URA yamezze SC Villa (2-0) eggulo e Ndejje ezaateebeddwa Daniel Isaigi ne Mike Birungi omutendesi Ssimbwa n’awera nga bw’atagenda kuttiira ttiimu yonna ku liiso mu luzannya olwokubiri.

OMUTENDESI wa URA, Sam Ssimbwa olw’amezze SC Villa n’abukkulu nti buli ttiimu emusala mu maaso yakuloza ku bukambwe bwa batabani be.
URA yamezze SC Villa (2-0) eggulo e Ndejje ezaateebeddwa Daniel Isaigi ne Mike Birungi. Ssimbwa yawezenga bw’atagenda kuttiira ttiimu yonna ku liiso mu luzannya olwokubiri kuba buli mupiira agenda kuguzannya nga fayinolo.

“Villa twagisinze buli kimu kuba batabani bange bayingidde ensiike ng’ekibali mu mitwe kuwangula buwanguzi era ne bakikola,”Ssimbwa bwe yagambye. Yayogeddeko nti mu luzannya olwasooka, abazannyi be baali bagayaavu nga tebamanyi kye bagala wabula ku mulundi guno bagenda kufiira ku buli ttiimu.

URA yawezezza obubonero 23 ne yeenywerezza mu kyomukaaga nga yeenkana ne Onduparaka eri mu kyokutaano.