MU bulamu, kinyuma omuntu n’akolera munne ekirungi ne bwe kiba kitono kitya ate ne gw’okikoledde n’akusiima. Awo ofuna amaanyi agamuyiiyiza ekirala ate ekisingako. Nze Alex Musaazi 19, mbeera Zzana mu Kampala.

Nnafuna omuwala gwe nneegomba ne kimpaliriza okumuyimiriza ne mbeerako bye mmugamba ate naye n’akitegeera bulungi.
Omuwala ono engeri gye yali omulungi kaalaala, nnalabira ddala ng’okumusubwa mbeera nfiiriddwa.
Kino kyampa essanyu bwe natuukirira omuwala ono ne mutegeeza nga bwe nnali njagala afuuke mukwano gwange era n’akkiriza bulungi nnyo. Namusaba ennamba y’essimu n’agimpa olwo ne tutandikira awo nga buli omu akubira munne. Awo omukwano gwaffe we gwatandikira.
Okumanya nnayagala omuwala ono, nafuba okulaba nga buli ky’ansaba nkimuwa era nga tajula naye ate nga ye andaga nti bye mmuwadde tabisiima.
Kino yakikola enfunda eziwera era nange bwe nnalaba nga kafuuse kagenderere obutasiima ne ntandika okufunamu endowooza nti alabika alina bye yeenoonyeza nga tanjagala.
Wabula nnakizuula oluvannyuma nti omuwal ono yali alinayo omuntu omulala eyali amupokera omusimbi era ng’amulidde omwoyo.
Natunulamu nga ndaba sisobola kuvuganya na basajja bagagga era ne nsalawo okwesonyiwa omuwala ono naye sikyejjusa kubanga kati nange nafuna dda ennamba yange empya enzikiririzaamu.