Mutuukirize obweyamo bwe mukola

Abakristaayo bakubiriziddwa okutuukiriza obweyamo bwe bakola nga ne Katonda lw’anaabaanukula

Bweyamo1webuse 703x422
Omusumba Lukyamuzi ng’ayigiriza ku Ssande ku kkanisa ya St. Steven Kabowa

Omusumba w’ekkanisa y’omutukuvu Steven e Kabowa, Henry Lukyamuzi abuuliridde Abakristaayo ku bweyamo bwe bakola ne Katonda waabwe nti, balina okukakasa nti baakubutuukiriza ng’omwaka tegunnaggwaako.

 bbaluwa okuli obweyamo
Ebbaluwa okuli obweyamo

Omusumba Lukyamuzi bwe yabadde abuulira mu kusaba ku Ssande yagambye nti, omwaka ke gutandise buli muntu asaana yeekebere yekkaanye n’omutima gwe ku ekyo ky’asobola ky’aba yeeyama mu kkanisa nga kino kitambulira ku nnamba ye ey’obweyamo buli Ssande.

“Omwaka bwe guggwaako omuntu oddamu buto okweyama eri Katonda wo, kyokka mulina okuyiga engeri ey’okumusikirizaamu naye asobole okubawa bye mwagala,” Omusumba Lukyamuzi bwe yagambye. Yategeezezza nti, ng’oyagala Katonda akukolere olina okumulaga engeri gy’oggya naawe okumuddizaamu.

“Abantu mumanyi okweyama kyokka ne mutatuukiriza eri Katonda, ogwo guba musango kyokka era kyewuunyisa abantu abamu okuva lwe yafuna nnamba y’obweyamo emyaka ena emabega n’atandika okweyama omuwendo gwe yatandikirako buli mwaka gw’addamu okweyama. Kye mugamba Katonda tabakolera kusinga we mwatandikira?” Lukyamuzi bwe yababuuzizza.

 kwaaya ngetendereza mu kusaba ku sande
Kkwaaya ng’etendereza mu kusaba ku Ssande

Abakristaayo baaweereddwa foomu okujjuzaamu obweyamo bwabwe nga zino ze zigenda okujjuzibwa ku bukonge bwabwe era ng’ensimbi ezikung’aanyizibwa ziba za kutambuza mulimu gwa Katonda mu kkanisa ya Uganda.

Omusumba Lukyamuzi n’omukyala baasiibudde abagoberezi nga bagenda mu ggwanga lya South Afrika okwongera okunnyikiza obuweereza bwabwe ate nga mu kiseera kye kimu n’omubuulizi w’ekkanisa eno, Earnest Nekambuuza n’omukyala bagenda mu Kenya okwongera okusomesebwa bazze buggya obuweereza bwabwe.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started