Eby’ennyonnyi ya Ukraine eyakubiddwa Iran mu butanwa nga yeesasuza olwa Amerika okutta Gen. Soleimani bikyukidde Pulezidenti Trump. Canada ekimutaddeko bwe yavuddeko okuttibwa kw’abantu 176 abaagibaddemu.

Katikkiro wa Canada, Justin Trudeau ategeezezza nti embiranye wakati wa Iran ne Amerika yeyavuddeko okuttibwa kw’abantu 176 okwabadde bannansi ba Canada 56
n’agamba nti abantu abo bandibadde balamu singa tewaabaddewo mbiranye wakati wa Iran ne Amerika.
Trudeau ayongedde okussa akazito ku Iran okuliyirira famile z’abantu abattiddwa era n’agugumbula ne Trump nti ensonga yazikutte bubi.
Gavumenti ya Iran yalangiridde ku Lwokubiri nga bwe waliwo abakungu ne bannamagye abaakwatiddwa olw’ensobi eyakoleddwa mu kukuba ennyonyi ya Ukraine wabula omuwendo gw’abaakwatiddwa tegwayogeddwa.
Kyokka Pulezidenti Hassan Rouhani yagambye nti wassiddwawo kkooti ey’enjawulo mwe bagenda okusimbibwa bavunaanibwe.