Iran egezesezza pulaani y’okukuba Amerika

IRAN efulumizza akatambi akalaga engeri gye bagenda okuttamu pulezidenti wa Amerika Donald Trump ne balabula nti egeri gye bagenda okuwooleramu eggwanga ejja kubeera ya kuyiwa musaayi.

Ayatollah1 703x422
Ekifaananyi ekyafulumiziddwa ofiisi ya Ayatollah (wakati) ng’ali ne Rouhani (ku kkono) ne Gen. Isamil Qaani eyazze mu kifo kya Soleimani.

IRAN efulumizza akatambi akalaga engeri gye bagenda okuttamu pulezidenti wa Amerika Donald Trump ne balabula nti egeri gye bagenda okuwooleramu eggwanga ejja kubeera ya kuyiwa musaayi.

Akatambi kano baakakoze nga kalaga embeera eyaliwo ng’abeebyokwerinda bakwakkula pulezidenti Trump ku kadaala k’ebyobufuzi e Nevada bwe baafuna okwekengera nti mu bantu abamwetoolodde mulimu abalina emmundu ng’ekiseera kyonna baali basobola okumutusaako obulabe.

Bino byonna babitegeka nga baagala okwesasuza olwa Amerika eyasse Genero wa Iran, Qasem Soleimani nga January 3, 20120.

Akatambi kano kalaga engeri Iran gy’eyinza okweyambisa omutujju omupangise n’asindirira Trump amasasi ng’eno abaserikale bwe balwana okumuggya ku katuuti.

Kuno bawerekerezaako obubaka obutiisatiisa nti singa Amerika kagitanda n’etandika olutalo Iran ejja kuluzikiza. Akatambi kano kazze kalaga ennumba ez’enjawulo Irano z’ezze ekola ku nfo za Amerika n’etuuka n’okukuba mizayiro ezaakubiddemu ennyonyi ya Ukraine n’efiiramu abantu 176.

Akatambi kalaga omukulembeze wa Iran ow’oku ntikko Ayatollah Ali Khamenei ng’atuuza olukiiko lwa Bagenero e Iran n’abalagira bafeffete buli awali enfo ya Amerika basobole okulangirira ekiddako.

OMUKYUKA WA PULEZIDENTI MU IRAN AYOGEZZA BUKAMBWE

 rump
Trump

Massoumeh Ebtekar omumyuka wa pulezidenti wa Iran.

yavuddeyo n’ategeeza nti akimanyi bulungi Trump ne Amerika okutwaliza awamu ekiseera kino bejjusa olw’okutta Gen. Soleimani kubanga Iran bw’enabeera yeesasuza tegenda kukoma ku
kulumya Amerika yokka wabula n’amawanga agamu mu Bulaaya gaakusigaza ebinuubule.

Yagambye nti okusinziira ku by’azze agoberera ebifulumira ku mikutu egy’enjawulo akakasa nti kati ensi yonna etegeera bulungi ebikolwa bya Amerika eby’ekko.

Yayongeddeko nti ng’omusajja omukulu ategeera ensi n’ebigenda mu maaso era ng’alabye ku bapulezidenti ba Amerika ab’enjawulo, ono Trump ali ku muzannyo kubanga akabanga kaasigazizza okumalako ekisanja kye ajja kukamalako ng’asangula maziga kubanga lino eppeesa yanyize ffu teyasoose kubala ng’akikola.

Pulezidenti wa Iran Hassan Rouhani ayongedde okulabula nti kati bagenda kukuba buli awali amagye ga Amerika ne banywanyi baayo agali mu Buwarabu.

Yasinzidde ku ttivvi y’eggwanga eggulo mu kwogera kwe eri eggwanga nga munyiivu ne bye yayogedde nga bya bukyayi,yagambye nti olwa Amerika okulemwa okussa ekitiibwa mu ndagaano gye yali ekoze ne Iran ku nsonga za Amerika mu 2015 amagye ga Amerika agali mu Buwalabu gatudde ku bbomu.

Era n’amagye gaamawanga ga Bulaaya kati gakeesa lukya kubanga essaawa yonna gagwa ku kyokya. Bino agenze okubyogera nga Amerika yaakamala okwongera amagye amalala mu kyondo kya Buwarabu.

Yagenze okwogera bino nga Katikkiro wa Bungereza Boris Johnson yakamala okuvaayo n’akubiriza Iran okuddamu okuteesa ne Amerika baddemu okukola
engaano ku by’okulwanyisa bya nukiriya wabula yabadde yakabiggya mu kamwa Rouhani n’amwambalira ng’agamba nti ono amulaba nga kasitaani akeewogomye mu mugongo gwa Trump kubanga akimanyi bulungi nti Bungereza, Bufaransa ne German
balinnya mu kimu ne Amerika.

Yagambye nti Amerika okutta Gen. Qasem kiyinza okuviiramu Amerika ebizibu ebinene ennyo okusinga bw’erowooza ng’ebalaata okudda mu kwogera ku nukiraya
nga baakamala okutugumbula omuntu waabwe omunene bwatyo mu ggwanga.

 ran yasiize ekifaananyi kya oleimani nekissa munda mu kizimbe kya merika mu kibuga ehran wabula nga mu kiseera kino bamerika baakiddukamu
Iran yasiize ekifaananyi kya Soleimani n’ekissa munda mu kizimbe kya Amerika mu kibuga Tehran wabula nga mu kiseera kino Abamerika baakiddukamu.

AMERIKA EYANUKUZZA BUJULIZI KU NNYONYI IRAN GYE YAKUBA

Pulezidenti wa Iran yabadde awanda omuliro nga Amerika egenda mu maaso na kufulumya butambi obulaga engeri mizayiro za Iran gye zaakubyemu ennyonyi ya Ukraine gye baagambye nti baagikubye mu butanwa.

Omukutu gwa The New York Times gwafulumizza amawulire nga bategeeza nti bamaze kwekenneenya obutambi bwonna obufulumiziddwa ebitongole by’ebyokwerinda bulaga bulungi nti Iran yasooka kwetegeka era ne basumulura mizayiro nga bakitegedde nti ennyonyi gye bakuba ya basaabaze terina mutawaana.

Bino byagenze okujja nga Canada eyali esinza abantu abangi ku nnyonyi eno eyongera okulumiriza nti Trump bye yakola bye byaviirako okukuba ennyonyi ne
bafiira abantu abasoba mu 60.

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started