ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya Piller of Fire International Ministries ey’omusumba Wasswa Kiyingi e Kanyanya bafune emikisa n’okumukwatirako ku mulimu gw’okugula ettaka waagenda okuzimba ekkanisa ennene.

Omusumba ono naye muyimbi era yayimbako ne Paasita Wilson Bugembe ennyimba nga, Mukama gwe Omanyi ebyange.
Era mu kivvulu kino yabadde atongoza n’oluyimba lwe olupya lwe yayimba ne Bugembe ne Eddy Yawe lwe baatuumye Nakibuuka. Ku ssaawa 8.00 abayimbi baabadde batandise okuyingira mu kkanisa.
Omusumba yasoose kubasabira buli kye bakola kitambule bulungi oluvannyuma ne batuula mu bifo byabwe.

Omuyimbi Dr. Propa kaabuze kata akaabye abantu bwe yabatottololedde ennaku gye yayitamu ng’akula kuba baamulonda mu ddwaaliro bazadde be gye baamusuula.
Kyokka bwe yakula n’alabika obulungi ate abakazi ne batandika okumuliisa akakanja nga buli gwafuna muyaaye okutuusa bwe yalokoka era Katonda n’amulaga omukazi omutuufu gw’alina kati.
Abayimbi baayimbye ennyimba zaabwe ez’edddiini era ku ssaawa 5:00 ez’ekiro, ekivvuilu kino kyabadde kiwedde.