Kazimba asiibudde ab’e Mityana

EKKANISA lutikko e Namukozi yawuumye eggulo nga basiibula abadde Omulabirizi wa Mityana, Dr Samuel Kazimba eyalondeddwa ku kya Ssaabalabirizi wa Uganda.

Set2703422 703x422
Bp. Kazimba

Gwabadde mukolo gwa kitiibwa okwayogereddwa ebigambo eby’amaanyi okwebaza Kazimba omulimu omunene gwakoze e Mityana okuli okukulembera okuzimba lutikko e Namukozi. Kazimba ye yakulembedde okusaba wakati mu nnyimba enjiiye n’ez’amaloboozi amatabule ezitendereza Omutonzi. Mukwano gwa Kazimba, Ssaalongo Mukiibi Muzanganda yayimbidde Kazimba oluyimba n’agattako okweyama okuwagira emirimu gye emiggya egya Ssaabalabirizi.

 p azimba ngayogera eri bakristaayo u ssuuti ye uzanganda nomukyala
Bp. Kazimba ng’ayogera eri Abakristaayo. Mu ssuuti ye Muzanganda n’omukyala.

Oluyimba lugamba: Katonda y’agabirira buli omu n’addira abaavu ne balya n’Abalangira, addira ensozi n’ozifuula omuseetwe. Bp Kazimba yavunnama ku maviivi n’ akusaba Katonda omuwe omukisa. Wawulira essaala ze kati by’ebitiibwa by’aliko…. Muzanganda ali mu ttiimu ekulirwa Freeman Kiyimba ewagidde ennyo Kazimba mu mirimu gy’ekkanisa. Kiyimba era y’akulidde akakiiko k’okusiibula Kazimba ate n’okwaniriza n’okutuuza Omulabirizi w’e Mityana omuggya Rev. James Bukomeko. Ab’e Mityana, Kazimba yabalekedde obubaka okubeera obumu lwe bajja okusobola okutwala ekkanisa n’eggwanga mu maaso. “Mwewale enjawukana, okuyombagana naye mubeerenga bumu nga mukolagana mu buli nsonga yonna.” Yayogedde ku nsonga z’abaana n’agamba nti omwaka 2020, ekkanisa yagulangiridde okuba ogw’abaana bwatyo n’akuutira abantu okulabirira abaana kubanga be bagenda okuyimirizaawo eggwanga n’ekkanisa mu myaka egijja. Freeman Kiyimba yasiimye bonna abaawaddeyo ensimbi n’abo bonna abalina kye bakoze okutegeka omukolo. Yakunze abantu okuwagira Dr. Bukomeko nga bwe babadde bakolaNnampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa era nga ye ssentebe w’olukiiko olutegeka okutuuza Ssaabalabirizi yakunze Bannayuganda okuwagira enteekateeka. Kazimba alituuzibwa March 1, mu lutikko e Namirembe.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started