga kwetegekedde nga butwefuka’’ Museveni bwe yagambye. Yakubirizza abantu okwekulakulanya n’asiima abajaasi abeenyigidde mu kulima.

Abantu abasoba mu 1500 kigambibwa nti be batuuse e Birembo.

Proline esonjodde Umony

Umony, 31, abadde talina ttiimu gy’azannyira oluvannyuma lw’endagaano ye ne Express okuggwako omwaka oguwedde mu gwomukaaga.

Umony1 703x422
Brian Umony

Brian Umony oluzannyuma lwe bbanga nga tazannya mupiira, yeegasse ku kiraabu ya Proline.

Umony, 31, abadde talina ttiimu gy’azannyira oluvannyuma lw’endagaano ye ne Express okuggwako omwaka oguwedde mu gwomukaaga.

Yatadde omukono ku ndagaano ya myezi mukaaga n’ekigendererwa ky’okugiwonnya okusalwako kuba erina obubonero 9.

Umony azannyidde kiraabu okuli; SuperSport United (South Afrika), Portland Timbers (Amerika), Becamex Binh Duong (Vietnam), Azam (Tanzania), St George (Ethiopia), KCCA ne Express.

Abamyuka b’omutendesi wa Cranes basisinkanye mu gwa liigi

Police ye yatwala ekikopo kya liigi mu 2005 kyokka okuva olwo ekikopo kigiwunyira ziizi.

Wakiso 703x422
Ttiimu ya Wakiso Giants eyatandika ogumu ku mipiira gya liigi.

Lwamukaaga mu StarTimes Uganda Premier League;

Wakiso Giants – Police, 9:00

Ensiike ya StarTimes Uganda Premier League ey’enkya (Lwamukaaga) esuubirwa okubaako n’obugombe abamyuka b’omutendesi wa Cranes ababiri bwe banaaba bakwataganyeeko.

Wakiso Giants etendekebwa Livingstone Mbabazi (omumyuka w’omutendesi wa Cranes owookubiri) egenda kuttunka ne Police ya Abdallah Mubiru (omumyuka w’omutendesi wa Cranes asooka).

 babazi atendeka akiso iants

 Mbabazi atendeka Wakiso Giants.

 ubiru atendeka olice
Mubiru atendeka Police

Mu gwasooka ogwali e Lugogo, Police yawangula ggoolo 2-1 era Wakiso Giants eyagala kwesasuza bwe nga basisinkanye ku kisaawe e Wakisha.

Embeera y’oluguudo esannyalaza eby’entambula e Ndaggwe

Embeera y’oluguudo esannyalaza eby’entambula e Ndaggwe

Kub1 703x422

EBY’ENTAMBULA bisannyaladde ku luguudo oluva embiriizi Tc okuda e Ndagwe oluvannyuma lw’amazzi okwanjaala mu kkubo ssaako n’ettosi ebisannya lazza ebyentambula ku luguudo luno.

Kino kitaataganyizza abasuubuzi abakozesa oluguudo luno okuva mu bitundu bye kkooki n’abo abagenda mu butale okuli kyawaggonya okulemererwa nga mwemuli n’abasaabaze abagenda mu ngendo z’enjawulo okukosebwa kuba oluguudo luno lugatta ku lwe Mbarala,Masaka,Rakai,Ssembabule ne Kampala nga lwe lumu olutwala n’abantu mu kkooti ento ey’e Lwengo abali mu kattu essaawa eno.

Embeera y’oluguudo luno okwonooneka evudde ku tawuni kanso y’e Mbiriizi okuyiwa ebitaka mu binnya ebikung’aanirwamu amazzi agava mu byalo okuli Namaganda,Nakateete,Kitakomaga ne Bijogo okukuunganira mu luguudo luno olutatekebwamu bigoma olwo negujjabagira.

Mukiseera kino emmotoka tezikyasobola kuyita mu luguudo luno nga kati bodaboda zezibadde zikyagezaako okusabaala ebitosi ekivudeko n’omuwendo gw’ebisale okweyongera ng’okuva e Mbiriizi okudda e Ndagwe zivudde ku 7000/- okudda 15000/-.

Abatuuze baweze nga bwe batagenda kwenyigira mu kulonda okubindabinda kuba tebalaba nsonga lwaki balonda nga n’oluguudo oluyisa abantu ab’enjawulo lulemeddwa okukolebwa.

URA ekoledde – Ssimbwa

URA yamezze SC Villa (2-0) eggulo e Ndejje ezaateebeddwa Daniel Isaigi ne Mike Birungi omutendesi Ssimbwa n’awera nga bw’atagenda kuttiira ttiimu yonna ku liiso mu luzannya olwokubiri.

Ura122 703x422
Ttiimu ya URA eyatandise ogwa Villa ku Lwokubiri.

OMUTENDESI wa URA, Sam Ssimbwa olw’amezze SC Villa n’abukkulu nti buli ttiimu emusala mu maaso yakuloza ku bukambwe bwa batabani be.

URA yamezze SC Villa (2-0) eggulo e Ndejje ezaateebeddwa Daniel Isaigi ne Mike Birungi. Ssimbwa yawezenga bw’atagenda kuttiira ttiimu yonna ku liiso mu luzannya olwokubiri kuba buli mupiira agenda kuguzannya nga fayinolo.

suman lishe ku ddyo ngatomera omupiira ku aniel saigi
Asuman Alishe ku ddyo ng’atomera omupiira ku Daniel Isaigi.

“Villa twagisinze buli kimu kuba batabani bange bayingidde ensiike ng’ekibali mu mitwe kuwangula buwanguzi era ne bakikola,”Ssimbwa bwe yagambye. Yayogeddeko nti mu luzannya olwasooka, abazannyi be baali bagayaavu nga tebamanyi kye bagala wabula ku mulundi guno bagenda kufiira ku buli ttiimu.

 simbwa
Ssimbwa

URA yawezezza obubonero 23 ne yeenywerezza mu kyomukaaga nga yeenkana ne Onduparaka eri mu kyokutaano.

IRAQ; 50 bafiiridde mu kuziika Genero

OKUZIIKA Genero wa Iran eyatemuddwa Amerika kuggweerede mu biwoobe, ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi abeeyiye mu kibuga Kerman okuziika omuzira waabwe bwe beerinnyerinnye okukakkana ng’abantu abasoba mu 50 bafiiriddewo ate abalala 213 ne batuusibwako ebisago ebyamanyi.

Iraq1 703x422
Nnamungi w’omuntu eyeetabye mu kuziika omugenzi Soleimani.

IRAN, Lwakubiri

OKUZIIKA Genero wa Iran eyatemuddwa Amerika kuggweerede mu biwoobe, ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi abeeyiye mu kibuga Kerman okuziika omuzira waabwe bwe beerinnyerinnye okukakkana ng’abantu abasoba mu 50 bafiiriddewo ate abalala 213 ne batuusibwako ebisago ebyamanyi.

Enjega eno egudde mu kibangirizi kya Azadi Square mu kibuga Kerman ku butaka bwa Gen. Qassem Soleimani gye yaziikiddwa wakati mu nnamungi w’omuntu eyamenye likodi ey’abantu abakyasinze okukuhhaana abangi mu kuziika mu Iran.

 mugenzi oleimani
Omugenzi Soleimani.

kutambulizibwa jjeneza omwabadde ebitundutundu by’omulambo gwa Gen. Soleimani ng’abamu bawanise ebifaananyi by’omugenzi, abalala bendera ya Iran wakati mu kuwera okwesasuza ku Amerika olw’okuttira obwereere omuntu waabwe.

Abalala baabadde bakutte ebipande nga bawera nti bateekwa okuwoolera eggwanga ku Amerika eyasse omuntu waabwe.

Baawaliriziddwa okwongezaayo okuziika olwa nnamungi w’abantu eyabadde yeeyongera okweyiwa mu kibuga buli ddakiika.

Abantu baatandika okutuuka mu kibuga we baaziise Qassem ku Sande, babadde basula ku nguudo abalala ne beekwata obufo obw’okumwanjo ku limbo awaabadde emikolo gy’okuziika.

Mu butongole baakungaanidde ku kifo kya Azadi Square kyokka olw’obungi bw’abantu, baasoose kusimba nnyiriri ne batuuka nga tezikyasoboka ne bakwatirira enguudo nga buli omu alwana kutuuka awaabadde mayiti.

 kika kya drone eyitibwa  9 eaper eyasse oleimani
Ekika kya ‘drone’ eyitibwa MQ -9 Reaper eyasse Soleimani.

Eggulo gye gyabadde emikolo emitongole okufundikira okukungubaga okw’ennaku esatu gavumenti ya Iran ze yalangirira okuzimala nga bakungubagira Gen. Qassem.

Olwokutaano wiiki ewedde Amerika yasindise ennyonyi ezeevuga nga bazirondoolera ku kompyuta ne zigenda ku Baghdad International Airport we zattidde Gen. Qassem.

Gen. Hossein Salami, eyazze mu bigere bya Qassem okuduumira eggye lya Revolutionary Guards, yaweze nti “Tujja kuwoolera eggwanga mu ngeri ya kwerwanako era tuteekwa okukuba Amerika awaluma.

 mukungubazi ngawanise ekipande ekisaba wabeewo okuwoolera eggwanga
Omukungubazi ng’awanise ekipande ekisaba wabeewo okuwoolera eggwanga.

AMAGYE GA AMERIKA MU KYONDO KYA BUWALABU

Amagye ga Amerika ku ttaka mu kyondo kya Buwalabu ne Afghanistan 14,000, Kuwait – 13,000, Qatar – 13,000, Bahrain – 7,000, Iraq – 6,000, United Arab Emirates – 5,000, Saudi Arabia – 3,000, Jordan – 3,000 ate mu Turkey 2,500 bagumbye.

Mutuukirize obweyamo bwe mukola

Abakristaayo bakubiriziddwa okutuukiriza obweyamo bwe bakola nga ne Katonda lw’anaabaanukula

Bweyamo1webuse 703x422
Omusumba Lukyamuzi ng’ayigiriza ku Ssande ku kkanisa ya St. Steven Kabowa

Omusumba w’ekkanisa y’omutukuvu Steven e Kabowa, Henry Lukyamuzi abuuliridde Abakristaayo ku bweyamo bwe bakola ne Katonda waabwe nti, balina okukakasa nti baakubutuukiriza ng’omwaka tegunnaggwaako.

 bbaluwa okuli obweyamo
Ebbaluwa okuli obweyamo

Omusumba Lukyamuzi bwe yabadde abuulira mu kusaba ku Ssande yagambye nti, omwaka ke gutandise buli muntu asaana yeekebere yekkaanye n’omutima gwe ku ekyo ky’asobola ky’aba yeeyama mu kkanisa nga kino kitambulira ku nnamba ye ey’obweyamo buli Ssande.

“Omwaka bwe guggwaako omuntu oddamu buto okweyama eri Katonda wo, kyokka mulina okuyiga engeri ey’okumusikirizaamu naye asobole okubawa bye mwagala,” Omusumba Lukyamuzi bwe yagambye. Yategeezezza nti, ng’oyagala Katonda akukolere olina okumulaga engeri gy’oggya naawe okumuddizaamu.

“Abantu mumanyi okweyama kyokka ne mutatuukiriza eri Katonda, ogwo guba musango kyokka era kyewuunyisa abantu abamu okuva lwe yafuna nnamba y’obweyamo emyaka ena emabega n’atandika okweyama omuwendo gwe yatandikirako buli mwaka gw’addamu okweyama. Kye mugamba Katonda tabakolera kusinga we mwatandikira?” Lukyamuzi bwe yababuuzizza.

 kwaaya ngetendereza mu kusaba ku sande
Kkwaaya ng’etendereza mu kusaba ku Ssande

Abakristaayo baaweereddwa foomu okujjuzaamu obweyamo bwabwe nga zino ze zigenda okujjuzibwa ku bukonge bwabwe era ng’ensimbi ezikung’aanyizibwa ziba za kutambuza mulimu gwa Katonda mu kkanisa ya Uganda.

Omusumba Lukyamuzi n’omukyala baasiibudde abagoberezi nga bagenda mu ggwanga lya South Afrika okwongera okunnyikiza obuweereza bwabwe ate nga mu kiseera kye kimu n’omubuulizi w’ekkanisa eno, Earnest Nekambuuza n’omukyala bagenda mu Kenya okwongera okusomesebwa bazze buggya obuweereza bwabwe.

URA emezze Villa

Mu gwasooka e Luzira, baalemagana 1-1 wabula Sam Ssimbwa, atendeka URA yasigala alumiriza nti Villa yabagwiira olw’okubateeba ey’ekyenkanyi ng’obudde kumpi buweddeyo.

Uravsscvilla1 703x422
Asuman Alishe ku ddyo ng’atomera omupiira ku Daniel Isaigi.

URA 2-0 SC VILLA

Tooro Utd – Onduparaka (teguzannyiddwa)

SC VILLA abalina likodi y’okuwangula ebikopo bya liigi ebingi (16) oluzannya lwa liigi olwokubiri balutandikidde mu maziga. Bakubiddwa URA (2-0) mu gwazannyiddwa mu kisaawe kya Ndejje University e Bombo.

Mu luzannya lwa liigi olwasooka, Villa yayolesezza omutindo mulungi bangi ne basuubira nti yaakutandika na maanyi mu lwokubiri kyokka URA ng’eyita mu ggoolo ya Daniel Isiagi ne Mike Birungi, yabakkakkanyizza.

 aidi eni ku kkono ngatomera omupiira ku aniel saigi ku ddyo
Saidi Keni (ku kkono) ng’atomera omupiira ku Daniel Isaigi (ku ddyo).

Mu gwasooka e Luzira, baalemagana 1-1 wabula Sam Ssimbwa, atendeka URA yasigala alumiriza nti Villa yabagwira olw’okubateeba ey’ekyenkanyi ng’obudde kumpi buweddeyo.

 am imbwa ku kkono ngawayaamu ne dward aziba ku ddyo makkati ye brahim irya
Sam Simbwa ku kkono ng’awayaamu ne Edward Kaziba ku ddyo makkati ye Ibrahim Kirya.

SSIMBWA YEESASUZZA

Ssimbwa, eyatendekako Villa n’agobwa, omupiira gwa leero yasoose kuwera nti alina okufiira ku Villa agirage nti nti mutendesi mulungi. Ng’oggyeeko ekyo, Ssimbwa yabadde ayagala kulaga bakama be nti okugugu­lana ne Ivan Kakembo, eyali akulira emirimu mu URA, kwe kwabaviirako ttiimu eno okuvumbeera mu luzannya olusooka mwe yawangulidde emipiira ena gyokka ku 15.

URA y’esooka ku SC Villa olubabu – Kirya

URA y’esooka ku SC Villa olubabu – Kirya

Vil1 703x422
Kirya

KU Lwokubi, SC Villa lw’eggulawo oluzannya lwa liigi olwokubiri mu kaweefube waayo okulaba ng’ewangula liigi ya sizoni eno. Yaakukyalira URA FC e Bombo ku ttendekerero lya yunivasite ya Ndejje.

Mu gwaggualwo liigi sizoni eno, Villa yakubwa Kyetume (1-0) sso nga n’ogwaggaddewo oluzannya olusooka, yakubwa KCCA (4-1). Amyuka omutendesi wa Villa, Ibrahim Kirya asuubizza abawagizi nti bagenda kutandika n’amaanyi oluzannya olwokubiri n’abayita bajje balabe kye banaakola URA.

Villa eri mu kyakuna nga Vipers ekulembedde egisinga obubonero 9. Kirya, agamba nti balina bingi bye bakyusizza okuva liigi bwe yawummula. “Okuggyako Albert Mugisa yekka atannakomawo mu kutendekebwa, abazannyi abalala bonna balamu ate bakola na maanyi era tulina okutandika n’obuwanguzi,” Kirya bwe yategeezezza.

Yagumizza abawagizi nti wadde tebasuubira kugula bazannyi mu katale kano, abaliwo basobola okulwanira ekikopo kuba balungi ekimala. Mu kutendekebwa ku Lwokutaano ku makya, omutendesi omukulu, Edward Kaziba essira yasinze kulissa ku kuwawula bateebi ku ngeri y’okukubamu ggoolo.

POLICE EZZEEYO E LUGOGO;

Mu ngeri y’emu, Police FC yaakuddamu okukyaliza emipiira gyayo mu kisaawe e Lugogo. Police tebadde na w’ekyaliza mipiira gya liigi wa nkalakkalira wabula, abakulira liigi baategeezezza nti baagikkirizza eddeyo Lugogo gye yakyalizanga sizoni ewedde.

Mu kiseera kye kimu, URA FC yalonze Bridget Nakayenga ku ky’akulira emirimu ow’ekiseera. Yazze mu kya Ivan Kakembo eyavudde mu ttiimu eno oluvannyuma lw’endagaano ye obutazzibwa buggya.

Babiri bafiiridde mu kabenje e Mityana

Babiri bafiiridde mu kabenje e Mityana

Tx11 703x422

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje n’abalala ne babuuka n’ebisago ebyamaanyi  e Nswanjere ku luguudo oluva e Mityana okudda e Kampala. Abafudde tebanategerekeka manya naye  kubaddeko ne dereeva wa takisi ekoze akabenje ng’ono afiiriddewo n’omusaabaze. Takisi ekoze akabenje eri Namba UBB 740D nga kitegerekeseeko nti ebadde eva Fortportal. Okusinziira ku batuuze abalabye akabenje nga kagwa bakitadde ku dereeva wa takisi abadde eyabadde avuga endiima kyoka bweyatuuse e Nswanjere neyekanga ekkoona takisi nemuremerera okuliweta neyefuula negwa mu luwonko. Abaana basattu ababadde mu takisi eno bebawoonyeemu naye bazadde babwe okuli n’abasaabaze abarala abagyibaddemu bafunye ebisago ebyamaanyi nga tasulewo yasigadde ku mimwa gy’abantu.Abakoseddwa baddusiddwa mu ddwaliro lya Nswanjere Healthy centre okufuna obujanjabi. 

Abakoseddwa bategerekeseeko nga babadde bavudde mu bitundu bye Kyaka,Fortpotal,Mubende,kassanda ne Mityana nga babadde badda Kampala abarala Lugazi. Abatuuze basabye poliisi y’ebidduka okussa hamps mu kkoona lya Nswanjere zitaase ku bubenje obugwa buli lunnaku. Kyoka kino tekibagaanye kutabukira ba tulafiki ababadde bazze okuddukirira abaagudde ku kabenje olw’okulwawo okuleeta emmotoka okutaasa abakoseddwa ekyabaletedde nokugamba nti omuntu ow’okubiri eyafudde kyavudde ku bugayaavu bwabwe.

Afande, nze bukya nzaalibwa sibbangako

Afande, nze bukya nzaalibwa sibbangako.

Hot13 703x422

AFANDE, oyo omukazi ampaayiriza. Nze bukya nzaalibwa sibbangako muntu yenna kubanga sirina na mwana ku nsi eyandinzibisizza.

Annet Namayanja 30 ow’e Mulago mu Nalwewuba Zooni obwedda y’alaajana ng’aleekaanira waggulu bwe baamukutte wiiki ewedde nga Zaina Nankya, omusuubuzi w’enkoko mu katale ka Mpuuga amulumiriza nga bwe yamubba emitwalo 90 emyaka 4 egiyise.

Namayanja yabadde ayita kumpi ne Nankya w’akolera n’amulaba n’amukwata ne bamukunguzza okumutwala ku poliisi. Nankya yategeezezza nti emyaka 4 egiyise, enkoko yali azitundira kumpi ne Lufula y’oku Kaleerwe.

Eno Namayanja gye yamusanga ne yeefuula kasitoma n’alamuza enkoko bwe yakutama okumulondera enkoko n’amubbako waleti omwali ssente n’amassimu n’adduka ng’okuva olwo abadde taddang’amu kumulaba.

Kyokka Namayanja obwedda ayogerera waggulu yagambye nti bukya azaalibwa tabbangako era kirabika Nankya yamwefaananyirizza omuntu eyamubba ng’era bwatawera ajja kumuwawaabira okumuswaza.

Chaka chaka alayidde okudda mu Uganda ayimbe

OMUYIMBI w’e South Afrika Yvonne Chakachaka eyalemeseddwa okuyimba mu ‘Nkuuka’ eyabaddemu ne Kabaka oluvannyuma lw’abobuyinza mu Uganda okumutikka ku nnyonyi ne bamuzza ewaabwe alayidde nti ajja kudda mu Uganda ayimbe.

Images1 703x422

‘’Mbakakasa nti nja kudda mu Uganda nnyimbe kuba eno (Uganda) nsi yange’’ Chakachaka bwe yawandiise ku mukutu gwe ogwa Twitter.

N’awakanya ebyamwogeddwaako nti baamufulumizza Uganda ku kifuba . N’ategeeza nti n’abebyokwerinda abaamukutte tebaabadde bakambwe ggyali.

Chakachaka eyakyaka ennyo olw’ennyimba ze  nga ‘’Mukombooti’ n’endala abadde atera okujja mu Uganda n’akola ebivvulu.

Wabula ku mulundi guno  yabadde azze kuyimba mu kivvulu kya Nkuuka ekimalako omwaka 2019 ekyabaddeko ne Kabaka mu Lubiri e Mmengo kyokka teyakiriziddwa kuyimba.

Kigambibwa nti chakachaka  abadde ayitiridde okuwanawna  Bobi Wine ng’amuyita’Mandela wa Uganda’. Bobi Wine mu bubaka bwe ku nsonga eno ku Twitter yagambye nti abawagizi ba People Power ebweru wa Uganda nabo batandise okuyiganyizibwa. N’agamba nti Chakachaka yagobeddwa mu Uganda kuba gavumenti etya ennyimba ze ezikwata ku bantu okwerwanako okufuna eddembe.

Omwogezi       wa poliisi Fred Enanga yagambye nti Chakachaka yabadde azze mu Uganda ng’akozesezza viiza ya kujja kukyala wano bukyazi sso ssi kukolera wano kyokka ne kizuulibwa nti yabadde azze kuyimba. 

Yagambye nti Chakachaka bw’anakomawo okuyimba n’agyira mu mitendera emituufu ne viiza entuufu ajja kuyimba.

Kyokka Bobi Wine yagambye nti ab’ebyokwerinda ne bwe banaawa ensonga zitya ekituufu kiri nti gavumenti etya ennyimba za Chakachaka. Chakachaka yagambye nti ebya viiza bye bamusaako tabimanyi

Eyali anfudde ATM namutebuka

MU bulamu, kinyuma omuntu n’akolera munne ekirungi ne bwe kiba kitono kitya ate ne gw’okikoledde n’akusiima. Awo ofuna amaanyi agamuyiiyiza ekirala ate ekisingako. Nze Alex Musaazi 19, mbeera Zzana mu Kampala.

Tata1 220x290

Nnafuna omuwala gwe nneegomba ne kimpaliriza okumuyimiriza ne mbeerako bye mmugamba ate naye n’akitegeera bulungi.

Omuwala ono engeri gye yali omulungi kaalaala, nnalabira ddala ng’okumusubwa mbeera nfiiriddwa.

Kino kyampa essanyu bwe natuukirira omuwala ono ne mutegeeza nga bwe nnali njagala afuuke mukwano gwange era n’akkiriza bulungi nnyo. Namusaba ennamba y’essimu n’agimpa olwo ne tutandikira awo nga buli omu akubira munne. Awo omukwano gwaffe we gwatandikira.

Okumanya nnayagala omuwala ono, nafuba okulaba nga buli ky’ansaba nkimuwa era nga tajula naye ate nga ye andaga nti bye mmuwadde tabisiima.

Kino yakikola enfunda eziwera era nange bwe nnalaba nga kafuuse kagenderere obutasiima ne ntandika okufunamu endowooza nti alabika alina bye yeenoonyeza nga tanjagala.

Wabula nnakizuula oluvannyuma nti omuwal ono yali alinayo omuntu omulala eyali amupokera omusimbi era ng’amulidde omwoyo.

Natunulamu nga ndaba sisobola kuvuganya na basajja bagagga era ne nsalawo okwesonyiwa omuwala ono naye sikyejjusa kubanga kati nange nafuna dda ennamba yange empya enzikiririzaamu.

Kiki ekimalamu baze amaanyi?

BAZE ennaku zino alina amaanyi matono ate nze mba njagala okwegatta naye. Simanyi oba myaka kubanga alina emyaka 65 ate nze nnina 45. Ssenga mbadde mmuyambako okufuna eddagala naye bigaanyi.

Oonya 703x422

Asobola luutu emu yokka ate tusobola okumala wiiki emu nga teri kwegatta. Ssenga nkoze ntya ku nsonga eno?.

OKUSOOKERA nze ndaba nga ku myaka 65 oba asobola luutu emu ate mu wiiki nga biri oba emu si kibi n’akamu.

Omusajja ow’emyaka 65 mu butuufu amaanyi g’ekisajja gabeera matono olw’emyaka era nga buno butonde.

Ate abakyala abasinga ku myaka gy’olina 45 babeera n’obwagazi bungi ate ng’abasajja ku myaka 65 bubeera butono.

Kale y’embeera naye olina kubeera mugumiikiriza kubanga ate munno ssinga omuteeka ku puleesa n’amaanyi amatono g’alina gagenda kubula.

Sigaanyi otambudde okunoonya eddagala naye waliwo obutonde nga n’eddagala terikola. Kkiriza nti munno asobola luutu emu yokka era tokaka oba tomuteeka ku puleesa eno era y’esoboka.

Okimanyi nti abasajja abato abasinga omwami wo bangi tebasobola na luutu emu. Balo tali bubi n’akamu kuba buno butonde.

Ate tomanya ayinza okuba ng’alina ebimutawaanya mu bwongo ne bibuza amaanyi.

Omugagga aguze Total ya Arua Park n’agimenyawo

ESSUNDIRO ly’amafuta erya Total ku Arua Park liguliddwa omugagga n’alisendawo abamu ku bavuzi b’ebidduka, abasuubuzi n’abakulembeze mu kitundu emitima ne gibeewanika.

Unity1 703x422
Wano we wabadde essundiro eryamenyeddwa.

Batidde nti amafuta bwe gakuggwaako nga ovuga mmotoka mu kitundu kino tolina w’oyinza kugaggya.

Abalala bagamba nti abaaguze essundiro bayinza okukolagana n’abaagula oluguudo ku Arua Park nabo ne balusenda kubanga ensonga kasookedde zitwalibwa mu kkooti, zikyalemye okubasalirawo.

KCCA n’olukiiko olufuga ettaka mu Kampala lwagaba liizi y’oluguudo ku Arua Park ne balutemamu poloti kubanga lwali lumaze emyaka nga terukozesebwa. Oluguudo olwagabibwa luyita waggulu w’essundiro lya Total okumpi ne kaabuyonjo y’abatuuze.

Mu ggandaalo lya Ssekukkulu, essundiro lyamenyeddwa era kati waliwo kibangirizi.

Ssentebe wa LC atwala Munno B, Muzamir Lukumu yategeezezza nti wadde essundiro babadde balyagala naye bannannyini lya aba kkampuni ya Total baasazeewo okulitunda.

Wabula yatiddemu ng’agamba nti abagagga abamu bwe bayingira mu kitundu batwala buli ttaka era n’alabula nti takwata ku ttaka okuli ofiisi zaabwe n’eryoluguudo.

Eyali kkansala mu kitundu kino, Abdul Karim Lukoda yalabudde nti ekifo ekyo yakikolerera nnyo ng’akyali kkansala n’azimbira abatuuze kaabuyonjo okumpi n’essundiro era tebagikwatako.

Lino ly’essundiro ly’amafuta 

eryokusatu mu myezi musanvu nga liguliddwa. Abagagga okuli Drake Lubega ne Mansoor Matovu Yanga beegatta ne bagula Total y’e Nakivubo ne bazimbawo ebizimbe okuli Total Plaza ne French Plaza.

Omugagga omulala John Bosco Muwonge naye n’agula Shell ku Ben Kiwanuka etunudde mu Kikuubo era n’agimenyawo kati amaliriza akeedi ya myaliiro egisoba mu munaana. Kati bazzizzaaako Total ku Arua Park.

‘Mwawule ebyobufuzi ku bya Katonda’

OMUBAKA wa Kyadondo East mu Palamenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu “Bobi Wine” asabye bannabyabufuzi okwekwasa Mukama Katonda n’okwewala enjawukana n’abo be balowooza nti tebali ku ludda lwe lumu.

Kenzo 703x422
Ssempala Kigozi (ku kkono) omubaka wa Makindye Ssaabagabo, Robert Kyagulanyi Ssentamu (wakati) n’omusumba Michael Kyazze ow’ekkanisa ya Omega Healing Centre e Namasuba.

Bino yabyogeredde ku kkanisa ya Omega Healing Centre e Namasuba mu kusaba okwetabiddwaako ne bannabyabufuzi ab’enjawulo omwabadde n’omubaka akiikirira Makindye Ssaabagabo mu Palamenti, Emannuel Ssempala Kigozi “Ssajjalyabeene”,ssentebe wa Divizoni ya Masajja, John Baptist Kiyaga n’abakulembeze eb’enjawulo.

Kyagulanyi yategeezezza nti, Katonda y’amuyambye okuyita mu buwonvu bwonna n’okumulwanira entalo z’asobodde okuwangula era wano we yanokoleddeyo ebyawandiikibwa mu Zabuli 26 bye yagambye nti, y’empagi eyamukwasibwa bazadde be era kw’azzenga atambulira okutuuka w’ali kati. Bino biraga Kabaka Daudi bwe yali ayaayaanira Mukama okubeera empagi ye mu buli ky’akola era wano Bobi Wine we yasinzidde okukuutira bannabyabufuzi banne n’abagoberezi abaabaddewo okwongera okwekwasa Katonda.

Ssempala yasabye bannabyabufuzi okwawula e kkanisa ku by’obufuzi bwe yategeezezza nti abamu batuuka n’okukyusa amasinzizo bwe bamanya nti be bavuganya nabo basinziza mu kifo kye kimu, ono yayongeddeko nti, ebikolwa ebikyamu ebyefuze eggwanga ensangi zino omuli ettemu, enguzi, obubbi n’ebirala bivudde ku bantu kuba nga baasuula Katonda nga wano we yasinzidde.

okukubira abazadde omulango okukuliza abaana mu Katonda kuba gwemusingi eggwanga kwe litambulira.

Omusumba w’ekkanisa eno, Michael Kyazze yategeezezza nti, baayise bannabyabufuzi okuva mu bibiina eby’enjawulo n’ekigendererwa ky’okuzza obumu. Yayongeddeko nti, bannabyabufuzi bangi bali kabwa na ngo n’abo be bavuganya nabo nga kye kya`bawalirizza okutegeka okusaba kuno naddala nga tusemberede okumalako omwaka bano bagende okuyingira omwaka omupya nga batukuvu.

Ssekukkulu ya 2007 yali ya maziga

ABALALA gye babeerera mu keetalo ka Ssekukkulu, nze mba mu birowooza nga nzijjukira Ssekukkulu ya 2007 gye nnali nneesunze okulya n’abantu bange nga n’ebintu bya Ssekukkulu maze okubigula naye ne nfuna ekyekango. Nze Herman Mutebi 26, mbeera Makindye Nabisaalu.

Ripped 703x422

Gye nnakoma okwejagira Ssekukkulu ya 2007 n’ebizubi gye byakoma okwesomba.

Mu biseera ebyo, nali nsubulira mu Paaka Enkadde era nga nkola butaweera nsobole okufissaako ntwalire ku munnange amanzaali ga Ssekukkulu agawera olw’omukwano gwe twalina.

Olw’obuvunaanyizibwa bw’omwana wange asooka gwe yanzaalira nga tukyali mu ssomero, nnayagala nnyo okulya nabo Ssekukkulu.

Nga December 24, nnakeera ne ntegeka kalonda yenna gwe nnali ntegese okutwalira ab’omu kyalo. Wabula nasalawo nsooke nkole ndyoke hhende akawungeezi.

Wabula mba nnaatera okusimbula okugenda okulinnya hhende mu kyalo, ne bankubira nga omwana wange bwe yali afudde bannange katono ngwe eddalu kuba teyali mulwadde.

Essanyu lyange awo we lyakoma olwo ne ntandika kutegeka bya kuziika era buli Ssekukkulu lw’etuuka nzijukira ekyekango kye nnafuna ku ya 2007.

Bakubye essasi alumbye famire okugisanjaga

ABATUUZE b’oku Kaleerwe mu Zooni ya Kiggundu baaguddemu ekikangabwa omusajja bwe yalumbye amaka ga munnaabwe n’agezaako okubatemula.

Gula1 703x422
Bonny ng’avuyira mu bisooto. Awali akasale essasi we lyakutte.

Shakirah Asiimwe yategeezezza ng’omwaka bwe yaguyingidde mu ntiisa ne famire ye omusajja eyategeerekese nga Bonny bwe yabalumbye n’ennyondo ng’awera okubatta bonna ye n’abaana be 5.

Agamba nti yasoose n’abiyita byakusaaga kuba Bonny alina baganda be okumpi ne w’abeera era ng’abadde ajjawo n’asaaga n’abaana be.

Wabula kyamubuuseeko Bonny bwe yatandise okukoona enzigi z’ennyumba n’amadirisa n’ennyondo ng’ayagala okubayingirira.

Agamba nti baakubye enduulu eyasombodde baliraanwa ne bamusanga ng’amenye oluggi lw’eddiiro n’atandika okwonoona ebintu by’omu nnyumba okwabadde firiigi, ttivvi n’ebintu ebirala.

Baagezezzaako okumuyimiriza kyokka ng’abamutuukirira ayagala kubasala n’akambe ke yabadde alina.

Oluvannyuma poliisi yatuuse era bwe yeeremye okukkakkana ne bamukuba essasi mu ntumbwe n’agwa ku ttaka.

Ssentebe w’ekitundu, Paul Kibuuka yategeezezza nti obuzibu buva ku bavubuka mu kitundu okwettanira okukozesa ebiragalaragala n’ebakola effujjo.

Yagambye nti kyategeddwa oluvannyuma nti Bonny yabadde anyweddemu ne ku bitamiiza.

Yasabye gavumenti okwongera okumyumyula amateeka ku bantu abakozesa ebiragalalagala.

Eyakola ebibumbe by’e Namugongo n’e Mmengo afudde

OMUVUBUKA Fred Kigozi Lubwama 36, eyabumba ebibumbe by’ebika bya Buganda ebiri ku luguudo Kabakanjagala e Mmengo era eyabajja ebifaananyi by’abajulizi ebiri mu myuziyamu e Namugongo, mmotoka emulinnye ng’ali ku ppikippiki n’emukutulako omutwe.

Musene 703x422

Ebimu ku bibajje Lubwama bye yakola mu myuziyamu a Namugongo.

Yabadde avuga ng’atuuka e Nakiyanja Namugongo mmotoka weyamutomeredde okusinziira ku kojja we, Benon Lutaaya.

Lutaaya yategeezezza nti akabenje kaabaddewo akawungeezi k’Olwokubiri, Lubwama yabadde avuga ppiki okudda mu maka ge e Namubiru Mukono.

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Lubwama era Omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba yagambye nti, Lubwama y’omu ku baaweebwa omulimu gw’okubumba ebibumbe by’ebika eby’asimbibwa ku bibanja by’abyo ku luguudo Kabakanjagala okutuuka ku Bulange.

Obwakabaka bwasindise Minisita w’Obuwangwa n’ennono, David Kyewalabye Male okukubagiza abaffamire ya Lubwama.

Lubwama abadde abajja ebifaananyi n’okubumba, yeeyabajja ebifaananyi ebiraga egeri Abajulizi ba Uganda gye baatulugunyizibwamu ebiri mu myuziyamu ku kiggwa ky’Abajulizi ku ludda lw’Ekkanisa ya Uganda e Namugongo.

Lutaaya yagambye nti, omugenzi abumbye ebibumbe bingi mu ggwanga n’ebweru walyo okuli ebiri ku kkooti ewozesa emisango gy’obusuubuzi mu Kampala

Alese abaana basatu ne Nnamwandu Christine Ojambo era yaziikiddwa ku Lwokuna e Namubiru ewali amaka ge.

Akabenje katuze abooluganda 5

BYABADDE biwoobe ku kyalo Musita mu ggombolola y’e Baitambogwe mu disitulikiti y‘e Mayuge mmotoka magulukkumi bwe yalemeredde ddereeva waayo n’etomera abantu10, omukaaga(6) ne bafiirawo.

Kuba 703x422
Akabenje we kaagudde ne katta abantu 6.

Abaffamire abaafudde kuliko Nakatuba Sunati abadde omutuuze w’e Kamuli, Hasifa Mutesi, n’abaana basatu okuli Twaha Sadat, Junior Ahamada, Najibu Muhammad.

Omulala eyafudde ye Yeko Kigenyi abadde ssentebe wa LC II ow’omuluka gw’e Mulingirire.

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti emmotoka eno yatomedde ssentebe ono mu luguudo wakati olwo n’ewaba n’etomera ebizimbe omwafiiridde abooluganda.

James Mubbi, omwogezi wa poliisi mu Busoga East ategeezeezza nti akabenje kano kaavudde ku mmotoka nnamba UBA 213N eyabadde etisse sukaali okuva ku kkampuni ekola ya Mayuge Sugar Industries Limited ku kyalo Buvuna mu ggombolola y’e Manyiro mu disitulikiti y’e Mayuge.

Mubbi agamba nti akabenje kano kaavudde ku biziyiza bya mmotoka obutasiba ekyavuddeko omugoba waayo okulemererwa olwo n’atomera abantu.

Era wano Mubbi we yakubiririzza abagoba b’ebidduka okwekebejjanga emmotoka zaabwe nga tebannasimbula n’okuzikanika.

Mubbi yategeezezza nti emirambo gyaweeredwa abehhanda ate abaafunye ebisago baatwaliddwa okujjanjabibwa.

Bawambye omwana ne bamutta

Ibrahim Kafeero olumu eyeeyita Brian 30, yataasiddwa poliisi y’e Njeru eyamukutte wakati mu kubwatuka kw’amasasi.

Nkitadde1 703x422

Kigambibwa nti, nga December 31, 2019, yateeze omwana Faridah Mbabazi 9, eyabadde agenda okugula butto n’amusobyako oluvannyuma n’amutuga n’amutta.

Nnyina wa Mbabazi, Rehema Batuuka yagambye nti, ku ssaawa mukaaga n’ekitundu ez’emisana ku Lwokubiri, yawadde muwala we 500/- aguleko butto wa 200/- n’obutungulu bwa 100/- asiike enva z’eky’emisana kyokka yalabye omwana takomawo, kwe kwesitula agende ku mudaala abyewole.

Yagambye nti, bwe yabadde atambula ng’atuuse mu kkoona awaziyivuzivu, yalabye akamu ku bugatto bwa muwala we omutima ne gumukuba.

Agamba nti, yatambudde n’ayingira mu kasiko we yalabidde olugoye lwa muwala we era yagenze okusembera amaaso yagakubye ku mulambo.

Agamba nti yawunze n’atema omulanga omwabadde n’enduulu eyakanze ateeberezebwa okubeera omutemu eyabadde akyali mu kasiko n’awamattukayo n’adduka. Ono, yalabiddwa abaana abaategeezezza nti ye Kafeero.

Abatuuze beekozeemu omulimu okuyigga Kafeero ku byalo bisatu okuli Kiryowa, Kafunta ne Butema n’ababula kyokka omuwandiisi w’ekyalo Kiryowa, omwana eyattiddwa gye yabadde abeera, Charles Oloo n’amulonkoma gye yabadde yeekukumye.

Abatuuze abaabadde bataamye obugo akasiisira baasazeewo okukateekera omuliro, Kafeero afiiremu kyokka ne yeebikka ebbaati.

Poliisi yatuuse ng’essubi lyonna liyidde ne bamenya oluggi ne bamukukunulayo kyokka abatuuze ne baagala okumubaggyako amasasi ne ganyooka.

Oloo yagambye nti, Kafeero bamulinako emisango ebiri mu kakiiko egy’okusobya ku baana era bamumanyi ng’omu ku bavubuka abamenyi b’amateeka ku kyalo.

Okutta Mbabazi, abatemu baasooka kutta omwana omulala Shakira Mpande 12, ku kyalo Bukabala nga December 2, 2019.

Bukabala kiriraanye Kiryowa byombi ebisangibwa mu ggombolola y’e Njeru e Buikwe.

Robert Nsubuga omu ku bakulembeze mu kitundu kino yagambye nti, balina ekizibu ky’amasamba g’ebikajjo agabetoolodde, abamenyi b’amateeka mwe beekukuma ate ye Omuwalimu w’omuzikiti ku kyalo, Abdallah Ntende yagambye nti, abavubuka basusizza okukozesa ebiragalalagala.

Hilary Mukiza aduumira poliisi y’e Njeru yagambye nti, omulambo gwa Mbabazi baagutte mu  ggwanika e Jinja ate Kafeero bamukuumira mu kaduukulu e Njeru.

LDU ne poliisi basse ateeberezebwa okubeera omubbi

Abaserikale abaabadde balawuna ku Lwokusatu ekiro mu bitundu bya Kasubi, Namungoona, Kawaala ne Nakulabye baagudde ku kibinja ky’abavubuka abateeberezebwa okubeera ababbi ne bakubako omu amasasi n’afiirawo.

Vuga 703x422

Eyattiddwa ye Patrick Owiny era amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, abavubuka bano baabadde bakoze kye bayita ‘eggaali’ nga bagenda babba buli muntu gwe basanze.

Abeebyokwerinda baabasanze okuliraana Total e Nakulabye era mu kanyolagano nga bagezaako okubakwata, omu yakubiddwa amasasi ate abalala abagambibwa okusoba mu 30 ne badduka.

Abaabaddewo baategeezezza nti, ebbiina ly’abavubuka lyavudde mu zooni 7 e Nakulabye nga bakola effujjo we baagwiridde mu baserikale abaabadde balawuna ne babafubutula wabula omu n’ayimirira n’awanika emikono owa LDU n’amukuba amasasi mu mugongo.

FUFA enejjanjaba abazannyi ba liigi ku bwereere

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo akubye abazannyi n’abakulembeze ba kiraabu mu liigi ya ‘super’ enkata, bw’alangiridde nga FUFA bw’etaddewo yinsuwa y’abazannyi bonna abasambiramu okutandika ne sizoni ejja.

Jordon 703x422
Magogo (owookubiri ku kkono) nga yeegeyaamu n’abakungu ba FUFA; Watson Edgar (ku ddyo), omumyuka wa FUFA, Darius Kigoye (ku kkono) ate akutamye ye mwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein.

Agambye nti FUFA etaddewo obukadde 400 eza yinsuwa eri abasambi 400 mu Super League, bajjanjabwe ku buli bulwadde okuva ku buvune mu kisaawe n’obulala bwonna obunaabagwiranga ng’essiddwa mu malwaliro ga AAR mu ggwanga lyonna.

Yinsuwa eno, etwaliramu ne baddiifiri abali ku ddaala lya FUFA.

Magogo, yabadde ku kitebe kya FUFA e Mengo ng’asoma lipoota y’omwaka 2019 n’okuwa bye basuubira okukola mu 2020.

“Twagala kutumbula mutindo gwa mupiira. Yinsuwa ya buli bulwadde n’obuvune mu mupiira n’okusigala nga bajjanjabwa ne bwe banaalemaliranga ddala.

Wabula tukyagiwadde musambi yekka sso si famire ye yonna. Abakazi n’abasambira mu akademi, ebyabwe tebinnaba.

Aba Cranes n’aba FUFA Drum balina yinsuwa eya NIC,” Magogo bwe yategeezezza.

Yagambye nti abasambi ba Uganda bangi abalemwa okutuukana n’omutindo n’okuvaamu eky’omugaso lwa kusamba nga balina obuvune, kiraabu bwe zitasobola kujjanjaba olwo be basambira ku mutindo ogw’ekibogwe.

“Abasambi baffe bangi abagenda ku gw’ensimbi ebweru nga balina obuvune ne basalwako nga ne baddiifiri bwe batyo. Abalala talanta zibafudde lwa buvune nga kati twagala kukimalawo,” Magogo bwe yayongeddeko.

Mu birala, Magogo by’alangiridde mu 2020 mulimu okulambika akademi ku bye banaasomesanga, okutandikawo omupiira gw’amasomero ga pulayimale mu bawala, okuzimba ekisaawe kya Kadiba ne Lugazi wamu n’okutandikawo TV ya FUFA.

Ssentebe w’akakiiko ka Uganda Premier League (UPL), Arinaitwe Rugyendo yasiimye FUFA naddala olwa yinsuwa y’abasambi ne baddiifiri.

Ate ssaabawandiisi wa UPL, Bernard Bayinamani agambye nti ensengeka ya liigi ey’ekitundu ekyokkubiri, eneetera okufuluma.

Bp. Kibuuka asabidde emirembe mu ggwanga nga tweteegekera okulonda mu 2021

Bp. Kibuuka asabidde emirembe mu ggwanga nga tweteegekera okulonda mu 2021

Whatsappimage20200101at120617 703x422
Bp. Kibuuka ng’asaba Abakkiriza

OMUKABIRIZI w’e Kanisa ya Evangelical Orthodox mu Uganda, era nga y’akulira ekifo kya Mamre International Prayer Centre, Bishop Jacinto Kibuuka  asabye waleme kubaawo kuyiwa musaayi mu kulonda okubinda binda okwa 2021.

Bishop Kibuuka okwogera bino  yabadde mu kusaba kw’okuyita mu kiro ekiyingira omwaka 2020 wali ku Mamre International Prayer Center e Namugongo Jjanda n’alangirira omwaka 2020  ogujjudde amazima n’okuganja era nga Katonda yennyini y’agenda okugwekwatiramu.

Okusaba kuno okwetabiddwamu nnamungi w’abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, Bishop Kibuuka mwe yasinzidde n’asaba buli muntu waali okukuuma emirembe, okwewala ebikolwa eby’effujjo, nga balonda abakulembeze be baagala waleme kubaawo mbeera ya lutalo oluyinza okuviirako eggwanga okudda emabega.

Omwaka 2020 gwayingiddwa mu maanyi ageekitalo wakati mu kusaba n’okusumululwa awamu n’okutulisa ebiriroliro mu bbanga ng’akabonero ak’obuwanguzi.

Wakati mu kusaba okwamanyi, Bishop Kibuuka yalagudde eri ekibiina nga bwe watali muntu yenna agenda kuswazibwa , Mukama mwetegefu okugaziya ensalo zaabwe, okufuna ebyo bye baludde nga bayaayaanira awamu n’okuddizibwa ebyo byonna ebyabaggybwako bikubisibwemu emirundi Musanvu.

Poliisi ekutte abagambibwa okukyusa nnamba eziteekebwa mu masimu

Poliisi ekutte abagambibwa okukyusa nnamba eziteekebwa mu masimu

Dit1 703x422

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Crime Intelligence bakutte bamakanika b’amasimu babiri e Nansana nga kigambibwa nti be bamu ku kabinja k’abavubuka abakolagana n’abamenyi b’amateeka okukyusa nnamba eziteekebwa mu masimu ne kiremesa poliisi okuzirondoola.

Solomon Kyome 25, makanika w’amasimu ne Stephen Kibuuka 23 be baakwatiddwa. Ddayirekita wa Crime Intelligence, Col. Ddamulira Sserunjogi yategeezezza nti okuva poliisi lwe yakola ekikwekweto kya Tokora Operation mu Kampala mu mwezi gwa October, baakizuula nti amasimu agasinga tegalina nnamba za IMEI. Yagambye nti, baakizudde nga essimu ezisinga obungi ezibbibwa zitwalibwa mu bamakanika bano ne bazikyusa ne ziba nga tezikyakwatibwa.

Yayongeddeko nti Kyome ne banne balina ababbi be bakolagana nabo ababatwalira amasimu bo ne bakyusa ennamba zaago ne baddamu okugatunda. “Baggyamu ne layini nazo ne bazitunda era nnyini yo bw’ataloopa kugisalako bagyeyambisa mu kuwuliziganya mu bumenyi bw’amateeka.

We bakolera baazuddewo amasimu 45, laptop nnya, layini z’essimu19, fulaasi mukaaga ne kkompyuta. Kigambibwa nti bano era balina bannaabwe abagambibwa okwefuula abawandiisa layini z’essimu ezibuze kyokka bakozesa obukodyo ne babaggyako ebinkumu bya mirundi ebiri ne ndagamuntu ne bawandiisa layini za mirundi ebiri mu mannya ga muntu omu.

Emu bagiwa agisabye kyokka eyookubiri ne bagiguza abamenyi b’amateeka mu Kisenyi abazeeyambisa okukanda abantu ssente naddala nga abantu baabwe bawambiddwa. Abaakwatiddwa mu kuwandiisa layini kuliko; Abel Masakala ow’e Nsambya, John stallone Wafula ow’e Ndejje-Namasuba, Alex Musinguzi ow’e Makindye, Ismael Lubega owa Ddobi Zone e Makerere, Evelyn Kyobutungi ow’e Kibuye ne Robert Kwezira abeera e Lutete ku lw’e Gayaza.

Ddamulira yalabudde abantu okubeera abeegendereza ku masimu ge bagula kubanga agamu gabeera mabbe. Yagambye nti bakolagana n’ekitongole kya Uganda Communications Commission ekiteekateeka okusalako amasimu gonna agatalina nnamba za IMEI oba agaliko ezaakyusibwa okumalawo ekizibu kino.

Yagambye nti aba Crime Intelligence bakyayigga abali mu bubinja buno naddala abakyusa amasimu amabbe n’abakozesa layini z’amasimu okukola ebikolobero.

Musajja ki ono atonera Ameria emmotoka buli mwaka?

AMERIA Nambala bwe kitaba ‘kiwaani’ kati atambula avimba bwe bamutonedde mmotoka ku mazaalibwa ge.

Tuku1 703x422

Omanyi bwe baamuwadde mmotoka eno baagaanyi okwogera omuntu agimuwadde ne gyevudde ng’ate teriiko na nnamba ng’ate abamu ku mikwano gye bakimanyi taata w’abaana be akola ku payini mu Kampala we batundira mmotoka.

Akabaga kano kaabadde ku Mestil Hotel mu Kampala ku Ssande nga keetabiddwaako mikwano gye okwabadde n’abayimbi nga Bebe Cool, Dr. Hilderman,Victor Kamenyo n’abalala.

Eyamuleetedde mmotoka eno yagambye nti agimuwadde yagaanyi okumwogera kubanga kano kalabo katono ku by’alina okufuna.


Eyasangibwa n’ekiso azzeemu okukwatibwa

Eyasangibwa n’ekiso azzeemu okukwatibwa .

Dot1 703x422

POLIISI ekutte omusajja n’ekiso ekigambibwa nti kye yeeyambisa okutigomya abantu mu Kampala.

Arafat Namige ye yakwatiddwa abaserikale ababadde balawuna Burton Street nga bayambibwako abantu baabulijjo oluvannyuma lw’okumwekengera ng’aliko ebintu by’atadde mu kaveera era bwe baamwazizza baamusanze n’ekiso. Kigambibwa nti guno mulundi gwakubiri nga Namige akwatibwa n’ekiso nga ogwasooka yakwatibwa nga July 16, 2019 ku poliisi ya CPS .

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano,Luke Owoyesigyire yagambye nti Namige abaserikale baamwekengedde bwe baamulabye n’akaveera ke yabadde asitudde kwe kumuyimiriza.

Bwe baamwazizza baamusanze n’ekiso nga kigambibwa nti akikozesa okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka. “Yasindikibwa e Luzira kyokka bwe yayimbuddwa n’addamu okutigomya abantu,” Owoyesigyire bwe yategeezezza. Yagambye nti Namige afuna ejjambiya n’agikutulamu wakati n’agiwagala nga kiteeberezebwa nti gy’akozesa okusonga mu bantu b’anyaga n’okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka obulala.

NAMIGE AYOGEDDE

Namige akuumirwa mu kaddukulu ka poliisi ya CPS yagambye nti yatwalibwa mu kkooti kyokka n’ayimbulwa nga tewali bujulizi bumuluma mu musango ogwamuvunaanibwa.

Yategeezezza nti okuva lwe yayimbulwa mu kkomera abadde abeera ku katale e Nakasero w’afunira emirimu gy’okwetikka emigugu ate bw’annyuka n’anoonya ebyuma bya sikulaapu.

Wabula ku by’okumukwata n’ekiso, yalemereddwa okunnyonnyola by’akikozesa ebituufu kyokka n’agamba nti waliwo abantu abatamwagaliza abamuwendulira abaserikale entakera bamulemese omulimu gwe yasookerako okukola ogw’okutunda CD ku nguudo.

Namige yagguddwaako omusango gw’okusangibwa n’ekisi oguli ku fayiro nnamba SD 02/31/12/2019 ng’akuumirwa ku poliisi ya CPS mu Kampala.

Engeri amagye gye gaasazeeko Chaka Chaka

Engeri amagye gye gaasazeeko Chaka Chaka .

Tip14 703x422
Bobi Wine nga yeekubya selfie ne Chaka Chaka ne Barbie omwaka oguwedde.

AMAGYE gaasazeeko omuyimbi Yvonne Chaka Chaka ku wooteeri mwe yasuze e Nakasero.

Waabaddewo okusika omuguwa ku ky’okumutikka ku nnyonyi okumuzza e South Africa abalala nga bagamba nti okumugaana okuyimba mu Nkuuka kijja kuwa ekifaananyi ekibi naddala eri abalambuzi.

Wabula nga bagamba nti okumukkiriza asooke kukola bweyamo nti tajja kuyimba nnyimba ze okuli olwa Freedom (kuba ne Bobi Wine ayimba Freedom). Era aleme kwogera ku bya Bobi Wine oba ebyobufuzi bya wano.

Chaka Chaka, enzaalwa y’e South Africa yazze mu Uganda okuyimba mu Nkuuka mu lubiri e Mmengo nga December 31, ng’abantu ba Kabaka bayingira omwaka. Kyokka ku Lwokubiri ku makya amagye gaasazeeko wooteeri ya Pearl of Africa e Nakasero gye yasuze.

Abajaasi, poliisi abaabadde ne mmundu beegattiddwako abaserikale abaabadde mu leeya ne basalako ekkubo erigenda ku woteeri okuva ku kkubo eriyingira mu maka g’obwapulezidenti e Nakasero, okuyita ku kkanisa ya All Saints okutuukira ddala ku woteeri.

Ku mulyango gwa wooteeri we waabadde okwaza buli ayingira. Okukukkiriza okuyingira ng’osooka kunnyonnyola ky’ogenda okukolayo. Abalina kkamera bonna baazibaggyeeko. Abajaasi abalala baayingidde munda mu wooteeri ku ssaawa nga 5 ne balagira Chaka Chaka afulume.

Chaka Chaka (owookubiri ku kkono) ng’ayimba ku Seren ne Bobi Wine

Yabadde n’omu ku baamuleese Aloysius Matovu Junior era omu ku bategesi b’Enkuuka. Nga batuuse mu luggya lwa wooteeri, Matovu baamuggyeeko essimu ne bamulagira afulume mangu.

Chaka Chaka olwo n’asigala yekka n’abaserikale. Yabadde ayambadde ekitengi ng’asibye n’ekitambaala ku mutwe nga ku maaso ataddeko gaalubindi engazi ez’omusana.

Aba Bukedde abaakubye ebifaananyi, essimu zaabaggyidwako amagye ne gabisangula olwo Chaka Chaka ne bamulinnyisa emmotoka ne bamufulumya. Bukedde yayogedde n’abamu ku baserikale abaamukutte ne bagamba nti bakikoze kumutaasa n’obutaswaza Uganda oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo abaabadde bategese okumukolako effujjo mu Nkuuka.

Baagambye nti Chaka Chaka baamunnyonnyodde bye baabadde bazudde era n’akkiriza nga takakiddwa okugenda n’amagezi agaamuweereddwa obutayimba mu Lubiri. Wadde nga waabaddewo okufuba okulaba ng’akkirizibwa. Kigambibwa nti abajaasi kwabaddeko n’abeggye erikuuma Pulezidenti (SFC).

Omwogezi wa SFC, Jimmy Omara yategeezezza Bukedde nti yabadde mu kyalo Arua nga tamanyi byabaddewo ku Chaka Chaka. Kyokka oluvannyuma yategeezezza nti ebya Chaka Chaka byakoleddwaako poliisi, aba SFC tebabiriimu n’ajuliza omwogezi wa poliisi Fred Enanga.

Boofiisa ba poliisi baabadde n’olukiiko okusalawo ku ngeri y’okukomekkereza ebya Chaka Chaka. Bino okubaawo ebigambo byasoose kuyiting’ana nga Chaka Chaka bwe yabadde agaaniddwa okuyimba mu lubiri olw’ennyimba ze ezirwanirira eddembe lyobuntu okuli lwe yayimba ne Bobi Wine ku Serena mu July 2018 olwa Freedom   Bobi Wine ali mu Amerika     

Chaka Bobi Wine mu kiseera kino ali mu Amerika, kyasoose kutegeezebwa nti naye yabadde waakugenda mu Nkuuka. Ensonga zaayongedde okutabuka, Abeebyokwerinda bwe baategeezeddwa nti Abitex (Abby Musinguzi) owa People Power era omutegesi w’ekivvulu kino alina pulaani eyingiza ebya Bobi Wine mu Nkuuka.

Omwaka oguwedde Bobi Wine yayimba mu Nkuuka kyokka waasooka kubaawo kusika muguwa ng’abeebyokwerinda bamugaanyi.

Wabula baamukkiriza ayimbire Kabaka kyokka mu Lubiri n’egaanibwayo abambadde obukoofiira bwa People Power n’obusaati. Abategesi abalala Andrew Mukasa Bajjo ne Matovu nabo ba People Power era be babadde abategesi b’ebivvulu bya Bobi Wine ebizze bisazibwamu.

Bajjo ne Abitex baawaaba omusango mu kkooti nga bawakanya poliisi okugaana Bobi Wine okuyimba ne kivaako okubafiiriza ssente ze bassa mu bivvulu ebisazibwamu.

Chaka Chaka bwe yajja mu Uganda omwaka oguwedde mu kiseera Bobi Wine we yabeerera mu kkomera yamuyita Nelson Mandela wa Uganda era n’akunga Bannayuganda okukozesa buli kye balina okuli emikutu gya yintaneti okulwanirira gwe yayita “Mandela wange”.

Kyokka abategesi b’Enkuuka baabadde bakola ekisoboka okuli okubiyingizaamu abakungu ba Gavumenti okuli Minisita w’Ebyobulambuzi okulaba nga Chaka Chaka akkirizibwa okuyimba okwewala kye baayise okuwa Uganda erinnya ebbi ekiyinza n’okukosa ebyobulambuzi.

Mweyise nga Yesu abantu babeegombe

Ayagala okumwegomba mu nsi naddala ng’akuze alina kweyisa nga Yesu eyazaaliddwa

Abassandeschoolngabazinirayesugwebaagalaokufaanananawebuse 703x422
Abaana nga bazinira Yesu gwe baagala okufaanana

Abaana ba Ssande School mu kkanisa y’omutukuvu Steven e Kabowa bajaganyizza olw’okuzaalibwa kw’omwana Yesu ne bamuzinira amazina n’okumuyimbira ennyimba ezimutendereza.

 bato n ga batendereza esu mu ssanyu
Abato n ga batendereza Yesu mu ssanyu

Bano baakulembeddwaamu abasomesa ba Ssande School okwabadde muky. Teo Mukasa n’abalala nga bakira bakulembera ennyimba nga bwe bazinira wamu n’okuyimba.

Baabuulidde abato amakulu g’okuzaalibwa kwa Yesu era ne babakubiriza okweyisa mu mpisa ennungi ng’omwana Yesu bwe yakola.

“Omwana Yesu ng’akuze buli muntu yali amwegomba olw’empisa ze okuva obuto kale nammwe mufube mumufaanane,” muky. Mukasa bwe yagambye.

Poliisi erabudde abayimbi ne bapulomoota abategezi ebivvulu

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano alabudde abayimbi abalina omuze gw’okukwata ssente z’ebivvulu ne batalabikako nti anaaloopebwa wa kusibira mu kkooti avunaanibwe.

Images 703x422
Patrick Onyango

Yategeezezza nti waliwo abayimbi abalina omuze gw’okukwata ebivvulu ebingi nga n’ebimu bakimanyi bulungi nti tebajja kusobola kutuukayo olw’obudde oba okubeera mu bitundu eby’ewala.

Yawadde abategesi b’ebivvulu okuloopa abo bonna abanaabalyazamaanya kubanga batera okuvaako obusambattuko n’abacakaze okwonoona ebintu.

Alabudde ne ba pulomoota abalanga abayimbi ab’empewo nga bakimanyi tebagenda kuyimba.

Kyokka yagumizza Bannayuganda nti ebyokwerinda biri ggulu ggulu okusobozesa abantu okuyingira 2020 mu ssanyu.

Mwezze buggya mu bikolwa ne Yesu azaaliddwa

Abakristaayo abaagala okufuna omukisa ogutalina buyinike baweereddwa amagezi bazze buggya ebikolwa byabwe

Abakulisitaayobaststevenmukusabawebusetrue 703x422
Abakristaayo b’oku St. Stephen Kabowa mu kusaba

Abakristaayo mu busumba bw’e Kabowa bakubiriziddwa okukozesa omukisa gw’okuggya kw’omwana Yesu bezze buggya mu bikolwa n’okukkiriza balyoke bafune omukisa ogutalina buyinike n’okwetemera ekkubo erinaabatuusa mu Ggulu.

 musumba enry ukyamuzi ngabuulira
Omusumba Henry Lukyamuzi ng’abuulira
 

Omusumba w’ekkanisa eno, Henry Lukyamuzi bwe yabaadde abuulira mu kusaba ku kkanisa y’omutukuvu Steven e Kabowa yagambye nti, Yesu yazaalibwa okununula abalina ebibi era nga ye kirabo okuva ewa Katonda eri abantu be.

“Noolwekyo ky’ekiseera okwekebera mwambale ebyambalo ebitukula. Kubanga Katonda yatwagala kye yava atuwa omwana we buli amukkiriza aleme okubula wabula afune obulamu obutaggwawo,” Omusumba Lukyamuzi bwe yagambye.

Abantu yabakubirizza okukomya emize egy’obubbi, okutugumbula n’okutemula bannaabwe, enkwe, obulyake obuli bw’enguzi n’ebirala nti, kubanga bino bikontana n’ebigendererwa by’okuzaalibwa kwa Kristo.

 kwaaya ya t tephen abowa nga bayimba mu kusaba
Kkwaaya ya St. Stephen Kabowa nga bayimba mu kusaba

Omwaka gwe mukomekkereza mugulekere ebyo byonna ebibadde bibasibye muyingire omuggya nga muli baggya olwo mutuuke ku buwanguzi bw’ebyetaago by’emitima gyammwe.

Lukyamuzi bwe yakkaatirizza n’abakubiriza omwaka 2020 okuguyingira mu kkanisa era nga bategese okusaba okw’okuyita mu kiro ekya December 31 (leero) nga beebaza Katonda okubawanguza omukadde ate n’okubayingiza omuggya.

Ebintu 20 abasajja bye baagala bakyala baabwe bakole mu mwaka omupya

Omwaka bwe gubeera gutandika abantu ab’enjawulo balaga bye baagala bikolebwe. Ku nkomerero ya wiiki ewedde nagudde ku basajja abaabadde ku mbaga nga bali mu kibinja kya bantu munaana ne boogera ebintu 20 bye baagala bakyala (baganzi) baabwe bakole ne bye babasuubiramu mu 2020.

Images 703x422

Bino bye baayogedde yadde oluvannyuma waabaddewo abakyala abaabaanukudde.

1 Twagala nnyo akaboozi; abakazi tebalina kutulemesa oba okutwegayiriza nga twagala okwegatta. Temugezaako kututeerawo mbeera ya bukwakkulizo nga twagala okwegatta nammwe mu mukwano.

2 Omukazi bw’agejja ekisusse akaluubiriza mu kitanda ate ne bw’otambula naye bayinza okulowooza nti oli ne maama wo. Ow’engeri eno asaana okukola dduyiro n’okulya eby’ekigero okwewala okuyimbulukuka.

3 Abakazi batuyambe okufuga emimwa nga beewala okuyomba. 4 Bwe tubeera baakutambula babiri, omukyala alina okwekolako mu budde n’atatukeereya.

5 We tubeera tusobezza, temusaana kutukaayuukira, tusaana kuwabulwa mu ngeri etatulengezza.

6 Omukazi bw’abeera asobezza alina okwanguwa okwetonda n’okulaga nti tagenda kuddamu nsobi eyo.

7 Tunyumirwa okulya emmere ewooma, mufeeyo okuteekateeka. Ebyokufumba byonna muleme kubirekera bakozi b’awaka. Ate bwe kiba kyetaagisa kuyigirizibwa okusobola okufumba obulungi, kisaana kikolweko.

8 Tulina okubeera nnamba emu; so si baana, mikwano gyammwe, abooluganda lwammwe, bizinensi, eddiini oba ekintu kyonna ekitwetoolodde.

9 Mulina okulaga nti muli baagalwa baffe so si kweyisa nga bamaama abatuzaala. Mulina okukola ebitusikiriza n’okusanyusa amaaso gaffe nga tuli awaka naddala mu kisenge.

10 Mubeere beegendereza ate nga mussaamu n’obwongo nga musaasaanya ssente ze tubawadde oba ezammwe ze mulina.

11 Tufuna ebbuba! Mwewale okwesembereza ennyo abasajja abalala n’okubeera ennyo ku masimu. Musooke mutwebuuzeengako nga mugenda okukola emikwano n’abasajja abalala.

12 Temutukyaya baana waka nga mutwogerera. Mufube okulaba ng’abaana batwagala n’okusiima bye tubakolera.

13 Mutuyambeko okusasula ‘bbiiru’ z’awaka ng’ez’ama sannyalaze, amazzi, kasasiro, amafuta g’emmotoka n’ebirala naddala ku bakola ate nga mufuna ssente ezeegasa.

14 Mukomye okukwata essimu zaffe okukebera mesegi, whatsApp oba okukwata essimu ekubiddwa nga tetubawadde lukusa. Kibeera kibi n’okulumika nga twogera ku ssimu.

15 Mulina obutalaga busungu ssinga mubeera mukooye oba nga mukola emirimu gy’awaka n’okukola ku baana.

16 Temukaayuukira baaluganda lwa musajja oba okubalemesa okukyala awaka.

17 Mwambale bulungi mu ngeri eweesa omusajja ekitiibwa naddala nga tutambudde ffenna okwewala abayinza okutusunga. Bwe tubeera tutambulira mu mmotoka yaffe mwewale okulaga abatulaba nti waliwo omukoowu oba twafunye obutakkaanya!

18. Temugezaako kuwakana nga mulaga nti mmwe batuufu. 19 Mwewale okutugeya mu bakazi bannammwe, mu b’emikwano oba abooluganda lwammwe ne bwe tubeera tulina obunafu okugeza mu nsonga z’omu kitanda.

20 Mulina okulaga nti musiima okubalabirira n’okubagumiikiriza olw’okunyigirizibwa kwe tuyitamu nga tuli nammwe.

Aba ‘State House’ bakutte ebikola mu labalatole ebifu

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kulondoola ebyobulamu mu maka g’obwapulezidenti ekya State House Health Monitoring Unit, kikutte omusajja agambibwa nti abadde ajingirira amazzi agakozesebwa mu kukebera omusaayi.

Ku 703x422
Abakungu b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola ebyobulamu mu maka g’Obwapulezidenti nga beekebejja amazzi ge baakutte.

Eyakwatiddwa ye Edwine Tom Makoporo nnannyini Tograsta Co. Ltd e Kamuli mu Kireka oluvannyuma lwa bambega okumulinnya akagere nga bamuteebereza nti, ebintu by’atunda bya bicupuli.

Dr. Brian Arinaitwe eyakulembeddemu ekikwekweto kino yagambye nti, Makoporo ne banne abalala abatannakwatibwa babadde baakola ka kkampuni ak’ekimpatiira mwe babadde basinziira okujingirira amazzi ageeyambisibwa mu labalatole.

Dr. Arinaitwe yagambye nti, amazzi amajingirire Makoporo g’abadde akola ge gavaako ebyuma okugabira abantu ebivudde mu kukebera omusaayi ebifu n’agamba nti, kino kye kivuddeko n’abasawo okubulwa obulwadde ne babagamba nti balina ‘infection’.

“Infection, infection, infection buli w’ogenda bakugamba infection naye nga amazzi gano ge bakozesa okukebera omusaayi mu byuma ge gavaako ekyuma ne kitalaba bulwadde butuufu.” Arinaitwe bwe yategeezezza. 

Makoporo abadde yeekwata amalwaliro ag’amaanyi okuli ne Mulago okubaguza amazzi gano kyokka abadde agakolera mu kazigo k’abadde yapangisa e Kamuli – Kireka.

“Ng’oyagala okukakasa nti amazzi gano ge gavaako obuzibu, genda mu malwaliro asatu ag’enjawulo olabe, bajja kukuwa ebivudde mu musaayi nga tebifaanagana.” Dr. Arinaitwe bwe yategeezezza.

Baakutte bbookisi 80 ezaabadde zirindiridde okutwalibwa mu bakasitoma era Dr. Arinaitwe yagambye nti, zibalirirwamu obukadde bw’ensimbi 30 n’agattako nti, amazzi gonna ge baakutte, gakebera abantu 5,000.

Yagasseeko nti, n’obukebera obulwadde bwa siriimu obutundibwa mu bulwaliro obusinga bufu.

Makoporo yatwaliddwa ku poliisi y’e Ntinda gye yagguddwaako omusango gw’okutunda ebintu ebijingirire ebikozesebwa mu labalatole.

Spice Diana atuuse okuyita obukunya!

SPICE Diana ekivvulu kimuwuuba luno era wanaatuukira ku lunaku mulindwa ng’alabika takyalina ngoye.

Gaba 703x422

Owoolugambo waffe atugambye nti omuyimbi ono ennaku zino buli kivvulu kyagendako afunayo omuwagizi amusanyusa gwawa olugoye.

Alina gye yabadde akubira omuziki ku Ssekukkulu ne yeeyambulamu ekikooti n’akiwa omuwala eyabadde amuwaana.

Oluvannyuma beekubizza ebifaananyi okulaga omukwano n’enkolagana. Oba Spice Diana yamaze kulengera muwala ono nga yeezinze olw’obudde obwabadde bunnyogoga ennyo oba mutima mugabi? Nze naawe.

‘Bannayuganda mulime enva endiirwa’

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwenyigira mu bulimi bw’enva endiirwa ng’ekkubo ly’okutumbula enyingiza n’okulwanyisa ebbula ly’ebiriisa mu mibiri.

Babe 703x422
Abalimi nga basomesebwa okulima enva endiirwa.

Kamisona Consolanya Acayo bw’abadde atongoza ekibiina ekigatta abalimi b’enva endiirwa omwegattira abalimi, abakugu abalimisa, abatunda ensigo n’abalala bonna abaliko kye bakola mu kulima enva endiirwa okuyita mu kitongole kya Integrated Seed Sector Development Programme (ISSD) okulaba ng’omulimu guno gutwalibwa mu maaso mu ngeri y’ekikugu.

Kamisona w’ensonga z’abalimisa mu minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi Consolanya Acayo, agamba nti, Uganda esobola okufuna ssente nnyingi okuva mu nva endiirwa ssinga zitandika okulimibwa mu ngeri y’ekikugu n’omutindo ne gusitulwa.

Ekibiina kirimu bammemba abasoma mu 5000 nga bano bonna batendekeddwa abakugu okuva ku Wageningen Yunivasite y’e Budaaki mu nkola ez’enjawulo omuli okulonda ensigo, okulabirira ettaka, okuddukanya ennimiro, okulwanyisa obuwuka n’obulwadde, okunoonya akatale, okutunda n’ebirala.

Bano baayitiddwa ba Brigadier’, Acayo abakubirizza okugenda mu maaso nga babunyisa amagezi ge bayigiriziddwa eri abalimi abalala okusobola okulaba ng’abalimi abaagala okulima enva endiirwa naddala abavubuka bafuna obukulu bwe beetaaga.

“Mu magye, ‘Brigadier’ aduumira abaserikale 500. Naye twagala okubaako abalimi abalala 500 buli omu baakwatako okukyusa enkola zaabwe olwo tubeere nga tufuna abalimi abawera okwetoloola eggwanga”, Acayo bw’agamba.

Cate Nakatudde akwataganya eby’enva endiirwa mu kibiina kya ISSD, agamba nti, ekibiina kino kigatta abakugu mu bintundu eby’enjawulo era nga kigobereddwaamu okulaba nga Bannayuganda basobola okufuna ekifo we bafuna amagezi ge beetaaga okutwala obulimi bw’enva mu maaso.

“Tubadde n’obuzibu bw’okufuna amagezi g’ekikugu mu kulima enva endiirwa kuba tewabadde kifo muntu w’asobola kugenda n’afuna okumanyisibwa ku by’alina okukola. Okuyita mu kibiina kino, tukakasa ng’abantu baakusobola okufuna obukugu bwe beetaaga kuba buli mukugu tuli naye wamu”, Nakatudde bw’agamba.

Agamba nti, okulima enva endiirwa kikulu mu kukendeeza ebbula ly’emirimu kuba zeetaaga abakozi abawera okusobola okukwataganya buli kirina okukolebwa mu budde obutuufu okwewala ensobi.

“Ng’omulimi yeetaaga omukozi omu oba babiri mu yiika y’ebirime ebirala nga kasooli, omulimi w’enva endiirwa yeetaaga abakozi10.

Olw’okuba nti enva endiirwa zikula mangu, tewali budde bw’akutereeza nsobi, noolwekyo weetaaga okukola buli kimu mu butuufu bwakyo”, Nakatudde bw’agamba.

Akulira ekitongole kya ISSD mu Uganda Patrick Oyee, agamba nti, enva endiirwa zirimu ssente kyokka abazirina tebafunamu kuba obungi n’omutindo ebyetaagibwa tebituukirizibwa.

“Okusinziira ku kitongole ky’ebyokulya mu nsi yonna, buli omuntu yeetaaga okulya waakiri 200gms ez’enva endiirwa buli lunaku kyokka mu Uganda tuli ku 5gms-10gms olunaku. Kino kitegeeza nti ssinga Bannayuganda beeyongera okulya enva endiirwa n’omutindo ne gutuukirizibwa, enva endiirwa zisobola okufuuka bizinensi eyimirizaawo Bannayuganda”, Oyee bw’agamba.

Agamba nti, okutondebwawo kw’enkola eno awankuhhaanira abakugu ab’enjawulo, kyakuyamba okuwa abalimi obukugu bwe beetaaga okulaba ng’omulimu gwabwe bagukola mu ngeri y’ekikugu.

Eyagobye mukazi we atuuyanidde ku poliisi

SSEMAKA eyagobye mukazi we gw’alinamu abaana bataano mu nnyumba akaabidde mu maaso g’abaserikale n’abeegayirira obutamuyingiza mu kaduukulu ka poliisi.

Tense1 703x422
Ssekayi (wakati) n’abaserikale nga bamutwala ku poliisi. Namuyanja gwe baagobye.

Ramadhan Ssekayi, ddeereva w’emmotoka e Kawempe y’awuniikirizza abatuuze bwe yeefuulidde mukyala we, Hawa Namuyanja gw’abadde naye emyaka 28 n’amusuulira ebintu ebweru n’ekigendererwa eky’okuwasizaamu omukazi omupya.

Abatuuze nga bayambibwako abakulembeze ne poliisi bamulemesezza era okukkakkana ng’aggaliddwa e Kawempe ku poliisi.

Bino byabadde mu muluka gwa Kawempe I mu Kalule zooni. Namuyanja yagambye nti, “nabadde hhenze Katooke, Nansana kujjanjaba maama wange. Nagenze okudda nga baze ebintu byange abisudde wabweru. Bwe 

namubuuzizza ekigendererwa kye n’agamba nti takyanneetaaga.

Abadde yatusuulawo emyaka musanvu egiyise oluvannyuma lw’okufuna omukazi omulala. Bwe yategedde nti nvuddewo awaka kwe kusuula ebintu byange wabweru.

Namuyanja yeekubidde enduulu ku LC eyabasindise ku poliisi e Kawempe kyokka bwe baamuyise n’agaana okugendayo. Abatuuze beegayiridde Ssekayi aggulirewo mukyala we n’abaana kyokka ne yeerema.

Baamutabukidde era bwe yalabye nga kimuyitiriddeko n’agezaako okudduka kyokka ne bamutaayiza ne bamukwata. “Yatuuka n’okuhhamba tufumbize omwana waffe ow’emyaka 17 ng’ayagala ebyobugagga ne ng’aana.

Abaserikale baggye Ssekayi ku batuuze abaabadde baagala okumugajambula ne bamutwala ku poliisi.

Ssekayi yakaabye nga bw’alaajanira abaserikale obutamusiba kubanga talina musango ate alina n’obuvunaanyizibwa.

Oluvannyuma, Namuyanja n’abaana baayingizza ebintu mu nnyumba nga bakuumibwa poliisi n’abatuuze.

Namuyanja yalaajanidde minisita w’ensonga z’abaana n’abavubuka ayingire mu nsonga ze kubanga bba amwewerera okumukola ekikyamu.

Rashidah Naluwooza, kkansala wa Kawempe- North yavumiridde ekya Ssekayi okuvvoola eddembe lya mukyala we n’abaana n’asuubiza okulondoola ensonga zino.

Ssekayi yagguddwaako ogw’okuvaako obutabanguko mu maka era akuumibwa ku poliisi e Kawempe.

Abavubuka 100 bayingidde amagye mu Hoima

ABAVUBUKA okuva mu disiturikiti ttaano e Bunyoro okuli; Hoima, Kibaale, Kakumiro, Kagadi ne Kikuube abasukka mu 500 abeeyiye mu kisaawe e Booma – Hoima okwewandiisa okuyingira amagye bangi bazzeeyo bakukkuluma olw’obutabeera na byetaagisa.

Unit 703x422

Abaagaaniddwa mwabaddemu abalina empapula empewufu, ab’enkovukovu ku mibiri, amabwa n’ebintu ebirala.

Okusinziira ku mwogezi w’amagye ow’ekibinja ekyokubiri buvanjuba bwa Uganda Maj. Charles Kabona yagambye nti, abavubuka abakunukkiriza mu 500 be beeyiye mu kisaawe kya Hoima Booma Stadium okwewandiisa okuyingira amagye.

Maj. Kabona yannyonnyodde nti, ku mulundi guno babadde baagala aba S4, S6 n’abalina ebbaluwa mu bwayinginiya, kkopmyuta, obusomesa n,ebirala.

Yagambye nti mu disitulikiti ttaano baatutteabavubuka 105 ng’e Hoima baafunye 25, Kikuube 20, Kibaale 10, Kagadi 27 ate Kakuumiro 23.

Abasinga baaviiriddemu mu nnyiriri oluvannyuma lw’omusawo okubawndula n’abalala baagudde ebigwo nga badduka.

Abawala abaazaalako nabo baaganiddwa okuyingira amagye.

boogeraAbakozi mu bbaala basse omuntu abatuuze ne batabuka

ABATUUZE b’e Kasokoso balumbye ebbaala ya Eastern Pub nga balumiriza abakozi baayo okukuba mutuuze munnaabwe ne bamutta nga bamulumiriza okubuza emipiira gya ppuulu.

Bendover 220x290

Isma Mukasa 27, omutuuze w’e Kasokoso y’agambibwa okuttibwa abakozi mu bbaala eno omulambo gwe ne bagusuula wabweru.

Hamid Kivumbi ow’ebyokwerinda e Kasokoso yategeezezza nti essaawa zaabadde nga 11:00 ez’oku makya ne wabaawo okulwana mu bbaala eno wakati wa Mukasa n’abamu ku bakozi mu bbaala eno nga bamuteebereza okubuza ogumu ku mipiira gye bakozesa okuzannya ppuulu.

Oluvannyuma lw’akanyoolagano kano, kigambibwa nti abakozi bano baakubye Mukasa ne bamutta oluvannyuma ne bamuwalula ne bamutwala wabweru w’ebbaala abatuuze we baamusanze ku makya.

Abatuuze baakuhhaanye nga baagala kumenya bbaala eno n’okukuba abakozi baayo nga balumiriza bannannyini yo okubatulugunya buli lwe bagendayo. Wabula poliisi y’e Kasokoso yabaaguyidde n’ekuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Abawala babiri ababadde bakola mu bbaala eno baakwatiddwa ne batwalibwa ku poliisi y’e Kireka n’omuvubuka omulala eyabadde agezaako okutangira poliisi okubakwata.

Brian Ndugga omutuuze w’e Kasokoso yategeezezza nti Mukasa abadde teyeenyigira mu bumenyi bw’amateeka era kibi nnyo okubeera nga bamuttidde mu bbaala eno.

Kivumbi yayongedde n’agamba nti abatuuze baludde nga beemulugunya ku bbaala eno okubeeramu abamenyi b’amateeka era nga waliwo n’omuvubuka omulala Mugiri gwe baakubiramu.

Musa Sulaiman Ssekigudde omumyuka wa ssentebe w’e Kasokoso yategeezezza nti waliwo abamu ku batuuze abaamutuukirira nga beemulugunya ku bbaala eno. Baatuukirira nnannyini bbaala eno ne bamusaba akyuseemu ku ngeri gy’ayisaamu abatuuze naye n’atakyusa.

Ssekigudde yagambye nti bagenda kuyita bannannyini bbaala ez’enjawulo babage amateeka agalina okugobererwa nga bakola emirimu gyabwe.

Okusinziira ku mumyuka w’omwogezi wa poliisi owa Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, kigambibwa nti nga December 24, 2019, Mukasa yagenda mu bbaala eno n’atwala emipiira gya ppuulu kyokka mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga nga December 28, 2019, Mukasa yazzeeyo mu bbaala eno era bwe baamulabye ne batemya ku bannaabwe. Kigambibwa nti baasibyewo bbaala ne batandika okumukuba era bwe baakitegedde nti afudde, omulambo gwe ne bagukasuka wabweru.

Ayongeddeko nti, baakutte nnannyini bbaala eno n’abakozi basatu era bakuumibwa ku poliisi y’e Kireka nga poliisi bw’ekola okunoonyereza.

Abazigu bateeze owa ‘Mobile Money’ ne bamukuba amasasi

Byabaddewo ku ssaawa 2:00 mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga. Abazigu abaabadde batambulira ku ppikipiki etaategeerekese nnamba baataayizza Shafic Matovu 25 alina edduuka lya Mobile Money.

If 703x422
Matovu mu ddwaaliro

ABAZIGU abemmundu bataayizza owa ‘Mobile money’ e Matugga ne bamukuba amasasi ku mikono nga bagezaako okubba kyokka n’abasimattuka.

Amasasi yagakubiddwa nga yaakasibawo edduuka lye adda awaka. Amasasi gaamukutte ku mikono.

Wabula abazigu olukwe lwabwe lwagudde butaka, Matovu naye bwe yabatebuse naddukira mu ‘super market’ okumpi awo e Matugga. Eno abadduukirize gye baamusanze ne bamutwala mu ddwaaliro okujjanjabibwa.

Matovu eyasangiddwa mu ddwaaliro e Mulago ng’apooca n’ebiwundu ku mikono gyombi yannyonnyodde nti Allah ye yamuwonyezza okufa.

“Nabadde mmaze okunnyuka ku mulimu we nkolera ku ssaawa bbiri nga nzira waka. Nayimirizza boodabooda okuntwala ewange Matugga. Olw’okuba nkola gwa ‘mobile money’ nneekengera buli muntu era bwe nva ku mulimu sikola nsobi kutambuza bigere, nnyimiriza boodabooda okunyanguya.

Ku luno olwabadde okutuula ku ppikipiki, twatambuddeko katono kwe kuwulira ekintu ekibwatuka emabega waffe.

Saasoose kulowooza nti bazigu, n’alowoozezza nti osanga mupiira gwa mmotoka, kyokka bwe natunudde emabega kwe kulengera abantu ku ppikipiki nga batugoba era wano ekirowoozo we kyanzijjidde nti baabadde babbi.

Nabuuse ku boodabooda ne nziruka okumpi ne we twabadde tutuuse mu ‘supermarket’ ya Don. Bwe nneekebedde, kwe kukitegeera nti amasasi gaabadde gankutte ku mikono gyombi.

Wano aba ‘supermarket’ we bannyambidde ne banzirusa ku ddwaaliro lya Sadina Abubaker. Ebyembi, eno abasawo bantegeezezza nti embeera yange baabadde tebaagisobole kwe kwongezebwayo e Mulago.

Amasasi agaakubiddwa Matovu gaamukutte ku mikono gyombi era ng’olumu ku lugalo lwasesebbuse.

Ismail Ssengendo akolera okumpi ne webaakubidde amasasi yategeezezza nti yabadde mu dduuka nga baliko kasitoma gw’aweereza kwe kuwulira amasasi nga gavuga naye n’atasooka kukifaako.

Yannyonnyodde nti oluvannyuma baakizudde nti waabaddewo omuntu eyabadde akubiddwa kyokka n’adduka kiwalazima olwo nabo kwe kukuba enduulu.

Yagambye nti enduulu yasombodde abantu abaabadde okumpi n’ekifo era wano abaabadde bagoba Matovu we beemululiridde.

Agamba nti tebaasobodde kwetegereza bazigu wadde ennamba ya ppikipiki kwe baabadde.

Kyokka Ssengendo yayongedde n’ategeeza nti kino we kijjidde nga waliwo n’omusuubuzi omulala abadde yaakakubibwa amasasi mu kitundu ng’ono yafuna obuvune na buli kati atambulira ku miggo.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yategeezezza nti, poliisi yaakweyambisa obujulizi bw’abantu abaalabye ekyabaddewo n’obwa kkamera z’oku luguudo okunoonya abatemu bano.

Paasita Mukisa akubirizza abantu okuba abakozi mu 2020.

Omusumba w’ekkanisa ya Triple Blessings e Namulanda, David Mukisa ategese okusaba kw’okuyita mu kiro nga December 31, 2019 mwagenda okusabirira eggwanga okubukalamu emirembe ssaako okukubiriza abantu okukola mu mwaka omupya ogwa 2020.

Whatsappimage20191228at173420 703x422
Paasita Mukisa

Omusumba w’ekkanisa ya Triple Blessings e Namulanda, David Mukisa ategese okusaba kw’okuyita mu kiro nga December 31, 2019 mwagenda okusabirira eggwanga okubukalamu emirembe ssaako okukubiriza abantu okukola mu mwaka omupya ogwa 2020. 

Akwataganye naba Masrob events e Bunga ekulirwa Robinson Masembe abagenda okukola ku mizindaalo n’entimbe ggaggadde okulaba ng’abantu bonna balaba buli ekigenda mu maaso.

Kuno kwe kumu ku kusaba okugenda okuggalawo omwaka 2019 ssaako okwaniriza omuggya 2020 ng’okusaba okulala kugenda kubeera ku Lutikko e Namirembe, e Namboole, e Kololo, ku kisaawe kya Old Kampala, n’amakanisa amalala.

iteegi
Siteegi

Njagala kutandika bya kwegatta naye mbitya.

SSENGA nnina emyaka 17, njagala kutandika kwegatta kyokka mbitya kubanga nkyasoma mu S4. Nsobola ntya okukikola ne sifuna lubuto?

Fana703422 703x422

EYO embeera mwana wange teriiyo. Sooka osome olyoke olowooze eby’okwegatta kubanga okyali mwana muto.

Osobola okufuna olubuto oba siriimu ne kikufiiriza emikisa mingi mu maaso. Ekirala, abasajja tebakyalina buvunaanyizibwa, bw’ofuna olubuto ng’akwegaana.

N’ekirala mwana wange emyaka gy’olina teginnaba kutuuka kuzaala era abawala bangi bafuna obuzibu omuli okutonnya nga bazaala.

Oyinza okuba ng’olina banno abakugamba okutandika naye kimanye abo si ye ggwe kubanga buli kintu kirina ekiseera kyakyo.

Bad Black akubye Don Bahati eggiraasi Don

BAD Black asiiwuuse empisa n’akuba Omusama Don Bahati eggiraasi y’omwenge ku mutwe mu bbaala. Emusaze waggulu okumpi n’eriiso era ddyo olwo n’amuleka ng’atiiriika omusaayi n’alinnya bboodabbooda n’abulawo.

Wanna1 703x422
Bad Black n’omulenzi obwedda atamuva ku ‘bbampa’. Don Bahati ng’alaga empapula z’omusango. Ate wansi ng’ali ne Betty Mpologoma.

Babadde ku kabaga ka Don Bahati mu bbaala ya Guvnor mu kiro ekyakeesezza Olwokutano era nga entabwe yavudde ku Bahati okutabukira Bad Black eyabadde amukanda ssente n’amulangira okwavuwala n’aggwaamu kubanga yabadde talina k’avaako.

Bino nga tebinnabaawo, baasoose kunyumirwa era baabadde batudde ne mu kusala keeke baagisaze bonna. Keeke eno Bahati musama w’e South Africa gye yagabudde abawagizi be abeetabye ku kabaaga ke ke yatuumye ‘Money, Fame & Power’ mu Club Guvnor.

Bakira Bahati atumya omwenge ogw’ebbeeyi ogw’okumukumu okwabadde; Moet, Red ne Black Label n’ebika ebirala nga nagwo bagunywera wamu nga bw’agabula n’abantu be abalala.

Mu kiseera kino munda mu Club Guvnor mwabadde mujjudde abantu nga tolina na w’oyisa kigere era olw’essanyu Bahati eyabadde yeeyita empologoma y’abasama anywera omwenge mu ntobo y’eccupa bwe n’okwewaana nti “nkikubye abasunzi mwongere omwenge” yacamuse n’atandika okugabira abantu ssente ate endala nga bw’azikasuka ne bazirwanira.

ku ssaawa nga 10:00 ez’ekiro, Bad Black obwedda agamba nti, Bahati yabadde amusuubizza okumuwa ku ssente yeekengedde nti, Bahati yandiba ng’azigabye ne ziggwaawo nga tamuwaddeeko.

Yasumuludde ekisawo kya Bahati okulaba oba mulimu ku ssente enddala kyokka kyamuweddeko ekisawo obwedda ky’asuubira nti, kirimu ssente okusangamu ekikooti kyokka. Wano Bad Black yatabukidde Bahati nga bw’amubuuza lwaki amutuuzizza essaawa ezo zonna mu bbaala ng’akimanyi talina ssente z’agenda kumuwaako.

Bahati mu busungu yakutte akazindaalo n’alagira Bad Black okuba omwavu era nti yaggwaamu era tamanyi ky’amwagaza.

“Black nvaako si nze eyakumalamu. Wansabye okujja ku ‘ppate’ yange nga ndowooza oli, mukwano gwange naye ndowooza abalabe bange ggwe gwe baatumye. Sinnaba kukusuubiza ku ssente be nasuubizza ssente nzibawadde kati gwe simanyi ky’onjagaza ate nga nkugulidde n’omwenge obwedda onywa gwa bwereere.”

Black naye eyabadde asuukiira yamwanukuzza na kumukuba ggiraasi mwe yabadde anywera omwenge ku mutwe n’emusala waggulu ku liiso. Bakanyama ba Guvnor baamufulumizza nga bw’amuwereekereza ebigambo nti, “Oyo tamanyi gw’amanyiira, eg giraasi ngimukubye lwa kummanyiira nga talina ssente.”

Ye Bahati yasibidde ku poliisi ya Jinja Road n’aggulawo omusango ku Bad Black (Shanita Namuyimbwa) ogw’okumukuba n’amulumya oguli ku fayiro nnamba SD: 02/27/12/2019.

Kusasira azzizza omuliro ku by’okumukuba obucupa

Kusasira ng’ayogera ne Bukedde ku makya g’Olwokutaano yagambye nti abaamukubye tebamanyi byabufuzi na nsonga za bukulembeze bwe zitambula.

Kuba 703x422

Yannyonnyodde nti bannabyabufuzi abamu beefuula abaagala enkyukakyuka nga beekwasa nti tebafugiddwa bulungi ng’ate ebikolwa byabwe tebiwa kyakulabirako kya nkyukakyuka ya mirembe gye boogerako, eteeka ekitiibwa mu ddembe ly’abalala.

Yagambye nti ekyo kiba kitegeeza nti enkyukakyuka gye baagala eruubirira kumalako bantu balala ddembe lyabwe; n’akkaatiriza nti, “Omuntu atasobola kugumiikiKusasira 

riza munne bwe baawukana mu ndowooza z’ebyobufuzi n’atuuka n’okumukuba, agamba atya nti anaasobola obukulembeze!”.

Yagambye nti ateebereza nti abaamukubye beebo abeeyita ab’ekisinde kya People Power ekikulemberwa Bobi Wine.

Nga tannayogera ne Bukedde, Kusasira yasoose kuteeka kiwandiiko ku mukutu gwe ogwa ‘Facebook’ ng’ayanukula kw’ebyo ebyamutuuseeko e Nabugabo ku Lwokuna wansi w’omutwe ogugamba nti, ‘You can not take away freedom to protect it….’ Ekivvuunulwa nti, “Toyinza kusaanyaawo ddembe ng’ate ly’ogamba nti ly’olwanirira….” era n’annyonnyoola nti anoonya eddembe tasooka kusaanyaawo ddembe lya balala.

Yalambuludde nti: Tosobola kusooka kwonoona katale ate k’ogamba nti k’olwanirira, oba okwagala okulwanirira eddembe ly’okweyogerera naye ng’soose kugaana balala kwogera na ddala abo be mutakkaanya nabo mu ndowooza. Yagasseeko nti, “Okuggyako abalala eddembe lyabwe nga mwefuula abalwanirira eddembe ly’abantu kiba kya bunnanfuusi. Nze nkyali mugumu kakobogo, ebyabaddewo tebintiisa.”

Kusasira nga tannasalawo kukulemberamu okusaggulira Museveni obululu naddala mu Ghetto za Kampala n’emiriraano, yayimbirako Bobi Wine mu kampeyini ze yalimu ku kifo kya Kyaddondo East kye yawangula mu 2017.

Oluvannyuma yagamba nti abawagizi ba Bobi be baamusalirako e Kasangati ne bamukaka okubayimbira balyoke bamukkirize ayitewo bwe yali ava okunoonyeza eyali yeesimbyewo ku kkaadi ya NRM, Sitenda Sebalu akalulu.

Kusasira y’omu ku bayimbi abaali mikwano gya Bobi Wine nga bombi tebannayingira byabufuzi, wabula enjawukana z’ebyobufuzi zivuddeko abawagizi ba Bobi Wine okumutabukira.

Omuze gw’okukuba abayimbi obucupa olw’ensonga z’ebyobufuzi guzze gukula era omwaka oguwedde, abacakaze baakuba Moses Ssali amanyiddwa nga Bebe Cool obucupa ne bamuggya ku siteegi nga teyeesiimidde bwe yali mu kivvulu e Lugogo nga bamulanga okuwagira Pulezidenti Museveni.

Mu kiseera ekyo waaliwo obunkenke, nga Bobi Wine yaakamala okukwatibwa mu kavuyo akaali mu Arua akaavaako okuttibwa kwa ddereeva Yasin Kawuma gwe baakubira amasai mu mmotoka ya Bobi Wine era Bobi Wine naye yali ajjanjabwa olw’ebisago bye yafuna wabula Bebe Cool ng’agamba nti baamukuba naye agezaako okulwanyisa abaserikale nti era ne mu bimu yali asavuwaza ng’agezaako okulaga ensi nti yakubibwa nnyo.

Bugingo atutte Suzan ewa Bugembe

Aloysius Bugingo yalinnye ku siteegi ewa Pasita Wilson Bugembe n’asuulamu akayimba: “Labayo bwe kiri ekirungi abooluganda okutuula awamu…”olwo abantu ne baanukula n’enduulu wakati mu kubwatuka kw’engalo.

Kyawa3 703x422
Bugingo ( ku ddyo ) ne Bugembe nga bali mu kkanisa.

Bugingo yayimbye akutte ku kibegabega kya Bugembe ng’akabonero k’okutabagana.

Baabadde mu kivvulu kya Bugembe ku Worship House e Nansana nga December 26.

Bugembe ne Bugingo bamaze emyaka 10 nga bagugulana kyokka omusumba Simoen Kayiwa owa Namirembe Christian Fellowship n’abatabaganya.

Okuggyako buli omu okukoona munne ng’asinziira mu kkanisa ye, ensonga yennyini eyabatabula tebagikoonako.

Okuggyako Bugingo okulumba Bugembe lwe yakyaza Maama Fiina ku kkanisa ye n’amulangira nti kyabuswavu okukyaza omusamize ku kkanisa.

Bugingo ne Suzan Makula mu kusaba.

Bugembe naye abadde alumba Bugingo nti akola ebintu ebitali bya Bulokole.

Era Bugingo bwe yawawukana ne mukazi we Teddy Naluswa, Bugembe n’amulumba olw’engeri gye yayisaamu Teddy n’atuuka n’okumulangira bwe yalwala ekikulukuto gattako Bugingo okuyingizaawo omukazi omulala Susan Makula ng’ate yalayira okubeera ne Teddy okutuusa okufa.

Bugembe yategeezezza nti ekkanisa ye eyaniriza buli muntu okuli n’abayimbi. N’agamba nti ewuwe gye baggya amafuta ne bakyuka.

Yawadde eky’okulabirako kya Spice Diana eyakyuka mu nneeyisa nga kati Katonda amutwala ng’eky’omugaso mu bulamu bwe.

Bugingo eyazze n’omugole Susan Makula Nantaba yaguze ensawo za seminti 200 ziyambeko ku kkanisa empya Bugembe gy’azimba e Nansana.

  ugingo ngasabira ugembe afukamidde
Bugingo ng’asabira Bugembe afukamidde.
 


Oluvannyuma yasabye Bugembe okufukamira wansi era Bugingo n’abasumba abalala ne bamusabira afune omukyala amutegeera.

“Wakulira mu nnaku essaala yange egamba nti omukazi yenna anaakulabya ennaku ne bw’oba ng’omusimye otya Katonda amubuzeewo mangu aleete atalikulabya nnaku mu linnya lya Yesu, Amiina.” Bugingo bwe yasabye.

Abayimbi okuli omunigeria David Ekene, Herbert Twina, Joseph Ngoma, Spice Diana ne Dr. Hilderman be bamu ku baayimbye mu kivvulu kino.

Omukazi bamusse ne bamusonseka ebiveera mu kamwa

ABATUUZE b’e Bwaise baakeeredde mu ntiisa, bwe baasanze munnaabwe ng’attiddwa. Abaamusse kigambibwa nti baasoose kumusobyako ne bamusonseka ebiti ne biveera mu kamwa n’ebitundu by’ekyama, omulambo ne bagusuula mu Zooni eriraanyeewo. Edin Ssanyu 30, ow’omu Jambula Zooni mu Kimombasa ye yattiddwa.

Pp 703x422

Owa poliisi ng’atangira abantu okugenda mu kifo awaabadde ettemu.

Omulambo gwe gwasangiddwa nga guteereddwa mu kimu ku biyumba omusuulibwa kasasiro mu maka ga Roy ne Eliphaz Bugingo mu St. Francis Zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Bugingo yagambye nti baazuukuse ku makya ne balongoosa awaka nga bulijjo.

Omwana eyatutte kasasiro mu kifo we bamuyiwa ye yabayise n’abalaga omulambo gw’omuntu nga guli mu kasasiro.

Engeri omwana gy’ali omuto yatugambye nti alabye omusajja nga yeebase mu kasasiro era nasoose kulowooza nti omutamiivu bulijjo asula ku lubalaaza lw’ennyumba.

Kyokka bwe twagenze mu kiyumba, amaaso gaatuukidde ku mulambo gwa mukazi nga guli bukunya. Twategeezezza aba LC nabo abaayise poliisi okuva e Kawempe ne baguggyawo.

Abatuuze olwalabye omulambo, baamutegeereddewo nti gwa Ssanyu kubanga abadde amanyikiddwa e Bwaise mu Kimombasa. Bagambye nti abadde akola emirimu mingi okuli n’okwozza engoye nga yava Kagadi okujja e Kampala.

Abanoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kawempe baleese embwa enkonzi y’olussi nga yasibidde mu muzigo gw’omu ku batuuze mu St. Francis awasuuliddwa omulambo. Ono mupangisa ku nnyumba za Jariah Namudaala.

Omuzigo embwa ya poliisi kwe yasibidde gwabadde mita 100 n’ekiyumba awaasuuliddwa omulambo, nga waasangiddwa nga waggale kyokka ng’olutimbe luli bweru.

Abatuuze baatabukidde poliisi ne bagirangira obutafaayo kubanga obumenyi bw;amateeka bungi mu kitundu kyabwe.

Luke Oweyesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, yagambye nti waliwo eyakwatiddwa ng’atebeerezebwa okuba mukobanne y’okutta Ssanyu.

Ettu lya Ssekukkulu: Poliisi ewadde ebiragiro ku bifo omukung’aanira abantu

POLIISI ewadde ebiragiro ku bifo ebikuhhaaniramu abantu abangi mu Kampala okusobola okukendeeza ku bubbi obukudde ejjembe naddala ku bantu abazze okusuubula.

Kulu 703x422

Ssentebe wa siteegi ya Masaka mu ppaaka empya, Henry Kabiito ng’annyonnyola Mwebaze (owookubiri ku ddyo) ku mbeera mu ppaaka yaabwe.

Kino kiddiridde omukazi Cathy Wanyana eyavudde e Kyotera n’ajja mu Kampala okusuubula ne bamubba emmaali ya Kulisimaasi yonna gye yabadde asuubudde.

Wanyana yagambye nti, yabadde ava kusuubula engoye za bukadde bubiri ng’adda waabwe e Kyotera. Bwe yatuuse mu ppaaka empya, omusajja omu n’amugamba nti, takisi ye eneetera okujjula ayagalayo abantu babiri bokka.

“ Nabadde n’omugugu omusajja ne musaba ankwatireko kyokka nga we tuyita waliwo akanyigo, kwe kwetooloola atusange mu maaso, wabula sazzeemu kumulaba!”

Kino kyasitudde akulira poliisi n’omuntu waabulijjo mu Kampala, David Mwebaze n’akkirira mu bifo awakuhhaanira abantu abangi era wonna we yayise, yalese awadde ebiragiro bye balina okugobererwa.

Yatandikidde ku Standard Mega okuliraana ppaaka enkadde ne bayingira mu ppaaka enkadde n’alagira abakulira siteegi okubeera abeegendereza ennyo naddala ku bantu be beekengera.

Mwebaze yalagidde abakulembeze ba siteegi okukolagana ne poliisi basobole okulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu biseera bino ebya Ssekkukulu.

Baagenze ne mu ppaaka empya, ssentebe wa siteegi y’e Masaka, Henry Kabiito n’abaloopera nti, obubbi mu ppaaka bukudde ejjembe.

Baawadde ne baddereeva ebiragiro obutavugisa kimama kubanga baagala okudda e Kampala okukima abasaabaze abalala n’agamba nti, baayisizza etteeka teri mmotoka ekkirizibwa kukola luutu bbiri y’ensonga lwaki baayongezza ssente z’entambula.

Eric Kamwine, ssentebe wa siteegi y’e Rusheere – Kazo yagambye nti, balina obuzibu bw’abanene mu poliisi ne mu magye abagenda mu byalo okulya Ssekukkulu abavuga nga bwe baagala n’abavuzi ba tuleera abatawa kitiibwa mmotoka ntono abaavuddeko ne munnaabwe okufiira mu kabenje.

Mwebaze yatuuseeko ne mu Kisenyi Bus Terminal ne bamuloopera abakuumi abatafaayo kukebera bantu bayingira ppaaka.

Mwebaze yagambye nti, baawadde ebiragiro kubanga poliisi eyagala Bannayuganda balye ennaku enkulu nga bali mu mirembe nti kyokka abantu abasinga balagajjavu tebafaayo ku bintu byabwe ekiwadde ababbi omwagaanya.

Ebyentambula ya Ssekukkulu: Agenda e Masaka tolina ky’okima mu kibuga!

NGA Ssekukkulu ekonkona ku luggi, omugotteko gw’ebidduka mu kkubo gweyongera buli lukya,kino kyeraliikiriza ennyo abatambuze naddala abo ababa bagenda mu byalo okuliira awamu ennaku enkulu n’abantu baabwe.

Map3kampalamasaka703422 703x422

Vision Group etwala olupapula lwa New vision ne Bukedde ekugonderezzaamu ggwe agenda okuliira Ssekukkulumu mu disitulikiti  nga; Mpigi, Masaka ne Ssembabule, ekulaze ekkubo mw’oyinza okuyita amangu n’otatawaanyizibwa kalippagano ka bidduka.

Abasuubuzi kati bali mu keetalo okulaba nga bizinensi zaabwe zizza amagoba, ebifo ebimu mu Kampala nga Kikuubo, awali Akeedi ez’enjawulo n’amaduula g’ebyamaguzi tolina w’oyisa kigere olw’emmotoka ezitikka n’okutikkula eby’amaguzi wamu ne bakasitooma ababemberedde mu kibuga okwegulira ebya Ssekukkulu.

Bw’otuuka mu ppaaka za mmotoka ne bbaasi ezisaabaza abantu okubatwala mu byalo, osanga ennyiriri z’abantu empanvu, amazima nga bw’oba waakugenda mu kyalo olina kukeera nnyo oba okugumira omusana oluusi n’enkuba okukuggweerako ng’oli mu nnyiriri.

Okusinziira ku kitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo ekya  Uganda National Roads Authority(UNRA), abantu abava mu Kampala wakati okugenda mu disitulikiti y’e Masaka, Mpigi oba Ssembabule, musobola okulinnyira mmotoka ku siteegi y’e Natete eziyita wansi e Kabojja n’e Kyengera okwewala ennyiriri n’omugotteko.

Abava mu munisipaali y’e Kira, Kayunga n’ebitundu bya Jinja Road,mu kifo ky’okujja mu Kampala, musobola okulinnya mmotoka ku siteegi y’e Kira eziyita e Kasangati-Matugga-Masuliita okutuuka e Nsangi.

Obw’oba oviira Entebbe osobola okulinnyira ku siteegi e Kusubi eziyita e Ssisa-Nakawuka-Kisozi-Kitemu ne mugatta ku luguudo lw’e Masaka.

Oba mu ngeri y’emu, abava Entebbe musobola okukozesa oluguudo lwa Seguku oluyita e Buddo okwanguyirwa okugatta ku lw’e Masaka.

Ebisale by’entambula eri abadda mu byalo bipaaziddwa

OBUNGI bw’abantu abagenda mu byalo okulya ennaku enkulu buvuddeko ebisale by’entambula okulinnya ku nguudo ez’enjawulo.

Face 703x422

Mu ppaaka za bbaasi ezimu okuli eya Namayiba , Global Coaches eya Kampala mukadde, Kisenyi Bus Terminal, Arua Park n’endala kati kikwetaagisa okulindako okumala akaseera okufuna bbaasi etikka .

Bannannyini bbaasi bagamba nti abantu abatambula beekubidde oludda lumu oluva e Kampala okudda mu byalo ng’abava mu byalo batono nnyo nga bbaasi bakomyawo nkalu kino ne kibawaliriza okulinnyisa ebisale okufuna ssente z’amafuta.

Jude Tumwine maneja wa bbaasi za Global yagambye nti ssente entonotono ze baayongeddemu zaakaseera katono ng’ebisale bigenda kuddayo nga bwe bibadde ku 20,000/- okuva mu Kampala okudda e Mbarara. Wabula nga kati omuntu ava e Kampala kimwetaagisa 30,000/- okugenda nga kino kitegeeza nti bayongeddemu 10,000/-.

Ye Jackson Wacibra maneja wa GAAGAA yagambye nti, ‘Wadde naffe abali mu mulimu guno kekaseera we tukolera ku kasente, essira tusinga kulissa ku byakwerinda n’obulamu bw’abasaabaze.

“Ekiseera kino tutwala obudde nga tukyetegekera era bbaasi zaffe zikoleddwa bulungi okuzisobozesa okutambula obulungi ssaako ne baddereeva nga bali bulindaala okusobola okutuusa abaasabaze gye bagenda mu mirembe,” Wacibra bwe yagambye.

Ku ky’ebisale aba GAAGAA baayongezzaamu 5,000/- ku buli lugendo. Okuva mu Kampala okudda Lira awabadde ku 20,000/- kati 25,000/- n’ebitundu ebirala gye bakolera.

Mu ppaaka ya Namayiba awali bbaasi ezidda e Mbale , Soroti n’okweyongerayo kw’ossa ebitundu ebirala abantu abatambula baabadde bakyali batono era ng’ebisale tebinnalinnya kuva ku 20,000/-.

Nelson Ssekandi maneja wa ppaaka ya Namayiba yagambye nti wadde abantu abatambula olw’ennaku enkulu baba bangi, bakola kyonna ekisoboka okulaba nga babawa obukuumi nga bakyali mu ppaaka.

Yagambye nti ppaaka yonna omuli n’ebifo abasaabaze we batuula okulinda bbaasi byonna babyetoolozza kkamera ezirondoola buli muntu ky’akola okusobola okukwata abanyakuzi b’ensawo n’obumenyi bw’amateeka obulala.

Mu ppaaka za ttakisi ez’enjawulo omuli empya, enkadde, eya Namayiba ne mu Kisenyi wadde ng’ebisale bibadde tebinnakaalaama, abasaabaze bakwatiridde 

kumpi ku buli siteegi.

ABATTAKISI KYE BAGAMBA

Robert Ssekitooleko amyuka ssentebe wa ppaaka empya yalabudde abasaabaze okwongera okuba abeegendereza naddala ku baana n’ebintu bye batambula nabyo.

Yawadde abasaabaze amagezi obutalinnya ttakisi nga tebagikoppolodde nnamba okusobola okugirondoola ssinga obaako ebintu bye weerabiddemu oba obuzibu obulala.

ABASAABAZE MUGOBERERE BINO

Ssekitooleko yalabudde abasaabaze okwewala okulinnya ttakisi ezitikkira wabweru wa ppaaka ne ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala kubanga ezimu za bamenyi ba mateeka.

Gavt. ekoze bajeti ya bukadde 1,160 okutuuza Bp. Kazimba

NAMPALA wa Gavumenti Ruth Nankabirwa ategeezezza nti, gavumenti ekoze embalirira ya bbiriyoni emu n’obukadde 160 nga ze zigena okukozesebwa mu kutuuza Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen Kazimba Mugalu n’okusiibula Ssaabalabirizi Stanley Ntagali.

Images 703x422
Bp. Kazimba Ssaabalabirizi omulonde.

Nankabirwa nga ye ssentebe w’akakiiko akategeka emikolo gino, yategeezezza bannamawulire ku kitebe ky’Obusaabalabirizi e Namirembe wakati mu kwetegekera okutuuza Ssaabalabirizi omuggya nga March 1, 2020 mu Lutikko e Namirembe.

Nankabirwa yagambye nti ssente zino zigenda kukozesebwa mu kusasula ebyuma, okulaga omukolo ku ntimbe, ggaggadde kuba abantu omutwalo ogumu abasuubirwa okubeera ku mukolo guno bonna tebajja kuyingira mu Lutikko.

Yagambye nti ebintu ebirala omuli; okugula mmotoka eneeweebwa Ssaabalabirizi omulonde, okuliisa abantu abanaaba ku mukolo, okupangisa emizindaalo, okusasula abagenda okuweereza mu bintu eby’enjawulo ku lunaku olwo, okuddaabiriza ennyumba ne ofiisi z’Obusaabalabirizi ssente zino ze zigenda okubikola.

“Wadde Pulezidenti Museveni ayinza okuba n’obuyambi bw’atuwa omuli n’okugula mmotoka, kino tekitunafuya kutuula butuuzi wabula tuli mu kulaba nti tufuna ssente zino olwo naye bw’anaaba atuwadde twongerezeeko naye nga tetumwesigamyeko mu nsonga ezimu.” Nankabirwa bwe yayongeddeko.

Nankabirwa yayongedde n’ategeeza nti wateereddwaawo obukiiko obw’enjawulo obugenda okutambuza omukolo omuli akakiiko k’ebyobulamu ak’okulondoola abafunye obuzibu n’endwadde, akakiiko akagenda okukulemberamu emikolo gy’okutuuza, akakiiko akakola ku byentambula z’abagenyi abagenda okwetaba ku mukolo, akakiiko akavunanyizibwa ku kutambuza ebbaluwa mu ofiisi ez’enjawulo, akakiiko akavunaanyizibwa ku byensimbi, akakiiko akakulembera abagenda okuwereza n’okutendereza.

Akakiiko akavunaanyizibwa ku byokwerinda, akabunyisa amawulire n’ako akagenda okulondoola ebyokulya n’entuula y’abantu nga buno bwonna bukolera wansi w’akakiiko akakulu akaalondebwa Ssaabalabirizi Ntagali nga September 20, 2019 akakulirwa Nankabirwa ng’amyukibwa Gen. Katumba Wamala.

“Tusobodde okufuna ssente okuva mu bantu ab’enjawulo nga ne baminisita baasobodde okumpaayo obukadde 25 bwe nsuubira nti bugenda kukola eky’amaanyi mu nteekateeka z’emikolo gino.

Abantu abava ebweru omuli bannaddiini n’abantu abalala basoba mu 100 naye nga twakakakasaako abantu 50 abagenda okutweyungako ku lunaku lw’omukolo.”

Nankabirwa bwe yayongeddeko. Kazimba waakutuzibwa nga March 1, 2020 mu Lutikko e Namirembe era ng’omugenyi omukulu agenda kuba Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni.

Bba wa Julie Angume ayogedde ku by’okusazaamu embaga yaabwe

EBIZIBU bya Julie Angume eby’okwanjula ekifaananyi byeyongedde, embaga ye nayo bw’esaziddwaamu.

Angu1 703x422

Julie nga yeetegereza ekifaananyi kya bba kye baaleese mu kwanjula.

Ku mbaga abantu bangi kwe babadde beesungidde okulaba ku bba, Sam Musoke Sekajugo.

Wabula yasaziddwaamu olw’enkaayana mu famire ng’abekika abataasanyuka olwa bba obutalabikako ku kwanjula ate bakitegedde nti ne ku mbaga tebagenda kumulabako, kubanga batono abaabadde balondeddwaamu okugenda e Nairobi gye babadde bagenda okugattibwa.

Embaga ebadde etegekeddwa ku Ssande nga December 22, 2019, mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

Abagole babadde baakugattibwa wa ddiisi oluvannyuma basembeze abagenyi abatonotono mu wooteeri.

Bukedde yayogeddeko ne Sekajugo ku ssimu ku nsonga ezigenda mu maaso n’abaako by’annyonnyola, wadde nga teyalambuludde nsonga eyamugaana okugenda e Kyankwanzi ku kwanjula ng’agamba nti ya kyama era singa agyogera ayinza okwejjusa obulamu bwe bwonna n’okufuuka ekisekererwa mu bantu.

ABAKWATIBWAKO BAAMANYA EBYEKIFAANANYI

Sekajugo obwedda ayogeza essanyu nga bw’awaana Julie yagambye nti byonna ebyakolebwa baasooka kubikkaanyaako oluvannyuma lwa famire zombi ey’omukyala n’omwami okwogerezeganya.

Bba wa Julie Angume ayogedde ku by’okusazaamu embaga yaabwe “Okuggyako emikwano egy’ebbali naye abazadde n’abalala abakwatibwako ku njuyi zombi ekyaliwo tekyabeewuunyisa kubanga baali bakimanyi.

alt=''

Bazadde bange, Omumbejja Evelyn Ndagire, taata Tom Musoke, Kojja Moses Jjuko ow’e Budaaki, Omulangira Tom Kasimbe ow’e London mwannyinaze Jackilyn Nakanwagi eyavudde e Bufalansa bwe baba nga baasobodde okwetaba ku mukolo guno guba tegujjudde?” Bwatyo Sekajugo bwe yabuuzizza n’agattako nti ekifaananyi kiba nnyongereza naye nze ndowooza buli kimu kyatambudde bulungi.”

Yayongeddeko nti okumanya ensonga ye nkulu era yeetaaga okukwata n’obwegendereza, ne bwe yagiyitiramu Afande Emilian Kayima abadde ssentebe w’enkiiko za Julie, yamuwagira obutajja asooke abimalirize kyokka yawakanyizza ebyogerwa nti anoonya butuuze n’antegezezza nti buno yabufuna dda.

EMBAGA YA MWAKA GUJJA

Ku ky’okusazaamu embaga, Ssekajugo yagambye nti omukolo baagwongezzaayo okutuusa mu December wa 2020 era ku mulundi guno gugenda kubeera mu Uganda era n’akakasa nti ajja kubaawo mu buntu.

“Okuva okwanjula bwe kwaggwa, ebigambo bibadde bingi nga buli muntu ky’asanga ky’ayogera era okusinziira ku mbeera eriwo, twasazeewo omukolo tugwongereyo nga n’abantu bwe bakkakkana.

Ekirala twali tuteeseteese omukolo gwa bantu 400 naye twesanze nga buli muntu ayagala kwetaba ku mbaga.

Okutambuza abantu bano bonna okubatwala e Nairobi, okubaliisa n’okubasuza kyetaagisa ssente nnyingi ezitaliiwo mu kiseera kino,” Sekajugo bwe yagasseeko.

Alayi dde okufii ra ku Julie Bwe yabuuziddwa oba ddala Julie amwagala ne ku ky’abakazi abalala b’azze asuubiza okuwasa n’atakituukiriza, Sekajugo yasoose kuwaana Julie nga bw’abuuza nti “Amazima ddala ggwe bw’olaba Julie akamwenyumwenyu n’akanyiriro k’aliko singa mbadde simwagala yandibadde nabyo? Ate mbakakasa hhenda kumwagala ebiriyo mmulage laavu obutamujuza.”

Ku ky’abawala abalala Sekajugo yasoose kwewozaako nti “si mufere ng’abantu abamu bwe bakimuteekako. Ndi muntu waabuvunaanyizibwa era omukulembeze wa Bannayuganda mu Budaaki.

Ekirungi aboogera bagamba nabasuubiza naye kati bakitegedde nti gwe njagala ebituufu ye Julie era y’ensonga lwaki twakoze omukolo. Nze sikyalangako waabwe wa muwala yenna, Julie y’asoose era gwe njagala abalala bali ku byabwe.”

Ayoge dde ku bya Nnaalongo Sekajugo obutalabikako ku buko nga bamwanjula abantu abamu baakitadde ku Nnaalongo we gwe bagamba nti yeekiise mu mukolo, wabula Sekajugo bino yabiwakanyizza n’agamba nti wadde Nnaalongo gy’ali babeera naye mu Budaaki, tebakyalina nkolagana buli omu ali ku bibye kale yabadde tasobola kumulemesa mukolo.

Empapula za Sekajugo tezinnate reera? Julie bwe yabuuziddwa lwaki bba talabiseeko ku kwanjula, yategeezezza nti bakamaabe be baamulemesezza olw’emirimu, wabula ensonda zaategeezezza Bukedde nti, Sekajugo akyagoba mpapula za butuuze mu Budaaki nga bw’ageza n’ajja mu Uganda tasobola kukkirizibwa kuddayo.

Amateeka ga Budaaki galaga nti ssinga omuntu yenna aba asaba obutuuze obwa ‘asylum’ oba obw’okunoonya obubudamu, takkirizibwa kukyala mu nsi ye. Bw’akikola, kiba kitegeeza nti eby’okunoonya obubudamu aba takyabyetaaga.

Wabula asobola okugenda mu nsi ey’omuliraano n’alaba ku bantu be. Mu mbeera eno, embaga bwe yasooka okutegekebwa e Nairobi, Sekajugo aba talina tteeka lya Budaaki ly’amenye.

Wabula Sekajugo yamalirizza ng’agamba nti obutuuze bw’e Budaaki abulina era si kye kimugaana okutambula kubanga azze atambula mu nsi ez’enjawulo naye alina obumulumulu bw’atasobola kutegeeza buli muntu obumulobera okujja e Uganda.

Wadde yayogedde bw’atyo, waliwo abalowooza nti Sekajugo ali kuno e Makindye gy’atera okubeera.

Abatuuze bakubye ebituli mu mirimu gya Poliisi y’oku Kaleerwe

Abatuuze bakubye ebituli mu mirimu gya Poliisi y’oku Kaleerwe

Kal1 703x422
Abamu ku batuuze abaakwatiddwa abeemulugunya nga bali ku poliisi y’oku Kaleerwe

ABAKULEMBEZE n’abatuuze  abatwalibwa Poliisi y’oku kaleerwe bemulugunyizza ku basirikale abakola ebikwekweto ne babaggyako abantu ensimbi.

Ng’ebula enaku mbale okutuuka mu naku enkulu poliisi z’omu kampala zizze zikola  ebikwekweto by’okunoonya abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka nga ku Kaleerwe poliisi eyambibwako aba LDU abakulembeze n’abatuuze abasooka okubisanyukira kati babyevuma nga bagamba abasirikale ekigendererwa kyabwe kunoonya ssente mu bakwatiddwa wabula si kubavunaana bumenyi bw’amateeka.

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe yategeezezza nti  abakulembeze tebagaana poliisi kukola bikwekweto kuba ekitundu kirimu abamenyi b’amateeka bangi wabula
poliisi evudde ku mulamwa nga bayoola abantu abamu okuva mu mayumba
gaabwe ku mirimu nga tekuliko ba LC.

Yagasseeko akulira ba mbega ku poliisi eno bwafuuse  ekizibu nga talina mukulembeze gwawa kitiibwa ne basirikale banne abakwata amataayi mu lujjudde lw’abantu .

Sulaiman Kakoozza omu ku batwala eby’okwerinda mu lufula y’oku kaleerwe yategeezezza nti  wiiki ebbiri emabega Poliisi ne LDU baakola ekikwekweto  ne bakwata  abavubuka  abasoba 30 omwali n’abasuubuzi be mbuzi  ng’ekikwekweto ky’adduumirwa James Waigo akulira ba mbega , yagasseko nti abasuubuzi Dan Ssemakula 1200,000/ ne Abdu Akim Kizito yamuggyako 800,000/  ng’ekisinga okubewunyisa baabasanga ku mulimu we bakolera.

Omu ku bambega ba poliisi ku kaleerwe eyatidde okwatukirizza amannya ge yategeezezza nti abatuuze  batuufu kuba mukama waabwe nabo abayisamu amaaso ng’atuuka n’okuyomba singa bayimbula omusibe nga tasasudde ssente  ng’era azze alemesa emisango mingi n’egiriko obujulizi ng’ekikulu ayagala ssente.

                           POLIISI EYOGEDDE
Luke Owoyesigyire omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiraano yategeezezza nti abatuuze basooke bekubire  enduulu ewa DPC we Wandegeya  ku musirikale gwe balumirizza okulya enguzi bw’ekigaana okugonjolwa beyongereeyo mu kitongole kya poliisi ekikwasisa empisa bwekiba tebakyesiga bagende , ewa IGG oba ekitongole kya State House ekirwanyisa enguzi  omusirikale akangavulwe 

Kola bino munyumirwe eggandaalo lya Ssekukkulu n’omwagalwa wo

SSEKUKKULU n’okumalako omwaka kiba kiseera kya njawulo. Bwe kituuka mu baagalana, kiba kiseera kya kupima omukwano buli omu gw’alina eri munne,kubanga buli omu aba alina by’asuubira okuva eri munne.

Mazzi 703x422
Bano baabadde Nateete nga bakwata vidiyo ya Chris Evans.

Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abafumbo agamba nti mu ggandaalo lino, buli muntu mu mbeera ye oba mu nnyingizaye asobola okulufuula olunyuvu singa buli omu abeera akitade mu mutima ne yeekwata obukodyo buno.

1 Sooka weetunulemu. Abaagalana buli omu kozesa ekiseera eky’ennaku ezisigaddeyo weetunulemu nga weebuuza, mbadde maama oba taata omujjuvu? Bw’oba olina we wasobya weetonde.

2 Tunula mu mpuliziganya yammwe. Akamu ku bukodyo essaawa eno abafumbo ke batateekeddwa kulekayo kwe kussaawo empuliziganya ennungi wakati wammwe. Kino kijja kubayamba ne bwe wanaabaawo ebisobye mujja kwanguyirwa okwetereeza.

3 Okutonera munno ekirabo. Kino kyolesa okwagala kw’olina eri munno. Okutona tekulina kubeera ku ludda lumu. Abakazi batera Lwakubiri December 17, 2019 Ssenga okukitwala nti be balina okutonerwa, ekitali kituufu.

4 Obuyonjo awaka. Kino kikulu nnyo, era abazadde mwembi muvunaanyizibwa wadde omukyala alina enkizo. Fuba okulaba nga buli w’ozza eriiso wakusanyusa, okuviira ddala mu kisenge kyammwe.

5 Faayo ku nnyambala y’omwami wo. Abakyala bangi batuuka ekiseera nga takyafaayo oba bba ayambadde lugoye ki. Kyokka bw’oba onookakasa balo nti ddala gwe mukyala gw’alina okubeera naye lubeerera kozesa akakodyo k’okumuyonja mu biseera bya Ssekukkulu. Ku babeera mu byalo, osobola okumumwa ekyenyi, okumusala enjala z’engalo n’ebigere ne kalonda omulala okukakasa nga muyonjo ddala.

6 Awaka walina okubaawo emirembe. Ennaku zino ziba za kusanyuka. Tositula ntalo na kujjukiza munno ebitaatambula bulungi. Amaka gammwe gafuule ekifo buli omu we yandyagadde okuwummulira.

Abantu abamu basalawo okuva awaka eggandaalo ne balimalira awalala lwa kwagala kufuna mirembe. Noolwekyo omukyala oba omwami kino kye kiseera ekituufu okulaba ng’eddembe libugaana awaka, emboozi ezinyumizibwa awaka zibeere za sannyu, okwejjukanya ebirungi bye muyiseemu mu mwaka.

7 Mugule ebyawaka ebipya. Bino byongera ebbugumu awaka, era buli omu ajja kulaba nga ddala ekiseera kye mulimu kya njawulo. Ng’oggyeeko engoye n’engatto, musobola okugula eby’omu Okukyusa ekisenge tekitegeeza kuva mu kisenge kimu odde mu kirala, oba okugula ebintu ebipya, wabula kirimu bingi;

 Osobola okukozesa obutto bwe mwezizika n’oteekako obugoye obusikiriza amaaso.

Bw’oba olina obusobozi oyinza n’okugulayo obutto obwakolebwa mu ‘shape’ ez’enjawulo nga obw’omutina, sikweya, obwetooloovu n’endala. Ojja kulaba ng’ekisenge kyo kikyuse, ate nga tokozesezza ssente nnyingi.

 Essuuka. Zino nazo osobola okuzizannyisa ng’ozaala mu ngeri ey’enjawulo, ekisenge ne kirabika bulungi.

 Obugoye bw’omu kisenge. Abakyala abamu weesanga ng’obugoye abukozesezza okumala omwaka mulamba awatali kubukyusa. Bw’oba n’obusobozi kino kye kiseera okugulayo obupya, bujja kwongera ebbugumu mu mukwano gwammwe. Kyusa ekitanda okitunuzeeko awalala, ojja kwesanga ng’ate ekisenge kyammwe kikulabikidde bulungi, okusinga bwe kibadde.

 Okukyusa amataala. Abantu bangi balina amataala agaaka ennyo mu bisenge kyabwe. Ku luno muyinza okukyusa ne muteekamu ku balubu eyaka empolampola, ojja kulaba nga waliwo enjawulo mu kisenge kyammwe era n’omukwano bw egutyo.

 Oyinza n’okusiiga langi empya. Eno ejja kwongera okulabisa obulungi ekisenge kyammwe, ate ng’ojja kwesanga nga teyeetaaga ssente nnyingi. Funa ekwatagana obulungi n’entimbe eziri mu kisenge, ojja kulaba ng’eggandaalo lya Ssekukkulu libanyumidde okukamala.

Ettu lya Ssekukkulu: Agenda mu kyalo okulya Ssekukkulu goberera bino oleme kubbibwa

NG’EBULA mbale Ssekukkulu etuuke, Bannakampala abaagalaokugiriira mu byalo gye babazaala abamu baatandise dda okugenda mu byalo.

Kano 703x422
Bano baabadde mu siteegi y’e Kiboga mu ppaaka empya.

Akeetalo mu kibuga wakati kaamaanyi ate bwe kwegattiddwaako enkyukakyuka ezikolebwa omuli okukyusa enguudo ne kiyitirira. Emmotoka ezimu zaakyusibwa okuva mu ppaaka empya n’enkadde nga kati ozisanga mu ppaaka mu Kisenyi oba mu Usafi.

Kino kikaluubiriza abasaabaze naddala abatatera kuyita mu kibuga era bangi beesanga nga babbiddwa olw’obuteekakasa wa gye bagenda okulinnyira emmotoka.

Rashid Ssekindi owa KOTSA nga y’akulira ebikwekweto bya siteegi z’emmotoka zonna wansi wa KOTSA mu Kampala akulaga engeri bannakibuga wamu n’abatambuze abakozesa takisi gye balina okwerindamu obutabbibwa naddala mu mnaku zino enkulu ng’omujjuzo guyitiridde mu kibuga.

1Ttakisi ezitikkira ku nguudo. Obulabe obuli ku mmotoka zino abasaabaze abazitabuliramu abamu babeera babbi nga bakozesa obukodyo ng’okutereeza oluggi naddala lw’omu maaso.

Abasaabaze abasinga naddala abo abatera okutuula mu maaso bamanyi okubategeeza nti “tereeza oluggi’’ ng’eno bwe basokoola ssente, essimu n’ebintu ebirala omusaabaze by’aba atadde mu nsawo, naddala essimu ne ssente.

Kirungi bw’oba olinnya takisi, ogisange mu ppaaka kubanga eno kizibu okutikka ng;abagirimu babbi.

Ekirala, ebintu byo bwe biba bikubuzeeko mu takisi gy’olinnyidde mu ppaaka, kiba kyangu okubifuna kubanga bw’okomawo ku siteegi bamanya ddereeva eyakututte ne batandikira awo okunoonya.

2 Abeetissi b’emigugu. Oluvannyuma lw’okukyusakyusa mu byentambula mu Kompala, ebyentambula byongedde okukaluba. Omuntu yenna alina ebintu ebizitowa, ateekeddwa okufuna amusitulirako oba oweekigaali.

Wabula ababbi bangi beerimbika mu kusitula emigugu, era bw’otoba mwegendereza, akubulako n’omugugu gwo. Kirungi ofune omwetissi alina ettaawo n’ennamba y’ettaawo lye ogikwate mu mutwe. Kino kijja kukwanguyiza okumufuna ssinga abeera akubuzeeko kubanga otuukirira abamuvunaanyizibwako ne bamunoonya.

3 Abeefuula abalagirira abantu. Omuntu yenna aludde okujja mu Kampala bw’akituukamu ayinza okulowooza nti waali wakyamu olw’enkyukakyuka ezikoleddwa. Abafere wano we batandikira okubuzaabuza abatamanyi nga beefuula ababalagirira, okukkakkana nga bababbye. Noolwekyo bw’obeera mu paaka nga tomanyi mmotoka z’ogenda okulinnya we zisimba, buuza baggayidi abambadde amataawo, okusinga okubuuza buli gw’osanze.

4 Weewale abazannya zzaala. Bano mu Kampala baakazibwako erya ‘Ani akalengedde’. Mu biseera nga bino baba bangi. Ng’oggyeeko okwetaba mu muzannyo, n’okuyimirira we bali kyabulabe kubanga baba beetooloddwa babbi. Kyangu okukusala ensawo ng’otunuulira abazannya.

5 Weewale okwekukuutiriza awali akanyigo. Wadde akanyigo kangi olw’abantu abadda eno n’eri, manya nti abamu abatambula si baguzi era tebalina gye balaga, wabula baagala kubba. Noolwekyo bw’oba osobola weewale ebifo by’olaba nga mulimu abantu bangi, waakiri saliinkiriza ewala naye otuuke ng’ebibyo byonna obirina.

6Weegendereze ng’oggya ssente ku kyuma ne mobile money. Wano ababbi bangi we bateegera. Noolwekyo bw’oba oggyayo ssente wekkaanye okwewala okuzikubbako.

BY’OLINA OKUSOOKA OKUKOLA NGA TONNALINNYA TAKISI

lSsekindi yagambye nti, sooka okoppe ennamba ya takisi nga tonnagirinnya. Kino kikuyambako bw’obeera obbiddwa oba nga weerabiddemu omugugu gwo, kiba kyangu okugufuna.

lLinnya emmotoka esimbye ku siteegi eyo gy’olaga. Emmotoka endala ne bw’eba mu paaka naye nga tesimbye ku siteegi eyo gy’olaga, tekyandibadde kirungi kugirinnya.

lBw’obaako kye weekengedde mu mmotoka ekutwala, oli waddembe okulagira ddereeva okuyimirira n’ogivaamu.

lSsinga agaana okuyimirira osobola okuleekaana abanaakuwulira bajja kugigoberera bakutaase.

KCCA KY’EYOGERA KU BYENTABULA MU KISEERA KINO

Peter Kauju omwogezi wa KCCA yategeezezza nti tebakkiriza takisi kutikkira ku kkubo. Nga KCCA baateekawo dda ekiragiro ekiwaliriza takisi zonna okutikkira mu ppaaka ezaabagambibwa okwewala omugotteko mu kibuga.

“Abantu bonna abatambula okudda mu byalo balina okugumira enkyukakyuka nga bagenda mu ppaaka ezimanyiddwa okwewala okutaataaganyizibwa mu ntambula zaabwe kw’ossa n’okubbibwa ababbi nga bali mu makubo.”

OMWOGEZI WA POLIISI ANNYONNYODDE

Luke Owoyesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yategeezezza nti mu kaseera kano bali bulindaala naddala eri abo abamenyi b’amateeka nti baakubakwata mu buli kanyomero gye banaabeera beekukumye.

Agumizza abantu bonna abatambula mu kiseera kino nti babeere bagumu kubanga kyenkana buli wamu abapoliisi bagoberera buli ekigenda mu maaso era abasajja baabwe bali bulindaala nnyo.

Wabula yasabye abatwala kkampuni zonna ez’ebidduka okukolera awamu ne poliisi singa wabaawo gwe bateebereza okuba omumenyi w’amateeka mu ppaaka z’emmotoka ne ku nguudo nga basaabaza abantu.

Yigiriza omwana okunaaba engalo kimusobozese okuyita mu luwummula nga mulamu

Engeri gy’oyigiriza omwana okunaaba engalo ne zitukula okugoba obuwuka obubalwaza

Handwashing7webuse 703x422
Omusawo ng’ayigiriza abaana okunaaba mu ngalo

uyigirize abaana okunaaba obulungi mu ngalo okusobola okutangira endwadde eziva ku bujama kibasobozese okuyita  mu luwummula naddala eggandaalo lya Ssekukkulu nga balamu bulungi.

Okunaaba engalo lye limu ku makubo lye tuyinza okukozesa okusobola okuyigiriza abaana okwerinda endwadde eziva ku bujama baleme kulwala.

Dr. Sabrina Bakeera Kitaka, omusawo w’abaana n’abavubuka e Mulago agamba nti, obulwadde obusinga buva mu ngalo zaffe okugeza; embiro, obuwere, ssennyiga n’endala. Jjukira mu kiseera kino, abaana bazannya ne bakwata buli gye basanze, bagenda emmanju ne bakwata ku bintu ebijama ate ne bakwata ku byokulya nga tebanaabye ngalo ekibaviirako okulwala embiro omuli ekiddukano ky’omusaayi, omusujja gw’omu lubuto, okusesema n’ebirala.

 baana nga bagezesa bye babagambye mu kunaaba engalo
Abaana nga bagezesa bye babagambye mu kunaaba engal

Okunaaba engalo ne zitukula bulungi kitwala eddakiika ttaano zokka.

Tobya engalo zo n’amazzi amayonjo n’oluvannyuma osiigemu sabbuuni, yenga okole ekyovu kya sabbuuni.

Naaba mu ngalo bulungi ozisokoole mu njala, mu mpataanya, mu kiseke ne ku mukono nga bw’ozikuuta n’ekyovu kya sabbuuni n’oluvannyuma zinyumunguze n’amazzi amayonjo.

Bw’omaliriza, zisiimuule zikale bulungi kubanga bw’olekako amazzi, obuwuka buyinza okuzitambulirako n’olwala.  

Abaana basaana okukuuma engalo nga nnyonjo n’okusala enjala zireme kutereka buwuka ekibasobozesa okwekuuma nga balamu bulungi.

Engeri ennyangu ey’okugula ebintu

Engeri ennyangu gy’ogula ebintu eyby’omutindo ku mutimbagano n’owona okulinnyirirwa mu kibuga

Binobyebimukubintubyomumakaebigendaokutundibwawebuse 703x422
Ebimu ku bintu by’osobola okugulira ku mutimbagano

Okusinziira ku nsi bw’ekulaakulanye okuyitira mu tekinologiya, abantu ennaku zino  tekikyabeetaagisa kugenda Bulaaya oba okugenda ku maduuka okugula ebintu eby’enjawulo.

Osobola okugula n’okusasulira  ebintu byonna bye weetaaga nga weeyambisa omutimbagano. Kino kiyamba okufissa obudde n’okolamu ebintu ebirala era n’okumala ssente ng’otambula kubanga ebintu bikusanga wonna w’obeera oli.

Ron Kawamara, akulira Jumia Uganda  ekimu ku bitongole ebitunda n’okugula ebintu ku yintaneeti agamba nti,  balina bakasitoma  bangi abettanidde enkola eno.

 Kawamara ayongerako nti, wadde ebintu ebitundibwa ku mutimbagano birungi era nga bawa bakasitoma ebbanga eggere okubyekenneenya oba nga ddala bikola bulungi kyokka waliwo abasuubuzi abatunda ebintu ebitali bya mutindo.

Eno y’ensonga lwaki babangula bakasitoma baabwe ku ngeri gye bayinza okukebera ne balaba ebyamaguzi ebitali bya mutindo.

‘’Nsaba abantu abagula ebintu ku mitimbagano obuteesiga bakayungirizi wabula bagule ebintu byabwe nga boogedde n’omukozi waffe butereevu okwewala okugula ebintu ebyebicupuli,” Kawamara bwe yalabudde.

Birah Masette, omu ku bantu baguze ebintu ku mutimbagano agamba nti, bwe yali tannatandika kukozesa mutimbagano okugula ebintu  eby’enjawulo yayingiranga ekibuga okugula ebintu oluusi natafuna kyennyini ky’ayagala naye olw’okuba yabanga atutte obudde bungi mu kibuga olwo n’agula kyonna ky’asanze obutafiirizibwa budde bwe.

Oluusi bye yagulanga nga tebikola bulungi ate okukizzaayo nga bakigaana olwo n’afiirwa.

Agamba nti, bwe yatandika okukozesa omutimbagano ayinza okutwala wiiki nnamba ng’anoonya ebyamaguzi by’ayagalira ddala era bw’amala okubifuna  n’abisasulira bwe bimutuukako aweebwa ennaku musanvu okukakasiza ddala nti, bimukoledde. Bwe kiba tekikoze aweebwa ebbeetu okukizzaayo.

Gladys Nkayivu naye agamba nti, okuva lwe yatandika okugula ebintu ku mutimbagano taddanga mabega.

‘’Omutimbagano gunnyambye kubanga nsobola okugula ekintu nga ndi mu ddiiro lyange oba ku mulimu era ne bakintuusaako we mbeera mbagambye nga tebansabye ssente za ntambula.

Ku bintu ebinene nga firiigi oba kkuuka babituusiza ddala awaka  nga bayita mu ndagiriro gye mbawadde era nabyo sisabibwa nsimbi ndala. Wabula kino basinga kukikola nga basaze ku miwendo gy’ebyamaguzi byabwe naddala mu nnaku enkulu.     

Lydia Wamala, omu ku bakitunzi ba ‘Kikuu’ kkampuni endala etundira ebyamaguzi ku mutimbagano agamba nti, enkola eno eyamba abantu bangi okugula ebyamaguzi eby’omulembe okuva mu nsi z’e Bulaaya.

Omuntu aguze ebintu ku mutimbagano okuyita mu bo bamusaba okubikozesa  okumala ennaku musanvu era bwe kiba tekimukoledde olwo n’akizzaayo ne bamuwaamu ekirala. 

Ghetto King acankalanyizza e Kisenyi ng’agaba ebya ssekukkulu

Ghetto King acankalanyizza e Kisenyi ng’agaba ebya ssekukkulu

Get1 703x422
Ghetto King n’ebintu byatwalidde abantu b’omu Kisenyi

GHETTO King acankalanyizza abatuuze b’omu kisenyi wano mu Kampala bwabadde agenzeeyo okutwalira abaana ba Ghetto ebintu bya ssekukkulu.

Ghetto King azze n’olukalala lw’emmotoka era abantu oluzirabye nga ziyingirawo mu Kisenyi nabo ne baziwerekera okutuuka awabadde wategekeddwa omukolo gw’okugabira ebyassava bya Ssekukkulu.

Ebimu ku bintu Ghetto King by’awadde abaana kuliko Sukaali,engoye, Ssabbuni,omuceere n’emigaati.

Omukolo guno gwetabiddwaako abantu ab’enjawulo omwabadde Full Figure omuwabuzi wa Pulezidenti ,Kabaya eyeyita pulezidenti wa Ghetto n’abalala

Ensonga lwaki Museveni yakyusizza baminisita

NG’EBULA ebbanga ttono okulonda kwa 2021 kubeerewo, Pulezidenti Museveni yalangiridde kabineeti esookedde ddala mu kiseera era esuubirwa okumuwanguza akalulu.

Alina 703x422
Pulezidenti Museveni ne minisita Anywar eyasala eddiiro okuva mu FDC.

Kabineeti empya erimu baminisita aboogerwako ng’abakuliridde okuli; Ali Kirunda Kivejinja 84, ne Gen. Moses Ali 80. Baabagasseeko abavubuka nga Hamson Denis Obua 39, eyaweereddwa obwaminisita omubeezi ow’ebyemizannyo ne Peter Ogwang 36, minisita omubeezi owa tekinologiya.

Abamu ku baminisita abaasuuliddwa nga Irene Muloni abadde owamasannyalaze n’ebyobugagga eby’omu ttaka ne Monica Azuba Ntege abadde owebyetambula omwaka guno tegubagendedde bulungi.

Azuba yasanga obuzibu mu by’okugula ennyonyi z’eggwanga olw’emivuyo egyetobekamu n’atuuka n’okwetondera ababaka ba Palamenti. Ennyonyi zaali zifuukidde ddala gannyana ekintu ekyali kiteeka Gavumenti mu kaseera akazibu n’okugirabisa obubi. Yasikiddwa Mary Kitutu abadde minisita omubeezi ow’obutonde bw’ensi.

Ntege Azuba eyasikisiddwa Katumba Wamala asanze akaseera akazibu naddala mu kiseera kino nga minisitule gy’abadde akulembera bagirumiriza okubulankanya obuwumbi 24 ez’okuzimba ebbibiro lya Isimba Dam.

BIRIMU OKUSIIMA

Okulondebwa kwa Raphael Magyezi (Igara West) eyakulemberamu ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti kyatunuuliddwa ng’okumusiima. Yalondeddwa ku bwaminisita bwa Gavumenti ezeebitundu.

Polof. Sabiti Makara ow’e Makerere yunivasite yagambye nti ekikulu kye yalabye kwe kusiima abantu abaawagira eky’okuggya ekkomo ku myaka.

Jackson Kafuuzi (Kyaka South) eyasemba ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka kati ye mumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Sabiti agamba nti mu mutima gw’okusiima era Pulezidenti mwe yalondedde abantu nga Beatrice Anywar (Kitgum Munisipaali) eyali owa FDC kyokka n’asala eddiiro n’awagira n’ekyokuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Abavubuka abalala okuli; Hamson Denis Obua ne Peter Ogwang nabo yaboogeddeko ng’abaakola ennyo okumatiza eggwanga nga Pulezidenti bw’akyetaaga okwongera okufuga.

Wadde ng’abakadde bangi bakyali mu kabineeti , kyokka ye Makara agamba nti alaba nga bagenda babaggyako obuvunaanyizibwa.

Okugobwa kwa Nadduli, n’okukyusa Kahinda Otafiire okuva ku bwaminisita w’ensonga za Ssemateeka n’afuulibwa minisita w’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika yalabye ng’okumuseeseetula.

ABAWULIZE BALIDDE

Charles Rwomushana eyakolerako ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO, kabineeti empya yagirabyemu okusiima abaana b’awaka abaludde nga bawulize.

Okulondebwa kwa Judith Nabakooba (mukazi/Mityana) nga minisita omujjuvu owa tekinologiya yagambye nti baayagadde kumusiima kuba azze alaba obuwulize ne Molly Kamukama nga minisita omubeezi avunaanyizibwa okulondoola ebyenfuna bya Gavumenti .

Yagambye nti talina kyabasuubiramu nti baliko bye bajja okukyusa kuba obusobozi tebabulina, wabula baayagadde kubawaako balye kuba bakulidde mu mikono gya Pulezidenti azze abalera okutuuka awo.

Nabakooba nga munnamawulire omutendeke era eyaliko omwogezi wa poliisi mu ggwanga yatunuuliddwa ng’asobola ebyempuliziganya era nga y’agenda okubeera omwogezi wa Gavumenti ku nsonga ez’enjawulo.

Okulondebwa kwa Beatrice Anywar yeegatte ku Okello Oryem ne Betty Amongi akalaba ng’akabonero k’okumatiza abantu ba Acholi ne batambulira wamu era Pulezidenti asuubira okubakozesa mu kunoonya akalulu ka 2021.

KABINEETI EGUMYA ABAAGALA OKWEGATTA KU GAVUMENTI

Okusigala kwa Beti Kamya mu kabineeti nga minisita w’ebyettaka n’amayumba, Betty Amongi nga minisita wa Kampala ne Florence Nakiwala Kiyingi (minisita wa bavubuka n’abaana) kabonero akalaga nti Pulezidenti si mwetegefu kwefuulira bantu bamwegattako.

Mu kiseera kino ng’akalulu kabindabinda era nga Pulezidenti akyetaaga obuwagizi okuva mu b’oludda oluvuganya kyandibadde kitiisa abalala abandyagadde okumwegattako nga bamulaba ng’akozesa abantu n’abasuula.

Okusembeza Beatrice Anywar nako kabonero akakasa nti Pulezidenti asiima abantu ababeera abeetegefu okumwegattako.

Frank Tumwebaze okufuulibwa minisita w’ekikula ky’abantu era nga y’avunaanyizibwa ku bavubuka kyagendereddwaamu okwanguyiza abavubuka okufuna ssente. Obutafaanana nga Janat Mukwaya abaddewo, Tumwebaze asemberedde nnyo abavubuka bw’omugeraageranya ne Janat Mukwaya gwe yasikidde.

Olw’okuba nga y’omu ku bakaada abafaayo ennyo okutuukiriza mukama we ky’aba amutumye mu buli mbeera, asuubirwa okukozesa ssente zino okukyusa obulamu bw’abavubuka

Biibino ebifa ku baminisita abapya abaalondeddwa

Biibino ebifa ku baminisita abapya abaalondeddwa.

Min1 703x422
Judith Nabakooba

BAMINISITA Pulezidenti Museveni be yalonze yaleeteddemu abantu abapya n’abaggonomolako agafo agasava.

Jackson Kafuuzi , mubaka we Kyaka South mu disitulikiti ye Kyegegwa . Ye yasemba ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. Yafuuliddwa mumyuka wa Ssabawolereza wa Gavumenti.

 enis bua eyasikidde akkabulindi
Denis Obua eyasikidde Bakkabulindi

Judith Nabakooba (mukazi/Mityana) era nga yaliko omwogezi wa poliisi mu ggwanga kati mu kiseera kino ye mubaka omukyala owa Mityna mu kiseera kino ye minisita omujjuvu owa Information Communicatio and Technologiya.

Hamson Denis Obua (Ajuri); ye yazze mu kifo ekibaddemu Charles Bakkabulindi. Munnabyamizannyo era ng’emipiira gy’eggwanga gyonna azze agibeerako era nga ye kapiteeni wa tiimu y’omupiira eya Palamenti.

Beatrace Anywar

Beatrice Anywar; (Kitgum Munisipaali) amanyiddwa nga ‘Maama Mabira’ erinnya lye yafuna olw’okukulemberamu okwekalakaasa kwa 2007 ng’awakanya okuwaayo ekitundu kya Mabira okulimirako ebikajjo.Mu kiseera ekyo yali wa kibiina kya FDC.

Robinah Nabbanja (mukazi/Kakumiro) y’omu ku bakamisona ba Palamenti era y’omu ku baakulemberamu okuwagira ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Peter Ogwang (Usuk) yalondeddwa okudda mu kifo kya Idah Nantaba ekya minisita omubeezi avunanyizibwa ku bya tekinologiya. Molly Kamukama Nawe; yalondeddwa ku bwaminisita omubeezi avunanyizibwa okulondoola ebyenfuna mu ofiisi ya Pulezidenti. Yaliko omuwandiisi wa Pulezidenti ow’ekyama. Raphael Magyezi (Igara West) ye yaleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti .

Rafael Magyezi

Y’abadde ssentebe w’akakiiko ka Palamenti aka gavumenti z’ebitundu n’abakozi ba gavumenti. Hellen Adoa (mukazi/Serere) ; ng’atuula ku kakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu.

Alina amasomero agawerako okuli; Namilyango Hill View Primary School, New York Primary School, Toto Adoa Primary School, Teso Primary School, Halcyon High School, Halcyon Foundation. Ye minisita omubeezi ow’ebyobuvubi.

Makanika bamukanise ne bamutulisa emimwa

FRED Mukasa 23, omutuuze w’e Bwaise makanika mu galagi emu eriraanye ebbaala ya DB9 mu muluka gwa Makerere 1 e Kawempe.

Seka 703x422

Kigambibwa yanyakudde ensawo y’omukyala akola ku Mobile Money n’adduka.

Abasuubuzi baamusimbyeko ekikumi ne bamukwata ne bamukuba bubi nnyo era baagenze okumuvaako nga bamwasizza omutwe yenna afuuwa musaayi.

Abantu baawuliddwa nga bagamba nti makanika bamukanise emimwa ne bagitulisa era poliisi yagenze okutuuka ng’ali mu mbeera mbi.

Bamakanika banne baategeezezza nti Mukasa yabadde ne mmotoka gy’akanika n’agivaako n’atambulamu ekyazzeeko kuwulira nti bamukutte abba.

Kyokka mu kwewozaako, Mukasa yagambye nti ye si mubbi sitaani ye yamukemye.

Poliisi yamusudde ku kabangali n’emutwala mu ddwaaliro afune obujjanjabi oluvannyuma awerennembe n’omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba SD REF:20/7/12/2019.

Bano abaana banoonya magombe?

ENKUBA efudemba ennaku zino eyombya abantu naddala abasula mu bifo ebikosebwa amazzi nga Bwaise, Lufuka n’ebitundu ebimu eby’e Najjanankumbi.

Sena1 703x422
Abaana nga bazannyira ku lutindo.

Amazzi bwe gayitirira obungi nga gayingira mu nnyumba z’abantu n’abamu basula bayimiridde nga bwe bagayoola.

Kyokka abaana balaba embeera etabuse nga badduka ku muliraano okufuna we beewogoma. Bano abaana twabaguddeko mu bitundu by’e Najjanankumbi I mu Zooni ya Busaavala Road nga bazannyira ku katindo.

Baagambye nti ewaabwe amazzi gaabadde ganjadde mu mayumba gaabwe ne basalawo okuwummulirako wano ekyatiisizza abantu nga bagamba nti abaana bano bayinza okugwamu ne bafa ate abalala ne bawulirwa nga beeyogeza nti baabadde beenoonyeza magombe.

Abazigu batuze omusuubuzi w’engatto e Masaka

ABANTU abatannategeerekeka bawambye omusuubuzi w’engatto e Masaka ne bamutugira mu mmotoka omulambo gwe ne bagusuula okumpi n’ekkubo nga bagulizze akandooya.

Yiyi 703x422

Okusinziira ku akulira poliisi y’e Lukaya, Vianney Birungi, Fadul Bizimungu 34, ye yatugiddwa era omulambo gwe gwasangiddwa ku kyalo Bajja mu ggombolola y’e Bukulula ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala.

Abatuuze abaabadde bagenda ku luzzi mu ttuntu be baagulabye ne bakuba enduulu eyasombye n’abalala okujja okulaba ekiguddewo.

Omugenzi yasangiddwa n’enkwagulo mu bulago ng’emikono gyombi gisibiddwa ku vviivi ly’okugulu okumu nga n’emu ku nsawo y’empale ze eyuziddwa ekyalaze nti yasoose kulwanagana n’abaamusse.

Poliisi yategeezezza nti Bizimungu abadde atunda ngatto e Masaka mu kikuubo nga kiteeberezebwa nti baamuwambye agenda Kampala kusuubula za Ssekukkulu era olwamaze okumutta ne babulawo ne ssente ezitannamanyika muwendo.

Kkansala w’eggombolola y’e Bukulula mu disitulikiti ya Kalungu, Charles Sserwanja yennyamidde olw’ettemu erikolebwa emisana ttuku.

Yalaajanidde abeebyokwerinda okuteeka amaanyi mu kulawuna enguudo naddala mu biseera eby’ennaku enkulu nga bwe balowooza ne ku ky’okusaasaanya kkamera enkessi mu byalo nga bwe guli mu bitundu bya Kampala n’emiriraano.

Poliisi yagumizza nti batandise okulinnya abatemu bano akagere kyokka ne balabula abasaabaze okubeera abeegendereza ku mmotoka ze balinnya kubanga mulimu ez’abantu abakyamu abeerimbika mu kusaabaza abantu ne bababba oluusi n’okutwala obulamu bwabwe

Uganda yeetaaga kuwangula Kenya ewangule ekikopo kya CECAFA eky’abawala

Tanzania yalemaganye ne Uganda ggoolo 1-1 ku Ssande n’egiremesa okulangirirwa ku bwakyampiyoni.

Ugandau17019582 703x422
Abazannyi ba Uganda;Fauzia Najjemba, Cathy Nagadya, Juliet Nalukenge ne Shakira Nyinagahirwa nga basanyukira ggoolo gye baakubye Tanzania.

Mu za CECAFA U17 Girls Championship;

Uganda 1-1 Tanzania

Djibouti 0-4 Eritrea

Burundi 2-3 Kenya

TANZANIA yeezinze ku Uganda mu mpaka za z’omupiira gw’abawala abatasussa myaka 17 mu mawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Africa okukkakkana ng’egiremesezza okulangirirwa ku bwakyampiyoni b’empaka zino ku Ssande.

Uganda ebadde yaakazannya emipiira esatu mu mpaka za CECAFA U17 Girls Championship eziyindira e Njeru ku kitebe kya FUFA eky’ebyekikugu nga gyonna egiwangudde era yabadde yeetaaga okuwangula Tanzania okuweza obubonero 12 olwo erangirirwe ku bwannantameggwa bw’empaka zino ezisookedde ddala mu byafaayo.

Yawezezza obubonero 10 ng’eddirirwa Tanzania ku bubonero 8 nga kati yeetaaga (Uganda) kuwangula Kenya mu gusembayo enkya (ku Lwokubiri) ewangule ampaka zino.

Tanzania yaakazannya emipiira 4 n’ewangulako ebiri n’okukola amaliri emirundi ebiri.

Empaka zino zeetabwamu ttiimu 6  ng’endala kuliko; Djibouti ekwata Tanzania mu gusembayo, Eritrea ne Burundi nabo abakwatagana.

Omutendesi wa ttiimu ya Uganda, Ayub Khalifa Kiyingi asuubizza Bannayuganda nti Kenya bagenda kugifiirako enkya ku Lwokubiri bagiggyeko obuwanguzi mu buli ngeri ekikopo kino tebagenda kukkiriza kuva Kampala. 

Spice Diana awangudde engule Eddy Kenzo n’acamuka

NG’OGGYEEKO okuwangula engule y’omuyimbi omukyala asinze okwambala, obuwero Spice Diana bwe yeesaze bwacamudde abalabi ne bakkiriza nti ddala yabadde asaanidde ate ne Fik Fameica n’awangula engule y’omuyimbi omusajja asinze okwesala emisono omwaka guno.

Manga1 703x422
Kenzo ne Spice Diana

Baawangudde engule mu mpaka z’ebyemisono eza Abryanz Style & Fashion Awards 2019 ezaabadde ku Serena Hotel ku Lwokutaano ekiro.

Wadde nga omukolo guno ogutegekebwa Ahumuza Brian gwabadde gwa kusiima bannabyamisono abasukkulumye ku bannaabwe mu biti eby’enjawulo, wabadde oyinza okulowooza nti bali mu mpaka za kulonda sereebu w’olunaku asinze okwambala olw’emisono gy’engoye gye beesaze.

EMPALE YA FIK FAMEICA EPASUSE

Essanyu ly’okuwangula engule lyakomye ku kumulangirira ng’omuwanguzi, empale ye eyaakapiira bwe yapasuse ng’alinnya ku siteegi n’asalawo addeyo atuule ng’atya okumusekerera n’okumusunga.

Wabula, bangi kino tebaakitegedde era waliwo abaawuliddwa nga bagamba nti “ wabula omuvubuka ono n’amalala! asituse kyokka mu kifo ky’okukima awaadi ye ate azzeeyo kutuula?”

Bannabyamisono okuva mu Uganda ne mu mawanga ga Africa amalala abaasobye mu 13 be baawangudde engule mu biti eby’enjawulo.

Abalala abaawangudde kuliko, Ice Kenny, Stuart, Roja ne Toniks baawangudde vidiyo y’oluyimba esinga okulaga emisono.

Omuyimbi Jidenna, Nahya Glam, Lavie Makeup, Ozwald Boateng, Walter Keys, Gloria Haguma, Abbas Kaijuka n’abalala. Fashion Designer of the year

‘Gy’otega amaggwa…’

ABAAGEREESA nti gy’otega amaggwa gye bakuzza anti lutuukira bulungi ku ba KCCA bano abaagudde mu kinnya kyabwe.

Untitled3 703x422
OMUVUBUKA ono mikolo gy’essomero lya Gangu ku lw’e Busaabala nga baggulawo omuzikiti gye buvuddeko, yalaze omukwano gw’alina ku nnyama buli omu n’asiima. Alina engeri gye yakkakkanye ku ggumba n’aliraga ky’alinawo ate nga musanyufu olwo n’aleka abalabi nga bakakasizza nti kituufu, ennyama agitegeera.

Bano bulijjo babalabula ku binnya ebiri mu nguudo z’omu Kampala naye nga beesuulirayo gwa nnagamba naye ku mulundi guno Katonda yabavuddemu era ekimu ku binnya byabwe ebya kazambi bye baagaana okubikka be bakyegwiiriddemu.

Entambula yayonoonese okumala akaseera naye ng’abasuubuzi bawoza kimu nti, Katonda azzeemu essaala zaabwe. Bino byabaddewo ku Lwokubiri akawungeezi mu Kisenyi mu Kampala.

Abasuubuzi bagamba nti ekinnya kino kiwezezza kumpi mwaka mulamba nga tekiriiko kibikkako wadde nga bakoze kyonna ekisoboka okutuukirira be kikwatako mu KCCA okukitereeza wabula ne beerema.

Moses Kabali omu ku basuubuzi mu Kisenyi yagambye nti abantu bangi bagudde mu kinnya kino ne bamenyeka n’emmotoka ezimu nga ziremeramu naye nga aba KCCA tebeefiirayo.

Twabadde tetusobola kubakkiriza KCCA kuggyawo mmotoka eno nga tebamaze kututegeeza lwe banaatufunira kisaanikira era baamaze kubakakasa olwo ne babaleka ne bavaayo.

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala n’atwalibwa mu ddwaliro ng’ataawa

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu ddwaliro nga naye embeera gy’alimu ssi nnungi. Ekikangabwa kino kigudde kumpi ne yunivasite ya UCU e Mukono.

Pala1 703x422
Ono ye yasittuse

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire ategeezezza nti omugenzi ye Jane Nakirya, 17, ng’ono yava Budaka okujja e Mukono okuyiga okusiba enviiri.

Owoyesigyire agambye nti ate Mariam Madadi eyasuze mu nnyumba y’emu ng’omuzigo guno gulimu saloon ate we bagguliddewo ng’embeera ye mbi nnyo era n’addusibwa mu ddwaliro lya Mukono International Medical Centre okufuna obujjanjabi.

Wabula ye nannyini saloon eno, Abbi Haumba poliisi emukutte n’emuggalira okugira ng’agiyambako okukola okunoonyereza ku kiki ekyaviiriddeko ekikangabwa kino.

Abatuuze abamu bagamba nti bandiba nga bano baalidde butwa sso ng’abalala basonga ku kyakuziyira kuba omuzigo mwe baasuze gwakolebwa mu bbaati erya konteyina sso nga tekulu wadde akamooli.

Owoyesigyire agambye nti omulambo gwa Nakirya gutwaliddwa mu ggwanika ly’edwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa basobole okuzuula ekituufu ekyamuviiriddeko okufa.

Wabula oluvannyuma lw’essaawa ng’emu nga Madadi ajjanjabirwa, asangiddwa mu ddwaliro ng’azze engulu wadde ng’akyali munafu.

Fayinolo ya liigi mu basketball w’abakazi ejulidde luzannya lusembayo

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo.

Muhayiminanamuwayaowajkldolphinswakatingalwaniraomupiiraneroseakonkuddyonezainahlokamweriaba9317 703x422
Muhayimina Namuwaya JKL Dolphins (wakati) ng’ayisa omupiira mu bazannyi ba UCU Lady Canons ku Ssande ekiro.

JKL Lady Dolphins etuuyanye okulemesa UCU Lady Canons okutwalira ekikopo kya basketball sizoni eno ku luzannya olwomukaaga kw’ezo omusanvu ze balina okuzannya mu fayinolo y’omwaka guno.

Ku Ssande, abawala ba JKL baavudde mabega okuwangula n’enjawulo y’akabonero kamu.

Baanywesezza obugoba 51-50 ate nga UCU Lady Canons ye yasoose okubakulembera mu bitundu by’omuzannyo ebisatu ebisooka (15-15, 15-5, 11-7) wabula mu kitundu (‘quarter’) ekisembayo esembayo JKL Dolphins baggyeeyo n’ag’omu buto ne banywesa obubonero (24-9).

Guno gwabadde muzannyo gwamukaaga kw’egyo omusanvu gye balina okuzannya ku fayinolo y’omwaka guno nga kati bonna benkanya wiini 3-3.

Ku lwokusatu lwa wiiki eno ekibanyi kyakugwa n’amenvu nga battunka mu luzannya olusalawo ani kyampiyoni.

Flavia Aketcho, kapiteeni wa JKL agamba nti amaanyi bagenda kugongera mu kuzibira okusobola okweddiza ekikopo kino.

“Ekisenge tulina okukyongeramu enkokoto okulaba ng’emipiira gya UCU tegiyitawo bwe tuba baakufuna buwanguzi,” Aketcho bwe yategeezezza.

“Ekikopo tubadde tukiwangudde naye ensobi entono ze tukoze zitulemesezza, naye ku Lwokusatu bajja tubendegera,” Sarah Ageno kapiteeni wa UCU Lady Canons bwe yaweze.

Stella Oyella owa JKL ye yabadde omuzannyi w’olunaku, yawangudde emitwalo 10. UCU Lady Canons enoonya kikopo kyamwenda ate JKL abakirina baagala kyakubiri.

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n’erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n’erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Ju1 703x422
Julie Angume bwe yafaananye ku Introduction Shower ye

JULIE Angume akyusizza erinnya ng’ategeka okwanjula kwe. Kati bamuyita Julie The Heart Beat.

Amannya gaayanjuddwa ku mukolo gwa ‘Intro shower’ ogwaddiridde okwanjula kwe okugenda okubeera e Kiboga ku Lwokuna luno mu maka ga bazaddebe, Ronald Ssemugga ne Mariam Semugga nga kati bagenzi.

Engule Bobi Wine gye yawangudde emuwanise

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku maanyi mu kalulu ka 2021.

Bobiwine4e1575702705296 703x422

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku maanyi mu kalulu ka 2021.

Yakwasiddwa engule ya Friedrich Naumann African Freedom Award mu kibuga Johannesburg ekya South Afrika ku Lwokutaano.

Gwabadde mukolo gwa kitiibwa ogwetabiddwaako ne Bannayuganda okuli Omubaka wa Kawempe North, Latif Ssebagala. Nga tannakwasibwa ngule yasoose kuyimba ezimu ku nnyimba ze okuli Kyalenga kyokka bakira azikomya wakati olw’obudde.

N’agamba: munsonyiwe bwe mbalabikira ng’acamuukiridde kubanga guno gwe mukisa gwe nfunye okuyimba. Ewaffe mu Uganda sirina mirembe wadde okuyimba ku siteegi mu nsi yange.

Ekitongole kya Friedrich Naumann ekyawadde Bobi Wine engule ky’e Girimaani, kyokka kirina amatabi okuli ery’e South Afrika eritwala ekitundu ekiri mu bukiikaddyo bw’eddungu Sahara.

Engule eweebwa abalwanirira eddembe lyobuntu n’ery’ebyobufuzi (Liberal politics). Ekitongole kyatandikibwawo Theodor Heuss eyali ow’ekibiina kya Free Democratic Party era eyali Pulezidenti wa Federal Republic of Germany okuva mu 1949 okutuuka mu 1959.

Bobi Wine yategeezezza nga bwe gwabadde omukisa omunene okusiima by’akola ekyamuzzizzaamu amaanyi okumanya nti ali ku mulamwa.

Engule esanze Bobi Wine yaakawangula endala eya Best Male Politician of 2019 eyamuweebwa ekibiina kya Young African Leaders Summit mu kibuga Accra ekya Ghana omwezi oguwedde.

Ku Lwomukaaga, Bobi Wine engule yagitwalidde Bannayuganda ababeera mu kibuga Cape Town e South Afrika abeetabye mu lukuhhaana lwa People Power. Oluvannyuma yayimbye mu kivvulu.

Latif Ssebaggala yasiimye aba People Power e South Afrika olw’engeri gye baabaanirizza n’agamba nti enkulaakulana eri mu nsi eyo kyakuyiga kinene eri Uganda eyeetaaga enkyukakyuka mu byobufuzi “olwo naffe tutandike okutunulako ewala nga bannaffe aba South Afrika”.

Jajja Ibrahim, akulira People Power e South Afrika yagambye nti engule eraga nti amawanga n’ebitongole bingi biri wamu ne People Power n’ebigendererwa byayo.

Tekyategeerekese oba engule eno ejjirako ensimbi n’ebintu ebirala.

Kyokka ekitiongole ekyo kirina enkola y’okussaawo okuvuganya ku ani asinga okuleeta pulojekiti ereetawo enkyukakyuka mu bantu mu nkola ya “Africa Freedom Innovation Challenge”.

Pulojekiti egenderera okuleetera abantu emirembe mu byobufuzi, ebyenfuna, okusitula embeera zaabwe, okulwanyisa enguzi n’ebintu ebirala ebigwa mu kiti ekyo. Omuwanguzi atera afuna Euro 5000 (mu za Uganda obukadde 20),

Bobi Wine yakoleddwa enteekateeka okusisinkana Julius Malema akulira ekibiina kya Economic Freedom Fighters (EFM) ekimu ku biwakanya Gavumenti y’e South Afrika.

Malema ye yali akulira ekibiina kya African National Congress Youth League (ANCYL) bwe yali tannagobwa mu kibiina kya African National Congress (ANC) ekiri mu buyinza e South Afrika.

Laba engeri gy’osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Laba engeri gy’osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Tip11 703x422
Obuti obukuma essigiri obulinda okutundibwa.

NGA tusemberedde okumalako omwaka, mmanyi bangi mwalina ebiruubirirwa nga gutandika naye abamu temusobodde kubituukako. Wabula tolina kuba mwennyamivu olw’embeera y’ebyenfuna oba oli awo ekulemesezza kubanga waliwo emirimu gy’osobola okutandikawo ne ssente entono n’okyusa obulamu omwaka ogujja.

Abantu abamu banyooma obukolero obutono naye mwattu buyamba okukusitula. Bw’otunuulira Abachina baatandika na kukola bikwanso, buti bwa mannyo n’ebirala okwo kwe baazimbira okutuuka w’obalabira kati.

Leero nkuleetedde ku bizinensi y’obuti obukuma essigiri, bizinensi eno nnungi kubanga akatale katandikira ku ggwe abukola ne kadda ku muliraanwa wo n’okweyongerayo anti mwenna mukuma essigiri.

Bangi wano okukuma essigiri bakozesa mafuta oba obuveera naye obuveera bwamutawaana eri obulamu bwabwe.

Omukka oguva ku buveera gulwaza amawuggwe n’okuleeta kookolo era ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kino kya kikakasa. Ate ku muntu akola bizinensi okugeza okwokya enkoko, ennyama oba emmere endala amafuta gayitamu ne gayingira mu by’okulya ekitta akatale. Mwattu obuti buno bw’enjogerako tebulina bulabe ku bulamu bwa muntu wadde okuvaamu ekisu.

OKUKOLA OBUTI Funa ebikuta by’ebitooke n’obyanika n’oluvannyuma n’obifunamu ensaano, gattamu embuumbu y’embaawo okwo ogattako Micro wax (Tokozesa paraffin wax) oba bee wax ava mu njuki. Wano ojja kwetaaga akuuma ka Moulder akafulumya obuti nga bwekutte bulungi era kano tukatunda emitwalo 25.

Kkiro ya wax gisanuuse mu sseppiki, gattamu kkiro y’empuumbi ne gulaamu 250 ez’ensaano y’ebikuta by’amatooke otabule n’oluvaannyuma osse mu kyuma kifulumye obuti obwo.

Ojja kufulumya obuti mukaaga omulundi gumu nga mu ssaawa emu, ekitegeeza nti essaawa ojja kufulumya obuti 120, nga ojja kufuna saketi 24 nga buli emu ya 1000/- . Buli ssaawa ojja kuba okola emitwalo 24,000/- kyokka obeera otaddemu 10,000/- mu kugula ebikozesebwa.

Ssinga okola essaawa 12 ojja kusigaza 168,000/- ng’amagoba ng’oggyeeko z’otaddemu.

Ekirungi ekirala ekiri wano ojja kusigala ng’okuumye bulungi obulamu bwo. Akatale kagazi kubanga mu bantu abafumba emmere mu butale n’amaka ag’enjawulo ojja kuba obafunamu ensimbi ate ekyuma tekikozesa masannyalaze wadde amafuta.

Bw’omala okubufulumya obuteeka mu buveera bw’ojja okusibisa ne ppaasi kikuyambe okwongera okukekkereza ku ssente z’oteekamu.Uganda.+256 (0) 779 519 652+256 (0) 702 061 652Website: www.profbioresearch.com

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n’enguzi

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n’enguzi

Lip1 703x422

LUTIKKO ye Namirembe ewumye eggulo Omulabirizi we Namirembe Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira bwe yabadde ayawula abadinkoni n’abakadde b’ekkanisa. Okusaba kuno kwatandise ku ssaawa nnya ez’okumakya wakati mu basumba okuyingirira mu nnyiriri.

Diini wa Lutikko ye Namirembe Rev Can Benon Kityo nga ya’buulidde asabye abawule abatikkiddwa okwewala entalo n’abakristaayo nga bakola omulimu gwabwe wabula bafube kubunyisa njiri mu bantu n’okukyusa abakozi b’ebikolobero.

Rev Kityo era akutidde abayawuliddwa n’abasumba abalala bonna okwewala obwenzi naddala mu be bawereza kuba kino kiviriddeko n’endwadde ennyingi okweyongera mu bantu. Abasabye okwewala enguzi kuba eviriddeko eggwanga okudda emabega.

Omulabirizi Luwalira ayawudde abadinkoni 9 ssaako okukakasa abakadde b’ekkanisa 3 okwaabadde ne Rev Steven Lumu omusumba we Namayumba era nga ye mutabani w’omugenzi Luggya Lwasi.

Abakutidde okujjukiranga ebirayiro bye bakoze ate nasaba n’abakristaayo bulijjo okubasabira baleme okukyama okuva mu makubo amatuufu ag’okubuulira enjiri.

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Gab1 703x422

SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga yawuubyeko ekigere ewa Gabunga Mubiru Zziikwa e Kabowa okumubuuzako n’okumutwalira Ssekukulu.

Yamutwalidde abazzukulu abapya ne baweebwa amaanya g’ekika ky’Emmamba. Kwabaddeko Herman Schutten okuva mu Germany eyatutte erya Kizito, Andrea Duharova yafunye lya Namutebi ne Olga Mutnanska n’atwala erya Namiiro nga bava mu Slovakia.

Yawerekeddwaako abamu ku basaserodooti okwabadde Fr. Joseph Nsubuga, Fr. Victor Mubiru, eyaliko Katikkiro w’ekika kino, Dr Adam Kimara Mubiru, Fr. Francis Ssengendo, Fr. Banabas Magezi okuva mu ssaza lya Masaka n’abalala.

Gabunga yasanyukidde abazzukulu abapya n’asiima Ssaabasumba olw’emirimu emirungi gy’akoledde eggwanga n’ekika ky’e Mmamba. “Ssebo Ssaabasumba tukwebaza olw’emirimu emirungi gy’okola n’obutasulirira kika kyo.Tokoma okwo n’owabula n’okujjumbira buli kimu ekibeerawo, tukwenyumiririzaamu nnyo,” Gabunga bwe yategezezza.

Yabakubirizza okusigala nga bali omuntu omu baagale Obuganda n’okubuZza ku ntikko. Dr Kimala yayanjulidde Gabunga ekirowoozo kya Ssaabsaumba eky’okwongera okukulaakulanya ekika kyabwe mu pulojekiti ya Gabunga Development Trust mwe banaayita okulongoosa, okukulaakulanya n’okugaziya enju ya Gabunga.

“Ssebo jjaajja ffe Ggabunga, Ssaabasumba yasuubizza okwongera okutambulira awamu naffe okulaba nga emirimu gy’ekika jongera okugenda mu maaso,” Dr. Kimala bwe yayanjudde ekiwandiiko kya Ssaabasumba mu maaso nga Gabunga. Oluvannyuma baawadde Gabunga ebirabo omwabadde amatooke, embuzi n’ebintu ebirala.

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Hat13 703x422

EBINTU bya bukadde na bukadde bitokomokedde muliro ogusaanyizzzaawo emmaali y’abasuubuzi mu katale k’e Matugga. Omuliro guno gwakutte ku ssaawa 8:00 ez’ekiro ekikeesezza ku Lwokutaano nga gutandikidde mu sitoowa abasubuuzi mwe batereka emmaali yaabwe buli Lwakusatu n’Olwokuna bwe baba bagenda mu katale k’omubuulo.

Ebyamaguzi ebisinze okusiriira kuliko; engatto, endibota z’engoye, ensawo, obuwunga omuceere n’ebirala era bangi ku basuubuzi tewali asigazzaawo kantu Engeri omuliro guno gye gukuttemu guleetedde abasuubuzi okugutankana nga bagamba nti, kyandiba nga guvudde ku masannyalaze ate abalala bagamba nti waliwo ayinza okuba nga y’akumye omuliro guno.

Ekizimbe abasuubuzi mwe babadde batereka emmaali yaabwe kyonna kigudde ku ttaka ng’emiti gyonna gikutte omuliro okukkakkana nga kigudde era abatuuze nga bali n’abasubuuzi bagezezzaako okutaasa emmali yaabwe ekitasobose.

Abatuuze bagezezzaako okuyita poliisi ezikiza omuliro wabula bagenze okutuuka ng’ebyamaguzi byonna bimaze okusaanawo.

Abasubuuzi basabye Gavumenti ng’eyiita mu minisitule ey’ebigwa bitalaze okubayamba okubadduukirira kuba kati basobeddwa ate ssente zaabwe ezisinga zonna ziri mu mabanja.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti batandise okunoonyereza ku ngeri omuliro guno gye gukuttemu wabula n’agamba nti wadde abatuuze bagamba nti guvudde ku masannyalaze bbo nga poliisi tebannaba kukakasa kwe gwavudde era bakyanoonyereza.

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Tum1 703x422

ABATUUZE okuva ku byalo bitaano okuli Kisaanabataka, Kijjaaba, Kakoma, Kibimba A ne Kibimba B mu ggombolola y’e Kyazanga mu disitulikiti y’e Lwengo basattira olw’obubbi bw’ebisolo n’emmere obweyongedde mu kitundu kyabwe ebyolekedde okubateeka mu njala n’okubattisa.

Ebisolo okuli embizzi, enkoko, embuzi n’ente ababbi babigguddeko olutalo nga mu bbanga lya mwezi gumu ensolo ezaakababbibwako zisukka mu 200 nga zino ababbi bamenya amayumba mu matumbibudde ne bazitikka ku mmotoka awatali abakuba ku mukono.

Ate ebirime okuli amatooke ne muwogo, abatuuze baagambye nti ababbi bajula kubasanga ne mu nnimiro nga bakyalima babbe naddala amatooke ng’enkota eziri mu 700 ze zaakatemebwa mu wiiki emu yokka.

Bagattako nti ekizibu ekirala kye balina bwe bulogo obususse ng’ensuku abasezi bazisera ekyongedde okubeeraliikiriza. Kino bakitadde ku bassentebe b’ebyalo ne poliisi y’e Kakombe balumiriza obutabayamba olw’ababbi abakwatibwa lubona ne batwalibwa ku poliisi kyokka ne bayimbulwa.

Ssentebe w’eggombolola y’e Kyazanga, Musa Kayondo Bahati Kisanja asinzidde mu lukiiko lw’ebyokwerinda n’agugumbula bassentebe b’ebyalo okukomya okuwa obujulizi ku bantu ababa bakwatiddwa mu kikolwa bwe baba baagala okukulembera abantu abaabassaamu obwesige.

“Ssentebe omulamba ow’ekyalo n’omusanga ng’ajjulira omubbi, oba omutemu gwe tukubalire mu babbi oba batemu? Mukole emirimu gyamwe egyabalondesa okusinga okuyingirira poliisi,” Ssentebe Bahati Kayondo bwe yategeezezza.

Mu ngeri yeemu akuutidde bassentebe okugobanga abaakakiiko abalemeddwa okukola emirimu gyabwe omuli n’abo abaziimuula enkiiko z’ebyalo balonde abalala abasobola okukola.

Kayondo asabye abatuuze okunyweza eby’okwerinda nga baviira ddala mu maka gaabwe naddala mu nnaku enkulu ze tugendamu okusinga eby’obugagga byabwe okubitunuzanga mu poliisi okubikuuma ne yennyamira olw’amaka agamu ge yayise agatunuulibwako kyokka nga tegaliimu yadde ejjambiya ng’ekyokulwanyisa ekiteekeddwa okuba mu maka.

Norman Musinga ayogedde ku by’okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Norman Musinga ayogedde ku by’okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Man2 703x422
NOrman Musinga ne Mukyala we

OYO OMUKAZI ANEESIBAKO

MUSINGA Musinga yategeezezza nti omukazi by’ayogerako alabika tabitegeera kuba ky’alemerako nti kkooti yamuwa obuyinza okubeera n’abaana mu 2016 ate kkooti yabimenyawo mu 2019 era abaana abalina mu mateeka gennyini.

Yayongeddeko nti, Esther amwesibirako bwereere kuba takyali mukyala we kkooti yabaawukanya ekyo ne kiggwa.

Ku ssomero gye yatwala abaana ku Hormisdallen abadde agendayo n’abakyalira kati ky’ayogerako nti, yabakweka aba takitegeera. Yasuubizza n’okumuwaabira ng’ayita mu kkampuni ya balooya eya KAA Advocates olwa kyayita okumwonoonera erinnya.

Kyokka eky’okutwala abaana mu kifo omukyala ky’agamba nti tekimanyiddwa ekyo yagaanye okukyogerako

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom8 220x290

NAJAGALA OBUKADDE 100 N’ENTE 25 TWAWUKANE

Kyinkuhaire yagambye nti, talina buzibu bwonna kwawukana na Musinga kubanga ye ky’ayagala naye n’agamba nti, alina okusooka okutuukiriza obukwakkulizo bwe.

Yagambye nti, bwe yateekayo okusaba kwe baawukane, yamuwa obukwakkulizo kwe balina okwawukanira n’amugamba nti, ayagala amuwe ssente enkalu 100,000,000/-, ente 25 agatteko n’okuweerera abaana mu masomero ag’omulembe.

Kuno agattako n’okwesigaliza abaana be b’agamba nti, tasobola kwesiga muntu yenna kukuza baana be ng’akyali mulamu. “Musinga yahhamba agenda kubimpa kyokka n’okutuusa essaawa ya leero teyenyeenya.” Kyinkuhaire bwe yategeezezza

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Tum1 703x422

ABATUUZE okuva ku byalo bitaano okuli Kisaanabataka, Kijjaaba, Kakoma, Kibimba A ne Kibimba B mu ggombolola y’e Kyazanga mu disitulikiti y’e Lwengo basattira olw’obubbi bw’ebisolo n’emmere obweyongedde mu kitundu kyabwe ebyolekedde okubateeka mu njala n’okubattisa.

Ebisolo okuli embizzi, enkoko, embuzi n’ente ababbi babigguddeko olutalo nga mu bbanga lya mwezi gumu ensolo ezaakababbibwako zisukka mu 200 nga zino ababbi bamenya amayumba mu matumbibudde ne bazitikka ku mmotoka awatali abakuba ku mukono.

Ate ebirime okuli amatooke ne muwogo, abatuuze baagambye nti ababbi bajula kubasanga ne mu nnimiro nga bakyalima babbe naddala amatooke ng’enkota eziri mu 700 ze zaakatemebwa mu wiiki emu yokka.

Bagattako nti ekizibu ekirala kye balina bwe bulogo obususse ng’ensuku abasezi bazisera ekyongedde okubeeraliikiriza. Kino bakitadde ku bassentebe b’ebyalo ne poliisi y’e Kakombe balumiriza obutabayamba olw’ababbi abakwatibwa lubona ne batwalibwa ku poliisi kyokka ne bayimbulwa.

Ssentebe w’eggombolola y’e Kyazanga, Musa Kayondo Bahati Kisanja asinzidde mu lukiiko lw’ebyokwerinda n’agugumbula bassentebe b’ebyalo okukomya okuwa obujulizi ku bantu ababa bakwatiddwa mu kikolwa bwe baba baagala okukulembera abantu abaabassaamu obwesige.

“Ssentebe omulamba ow’ekyalo n’omusanga ng’ajjulira omubbi, oba omutemu gwe tukubalire mu babbi oba batemu? Mukole emirimu gyamwe egyabalondesa okusinga okuyingirira poliisi,” Ssentebe Bahati Kayondo bwe yategeezezza.

Mu ngeri yeemu akuutidde bassentebe okugobanga abaakakiiko abalemeddwa okukola emirimu gyabwe omuli n’abo abaziimuula enkiiko z’ebyalo balonde abalala abasobola okukola.

Kayondo asabye abatuuze okunyweza eby’okwerinda nga baviira ddala mu maka gaabwe naddala mu nnaku enkulu ze tugendamu okusinga eby’obugagga byabwe okubitunuzanga mu poliisi okubikuuma ne yennyamira olw’amaka agamu ge yayise agatunuulibwako kyokka nga tegaliimu yadde ejjambiya ng’ekyokulwanyisa ekiteekeddwa okuba mu maka.

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe

Kab1 703x422
Mulwanyammuli (wakati), Ssemogerere (ku ddyo), Godfrey Kigobero owa Bukedde (owookubiri ku kkono) n’abalala mu ttabamiruka w’Olugave.

EKIRAGIRO kya Kabaka ku kulambula obutaka bw’ebika kivuddeko ab’Olugave okunoonya ensimbi obukadde 100 okugaziya n’okununula ekitundu ku butaka bwabwe e Katende mu ssaza ly’e Mawokota.

Obutaka bw’ekika kino e Katende bwatundwa mu myaka gya 1980. Baalonze katikkiro wa Buganda eyawummula, Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere okubeera ssentebe w’olukiiko olw’okununula obutaka bw’ekika kino.

“Kabaka yawa ekiragiro eri ebika byonna okweteekerateekeraokulambula kwe ku buli butaka naye gunaabeera gutya ng’atuuse okulambula ekika kyaffe nga tetulina we tumutwala!

Twagala okusinziira ku ekyo okwongera okugaziya obutaka bwaffe,” Mulwanyammuli bwe yategeezezza. Bino yabyogeredde ku Pope Paul Hotel e Ndeeba mu ttabamiruka w’ekika ky’Ougave nga December 4, 2019.

Yasabye banne okwenyigira mu kaweefube w’okusonda ensimbi okugaziya e Katende. “Twafunye omuntu okuliraana obutaka bwaffe eyatuwadde omukisa okugulawo era yeetaaga obukadde 30 ze tulina okumuwa mu bwangu.

Nkubiriza buli yeddira Olugave okuvaayo okwenyigira mu kaweefube w’okusonda ensimbi ate n’amasiga geekolemu omulimu,” Mulwanyammuli bwe yagasseeko.

Omutaka Fred Katende akiikiridde omukulu w’ekika kino, Grace Ssemakula Nduggwa okukola emirimu gy’ekika, yategeezezza nti ekika kyabwe kiri mu kusomoozebwa ng’ate kirina abantu abanene bangi nga ssinga bakwatira wamu basobola okuzza olugave ku ntikko mu bwangu.

Ettaka litwetaagisa obukadde 100 ze tulina okusondera awamu ate bwe tumala tuteekeko enkulaakulana endala” Katende bwe yategeezezza. Baasonze ensimbi obukadde 23 okutandika ku kaweefube ono.

Munnamateeka John Katende eyabadde omugenyi omukulu yabawadde obukadde 2. Baategese n’ekivvulu ku Theatre Labonita nga December 12,2 019 okwongera okusonda ssente

Bawangudde mu mpaka z’okufumba eza Bukedde TV

Bawangudde mu mpaka z’okufumba eza Bukedde TV

Jit11 703x422
Kazibwe ng’akwasa Nakaye ow’oku Mbuzi ttivvi gye yawangudde.

EMPAKA z’okufumba ekimmere ezitegekebwa Bukedde ttivvi zaakomekkerezeddwa n’ebbugumu ng’abantu bakyaziyaayaanira.

Zimaze wiiki nnamba nga zibumbujjira mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Mu katale e Nakasero Sarah Naggirinya ye yasinze n’addirirwa Faridah Nantume ne Sylivia Nakaayi.

Ate e Mubende zaawanguddwa Immaculate Nanyonga n’addirirwa Fiisi Biringiro, Ali Nnali ate Teddy Nakalema yeetisse ezaategekeddwa mu Lufula ku luguudo lwa Portbell.

Ez’oku Mbuzi e Kiteetikka zaawanguddwa Rehema Nakaye n’addirirwa, Muhammed Kabaale ne Moses Ssemakula.

Abawanguzi bonna baaweereddwa ttivvi yinki 32 n’ebirabo ebirala okuva mu Prestige Margerine wamu n’omuceere gwa SWT abaabadde abavujjirizi b’empaka zino.

Nakalema ku lw’abaawangudde yeebazizza kkampuni ya Vision Group etwala Bukedde ttivvi n’olupapula lwa Bukedde okufangayo ku muntu wa wansi ne babatwalira ebintu nga bino.

Jommie Nankya akola pulogulaamu y’omuzikiti ku luguudo ku Bukedde ttivvi eyabadde omu ku basazi b’empaka zino yennyamidde olw’abakyala b’ennaku zino obutamanya kufumba mmere hhanda n’asaba abakyala bafeeyo ku nnono y’okufumba okwa bajjajjaffe.

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba

Mub1 703x422
Joseph Kasasira omu ku bassentebe abeetabye mu musomo ogwategekeddwa KCCA ku musolo gw’amayumba ng’annyonnyola bye bayitamu.

PULEZIDENTI Museveni ayimirizza omusolo gw’amayumba ogumaze ebbanga nga gwogeza abantu naddala bannannyini mayumba ebisongovu. Ekiragiro ekiwera omusolo guno yakiyisizza mu bbaluwa gye yawandiikidde minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Tom Butime ng’amulagira okuguyimiriza.

Ebbaluwa yagiwandiise nga November 28, 2019. Mu bbaluwa, Pulezidenti yategeezezza nti azze afuna amawulire nti disitulikiti zibadde zisolooza omusolo gw’ebizimbe bino mu bubuga obutali bumu gwa bitundu 8 ku buli 100 n’agamba nti kino kirina okukoma mbagirawo kuba abantu abalina ebizimbe ebipangisibwa bakyali batono ddala era basaana okuweebwa omukisa okulekebwa bakulaakulanye bizinensi zaabwe awatali kutaataganyizibwa.

Yagambye nti balina okulinda waakiri ekitundu ekyo ne kikulaakulana okutuuka ku mutindo gwa Town Council oba Munisipaali olwo eby’omusolo guno biryoke birowoozebweko.

Yalabudde ne minisitule ya gavumenti ezeebitundu okukendeeza ku kupapirira okutondawo Town councils ne Munisipalite ennyingi nti zijja kuba nzibu okuziyimirizaawo.

Yawabudde nti ensimbi entono eziriwo kazikozesebwe ku bintu ebikwata ku bantu obutereevu omuli enguudo, amasannyalaze, amasomero n’amalwaliro. Yalabudde ababadde basolooza omusolo guno okukikomya mbagirawo okwewala okukaluubiriza Bannayuganda abali mu lutalo lw’okweggya mu bwavu ate okubazza mu misolo egitaliimu.

Ebbaluwa yagiweerezzaako omumyuka wa Pulezidenti, Sipiika wa Palamenti, Ssaabaminisita, baminisita, ababaka ba palamenti ne bassentebe ba disitulikiti. Ekiragiro kya Pulezidenti okuyimiriza omusolo we kijjidde ng’abantu bangi beemulugunya ku musolo guno olw’obutagutegeera n’okubanyigiriza.

Abaasembyeyo baabadde batuuze ba mu muluka gw’e Kansanga mu Munisipaali y’e Makindye wano mu Kampala.

Baavudde mu mbeera ne batabukira bakkansala baabwe ababakiikirira mu KCCA okwabadde Stephen Mugagga owa Kansanga B ne Diriisa Tebandeke owa Kansanga A nga balumiriza okwetumiikiriza okuyisa ennongoosereza mu tteeka erikwata ku musolo gw’amayumba nga tebabeebuuzizzaako.

Baabadde mu musomo ogwakoleddwa ekitongole kya KCCA okubasomesa ku musolo gw’aymaumba gwe baludde nga beemulugunyaako nti gubanyigiriza.

Abatuuze bagamba nti KCCA yabagerekera omusolo menene ogw’ebitundu 6 ku buli 100 nga bagamba abakulembeze baabwe be baasindika mu KCCA baali bateekwa okusooka okuddayo okubeebuuzaako

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro Lukwago n’amukontola

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro Lukwago n’amukontola

Lip1 703x422
Lukwago ne Betti Kamya

MINISITA wa Kampala Beti Kamya alagidde akola ng’akulira KCCA Andrew Kitaka ateeke mu nkola ennongoosereza mu tteeka lya KCCA mbagirawo ezigggyako Loodi Meeya Lukwago obuyinza okubeera Sipiika wa kanso.

By’alina okutandikirako kwe kukubiriza bakkansala okwerondamu sipiika wa kkanso bamuwe ofi isi n’emmotoka mw’anaatambulira era atandikirewo okukubiriza enkiiko za KCCA.

Wabula, Lukwago agambye nti minisita Kamya bw’aba tamanyi mateeka yeeyayimbise ofi isi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti amuwabule etegeere ddi amateeka lwe galina okutandika okukola.

Etteeka litandika okukola mu ngeri bbiri; palamenti esobola okuteekawo olunaku ng’eraga ddi lwe lirirna okutandika okukola naye mu lino tekiriimu. Enkola eyookubiri balina okulitwala mu kyapa kya Gavumenti ne lifuluma nga buli muntu yenna alirabye olwo ne litandika okukola’’, wano Lukwago wabuulizza ku tteeka lino egyo emitendera bagiyiseemu ddi?

Lukwago yagambye nti minisita Beti Kamya ayagala etteeka lino lissibwe mangu mu nkola ng’alowooza nti likyalimu obuwaayiro obunafuya loodi meeya kyokka buno baabusokoolamu era minisita tajja kufuna by’ayagala.

Kyokka Kamya bwe yabadde ku Media Centre ng’ayogera eri abamawulire yategeezezza nti Loodi Meeya obuyinza bw’okwaniriza abagenyi waakubusigaza nga bwe kibadde mu tteeka ekkadde.

Nga Kamya amugumya nti asigazizza obuyinza okwaniriza abagenyi, Lukwago yagenze mu maaso n’annyonnyola nti minisita yali ayagala abeere nga ye mukulembeze wa Kampala ow’ebyobufuzi kyokka teyakifuna, Loodi Meeya yaakyali omukulembeze wa Kampala ow’ebyobufuzi.

Gavumenti yali eyagala Bannakampala baggyibweko obuyinza okulonda Loodi Meeya buweebwe Bakkansala batuule beerondemu omuntu afuuke Loodi meeya kyokka ekyo tekyayitamu.

Lukwago era agamba nti minisita yali ayagala embalirira ya Kampala ekolebwe Executive Director n’oludda olw’ebyekikugu, bwe bamaliriza bajanjulire minisita kyokka ekyo baakimusuuza, eteekwa kukolebwa Loodi Meeya n’olukiiko lwe, bw’amaliriza n’ajanjulira kanso.

Pulezidenti Museveni yatadde omukono ku nnoongoosereza mu tteeka lya KCCA eza 2015 nga November 28, 2019 ne zikakasibwa okuyingizibwa mu tteeka lya KCCA erya 2010 era Kamya yagambye nti lirina okuteekebwa mu nkola kubanga temwateekebwamu kawaayiro kaliremesa kutandikirawo. Wano Lukwago we yamuwabulidde asooke agende mu bakugu bamutaputire amateeka amanye engeri gye gakolamu nga bwe birambikiddwa waggulu.

Mu tteeka eppya Ssaalongo Erias Lukwago y’agenda okukola n’okukuteekateeka embalilira y’ekibuga agiweereze ewa sipiika nga ku kakiiko k’akubiriza kuliko abantu bataano okuli; ye, n’omumyuka we ne bakansala basatu banaalonda okukola nabo ku kakiiko akatuumiddwa City Executive Committee.

Agamba nti ofiisi ya sipiika erina emirimu ebiri okulondoola ebikolebwa ku ludda olw’ekikugun’okubaga amateeka agafuga ekibuga ate Loodi Meeya y’avunaanyizibwa okukola emirimu gyonna n’okuteekawo enkola ezigobererwa mu kibuga.

Kamya agambye nti etteeka ekadde lyali lyaleetawo obutakkaanya kubanga obuyinza obungi bwali bwaweebwa oludda lwa bannabyabufuzi ne lutawa maanyi bakugu abaddukanya emirimu gy’ekibuga.

Bino webijjidde nga loodi meeya Lukwago yayise olutuula lwa kkanso ku Mmande ejja wabula minisita Kamya agambye nti luyinza obutabaayo kubanga eyaluyise takyalina buyinza.

Bino byonna w bijjidde, nga minisita Kamya yawandiikidde dda akakiiko akagaba emirimu gya gavumenti aka Public Service Commission kawe Kitaka n’omumyuka we kontulakiti empya ey’omwaka omulamba bongere okuddukanya emirimu gy’ekibuga.Kitaka yategeezezza Bukedde nti atandise enteekateeka okulondesa Sipiika n’omumyuka we era bali mu kubakolera ku bye balina okukozesa mu mirimu gyabwe ng’okubawa ofi isi n’emmotoka ezibatambuza.

Wabula agamba nti bwe banaalaba ng’emisaala gy’abalondeddwa abapya gikosa embalirira ya KCCA bajja kusaba ennyongereza bafune ssente. Ekibiina kya FDC kye kisinza bakansala abangi mu lukiiko lwa KCCA era baatandise dda okwekolamu omulimu okuteekawo omuntu gwe basobola okulonda nga sipiika. Be batunuulidde kuliko; Abubakar Kawalya, Kenedy Okello, Doreen Nyanjula ne Buruhani Byaruhanga (NRM).

Ennoongooseza zino zaayanjulwa nga Frank Tumwebaze y’akyali minisita wa Kampala, abooludda oluvuganya ne bajja nga bazisimbira ekkuuli okutuusa lwe bagenze nga baggyamu ebintu ebimu bye baali balwanyisa ng’okuggyako abantu obuyinza okwerondera Loodi Meeya.

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke ku by’abakyala be abaanoba

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka abalala batadde omuyimbi Haruna Mubiru mu kasonda ne bamukunya olw’okulagajjalira bakyala be naddala Raudha Ssonko muwala w’omugagga Guster Lule Ntakke.

Kutte1 703x422
Kitooke ng’aliko byannyonnyola Omulangira Nakibinge (ku kkono) ne Sheikh Muzaata.

Mukimanye twakkaanya bukkaanya agende mu Amerika era gy’abeera naye mwe muluzunza nti nayawukana naye. 

 itooke ne adija umala
Kitooke ne Hadija Lumala
 emira ayimba naye mu ream roduction
Kemira ayimba naye mu Kream Production

Kiki ekinakuwazza Naava Grey?

Gendayo 703x422

Yabadde Kanyanya nga nnambattaano wa SK Mbuga, Abdallah akyala mu maka ga Musa Katongole eyali owa UTODA.

Era y’omu ku bayimbi abaayimbye nga Aisha muwala wa Katongole alaga abazadde omulenzi we.

Ekyewuunyisizza abako, ab’awaka n’abantu bakira abamulaba ye muyimbi ono okunakuwala ng’oyinza okulowooza nti waliwo eyamukase okujja ku mukolo. Ono bwe yabadde tannayimba, yalabise ng’ali mu birowoozo.

Yabadde atudde yekka ng’afunyizza gomesi n’ekitambaala kyakwo ng’oyiza okulowooza nti enkuba yabadde yatonye.

Teyakomye awo wabula yagasseeko okuzinga emikono nga ddala alinga alina gw’akungubagira. Olaba yatuuse n’okwerabira ne gomesi ne yeeweta mu kifuba.

Waliwo abaamwogezezza nti yabadde ng’eyeebuuza nti ye maama aliyimbanga ku mikolo gy’abawasa n’abafumbirwa nga ye n’omusajja we tewali amumanyi!

Oba alina omusajja oba talina nze naawe. Naye yandiba ng’alina lwa buteemulisa.

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga abakyala bye baboogerera.

Dece 703x422

Kino kyandowoozesa nti abasajja bonna kye kimu ekintu ekyayongera okuntiisa era ne mmaliriza obutamala gawa musajja gwe seekakasa mutima gwange.

Ebiseera we byangenderera, nasalawo okuguma omutima ne nzigala amatu okuva eri mikwano gyange kuba ffenna tetufaanagana ate nga waaliwo ne be nnalabanga nga basanyufu mu mukwano.

Olwo ne ntandika okusaba Katonda ampe omusajja anampa essanyu ate nga twetegeera. Era bwatyo Katonda yaddamu essaala yange ne nfuna omuntu gwe nnalootanga.

Nze Asiya Nagawa 38, mbeera Bunnamwaya era maze emyaka 12 mu bufumbo n’abaana bataano.

Mu lugendo lwange olw’okufuna omwagalwa, nasaba Katonda okunkulemberamu era nali mwegendereza nnyo bwe nasisikana omwagalwa wange nga tuli ku ttendekero erimu.

Saasooka kumwemalirayo newakubadde nga yanjogereza okumala akabanga omwali n’okunnemerako okutuusa lwe nakkiriza.

Nneebaza Mukama kubanga essaala zange yaziwulira n’ampa omusajja omutuufu gwe njagala ate nga mwenyumirizaamu kubanga yaleeta essanyu mu bulamu bwange.

Ono yasangulawo ebigambo bakyala bannange bye baali bang’amba ebyandowoozesanga nti buli musajja mubi.

Ekisinga obukulu y’engeri omusajja wange gy’ampisaamu n’okundabirira obulungi ate ng’ampa ekitiibwa nga mukyala we ate mukwano gwe.

Anfaako, ampa emirembe ate nga mwetoowaze. Omukwano gwaffe tuguzimbidde ku kutya Katonda, obwesigwa n’okukola ennyo.

Bwe wabaawo obutakkaanya tubugonjoola mu kukkaanya. Omwami wange nneeyama okumwagala, okumulabirira n’obutamwabulira era omukwano gwaffe gulifa bukadde.

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala omwana omulenzi.

Kola703422 703x422

Nti azaala baana balenzi bokka. Ssenga njagala omwana omulenzi ate ono omusajja andi bubi, mmwagale nfune omwana omulenzi omwami wange ndimunnyonnyola n’akitegeera.

WANGI mwana wange! Ani gw’ogenda okunnyonnyola n’akitegeera?

Ekirala oli mufumbo oba toli mufumbo? Omufumbo talina kwenda wadde okwagala omusajja omulala okuggyako balo.

N’ekirala omanyi nti omusajja oyo ayagala kukulemesa bufumbo. Ddala akulimba atya nti akyusa oluzaalo?.

Ekisookera ddala sigaanye alabika azaala balenzi naye okimanyi nti oluusi n’embeera y’omukyala mu nnabaana ereetera omukyala okuzaala abaana abalenzi oba abawala. Kyokola kikyamu okwagala omusajja omulala ate ng’oli mufumbo.

Ekyookubiri teri musajja asobola kugumiikiriza embeera ya bwenzi era tayinza kukitegeera.

Lwaki okola ekintu ky’olaba nga kisobola okuleeta obutemu mu maka go.

Omusajja oyo muleke, omwana omulenzi gw’oyagala era osobola okumufuna singa olaba omusawo nga mutendeke n’akubuulira bulungi bwe musobola okukikola ne muzaala omwana omulenzi.

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka ow’abakazi 3

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa ne mukyalamuto Teopista Nakakooza Settuba nga December 15, 2018.

Sinza 703x422

Nnamwandu Nakakooza n’abaana be ng’ayogera. Atudde wansi ku ddyo ye Margaret Settuba . Mu katono waggulu Settuba bw’abadde afaanana.

Okuziika kwetabyeko abantu baabulijjo, bannabyabufuzi ne bannaddiini abaakulembeddwa omubuulizi Victo Sempiira.

Mu kusooka waabaddewo okusabira omugenzi okwakulembeddwa omubuulizi Victo Sempiira eyennyamidde olwa bannamwandu okuyombera ebyobugagga okuli; ettaka n’ebirala n’abasaba okudda eri Katonda kubanga ne Ssettuba eyabikola abirese.

Okusaba nga kuwedde bannamwandu baayogedde era Teopista Nakakooza yategeezezza nti, “Nsanyuse nnyo okubalaba nga tusiibula mukwano gwaffe.

Mbadde ne baze okumala emyaka egiwerako era tuzadde abaana 6. Naye buli agezaako okumpalampa tagenda kunsobola kubanga nze ndi wa mpeta era ndi mutukuvu mu bufumbo bwange.

Nsaba baggya bange banneegatteko tutuule ku mmeeza emu tusobole okukuza abaana baffe okusinga okudda mu kulwanagana era nneebazizza buli omu akoze ekisoboka okulaba ng’ambeererawo mu kaseera baze we yafiiridde”, bwe yagambye.

Ebigambo bino bireetedde abakungubazi okwogera obwama nti, Nakakooza yabadde agezaako kukudaalira banne.

Ye nnamba bbiri Margaret Settuba yasabye banne bateese era ne yeebaza bonna abakoze ekisoboka okutuuka bwe baziise bbaabwe.

Ye mukyalamukulu Betty Nakityo yagaanyi okwogerera mu maka ga muggyawe n’ava we yabadde atudde ne yeekweka emmanju ng’agamba nti alina kwogerera mu maka ge.

Ssaalongo Isreal Ssebbunza Segawa okuva mu lunyiriri lwa Settuba era nga y’abadde mukulu w’omugenzi Ssetuba, agambye nti tebagenda kukkiriza bannamwandu bano kugenda mu maaso n’okulwanagana nti bagenda kutuula okulaba nga bakyala baabwe babatabaganya kubanga abadde abategeera avuddewo.

Wabula ssentebe w’e Ggombolola y’e Nabweru Robert Maseruka Mute yatabukidde bannamwandu nti ekibadde kibalwanya kivuddewo n’abasaba bakole okutwala ffamire mu maaso.

Okwogera nga kuwedde babadde batwala omulambo okuguziika mukyalamukulu ng’ali n’abatuuze baabalemesezza ne bapondooka era ne gutwalibwako mu maka ge ne baguteeka mu luggya embeera n’etereera.

Olwo Nakityo yeebazizza bonna n’agamba nti ekibadde kimutta kiwedde abadde ayagala omulambo gutuukeko mu maka ge amakulu. Omugenzi aleese abaana 24 ne bannamwandu basatu.

Yaziikiddwa Ssemuto ku Lwokubiri.

Minisita azzizza ab’e Gomba ku ttaka

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja byabwe gye baasengulwa.

Like 703x422
Minisita Namuganza (ku kkono) mu lukiiko n’abatuuze b’e Kitemu ne Nkwale.

Abatuuze baasengulwa omugagga Peter Wasswa.

Olukiiko minisita Namuganza yalutuuzizza ku kyalo Nkwale mu Town Council y’e Kanoni mu Gomba. Abatuuze baamusindidde ennaku gye bayitamu oluvannyuma lw’okusengulwa mu bibanja byabwe n’ennyumba zaabwe ne zikoonebwa ne balumiriza RDC wa Gomba, Ruth Kashaka okwekobaana n’omugagga okubatulugunya.

Ssentebe wa Town Council y’e Kanoni, Fred Kuteesa yategeezezza minisita nti, omugagga Wasswa akozesa RDC Kashaka okutulugunya abeebibanja ate buli mukulembeze avaayo okubalwanirira nga bamussaako omusango era naye abadde aliira ku nsiko.

RDC yabadde agezaako okusaba akazindaalo abeeko by’atangaaza abatuuze ne bamukuba olube ne bamulemesa okwogera. Abatuuze baategeezezza Namuganza nti ababagga ababasengula babasibako emisango ne babasiba n’ekigendererwa ky’okutwala ebibanja byabwe.

Namuganza yakunyizza RDC Kashaka n’amugamba nti alemeddwa okukola omulimu gwe era n’ategeeza nti, agenda kumukolako lipooti agitwale ewa Pulezidenti Museveni.

Namuganza akunyizza ne DPC wa Gomba, Alfonse Musoni olw’okukwata abatuuze mu bukyamu n’okubagaana okukungula emmere mu bibanja byabwe era n’amulagira obutaddamu kukwata mutuuze ku nsonga ezeekuusa ku ttaka lino.

Abatuuze baatutte Namuganza mu maka ga Fred Luyinda bakanyama b’omugagga gye baayasa endabirwamu z’ennyumba ye n’okwonoona ebirime bye n’alagira abatuuze okukuula ebitooke omugagga bye yali yasimba mu luggya lwe era n’agamba abatuuze bonna okugenda ku poliisi baggulewo emisango ku mugagga egy’okuboonoonera ebintu.

Abatuuze basiimye eyaliko minisita ateekerateekera ebibuga Rose Mariam Najjemba okubayamba okutuusa obulumi bwabwe mu ofiisi ya minisita Namuganza.

Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza Katonda

ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya Piller of Fire International Ministries ey’omusumba Wasswa Kiyingi e Kanyanya bafune emikisa n’okumukwatirako ku mulimu gw’okugula ettaka waagenda okuzimba ekkanisa ennene.

Kika 703x422
Omusumba ng’asabira Eddy Yawe ne David Lutalo.

Omusumba ono naye muyimbi era yayimbako ne Paasita Wilson Bugembe ennyimba nga, Mukama gwe Omanyi ebyange.

Era mu kivvulu kino yabadde atongoza n’oluyimba lwe olupya lwe yayimba ne Bugembe ne Eddy Yawe lwe baatuumye Nakibuuka. Ku ssaawa 8.00 abayimbi baabadde batandise okuyingira mu kkanisa.

Omusumba yasoose kubasabira buli kye bakola kitambule bulungi oluvannyuma ne batuula mu bifo byabwe.

 aama wabaana nga mwoyo amukutte
Maama w’abaana nga mwoyo amukutte.

Omuyimbi Dr. Propa kaabuze kata akaabye abantu bwe yabatottololedde ennaku gye yayitamu ng’akula kuba baamulonda mu ddwaaliro bazadde be gye baamusuula.

Kyokka bwe yakula n’alabika obulungi ate abakazi ne batandika okumuliisa akakanja nga buli gwafuna muyaaye okutuusa bwe yalokoka era Katonda n’amulaga omukazi omutuufu gw’alina kati.

Abayimbi baayimbye ennyimba zaabwe ez’edddiini era ku ssaawa 5:00 ez’ekiro, ekivvuilu kino kyabadde kiwedde.

Design a site like this with WordPress.com
Get started