SC Villa eri mu kyakuna n’obubonero 27 so nga Busoga United yaamusanvu n’obubonero 21.

SC Villa-Busoga United 10:00
Proline-Vipers 10:30
Onduparaka-Maroons 10:30
Bright Stars-KCCA 10:30
BATABANI ba Edward Kaziba aba SC Villa bakomawo leero mu nsiike nga baagala kwemalako ssungu lya URA eyabakuba (2-0), mu mupiira ogwa gulawo oluzannya olwokubiri mu Startimes Uganda Premier League wiiki ewedde.
Bakuttunka ne Busoga United eyaakamegga Express (2-0). Kaziba aweze nga ttiimu ye bwetagenda kusuula mupiira gwakubiri gwamudirig’ana kuba beetaaga obubonero busatu okuzza emitima gy’abawagizi.
“Tugenda kuzannya mupiira gwakulumba bulumbi kuba twetaaga obubonero busatu okuddamu okuvuganya ku kikopo kya sizoni eno.” Kaziba bwe yagambye.

Abbey Kikomeko atendeka Busoga United asuubizza okusuuza SC Villa obubonero wadde ng’omuteebi we Joel Madondo yabaabulidde ne yeegatta ku Wydad Casablanca tekigenda kutulemesa kuba abakkiririzaamu. Mu luzannya olwasooka e Jinja, baakola maliri (1-1).
SC Villa eri mu kyakuna n’obubonero 27 so nga Busoga United yaamusanvu n’obubonero 21.