‘Mwawule ebyobufuzi ku bya Katonda’

OMUBAKA wa Kyadondo East mu Palamenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu “Bobi Wine” asabye bannabyabufuzi okwekwasa Mukama Katonda n’okwewala enjawukana n’abo be balowooza nti tebali ku ludda lwe lumu.

Kenzo 703x422
Ssempala Kigozi (ku kkono) omubaka wa Makindye Ssaabagabo, Robert Kyagulanyi Ssentamu (wakati) n’omusumba Michael Kyazze ow’ekkanisa ya Omega Healing Centre e Namasuba.

Bino yabyogeredde ku kkanisa ya Omega Healing Centre e Namasuba mu kusaba okwetabiddwaako ne bannabyabufuzi ab’enjawulo omwabadde n’omubaka akiikirira Makindye Ssaabagabo mu Palamenti, Emannuel Ssempala Kigozi “Ssajjalyabeene”,ssentebe wa Divizoni ya Masajja, John Baptist Kiyaga n’abakulembeze eb’enjawulo.

Kyagulanyi yategeezezza nti, Katonda y’amuyambye okuyita mu buwonvu bwonna n’okumulwanira entalo z’asobodde okuwangula era wano we yanokoleddeyo ebyawandiikibwa mu Zabuli 26 bye yagambye nti, y’empagi eyamukwasibwa bazadde be era kw’azzenga atambulira okutuuka w’ali kati. Bino biraga Kabaka Daudi bwe yali ayaayaanira Mukama okubeera empagi ye mu buli ky’akola era wano Bobi Wine we yasinzidde okukuutira bannabyabufuzi banne n’abagoberezi abaabaddewo okwongera okwekwasa Katonda.

Ssempala yasabye bannabyabufuzi okwawula e kkanisa ku by’obufuzi bwe yategeezezza nti abamu batuuka n’okukyusa amasinzizo bwe bamanya nti be bavuganya nabo basinziza mu kifo kye kimu, ono yayongeddeko nti, ebikolwa ebikyamu ebyefuze eggwanga ensangi zino omuli ettemu, enguzi, obubbi n’ebirala bivudde ku bantu kuba nga baasuula Katonda nga wano we yasinzidde.

okukubira abazadde omulango okukuliza abaana mu Katonda kuba gwemusingi eggwanga kwe litambulira.

Omusumba w’ekkanisa eno, Michael Kyazze yategeezezza nti, baayise bannabyabufuzi okuva mu bibiina eby’enjawulo n’ekigendererwa ky’okuzza obumu. Yayongeddeko nti, bannabyabufuzi bangi bali kabwa na ngo n’abo be bavuganya nabo nga kye kya`bawalirizza okutegeka okusaba kuno naddala nga tusemberede okumalako omwaka bano bagende okuyingira omwaka omupya nga batukuvu.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started