Aboolugave baakununula obutaka bwabwe

EKIRAGIRO kya Kabaka ku kulambula obutaka bw’ebika kivuddeko ab’Olugave okunoonya ensimbi obukadde 100 okugaziya n’okununula ekitundu ku butaka bwabwe e Katende mu ssaza ly’e Mawokota.
Obutaka bw’ekika kino e Katende bwatundwa mu myaka gya 1980. Baalonze katikkiro wa Buganda eyawummula, Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere okubeera ssentebe w’olukiiko olw’okununula obutaka bw’ekika kino.
“Kabaka yawa ekiragiro eri ebika byonna okweteekerateekeraokulambula kwe ku buli butaka naye gunaabeera gutya ng’atuuse okulambula ekika kyaffe nga tetulina we tumutwala!
Twagala okusinziira ku ekyo okwongera okugaziya obutaka bwaffe,” Mulwanyammuli bwe yategeezezza. Bino yabyogeredde ku Pope Paul Hotel e Ndeeba mu ttabamiruka w’ekika ky’Ougave nga December 4, 2019.
Yasabye banne okwenyigira mu kaweefube w’okusonda ensimbi okugaziya e Katende. “Twafunye omuntu okuliraana obutaka bwaffe eyatuwadde omukisa okugulawo era yeetaaga obukadde 30 ze tulina okumuwa mu bwangu.
Nkubiriza buli yeddira Olugave okuvaayo okwenyigira mu kaweefube w’okusonda ensimbi ate n’amasiga geekolemu omulimu,” Mulwanyammuli bwe yagasseeko.
Omutaka Fred Katende akiikiridde omukulu w’ekika kino, Grace Ssemakula Nduggwa okukola emirimu gy’ekika, yategeezezza nti ekika kyabwe kiri mu kusomoozebwa ng’ate kirina abantu abanene bangi nga ssinga bakwatira wamu basobola okuzza olugave ku ntikko mu bwangu.
Ettaka litwetaagisa obukadde 100 ze tulina okusondera awamu ate bwe tumala tuteekeko enkulaakulana endala” Katende bwe yategeezezza. Baasonze ensimbi obukadde 23 okutandika ku kaweefube ono.
Munnamateeka John Katende eyabadde omugenyi omukulu yabawadde obukadde 2. Baategese n’ekivvulu ku Theatre Labonita nga December 12,2 019 okwongera okusonda ssente