BYABADDE biwoobe ku kyalo Musita mu ggombolola y’e Baitambogwe mu disitulikiti y‘e Mayuge mmotoka magulukkumi bwe yalemeredde ddereeva waayo n’etomera abantu10, omukaaga(6) ne bafiirawo.

Abaffamire abaafudde kuliko Nakatuba Sunati abadde omutuuze w’e Kamuli, Hasifa Mutesi, n’abaana basatu okuli Twaha Sadat, Junior Ahamada, Najibu Muhammad.
Omulala eyafudde ye Yeko Kigenyi abadde ssentebe wa LC II ow’omuluka gw’e Mulingirire.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti emmotoka eno yatomedde ssentebe ono mu luguudo wakati olwo n’ewaba n’etomera ebizimbe omwafiiridde abooluganda.
James Mubbi, omwogezi wa poliisi mu Busoga East ategeezeezza nti akabenje kano kaavudde ku mmotoka nnamba UBA 213N eyabadde etisse sukaali okuva ku kkampuni ekola ya Mayuge Sugar Industries Limited ku kyalo Buvuna mu ggombolola y’e Manyiro mu disitulikiti y’e Mayuge.
Mubbi agamba nti akabenje kano kaavudde ku biziyiza bya mmotoka obutasiba ekyavuddeko omugoba waayo okulemererwa olwo n’atomera abantu.
Era wano Mubbi we yakubiririzza abagoba b’ebidduka okwekebejjanga emmotoka zaabwe nga tebannasimbula n’okuzikanika.
Mubbi yategeezezza nti emirambo gyaweeredwa abehhanda ate abaafunye ebisago baatwaliddwa okujjanjabibwa.