Abavubuka 100 bayingidde amagye mu Hoima

ABAVUBUKA okuva mu disiturikiti ttaano e Bunyoro okuli; Hoima, Kibaale, Kakumiro, Kagadi ne Kikuube abasukka mu 500 abeeyiye mu kisaawe e Booma – Hoima okwewandiisa okuyingira amagye bangi bazzeeyo bakukkuluma olw’obutabeera na byetaagisa.

Unit 703x422

Abaagaaniddwa mwabaddemu abalina empapula empewufu, ab’enkovukovu ku mibiri, amabwa n’ebintu ebirala.

Okusinziira ku mwogezi w’amagye ow’ekibinja ekyokubiri buvanjuba bwa Uganda Maj. Charles Kabona yagambye nti, abavubuka abakunukkiriza mu 500 be beeyiye mu kisaawe kya Hoima Booma Stadium okwewandiisa okuyingira amagye.

Maj. Kabona yannyonnyodde nti, ku mulundi guno babadde baagala aba S4, S6 n’abalina ebbaluwa mu bwayinginiya, kkopmyuta, obusomesa n,ebirala.

Yagambye nti mu disitulikiti ttaano baatutteabavubuka 105 ng’e Hoima baafunye 25, Kikuube 20, Kibaale 10, Kagadi 27 ate Kakuumiro 23.

Abasinga baaviiriddemu mu nnyiriri oluvannyuma lw’omusawo okubawndula n’abalala baagudde ebigwo nga badduka.

Abawala abaazaalako nabo baaganiddwa okuyingira amagye.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started