Aba ‘State House’ bakutte ebikola mu labalatole ebifu

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kulondoola ebyobulamu mu maka g’obwapulezidenti ekya State House Health Monitoring Unit, kikutte omusajja agambibwa nti abadde ajingirira amazzi agakozesebwa mu kukebera omusaayi.

Ku 703x422
Abakungu b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola ebyobulamu mu maka g’Obwapulezidenti nga beekebejja amazzi ge baakutte.

Eyakwatiddwa ye Edwine Tom Makoporo nnannyini Tograsta Co. Ltd e Kamuli mu Kireka oluvannyuma lwa bambega okumulinnya akagere nga bamuteebereza nti, ebintu by’atunda bya bicupuli.

Dr. Brian Arinaitwe eyakulembeddemu ekikwekweto kino yagambye nti, Makoporo ne banne abalala abatannakwatibwa babadde baakola ka kkampuni ak’ekimpatiira mwe babadde basinziira okujingirira amazzi ageeyambisibwa mu labalatole.

Dr. Arinaitwe yagambye nti, amazzi amajingirire Makoporo g’abadde akola ge gavaako ebyuma okugabira abantu ebivudde mu kukebera omusaayi ebifu n’agamba nti, kino kye kivuddeko n’abasawo okubulwa obulwadde ne babagamba nti balina ‘infection’.

“Infection, infection, infection buli w’ogenda bakugamba infection naye nga amazzi gano ge bakozesa okukebera omusaayi mu byuma ge gavaako ekyuma ne kitalaba bulwadde butuufu.” Arinaitwe bwe yategeezezza. 

Makoporo abadde yeekwata amalwaliro ag’amaanyi okuli ne Mulago okubaguza amazzi gano kyokka abadde agakolera mu kazigo k’abadde yapangisa e Kamuli – Kireka.

“Ng’oyagala okukakasa nti amazzi gano ge gavaako obuzibu, genda mu malwaliro asatu ag’enjawulo olabe, bajja kukuwa ebivudde mu musaayi nga tebifaanagana.” Dr. Arinaitwe bwe yategeezezza.

Baakutte bbookisi 80 ezaabadde zirindiridde okutwalibwa mu bakasitoma era Dr. Arinaitwe yagambye nti, zibalirirwamu obukadde bw’ensimbi 30 n’agattako nti, amazzi gonna ge baakutte, gakebera abantu 5,000.

Yagasseeko nti, n’obukebera obulwadde bwa siriimu obutundibwa mu bulwaliro obusinga bufu.

Makoporo yatwaliddwa ku poliisi y’e Ntinda gye yagguddwaako omusango gw’okutunda ebintu ebijingirire ebikozesebwa mu labalatole.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started