Babiri bafiiridde mu kabenje e Mityana

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje n’abalala ne babuuka n’ebisago ebyamaanyi e Nswanjere ku luguudo oluva e Mityana okudda e Kampala. Abafudde tebanategerekeka manya naye kubaddeko ne dereeva wa takisi ekoze akabenje ng’ono afiiriddewo n’omusaabaze. Takisi ekoze akabenje eri Namba UBB 740D nga kitegerekeseeko nti ebadde eva Fortportal. Okusinziira ku batuuze abalabye akabenje nga kagwa bakitadde ku dereeva wa takisi abadde eyabadde avuga endiima kyoka bweyatuuse e Nswanjere neyekanga ekkoona takisi nemuremerera okuliweta neyefuula negwa mu luwonko. Abaana basattu ababadde mu takisi eno bebawoonyeemu naye bazadde babwe okuli n’abasaabaze abarala abagyibaddemu bafunye ebisago ebyamaanyi nga tasulewo yasigadde ku mimwa gy’abantu.Abakoseddwa baddusiddwa mu ddwaliro lya Nswanjere Healthy centre okufuna obujanjabi.
Abakoseddwa bategerekeseeko nga babadde bavudde mu bitundu bye Kyaka,Fortpotal,Mubende,kassanda ne Mityana nga babadde badda Kampala abarala Lugazi. Abatuuze basabye poliisi y’ebidduka okussa hamps mu kkoona lya Nswanjere zitaase ku bubenje obugwa buli lunnaku. Kyoka kino tekibagaanye kutabukira ba tulafiki ababadde bazze okuddukirira abaagudde ku kabenje olw’okulwawo okuleeta emmotoka okutaasa abakoseddwa ekyabaletedde nokugamba nti omuntu ow’okubiri eyafudde kyavudde ku bugayaavu bwabwe.