Aloysius Bugingo yalinnye ku siteegi ewa Pasita Wilson Bugembe n’asuulamu akayimba: “Labayo bwe kiri ekirungi abooluganda okutuula awamu…”olwo abantu ne baanukula n’enduulu wakati mu kubwatuka kw’engalo.

Bugingo yayimbye akutte ku kibegabega kya Bugembe ng’akabonero k’okutabagana.
Baabadde mu kivvulu kya Bugembe ku Worship House e Nansana nga December 26.
Bugembe ne Bugingo bamaze emyaka 10 nga bagugulana kyokka omusumba Simoen Kayiwa owa Namirembe Christian Fellowship n’abatabaganya.
Okuggyako buli omu okukoona munne ng’asinziira mu kkanisa ye, ensonga yennyini eyabatabula tebagikoonako.
Okuggyako Bugingo okulumba Bugembe lwe yakyaza Maama Fiina ku kkanisa ye n’amulangira nti kyabuswavu okukyaza omusamize ku kkanisa.

Bugembe naye abadde alumba Bugingo nti akola ebintu ebitali bya Bulokole.
Era Bugingo bwe yawawukana ne mukazi we Teddy Naluswa, Bugembe n’amulumba olw’engeri gye yayisaamu Teddy n’atuuka n’okumulangira bwe yalwala ekikulukuto gattako Bugingo okuyingizaawo omukazi omulala Susan Makula ng’ate yalayira okubeera ne Teddy okutuusa okufa.
Bugembe yategeezezza nti ekkanisa ye eyaniriza buli muntu okuli n’abayimbi. N’agamba nti ewuwe gye baggya amafuta ne bakyuka.
Yawadde eky’okulabirako kya Spice Diana eyakyuka mu nneeyisa nga kati Katonda amutwala ng’eky’omugaso mu bulamu bwe.
Bugingo eyazze n’omugole Susan Makula Nantaba yaguze ensawo za seminti 200 ziyambeko ku kkanisa empya Bugembe gy’azimba e Nansana.

Oluvannyuma yasabye Bugembe okufukamira wansi era Bugingo n’abasumba abalala ne bamusabira afune omukyala amutegeera.
“Wakulira mu nnaku essaala yange egamba nti omukazi yenna anaakulabya ennaku ne bw’oba ng’omusimye otya Katonda amubuzeewo mangu aleete atalikulabya nnaku mu linnya lya Yesu, Amiina.” Bugingo bwe yasabye.
Abayimbi okuli omunigeria David Ekene, Herbert Twina, Joseph Ngoma, Spice Diana ne Dr. Hilderman be bamu ku baayimbye mu kivvulu kino.