ABAAKAKIIKO k’ebyokulonda olwasisinkanye abakulembeze b’ekisinde kya People Power ekikulirwa Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) ne bawaga.

“Tugenda kuddamu okufulumya enteekateeka mu bifo gye twali tutegese okwebuuza ku Bannayuganda.
Mu kaweefube waffe ow’okuvuganya ku ky’obukulembeze bw’eggwanga,” Bobi wine bwe yategeezezza. Bino yabyogeredde mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza e Kamwokya oluvannyuma lw’okusisinkana abakulira ebyokulonda ku Lwokuna.
Omulamuzi Simon Byabakama, akulira akakiiko k’ebyokulonda yategeezezza bannamawulire nti ekigendererwa ekikulu mu nsisinkano eno kyabadde kya kussaawo mpuliziganya ennuhhamu wakati wa People Power ne poliisi.
Bobi wine yagambye nti oluvannyuma lw’okwemulugunya ku ngeri poliisi gy’ebadde ebayisaamu, abakulu basuubizza okukyusa.
Omwogezi wa People Power, Joel Ssenyonyi yagambye nti, bagenda kutandikira Gayaza awaali wategekeddwa olukiiko olwayiibwa poliisi, n’oluvannyuma batalaage ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Yannyonnyodde nti beekubidde enduulu eri akakiiko k’ebyokulonda ku bintu poliisi by’ebasaba ebitasoboka, n’ekigendererwa eky’okubalemesa.
Bano era balumiriza abakozi ba Gavumenti omuli ba RDC, DPC, GISO, PISO ne bannamagye okulumba bannannyini bifo bye baba bapangisizza ne babalagira okusazaamu enkiiko n’okubatiisatiisa.
Ate ye munnamateeka wa People Power, Asuman Basalirwa yagambye nti ssinga poliisi emenya endagaano eyatuukiddwaako, baakuvaayo ensonga bazikoleko mu ngeri yonna esoboka.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yagambye nti weebali okulaba nga buli kimu kitambula bulungi.
Bobi Wine yawerekeddwaako bannamateeka be okuli; Asuman Basaalirwa, Deus Lubongoya, Benjamin Katana, Flavia Kalule akulira abakyala mu People Power n’omwogezi Joel Ssenyonyi.
Poliisi yakiikiriddwa amyuka omuduumizi waayo mu ggwanga, Gen. Sabiiti Muzeyi, Asuman Mugyenyi akulira ebikwekweto mu poliisi, Patrick Onyango n’abalala. Waabaddewo okunyweza ebyokwerinda era poliisi yeetoolodde ekifo kyonna.