Engeri ennyangu ey’okugula ebintu

Engeri ennyangu gy’ogula ebintu eyby’omutindo ku mutimbagano n’owona okulinnyirirwa mu kibuga

Binobyebimukubintubyomumakaebigendaokutundibwawebuse 703x422
Ebimu ku bintu by’osobola okugulira ku mutimbagano

Okusinziira ku nsi bw’ekulaakulanye okuyitira mu tekinologiya, abantu ennaku zino  tekikyabeetaagisa kugenda Bulaaya oba okugenda ku maduuka okugula ebintu eby’enjawulo.

Osobola okugula n’okusasulira  ebintu byonna bye weetaaga nga weeyambisa omutimbagano. Kino kiyamba okufissa obudde n’okolamu ebintu ebirala era n’okumala ssente ng’otambula kubanga ebintu bikusanga wonna w’obeera oli.

Ron Kawamara, akulira Jumia Uganda  ekimu ku bitongole ebitunda n’okugula ebintu ku yintaneeti agamba nti,  balina bakasitoma  bangi abettanidde enkola eno.

 Kawamara ayongerako nti, wadde ebintu ebitundibwa ku mutimbagano birungi era nga bawa bakasitoma ebbanga eggere okubyekenneenya oba nga ddala bikola bulungi kyokka waliwo abasuubuzi abatunda ebintu ebitali bya mutindo.

Eno y’ensonga lwaki babangula bakasitoma baabwe ku ngeri gye bayinza okukebera ne balaba ebyamaguzi ebitali bya mutindo.

‘’Nsaba abantu abagula ebintu ku mitimbagano obuteesiga bakayungirizi wabula bagule ebintu byabwe nga boogedde n’omukozi waffe butereevu okwewala okugula ebintu ebyebicupuli,” Kawamara bwe yalabudde.

Birah Masette, omu ku bantu baguze ebintu ku mutimbagano agamba nti, bwe yali tannatandika kukozesa mutimbagano okugula ebintu  eby’enjawulo yayingiranga ekibuga okugula ebintu oluusi natafuna kyennyini ky’ayagala naye olw’okuba yabanga atutte obudde bungi mu kibuga olwo n’agula kyonna ky’asanze obutafiirizibwa budde bwe.

Oluusi bye yagulanga nga tebikola bulungi ate okukizzaayo nga bakigaana olwo n’afiirwa.

Agamba nti, bwe yatandika okukozesa omutimbagano ayinza okutwala wiiki nnamba ng’anoonya ebyamaguzi by’ayagalira ddala era bw’amala okubifuna  n’abisasulira bwe bimutuukako aweebwa ennaku musanvu okukakasiza ddala nti, bimukoledde. Bwe kiba tekikoze aweebwa ebbeetu okukizzaayo.

Gladys Nkayivu naye agamba nti, okuva lwe yatandika okugula ebintu ku mutimbagano taddanga mabega.

‘’Omutimbagano gunnyambye kubanga nsobola okugula ekintu nga ndi mu ddiiro lyange oba ku mulimu era ne bakintuusaako we mbeera mbagambye nga tebansabye ssente za ntambula.

Ku bintu ebinene nga firiigi oba kkuuka babituusiza ddala awaka  nga bayita mu ndagiriro gye mbawadde era nabyo sisabibwa nsimbi ndala. Wabula kino basinga kukikola nga basaze ku miwendo gy’ebyamaguzi byabwe naddala mu nnaku enkulu.     

Lydia Wamala, omu ku bakitunzi ba ‘Kikuu’ kkampuni endala etundira ebyamaguzi ku mutimbagano agamba nti, enkola eno eyamba abantu bangi okugula ebyamaguzi eby’omulembe okuva mu nsi z’e Bulaaya.

Omuntu aguze ebintu ku mutimbagano okuyita mu bo bamusaba okubikozesa  okumala ennaku musanvu era bwe kiba tekimukoledde olwo n’akizzaayo ne bamuwaamu ekirala. 

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started