Eyakola ebibumbe by’e Namugongo n’e Mmengo afudde

OMUVUBUKA Fred Kigozi Lubwama 36, eyabumba ebibumbe by’ebika bya Buganda ebiri ku luguudo Kabakanjagala e Mmengo era eyabajja ebifaananyi by’abajulizi ebiri mu myuziyamu e Namugongo, mmotoka emulinnye ng’ali ku ppikippiki n’emukutulako omutwe.

Musene 703x422

Ebimu ku bibajje Lubwama bye yakola mu myuziyamu a Namugongo.

Yabadde avuga ng’atuuka e Nakiyanja Namugongo mmotoka weyamutomeredde okusinziira ku kojja we, Benon Lutaaya.

Lutaaya yategeezezza nti akabenje kaabaddewo akawungeezi k’Olwokubiri, Lubwama yabadde avuga ppiki okudda mu maka ge e Namubiru Mukono.

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Lubwama era Omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba yagambye nti, Lubwama y’omu ku baaweebwa omulimu gw’okubumba ebibumbe by’ebika eby’asimbibwa ku bibanja by’abyo ku luguudo Kabakanjagala okutuuka ku Bulange.

Obwakabaka bwasindise Minisita w’Obuwangwa n’ennono, David Kyewalabye Male okukubagiza abaffamire ya Lubwama.

Lubwama abadde abajja ebifaananyi n’okubumba, yeeyabajja ebifaananyi ebiraga egeri Abajulizi ba Uganda gye baatulugunyizibwamu ebiri mu myuziyamu ku kiggwa ky’Abajulizi ku ludda lw’Ekkanisa ya Uganda e Namugongo.

Lutaaya yagambye nti, omugenzi abumbye ebibumbe bingi mu ggwanga n’ebweru walyo okuli ebiri ku kkooti ewozesa emisango gy’obusuubuzi mu Kampala

Alese abaana basatu ne Nnamwandu Christine Ojambo era yaziikiddwa ku Lwokuna e Namubiru ewali amaka ge.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started