Omugagga Ham aduukiridde ekibiina kya Jonard Development Foundation.

Ham ng’akwasa Jonard akatabo keyawandiika kebayita Success and Failure based on Reason and Reality.
Hamis Kiggundu, amanyiddwa nga Ham, aduukiridde ekibiina ky’abavubuka ekya Jonard Development Foundation, nga beetegekera olukungaana lwabwe olwa buli mwaka. Olukungaana luno lutuumiddwa “Bunyoro Youth Convention” era nga lugenda kwetabwamu abavubuka abakyasoma naabo banneekolera gyange.

Asiimwe agamba nti bagenderedde okuyamba abavubuka nga babasomesa obukodyo bwe bayinza okuyitamu okwekulaakulanya nga batandikawo bu bizinensi obw’enjawulo, n’okutumbula ebitone byabwe, mu bitundu bya Bunyoro ebitali bimu.

Ekitabo Ham kyeyawandiika ekimanyiddwa nga Success and Failure based on Reason and Reality
Akulira ekibiina kino, Ying. Jonard Asiimwe, yategeezezza Bukedde, nti obutabo bwe bafunye bubalirirwamu ensimbi obukadde mukaaga, nti era bagenda kubweyambisa okuwa abavubuka naddala ababeera e Kanenankumba,mu munisipaali ya Hoima, Kyanaisoke Kagadi, Ngogoma Hoima, n’ebitundu ebiriraanye ennyanja Muttanzige, (Lake Albert) mu disitulikiti y’e Buliisa, n’ebitundu ebiriraanyewo. Asiimwe, ayongerako nti olukungaana lw’omwaka guno lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti, “Tandika ne ky’olina’ era nga Pulezidenti Yoweri Museveni,yasuubirwa okubeera omugenyi Omukulu.